Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abasajja Bakulemberwa Emmunyeenye

Abasajja Bakulemberwa Emmunyeenye

OLUGERO 86

Abasajja Bakulemberwa Emmunyeenye

OYINZA okulaba emmunyeenye eyo eyaka ennyo omu ku basajja bano gy’asonzeeko? Bwe baava e Yerusaalemi, emmunyeenye eno yalabika. Abasajja bano bava Buvanjuba, era bekkaanya nnyo ebikwata ku mmunyeenye. Balowooza nti emmunyeenye eno empya ebakulembera okutuuka eri omuntu omukulu.

Abasajja bano bwe baatuuka e Yerusaalemi, baabuuza: ‘Omwana ow’okubeera kabaka w’Abayudaaya ali ludda wa?’ “Abayudaaya” linnya ddala ery’Abaisiraeri. ‘Twasooka okulaba emmunyeenye y’omwana ono bwe twali Ebuvanjuba,’ bwe batyo abasajja bwe baagamba, ‘era tuzze okumusinza.’

Kerode, eyali kabaka mu Yerusaalemi, yanakuwala nnyo bwe yawulira bino. Yali tayagala kabaka mulala kutwala kifo kye. N’olwekyo Kerode yayita bakabona abakulu n’ababuuza: ‘Kabaka eyasuubizibwa anaazaalibwa wa?’ Baamuddamu: ‘Baibuli egamba nti mu Besirekemu.’

Bwe kityo Kerode yayita abasajja okuva Ebuvanjuba, n’abagamba: ‘Mugende munoonye omwana. Bwe munaamuzuula, muntegeeze. Nange njagala kugenda kumusinza.’ Naye, mazima ddala, Kerode yali ayagala kuzuula mwana amutte!

Awo, emmunyeenye ekulembera abasajja okutuuka e Besirekemu, era n’eyimirira waggulu w’ekifo omwana we yali. Abasajja bwe bayingira mu nnyumba, basanga Malyamu ne Yesu omuto. Baggyayo ebirabo ne babiwa Yesu. Naye oluvannyuma Yakuwa alabula abasajja mu kirooto obutaddayo eri Kerode. Bwe kityo baddayo mu nsi yaabwe nga bayita mu kkubo eddala.

Kerode bw’amanya nti abasajja abaava Ebuvanjuba bazzeeyo ewaabwe, anyiiga nnyo. Bwe kityo awa ekiragiro okutta abaana bonna ab’obulenzi mu Besirekemu okuva ku myaka ebiri okukka wansi. Naye Yakuwa alabula Yusufu mu kirooto nga bukyali, era Yusufu n’ab’omu maka ge basengukira mu Misiri. Oluvannyuma, Yusufu bw’akitegeera nti Kerode afudde, azzaayo Malyamu ne Yesu mu maka gaabwe e Nazaaleesi. Eno Yesu gy’akulira.

Olowooza ani eyaleetera emmunyeenye eyo empya okwaka? Jjukira nti, abasajja baasooka kugenda Yerusaalemi nga bamaze okulaba emmunyeenye. Setaani Omulyolyomi yayagala okutta Omwana wa Katonda, era yakimanya nti Kabaka Kerode owa Yerusaalemi yandigezezzaako okutta omwana oyo. N’olwekyo, Setaani ateekwa okuba nga ye yaleetera emmunyeenye eyo okwaka.

Matayo 2:1-23; Mikka 5:2.

Ebibuuzo