Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yesu Ayigiriza ku Lusozi

Yesu Ayigiriza ku Lusozi

OLUGERO 91

Yesu Ayigiriza ku Lusozi

LABA Yesu atudde. Ayigiriza abantu bano bonna ku lusozi mu Ggaliraaya. Abo abatudde okumpi naye bayigirizwa be. Alonze 12 ku bo okubeera abatume be. Abatume bayigirizwa ba Yesu ab’enjawulo. Omanyi amannya gaabwe?

Waliwo Simooni Peetero ne muganda we Andereya. Ate waliwo Yakobo ne Yokaana, nga nabo ba luganda. Omutume omulala naye ayitibwa Yakobo, era n’omulala ayitibwa Simooni. Abatume babiri bayitibwa Yuda. Omu ye Yuda Isukalyoti, ate Yuda omulala era ayitibwa Saddayo. Ate waliwo Firipo ne Nassanayiri (era ayitibwa Battolomaayo), era ne Matayo ne Tomasi.

Oluvannyuma lw’okukomawo okuva e Samaliya, Yesu yatandika okubuulira omulundi ogusooka nti: ‘Obwakabaka obw’omu ggulu buli kumpi.’ Omanyi obwakabaka obwo kye ki? Ye gavumenti yennyini eya Katonda. Yesu ye kabaka waayo. Ajja kufuga okuva mu ggulu era aleete emirembe ku nsi. Obwakabaka bwa Katonda bujja kufuula ensi yonna olusuku lwa Katonda.

Wano Yesu ayigiriza abantu ku bwakabaka. ‘Eno ye ngeri gye mwandisabyemu,’ bw’atyo bw’annyonnyola. ‘Kitaffe ali mu ggulu, erinnya lyo liweebwe ekitiibwa. Obwakabaka bwo bujje. By’oyagala bikolebwe ku nsi, nga bwe bikolebwa mu ggulu.’ Abantu bangi bagiyita ‘Essaala ya Mukama Waffe.’ Abalala bagiyita Eya ‘Kitaffe.’ Oyinza okugyogera yonna?

Yesu era ayigiriza abantu engeri buli omu gye yandiyisizzaamu munne. ‘Yisa abalala nga bw’oyagala bakuyise,’ bw’atyo bw’agamba. Tosanyuka abalala bwe bakuyisa mu ngeri ennungi? N’olwekyo, Yesu agamba, twandiyisizza abantu abalala mu ngeri ennungi. Tekiriba kirungi nnyo mu lusuku lwa Katonda ku nsi nga buli omu yeeyisa bw’atyo?

Matayo essuula 5 okutuuka ku 7; Matayo 10:1-4.

Ebibuuzo