Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yesu Azuukiza Abafu

Yesu Azuukiza Abafu

OLUGERO 92

Yesu Azuukiza Abafu

OMUWALA gw’olaba wano alina emyaka 12. Yesu akutte omukono gwe, era maama we ne taata we bayimiridde kumpi awo. Omanyi lwaki basanyufu nnyo? Ka tulabe.

Taata w’omuwala musajja wa kitiibwa ayitibwa Yayiro. Lumu muwala we alwala nnyo, era n’ateekebwa mu kitanda. Naye embeera ye terongooka. Yeeyongera kuba bubi. Yayiro ne mukyala we beeraliikirivu nnyo, kubanga kirabika nti muwala waabwe agenda kufa. Ye muwala waabwe yekka. N’olwekyo Yayiro agenda okunoonya Yesu. Awulidde ku byamagero Yesu by’akola.

Yayiro bw’azuula Yesu, asanga abantu bangi bamwetoolodde. Naye Yayiro ayita mu bantu abo n’agwa ku bigere bya Yesu. ‘Muwala wange mulwadde nnyo,’ bw’atyo bw’agamba. ‘Nkusaba ojje omuwonye,’ bw’atyo bwe yeegayirira. Yesu amugamba nti ajja kujja.

Nga batambula, abantu beeyongera okumunyigiriza. Awo, Yesu n’ayimirira. ‘Ani ankutteko?’ bw’atyo bw’abuuza. Yesu awulidde ng’amaanyi gamuvaamu, n’olwekyo akimanyi nti waliwo amukutteko. Naye ani? Ye mukazi abadde omulwadde okumala emyaka 12. Azze n’akwata ku kyambalo kya Yesu, era n’awona!

Kino kireetera Yayiro okuwulira obulungi, kubanga alaba bwe kyanguyira Yesu okuwonya omuntu. Awo omubaka n’ajja. ‘Toteganya Yesu,’ bw’atyo bw’agamba Yayiro. ‘Muwala wo afudde.’ Yesu awulira ebigambo ebyo era n’agamba Yayiro: ‘Teweeraliikirira, ajja kubeera bulungi.’

Bwe batuuka mu nnyumba ya Yayiro, abantu bakaaba olw’ennaku ennyingi. Naye Yesu agamba: ‘Temukaaba. Omwana tafudde. Yeebase.’ Naye basekerera Yesu, kubanga bamanyi nti afudde.

Awo, Yesu atwala taata w’omuwala ne maama we awamu n’abatume be basatu mu kisenge omwana gy’ali. Amukwata omukono era n’agamba: ‘Golokoka!’ Era aba mulamu nate, nga bw’olaba wano. Era ayimuka n’atambula! Eyo ye nsonga lwaki maama we ne taata we basanyufu nnyo.

Ono si ye muntu Yesu gw’asoose okuzuukiza mu bafu. Eyasooka Baibuli gw’eyogerako ye mutabani wa nnamwandu abeera mu kibuga ky’e Nayini. Oluvannyuma, Yesu azuukiza Lazaalo, mwannyina wa Malyamu ne Maliza. Yesu bw’alifuga nga kabaka wa Katonda, ajja kukomyawo abantu bangi nnyo mu bulamu. Ekyo tetwandikisanyukidde?

Lukka 8:40-56; 7:11-17; Yokaana 11:17-44.

Ebibuuzo