Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yesu Aliisa Abantu Bangi

Yesu Aliisa Abantu Bangi

OLUGERO 93

Yesu Aliisa Abantu Bangi

EKINTU ekibi kibaddewo. Yokaana Omubatiza yaakamala okuttibwa. Kerodiya, mukyala wa kabaka, yali tamwagala. Era yaleetera kabaka okutemako omutwe ga Yokaana.

Yesu bw’awulira kino, anakuwala nnyo. Agenda mu kifo ekimu ekitaliimu bantu n’abeera yekka. Naye abantu bamugoberera. Yesu bw’alaba ebibiina by’abantu, abasaasira. N’olwekyo ababuulira ku bwakabaka bwa Katonda, era awonya n’abalwadde baabwe.

Akawungeezi ako abayigirizwa be bajja gy’ali ne bamugamba: ‘Obudde buwungedde, era ekifo kino tekibeeramu bantu. Gamba abantu bagende beegulire emmere mu byalo ebiriraanyewo.’

‘Tekibeetaagisa kugenda,’ bw’atyo Yesu bw’addamu. ‘Mmwe mubawe eky’okulya.’ Akyukira Firipo n’amubuuza: ‘Wa we tuyinza okugula emmere okuliisa abantu bano bonna?’

‘Kijja kwetaagisa ssente nnyingi okugula emmere emala buli omu asobole okufunako,’ bw’atyo Firipo bw’addamu. Andereya agamba: ‘Omwana ono, asitudde emmere yaffe, alina emigaati etaano n’ebyennyanja bibiri. Naye tebiyinza kumala bantu bano bonna.’

‘Mugambe abantu batuule wansi ku muddo,’ bw’atyo Yesu bw’agamba. Awo yeebaza Katonda emmere eyo, era n’atandika okugimenyaamenyamu. Ekiddako, abayigirizwa bagabira abantu bonna emigaati n’ebyennyanja. Waliwo abasajja 5,000, era n’enkumi n’enkumi z’abakazi n’abaana. Bonna balya okutuusa bwe bakutta. Era abayigirizwa bwe bakuŋŋaanya ebifisseewo, bivaamu ebibbo 12!

Kati Yesu agamba abayigirizwa be okulinnya eryato bagende emitala w’Ennyanja Ggaliraaya. Ekiro ekyo, wabaawo embuyaga ey’amaanyi, era amayengo gasunda eryato. Abayigirizwa batya nnyo. Awo, ekiro mu ttumbi, balaba omuntu atambulira ku mazzi ng’ajja gye bali. Bawoggana olw’okutya, kubanga tebategeera kye balaba.

‘Temutya,’ bw’atyo Yesu bw’agamba. ‘Ye nze!’ Naye era tebakikkiriza. Bwe kityo Peetero agamba: ‘Bw’oba nga ggwe Mukama waffe yennyini, ŋŋamba ntambulire ku mazzi nzije gy’oli.’ Yesu amuddamu nti: ‘Jjangu!’ Era Peetero ava mu lyato n’atambulira ku mazzi! Awo afuna entiisa era n’atandika okukka mu mazzi, naye Yesu amuwonya.

Oluvannyuma, Yesu addamu okuliisa enkumi n’enkumi z’abantu. Ku luno akozesa emigaati musanvu n’ebyennyanja bitono. Era buli omu afuna ebimala. Engeri Yesu gy’alabiriramu abantu teyeewuunyisa? Bw’alifuga nga kabaka wa Katonda tetujja kweraliikirira kintu kyonna!

Matayo 14:1-32; 15:29-38; Yokaana 6:1-21.

Ebibuuzo