Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri Yesu gy’Ayigirizaamu

Engeri Yesu gy’Ayigirizaamu

OLUGERO 95

Engeri Yesu gy’Ayigirizaamu

LUMU Yesu agamba omusajja nti asaanidde okwagala muliraanwa we. Omusajja abuuza Yesu: ‘Muliraanwa wange y’ani?’ Yesu amanyi omusajja ono ky’alowooza. Omusajja ono alowooza nti abantu ab’eggwanga lye n’eddiini ye be baliraanwa be. N’olwekyo ka tulabe Yesu ky’amugamba.

Emirundi egimu Yesu ayigiriza ng’agera olugero. Kino ky’akola kati. Agera olugero olukwata ku Muyudaaya n’Omusamaliya. Twamaze okuyiga nti Abayudaaya abasinga obungi tebaagala Basamaliya. Luno lwe lugero lwa Yesu:

Lumu Omuyudaaya yali akkirira mu luguudo oluyita mu nsozi ng’agenda e Yeriko. Naye ababbi ne bamulumba. Baatwala ssente ze era ne bamukuba nnyo kumpi okumutta.

Oluvannyuma, kabona Omuyudaaya, n’ajja ng’atambula mu luguudo olwo. Yalaba omusajja gwe bakubye. Olowooza yakola ki? Yasala oluguudo n’adda ku luuyi olulala n’agenda. Awo ate omusajja omulala munnaddiini n’ajja ng’atambula mu kkubo eryo. Yali Muleevi. Yayimirira? Nedda, naye teyayimirira kuyamba musajja gwe bakubye. Oyinza okulaba kabona n’Omuleevi mu luguudo nga bagenda.

Naye laba ali n’omusajja gwe bakubye. Musamaliya. Era ayamba Omuyudaaya. Asiiga eddagala ku biwundu bye. Oluvannyuma, atwala Omuyudaaya oyo mu kifo gy’ayinza okuwummulira n’okuwona.

Oluvannyuma lw’okugera olugero lwe, Yesu abuuza omusajja eyamubuuzizza ekibuuzo: ‘Olowooza ani ku bano abasatu eyeeyisa nga muliraanwa w’omusajja gwe baakuba? Yali kabona, Omuleevi oba Omusamaliya?’

Omusajja addamu: ‘Omusajja Omusamaliya. Yalaga ekisa eri omusajja gwe baakuba.’

Yesu amugamba: ‘Oli mutuufu. N’olwekyo genda oyise abalala nga bwe yakola.’

Toyagala ngeri Yesu gy’ayigirizaamu? Tuyinza okuyiga ebintu bingi nnyo ebikulu singa tuwuliriza Yesu by’agamba mu Baibuli, si bwe kiri?

Lukka 10:25-37.

Ebibuuzo