Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yesu Awonya Abalwadde

Yesu Awonya Abalwadde

OLUGERO 96

Yesu Awonya Abalwadde

NGA Yesu atambula mu ggwanga lyonna, awonya abalwadde. Amawulire agakwata ku by’amagero bino gabuulirwa mu byalo ne mu bibuga ebyetooloddewo. N’olwekyo abantu bamuleetera abalema, abazibe b’amaaso, bakiggala, n’abalala bangi abalwadde. Era bonna Yesu abawonya.

Waakayitawo emyaka egisukka mu esatu okuva Yokaana bwe yabatiza Yesu. Era Yesu abuulira abatume be nti mu kiseera ekitali kya wala ajja kugenda e Yerusaalemi, gy’aggya okuttirwa, ate azuukire okuva mu bafu. Ng’ekyo tekinnabaawo, Yesu yeeyongera okuwonya abalwadde.

Lumu Yesu aba ayigiriza ku Ssabbiiti. Ssabbiiti lunaku Abayudaaya lwe bawummulirako. Omukazi gw’olaba awo abadde mulwadde nnyo. Okumala emyaka 18 omugongo gwe gubadde gweweseemu nga tasobola kwegolola. Awo Yesu amuteekako emikono gye, era n’ayimirira. Awonye!’

Kino kinyiiza nnyo abakulembeze b’eddiini. ‘Waliwo ennaku mukaaga mwe tusaanidde okukola,’ bw’atyo omu ku bo bw’agamba ekibiina. ‘Ezo ze nnaku ez’okujja okuwonyezebwamu, so si ku Ssabbiiti!’

Naye Yesu addamu: ‘Mmwe abasajja ababi. Buli omu ku mmwe ayinza okusumulula endogoyi ye n’agitwala okunywa amazzi ku Ssabbiiti. Kati olwo omukazi ono omunaku, abadde omulwadde okumala emyaka 18, teyandiwonyezeddwa ku Ssabbiiti?’ Yesu by’addamu biswaza abasajja bano ababi.

Oluvannyuma, Yesu n’abatume be batambula okugenda e Yerusaalemi. Nga banaatera okuyingira ekibuga Yeriko, abazibe babiri abaali basabiriza bawulira nti Yesu ayitawo. N’olwekyo bawoggana: ‘Yesu, tuyambe!’

Yesu ayita bamuzibe abo n’ababuuza: ‘Mwagala mbakolere ki?’ Baddamu: ‘Mukama waffe, zibula amaaso gaffe.’ Yesu akwata ku maaso gaabwe, era amangu ago batandika okulaba! Omanyi lwaki Yesu akola eby’amagero bino byonna eby’ekitalo? Olw’okuba ayagala abantu era ayagala bamukkirize. N’olwekyo, tuyinza okubeera abakakafu nti bw’anaafuga nga Kabaka tewali n’omu ku nsi alirwala nate.

Matayo 15:30, 31; Lukka 13:10-17; Matayo 20:29-34.

Ebibuuzo