Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Mu Kisenge Ekya Waggulu

Mu Kisenge Ekya Waggulu

OLUGERO 99

Mu Kisenge Ekya Waggulu

KAAKATI Lwakuna ekiro, nga wayiseewo ennaku bbiri. Yesu n’abatume be 12 bazze mu kisenge kino ekinene ekya waggulu okulya ekijjulo ky’Okuyitako. Omusajja gw’olaba ng’afuluma ye Yuda Isukalyoti. Agenda kutegeeza bakabona engeri gye bayinza okukwatamu Yesu.

Olunaku olwayise, Yuda yagenda gye bali n’ababuuza: ‘Munaampa ki singa mbayamba okukwata Yesu?’ Baamuddamu: ‘Ebitundu bya ffeeza asatu.’ N’olwekyo kati Yuda agenda kusisinkana basajja bano abaleete eri Yesu. Ekyo si kibi nnyo?

Ekijjulo ky’Okuyitako kiwedde. Naye kati Yesu atandikawo ekijjulo ekirala eky’enjawulo. Awa abatume be omugaati n’agamba: ‘Mugulye, kubanga gutegeeza omubiri gwange oguliweebwayo ku lwammwe.’ Awo, n’abawa ekikompe ky’enviinyo n’agamba: ‘Muginywe, kubanga etegeeza omusaayi gwange, oguliyiibwa ku lwammwe.’ Baibuli ekiyita ‘ekijjulo kya Mukama waffe eky’akawungeezi,’ oba ‘eky’ekiro kya Mukama waffe.’

Abaisiraeri balya ekijjulo ky’Okuyitako okubajjukiza ekiseera ekyo Malayika wa Katonda bwe ‘yayita’ ku nnyumba zaabwe mu Misiri, n’atta ababereberye mu nnyumba z’Abamisiri. Naye kati Yesu ayagala abagoberezi be okumujjukira, n’engeri gye yawaayo obulamu bwe ku lwabwe. Era ye nsonga lwaki abagamba okukuza ekijjulo kino eky’enjawulo buli mwaka.

Oluvannyuma lw’okulya Eky’Ekiro kya Mukama Waffe, Yesu ategeeza abatume be okubeera abazira era abanywevu mu kukkiriza. Mu nkomerero, bayimba ennyimba ezitendereza Katonda ne balyoka bagenda. Obudde buyise nnyo kati, oboolyawo bususse ne mu ssaawa omukaaga ogw’ekiro. Ka tulabe gye bagenda.

Matayo 26:14-30; Lukka 22:1-39; Yokaana essuula 13 okutuuka ku 17; 1 Abakkolinso 11:20.

Ebibuuzo