Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Mu Kisenge Ekisibe

Mu Kisenge Ekisibe

OLUGERO 103

Mu Kisenge Ekisibe

PEETERO ne Yokaana bwe bava ku ntaana omulambo gwa Yesu gye gwali, Malyamu asigalayo yekka. Atandika okukaaba. Awo n’akutama n’atunula mu ntaana, nga bwe twalabye mu kifaananyi ekivuddeko. Alabayo bamalayika babiri! Bamubuuza: ‘Lwaki okaaba?’

Malyamu abaddamu: ‘Mukama wange bamututte, era simanyi gye bamutadde.’ Awo Malyamu n’akyuka era n’alaba omusajja. Omusajja amubuuza: ‘Ani gw’onoonya?’

Malyamu alowooza nti omusajja oyo ye mukuumi w’olusuku, era nti ayinza okuba ye yatutte omulambo gwa Yesu. N’olwekyo amugamba: ‘Bw’oba gw’omututte, mbuulira gy’omutadde.’ Naye mazima ddala, omusajja oyo ye Yesu. Ayambadde omubiri Malyamu gw’atategeera. Naye bw’ayita Malyamu erinnya lye, Malyamu amanya nti ye Yesu. Adduka n’agamba abayigirizwa: ‘Mukama waffe mmulabye!’

Oluvannyuma, ng’abayigirizwa babiri bagenda mu kyalo ky’e Emawo, omusajja abeegattako. Abayigirizwa banakuwavu nnyo kubanga Yesu attiddwa. Naye nga batambula, omusajja abannyonnyola ebintu bingi okuva mu Baibuli ne kibaleetera okuwulira obulungi. Mu nkomerero, bwe bawummulamu okulya emmere, abayigirizwa bakitegeera nti omusajja ono ye Yesu. Awo Yesu n’abulawo, era abayigirizwa bano ababiri mangu baddayo e Yerusaalemi okutegeeza abatume.

Nga bino bigenda mu maaso, Yesu alabikira Peetero. Abalala babuguumirira bwe bawulira kino. Awo abayigirizwa bano ababiri bagenda e Yerusaalemi okunoonya abatume. Babategeeza engeri nabo Yesu gye yabalabikidde nga bali mu kkubo. Era bwe baali boogera bino, omanyi ekintu ekyewuunyisa ekibaawo?

Tunuulira ekifaananyi. Yesu abalabikira awo mu kisenge, wadde ng’oluggi lusibe. Abatume nga basanyuka nnyo! Olwo si lunaku lwa ssanyu nnyo? Omanyi emirundi emeka Yesu gye yaakalabikira abagoberezi be? Obaze emirundi etaano?

Omutume Tomasi tali nabo Yesu bw’abalabikira. N’olwekyo abayigirizwa bamugamba: ‘Tulabye Mukama waffe!’ Naye Tomasi agamba nti alina kusooka kulaba Yesu okusobola okukikkiriza. Nga wayiseewo ennaku munaana abayigirizwa bali wamu nate mu kisenge ekisibe, era ku luno Tomasi ali nabo. Amangu ago, Yesu abalabikira mu kisenge. Kati Tomasi akkiriza.

Yokaana 20:11-29; Lukka 24:13-43.

Ebibuuzo