Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yesu Addayo mu Ggulu

Yesu Addayo mu Ggulu

OLUGERO 104

Yesu Addayo mu Ggulu

ENNAKU bwe ziyitawo, Yesu alabikira abagoberezi be emirundi mingi. Lumu abayigirizwa nga 500 bamulaba. Bw’abalabikira, omanyi Yesu ky’ababuulira? Obwakabaka bwa Katonda. Yakuwa yatuma Yesu ku nsi okuyigiriza ku Bwakabaka. Era yeeyongera okukola ekyo n’oluvannyuma lw’okuzuukizibwa mu bafu.

Ojjukira Obwakabaka bwa Katonda kye buli? Yee, Obwakabaka gavumenti yennyini eya Katonda eri mu ggulu, era Yesu y’Oyo Katonda gwe yalonda okubeera kabaka waayo. Nga bwe tuyize, Yesu yalaga nga bw’alibeera kabaka ow’ekitalo ng’aliisa abalumwa enjala, ng’awonya abalwadde, era ng’azuukiza n’abafu!

N’olwekyo, Yesu bw’alifuga nga kabaka mu ggulu okumala emyaka lukumi, embeera eribeera etya ku nsi? Yee, ensi yonna ejja kufuuka olusuku lwa Katonda olulabika obulungi. Tewalibaawo ntalo, bumenyi bw’amateeka, bulwadde, wadde okufa. Tumanyi nti kiriba bwe kityo kubanga Katonda yakola ensi okubeera olusuku olulungi abantu balweyagaliremu. Eyo ye nsonga lwaki yakola olusuku Adeni ku lubereberye. Era Yesu ajja kukakasa nti Katonda by’ayagala bikolebwe bituukirizibwa.

Kati ekiseera kituuka Yesu okuddayo mu ggulu. Okumala ennaku 40 Yesu abadde alabikira abayigirizwa be. N’olwekyo bakakafu nti mulamu nate. Naye nga tannaleka bayigirizwa be abagamba: ‘Musigale mu Yerusaalemi okutuusa bwe mulifuna omwoyo omutukuvu.’ Omwoyo omutukuvu ge maanyi ga Katonda agakola, okufaananako empewo ekunta, agajja okuyamba abagoberezi be okukola Katonda by’ayagala. Mu nkomerero, Yesu abagamba: ‘Mujja kubuulira ebinkwatako okutuuka mu bitundu by’ensi ebikomererayo.’

Yesu bw’amala okwogera bino, ekintu ekyewuunyisa kibaawo. Atandika okwambuka mu ggulu, nga bw’olaba awo mu kifaananyi. Awo ekire ne kimusiikiriza, era abayigirizwa tebaddamu kulaba Yesu. Yesu agenda mu ggulu, era n’atandika okufuga abagoberezi be abali ku nsi.

1 Abakkolinso 15:3-8; Okubikkulirwa 21:3, 4; Ebikolwa 1:1-11.

Ebibuuzo