Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Timoseewo—Omuyambi wa Pawulo Omuppya

Timoseewo—Omuyambi wa Pawulo Omuppya

OLUGERO 110

TimoseewoOmuyambi wa Pawulo Omuppya

OMUVUBUKA gw’olaba wano n’omutume Pawulo ye Timoseewo. Timoseewo abeera n’ab’ewaabwe mu Lusitula. Maama we ayitibwa Ewuniike, ate jjajjaawe Looyi.

Guno gwe mulundi ogw’okusatu Pawulo okukyalira Lusitula. Omwaka nga gumu emabega, Pawulo ne Balunabba bajja wano nga bali ku lugendo olw’okubuulira. Ate kati Pawulo akomyewo ne mukwano gwe Siira.

Omanyi Pawulo ky’agamba Timoseewo? ‘Oyagala okwegatta ku Siira nange?’ bw’atyo bw’abuuza. ‘Oyinza okutuyambako nga tubuulira abantu mu bifo ebyesudde.’

‘Yee,’ bw’atyo Timoseewo bw’addamu, ‘Njagala okugenda.’ Amangu ddala oluvannyuma lw’ekyo Timoseewo aleka ab’ewaabwe n’agenda ne Pawulo ne Siira. Naye nga tetunnayiga ebikwata ku lugendo lwabwe, ka tulabe Pawulo by’ayiseemu. Waakayitawo emyaka 17 okuva Yesu bwe yamulabikira ng’agenda e Ddamasiko.

Jjukira, Pawulo yagenda e Ddamasiko okuyigganya abayigirizwa ba Yesu, kyokka kati naye muyigirizwa! Oluvannyuma, abalabe bagezaako okukola olukwe okutta Pawulo kubanga tebaagala by’ayigiriza ku Yesu. Naye abayigirizwa bayamba Pawulo okudduka. Bamuteeka mu kisero ne bamussa ebweru w’ekisenge ky’ekibuga.

Oluvannyuma, Pawulo agenda mu Antiyokiya okubuulira. Mu kifo kino abagoberezi ba Yesu we basooka okuyitibwa Abakristaayo. Awo Pawulo ne Balunabba basindikibwa okuva mu Antiyokiya okugenda okubuulira mu nsi ezeesudde. Ekimu ku bibuga bye bakyalira ye Lusitula, Timoseewo gy’abeera.

Kati, nga wayiseewo omwaka, Pawulo akomawo e Lusitula ng’ali ku lugendo lwe olw’okubiri. Timoseewo bw’agenda ne Pawulo ne Siira, omanyi gye bagenda? Tunuulira mmaapu eyo, era ka tulabe ebimu ku bifo ebyo.

Okusooka, bagenda e Ikoniyo ekiri okumpi, awo ate ne bagenda mu kibuga eky’okubiri ekiyitibwa Antiyokiya. Oluvannyuma lw’ekyo bagenda e Tulowa, ate ne bagenda e Firipi, Ssessaloniika, n’e Beroya. Olaba Asene ku mmaapu? Pawulo abuulirayo. Oluvannyuma lw’ekyo bamala omwaka gumu n’ekitundu nga babuulira mu Kkolinso. Mu nkomerero bayimirirako katono mu Efeso. Awo ne bakomawo e Kayisaliya nga bakozesa eryato, ate ne bagenda mu Antiyokiya, Pawulo gy’abeera.

N’olwekyo Timoseewo atambula ebikumi n’ebikumi bya mayiro ng’ayambako Pawulo okubuulira “amawulire amalungi” era n’okutandika ebibiina by’Ekikristaayo bingi. Bw’onookula, onoobeera omuweereza wa Katonda omwesigwa nga Timoseewo?

Ebikolwa 9:19-30; 11:19-26; essuula 13 okutuuka ku 17; 18:1-22.

Ebibuuzo