Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Pawulo mu Rooma

Pawulo mu Rooma

OLUGERO 113

Pawulo mu Rooma

LABA enjegere ezisibiddwa Pawulo, era laba omuserikale Omuruumi amukuuma. Pawulo musibe mu Rooma. Alindirira Kayisaali Omuruumi ky’anaasalawo okumukola. Nga musibe, abantu bakkirizibwa okumukyalira.

Nga wayiseewo ennaku ssatu okuva Pawulo bwe yatuuka e Rooma, atumya abakulembeze b’Abayudaaya abamu bajje okumulaba. N’ekivaamu, Abayudaaya bangi mu Rooma bajja. Pawulo ababuulira ku Yesu n’obwakabaka bwa Katonda. Abamu bakkiriza ne bafuuka Abakristaayo, naye abalala tebakkiriza.

Pawulo era abuulira abaserikale ab’enjawulo abamukuuma. Emyaka ebbiri gy’amala wano ng’omusibe, Pawulo abuulira buli omu gw’asobola okwogera naye. N’ekivaamu, n’ab’omu maka ga Kayisaali bawulira ku mawulire amalungi ag’Obwakabaka, era abamu ku bo bafuuka Bakristaayo.

Naye omugenyi ono ali ku mmeeza ng’awandiika y’ani? Osobola okumuteeba? Yee, ye Timoseewo. Timoseewo naye yali asibiddwa mu kkomera olw’okubuulira ku Bwakabaka, naye kati asumuluddwa. Era azze wano okuyamba Pawulo. Omanyi Timoseewo ky’awandiika? Ka tulabe.

Ojjukira ebibuga by’e Firipi ne Efeso mu Lugero 110? Pawulo yayamba okutandika ebibiina by’Ekikristaayo mu bibuga ebyo. Kati ng’ali mu kkomera, Pawulo awandiikira Abakristaayo bano amabaluwa. Amabaluwa gano gali mu Baibuli, era gayitibwa Abaefeso ne Abafiripi. Kati Pawulo agamba Timoseewo eby’okuwandiikira mikwano gyabwe Abakristaayo abali mu Firipi.

Abafiripi babadde ba kisa nnyo eri Pawulo. Baamuweereza ekirabo ng’ali wano mu kkomera, n’olwekyo Pawulo abeebaza. Epafuloddito ye yaleeta ekirabo ekyo. Naye yalwala nnyo era katono afe. Kati assuuse era yeetegeka okuddayo eka. Ajja kutwala ebbaluwa eno okuva eri Pawulo ne Timoseewo ng’addayo e Firipi.

Ng’ali mu kkomera Pawulo awandiika ebbaluwa endala bbiri ze tulina mu Baibuli. Emu yagiwandiikira Abakristaayo ab’omu Kkolosaayi. Omanyi bw’eyitibwa? Abakkolosaayi. Endala yagiwandiikira mukwano gwe ow’oku lusegere ayitibwa Firemooni nga naye abeera mu Kkolosaayi. Ebbaluwa eno ekwata ku Onnessimo omuddu wa Firemooni.

Onnessimo yadduka okuva ewa Firemooni n’ajja e Rooma. Onnessimo yasobola okumanya nti Pawulo ali wano mu kkomera. Yajja okumukyalira, era Pawulo yabuulira Onnessimo. Mu kaseera katono Onnessimo naye yafuuka Omukristaayo. Kati Onnessimo munakuwavu olw’okuba yadduka. Kati omanyi Pawulo by’awandiikira Firemooni mu bbaluwa eyo?

Pawulo asaba Firemooni okusonyiwa Onnessimo. ‘Muweerezza gy’oli,’ bw’atyo Pawulo bw’awandiika. ‘Naye kati si muddu wo kyokka. Era muganda wo Omukristaayo omulungi.’ Onnessimo bw’addayo e Kkolosaayi atwala ebbaluwa zino ebbiri, emu eri Abakkolosaayi ate endala eri Firemooni. Tuyinza okuteebereza essanyu Firemooni lye yalina bwe yamanya nti omuddu we afuuse Mukristaayo.

Pawulo bw’awandiikira Abafiripi ne Firemooni, aba alina amawulire amalungi ennyo. ‘Mbaweerezza Timoseewo,’ bw’atyo Pawulo bw’agamba Abafiripi. ‘Naye nange mu kaseera katono nja kubakyalira.’ Era eri Firemooni, awandiika: ‘Ntegekera ekifo aw’okubeera.’

Pawulo bw’asumululwa akyalira baganda be ne bannyina Abakristaayo mu bifo bingi. Naye oluvannyuma Pawulo addamu okusibibwa mu Rooma. Ku luno amanyi nti agenda kuttibwa. N’olwekyo awandiikira Timoseewo n’amusaba okujja amangu. ‘Mbadde mwesigwa eri Katonda,’ bw’atyo Pawulo bw’awandiika, ‘era Katonda ajja kumpa empeera.’ Nga wayiseewo emyaka mitono nga Pawulo amaze okuttibwa, Yerusaalemi kiddamu okuzikirizibwa, ku luno nga kizikirizibwa Abaruumi.

Naye Baibuli erimu ebintu ebirala bingi. Yakuwa Katonda akozesa omutume Yokaana okuwandiika ebitabo ebisembayo mu Baibuli, nga mw’otwalidde n’ekitabo ky’Okubikkulirwa. Ekitabo kino ekya Baibuli kitutegeeza ebikwata ku biseera eby’omu maaso. Kati ka tuyige ebiri mu biseera eby’omu maaso.

Ebikolwa 28:16-31; Abafiripi 1:13; 2:19-30; 4:18-23; Abebbulaniya 13:23; Firemooni 1-25; Abakkolosaayi 4:7-9; 2 Timoseewo 4:7-9.

Ebibuuzo