Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Enkomerero y’Obubi Bwonna

Enkomerero y’Obubi Bwonna

OLUGERO 114

Enkomerero y’Obubi Bwonna

KIKI ky’olaba wano? Yee, eggye eriri ku mbalaasi enjeru. Naye laba gye ziva. Embalaasi zikka okuva mu ggulu nga ziri ku bire! Mazima ddala mu ggulu eriyo embalaasi?

Nedda, embalaasi zino si za ddala. Ekyo tukimanyi kubanga embalaasi tezisobola kuddukira ku bire, zisobola? Naye Baibuli eyogera ku mbalaasi mu ggulu. Omanyi lwaki eyogera bw’etyo?

Lwa kuba edda embalaasi zaakozesebwanga nnyo mu kulwana entalo. N’olwekyo Baibuli eyogera ku bantu abali ku mbalaasi nga bakka okuva mu ggulu okulaga nti Katonda alina olutalo lw’ajja okulwana n’abantu ku nsi. Omanyi ekifo awalibeera olutalo luno bwe kiyitibwa? Kalumagedoni. Olutalo olwo lujja kumalawo obubi bwonna ku nsi.

Yesu y’Ajja okuwoma omutwe mu kulwana olutalo luno ku Kalumagedoni. Jjukira nti Yesu y’oyo Yakuwa gwe yalonda okubeera kabaka mu gavumenti Ye. Eyo ye nsonga lwaki Yesu ayambadde engule ya kabaka. Era ekitala kiraga nti ajja kutta abalabe ba Katonda bonna. Kyanditwewuunyisizza nti Katonda ajja kuzikiriza abantu ababi bonna?

Ddamu otunuulire Olugero 10. Kiki ky’olaba awo? Yee, amataba ag’amaanyi agaazikiriza abantu ababi. Ani yaleeta Amataba ago? Yakuwa Katonda. Kati ate tunuulira Olugero 15. Kiki ekigenda mu maaso awo? Sodomu ne Ggomola bizikirizibwa omuliro Yakuwa gwe yasindika.

Bikkula Olugero 33. Laba ekituuka ku mbalaasi n’amagaali ag’entalo ag’Abamisiri. Ani yaleetera amazzi okubasaanyawo? Yakuwa. Yakikola okukuuma abantu be. Tunuulira Olugero 76. Awo ojja kulaba nti Yakuwa yaleka abantu be, Abaisiraeri, okuzikirizibwa olw’obubi bwabwe.

N’olwekyo, tekyanditwewuunyisizza nti Yakuwa ajja kusindika amagye ge ag’omu ggulu okukomya obubi bwonna ku nsi. Naye lowooza ekyo kye kiritegeeza! Bikkula olupapula tulabe.

Okubikkulirwa 16:16; 19:11-16.

Ebibuuzo