Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri gye Tuyinza Okuba Abalamu Emirembe Gyonna

Engeri gye Tuyinza Okuba Abalamu Emirembe Gyonna

OLUGERO 116

Engeri gye Tuyinza Okuba Abalamu Emirembe Gyonna

OMANYI akawala ako akato n’emikwano gyako kye basoma? Yee, kye kitabo kino kyennyini ky’osoma—Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli. Era basoma olugero lwennyini lw’osoma kati “Engeri Gye Tuyinza Okuba Abalamu Emirembe Gyonna.”

Omanyi kye bayiga? Ekisooka, nti twetaaga okumanya Yakuwa n’Omwana we Yesu bwe tuba ab’okuba abalamu emirembe gyonna. Baibuli egamba: ‘Eno ye ngeri ey’okuba omulamu emirembe gyonna. Yiga ku Katonda omu ow’amazima, n’Omwana gwe yatuma ku nsi, Yesu Kristo.’

Tuyinza tutya okuyiga ku Yakuwa Katonda n’Omwana we Yesu? Engeri emu kwe kusoma Ekitabo Kyange eky’Engero za Baibuli okuva ku ntandikwa okutuuka ku nkomerero. Kyogera bingi ku Yakuwa ne Yesu, si bwe kiri? Era kyogera ku bintu bye bakoze era n’ebintu bye bajja okukola. Naye tuteekwa okukola ekisingawo ku kusoma obusomi ekitabo kino.

Olaba ekitabo ekirala ekyo ekiri wansi? Ye Baibuli. Saba omuntu akusomere ebitundu bya Baibuli engero z’omu kitabo kino kwe zeesigamiziddwa. Baibuli etumanyisa mu bujjuvu bye twetaaga okusobola okuweereza Yakuwa mu ngeri entuufu era n’okufuna obulamu obutaggwaawo. N’olwekyo, twandigifudde empisa yaffe okuyiga Baibuli.

Naye okuyiga obuyizi ku Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo tekimala. Tuyinza okumanya bingi nnyo ebibakwatako, enjigiriza zaabwe, naye ne tutafuna bulamu obutaggwaawo. Omanyi ekirala ekyetaagisa?

Era twetaaga okuteeka mu nkola bye tuyiga. Ojjukira Yuda Isukalyoti? Yali omu ku 12 Yesu be yalonda okubeera abatume be. Yuda yali amanyi bingi ebikwata ku Yakuwa ne Yesu. Naye kiki ekyamutuukako? Oluvannyuma lw’ekiseera, yatandika okwerowoozaako yekka, era yalyamu Yesu olukwe n’amuwaayo eri abalabe be olw’ebitundu bya ffeeza 30. N’olwekyo Yuda tajja kufuna bulamu butaggwaawo.

Ojjukira Gekazi, omusajja gwe twayigako mu Lugero 69? Yayagala okutwala engoye n’essente ebitaali bibye. N’olwekyo, yalimba okusobola okufuna ebintu bino. Naye Yakuwa yamubonereza. Era naffe ajja kutubonereza singa tetugondera mateeka ge.

Naye waliwo abantu bangi abalungi abaaweerezanga Yakuwa n’obwesigwa. Twagala okubeera nga bo, si bwe kiri? Samwiri omuto kyakulabirako kirungi eky’okugoberera. Jjukira nti, nga bwe twalaba mu Lugero 55, yalina emyaka ena oba etaano bwe yatandika okuweereza Yakuwa mu weema. N’olwekyo k’obeere muto kwenkana wa, toli muto nnyo kuweereza Yakuwa.

Kya lwatu omuntu ffenna gwe twagala okugoberera ye Yesu Kristo. Ne bwe yali omulenzi omuto, nga bwe kiragibwa mu Lugero 87, yali mu yeekaalu ng’ayogera n’abalala ku Kitaawe ow’omu ggulu. Ka tugoberere ekyokulabirako kye. Ka tubuulire abantu bangi nga bwe kisoboka ku Katonda waffe ow’ekitalo Yakuwa, era n’Omwana we, Yesu Kristo. Bwe tunaakola ebintu bino, olwo nno tujja kusobola okuba abalamu emirembe gyonna mu lusuku lwa Katonda oluppya ku nsi.

Yokaana 17:3; Zabbuli 145:1-21.

Ebibuuzo