Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obukadde n’Obukadde bw’Ebitonde eby’Omwoyo

Obukadde n’Obukadde bw’Ebitonde eby’Omwoyo

Baibuli etubuulira nti waliwo abantu ab’omwoyo bangi nnyo. Yakuwa kennyini mwoyo.​—Yokaana 4:24; 2 Abakkolinso 3:17, 18.

Ekiseera kimu Yakuwa yali yekka mu bwengula bw’obutonde. Awo n’atandika okutonda abantu ab’emyoyo abayitibwa bamalayika. Ba maanyi nnyo era ba magezi aga waggulu okusinga abantu. Yakuwa yatonda bamalayika bangi; Danyeri omuweereza wa Katonda, mu kwolesebwa, yalaba bamalayika obukadde kikumi.​—Danyeri 7:10; Abebbulaniya 1:7.

Bamalayika bano baatondebwa Katonda nga tannaba na kutonda nsi. (Yobu 38:4-7) Tewali n’omu ku bo bali bantu ababeerako ku nsi ne bafa.

Omwoyo omukulu, Yakuwa, yatonda obukadde n’obukadde bw’abantu ab’omwoyo