Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Obujeemu mu Ttwale ery’Emyoyo

Obujeemu mu Ttwale ery’Emyoyo

Setaani bwe yakozesa omusota okwogera ne Kaawa, Kaawa yamwegattako mu kujeemera Katonda

Abantu ab’omwoyo bonna Yakuwa be yatonda baali balungi. Awo malayika omu n’ayonooneka. Ye Setaani Omulyolyomi. Setaani yayagala abantu ku nsi okumusinza mu kifo kya Yakuwa. Bino bye byaliwo:

Mu lusuku Adeni, mwalimu emiti mingi egyaliko ebibala ebiwooma. Yakuwa n’agamba Adamu ne mukyala we, Kaawa, nti basobola okubiryako nga bwe baagala. Naye waaliwo omuti gumu Katonda gwe yagamba nti tebasaanidde kugulyako. Yagamba nti bwe bandiguliddeko, tebandiremye kufa.​—Olubereberye 2:9, 16, 17.

Lwali lumu Kaawa bwe yali ng’ali yekka omusota ne gwogera naye. Kyo kiri nti omusota ddala si gwe gwayogera; Setaani Omulyolyomi ye yakifaananya ng’omusota ogwali gwogera. Setaani yagamba Kaawa nti singa alya ku kibala ekyagaanibwa, yandibadde n’amagezi nga Katonda. Era yagamba nti teyandifudde. Ebyo byombi bye yamugamba byali bya bulimba. Kyokka, Kaawa yakkiriza Setaani n’alya ekibala ekyo. Oluvannyuma, n’awaako ku Adamu, naye n’alya.​—Olubereberye 3:1-6.

Okuva ku lugero luno olw’amazima, tuyiga nti Setaani mujeemu era mulimba. Yagamba Kaawa nti singa ajeemera Katonda, teyandifudde. Ekyo kyali kya bulimba. Yafa era ne Adamu yafa. Setaani teyafiirawo awo, newakubadde ng’oluvannyuma ajja kufa olw’okuba yayonoona. Naye nno, mu kiseera kino mulamu era yeeyongera okukyamya abantu. Akyali mulimba, era agezaako okumenyesa abantu amateeka ga Katonda.​—Yokaana 8:44.

Bamalayika Abalala Bajeema

Oluvannyuma, bamalayika abalala baayonooneka. Bamalayika bano baalengera abakazi abalabika obulungi ku nsi ne baagala okwebaka awamu nabo. Bwe kityo ne bajja ku nsi era ne beeyambaza emibiri gy’abantu egy’ekisajja. Awo ne beetwalira abakazi. Kino kyali kikontana n’ekigendererwa kya Katonda.​—Olubereberye 6:1, 2; Yuda 6.

Bamalayika ababi bajja ku nsi okukola eby’obugwenyufu n’abakazi

Era kyaleeta emitawaana mingi eri abantu. Bakyala ba bamalayika bano baazaala abaana, naye nga si baana aba bulijjo. Baakula ne bafuuka agantu agatemu era agakambwe. Oluvannyuma, ensi n’ejjula ettemu lya maanyi ne kiba nti Yakuwa yasalawo okuzikiriza abantu ababi ng’akozesa amataba ag’amaanyi. Abantu bokka abaawona Amataba ago baali Nuuwa n’ab’omu maka ge.​—Olubereberye 6:4, 11; 7:23.

Kyokka, bamalayika ababi baddayo mu ttwale ery’emyoyo; tebaafa. Naye baabonerezebwa. Tebakkirizibwa nate mu lulyo lwa Katonda olwa bamalayika abatuukirivu. Ate era, Yakuwa teyabakkiriza kuddamu kweyambaza mibiri gy’abantu. Era oluvannyuma bajja kufa mu kusalirwa omusango okukulu.​—2 Peetero 2:4; Yuda 6.

Setaani Asuulibwa Okuva mu Ggulu

Setaani ne bamalayika be ababi baasuulibwa okuva mu ggulu

Mu matandika g’ekyasa kino, waaliwo olutalo mu ggulu. Ekitabo kya Baibuli ekya Okubikkulirwa kinnyonnyola ekyaliwo: “Ne waba olutalo mu ggulu: Mikaeri [Yesu Kristo eyazuukizibwa] ne bamalayika be [abalungi] nga batabaala okulwana n’ogusota [Setaani]; ogusota ne gulwana ne bamalayika baagwo [ababi]; ne batayinza, so ne watalabika kifo kyabwe nate mu ggulu. N’ogusota ogunene ne gusuulibwa, omusota ogw’edda, oguyitibwa Omulyolyomi era Setaani, omulimba w’ensi zonna; ne gusuulibwa ku nsi, ne bamalayika baagwo [ababi] ne basuulibwa nagwo.”

Kiki ekyavaamu? Ebyawandiikibwa byeyongera nti: “Kale musanyuke, eggulu n’abatuulamu.” Bamalayika abalungi bandisobodde okubeera abasanyufu kubanga Setaani ne bamalayika ababi, oba emyoyo emibi, baali tebakyali mu ggulu. Naye ate bo abantu ku nsi? Baibuli egamba nti: “Zisanze ensi n’ennyanja: kubanga Omulyolyomi asse gye muli ng’alina obusungu bungi, ng’amanyi ng’alina akaseera katono.”​—Okubikkulirwa 12:7-9, 12.

Yee, Setaani ne banne ababi bakyamya era ne baleetera abantu ku nsi emitawaana mingi. Bamalayika bano ababi bayitibwa balubaale. Balabe ba Katonda. Bonna babi.