Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Weereza Yakuwa, Si Setaani

Weereza Yakuwa, Si Setaani

Ffe ffenna tulina okulondawo. Oba kuweereza Yakuwa oba okuweereza Setaani ne balubaale be. Tetuyinza kuweereza bombi. Nga kya magezi okuweereza Yakuwa!

Yakuwa Mulungi

Nga bwe tumaze okulaba, balubaale banyumirwa okulumya n’okulimba abantu. Yakuwa tali bw’atyo. Ayagala abantu nga kitaawe w’abaana bw’ayagala abaana be. Ye Muwi wa “buli kirabo kirungi, na buli kitone kituukirivu.” (Yakobo 1:17) Talina kintu kirungi ky’alemwa kuwa bantu, wadde nga kya muwendo munene gy’ali.​—Abeefeso 2:4-7.

Yesu, Omwana wa Katonda, yalaga okwagala eri abantu ng’abawonya endwadde zaabwe

Lowooza ku bintu Yesu, Omwana wa Katonda, bye yakola ku nsi. Yaleetera bakasiru okwogera era n’azibula abazibe b’amaaso. Yawonya abagenge n’abalema. Yagoba balubaale era n’awonya endwadde ez’engeri zonna. Mu maanyi ga Katonda, Yesu yazuukiza n’abafu.​—Matayo 9:32-35; 15:30, 31; Lukka 7:11-15.

Era mu kifo ky’okwogera eby’obulimba okutukyamya, bulijjo Katonda ayogera mazima. Talina gw’alimba.​—Okubala 23:19.

Weewale Ebikolwa Ebitali Birongoofu

Ng’engoye za nnabbubi bwe zinywereza ddala ekiwuka, obukadde n’obukadde basibiddwa mu bulombolombo obutaliimu era n’obulimba. Batya abafu. Batya balubaale. Beeraliikirira ebikolimo, obubonero obumu, yirizi n’amayembe. Basibiddwa mu njegere enzikiriza n’obulombolombo ebyesigamiziddwa ku bulimba bwa Setaani Omulyolyomi. Abaweereza ba Katonda tebatiisibwatiisibwa na bintu ng’ebyo.

Yakuwa wa maanyi nnyo okusinga Setaani. Bw’oba oweereza Yakuwa, ajja kukukuuma okuva ku balubaale. (Yakobo 4:7) Eddogo teririna kye lijja kukukolako. Ng’ekyokulabirako, mu Nigeria, abaganga basatu ab’amaanyi baasindika eddogo okutta Omujulirwa wa Yakuwa eyali agaanye okuva mu kabuga ako. Eddogo bwe lyagaana okukola, omu ku baganga n’atya, n’agenda eri Omujulirwa, ne yeegayirira okusonyiyibwa.

Abaefeso baayokya ebitabo byabwe eby’obufumu

Singa balubaale bakuteganya, oyinza okukoowoola Yakuwa ng’okozesa erinnya lye era ajja kukukuuma. (Engero 18:10) Naye okusobola okuba n’obukuumi bwa Katonda, oteekwa okwekutulira ddala ku buli kintu kyonna ekyekuusa ku busamize n’okusinza balubaale. Abasinza ba Katonda mu Efeso eky’edda baakola bwe batyo. Baakuŋŋaanya ebitabo byabwe byonna eby’obufumu ne babyokya. (Ebikolwa 19:19, 20) Abaweereza ba Katonda leero bateekwa kukola kye kimu. Weggyeko yirizi, obukomokomo, obuwuziwuzi “obukuuma,” amayembe, ebitabo by’obufumu, na buli kyonna ekyekuusa ku bikolwa eby’obusamize.

Weemanyize Okusinza okw’Amazima

Singa oyagala okusanyusa Katonda, tekimala okulekayo obulesi okusinza okw’obulimba n’okulekera awo okukola ebintu ebibi. Oteekwa okwemanyiiza okusinza okw’amazima. Baibuli eraga ekyetaagibwa:

Gendanga mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo.—Abebbulaniya 10:24, 25

Soma Baibuli.—Yokaana 17:3

Buulira ku balala.—Matayo 24:14

Sabanga Yakuwa.—Abafiripi 4:6, 7

Batizibwa.—Ebikolwa 2:41

Weetabe n’Abajulirwa ba Yakuwa

Setaani ne balubaale balina abantu ku nsi abayigiriza era abakola ebintu ebikyamu. Naye Yakuwa naye alina abantu be. Be Bajulirwa ba Yakuwa. (Isaaya 43:10) Okwetooloola ensi, waliwo Abajulirwa abasukka mu bukadde obuna. Bonna bagezaako okukola ebintu ebirungi n’okuyigiriza abantu amazima. Mu nsi ezisinga obungi, osobola okubasanga ku Kingdom Hall, gye bajja okukwaniriza n’essanyu.

Omulimu gwabwe kwe kuyamba abalala okuweereza Katonda. Bajja kusoma Baibuli naawe mu maka go, nga bakuyamba okuyiga engeri y’okusinzaamu Yakuwa mu ngeri entuufu. Teweetaaga kusasulira kino. Abajulirwa basanyufu okuyigiriza amazima kubanga baagala abantu era baagala Yakuwa Katonda.

Abajulirwa ba Yakuwa bajja kukuyamba okuweereza Katonda