Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ebiseera eby’Omu Maaso eby’Ekitalo

Ebiseera eby’Omu Maaso eby’Ekitalo

Mu bbanga ttono Setaani ne balubaale bajja kuzikirizibwa

Setaani ne balubaale be tebajja kweyongera kulimba bantu bbanga ddene. Yakuwa yamala dda okubasuula okuva mu ggulu. (Okubikkulirwa 12:9) Mu kiseera ekitali kya wala, Katonda ajja kusitukiramu nate eri Setaani ne balubaale be. Mu kwolesebwa okwava eri Katonda, omutume Yokaana yagamba nti: “Ne ndaba malayika ng’akka okuva mu ggulu, ng’alina ekisumuluzo ky’obunnya obutakoma n’olujegere olunene mu mukono gwe. N’akwata ogusota, omusota ogw’edda, ye Mulyolyomi era Setaani, n’agusibira emyaka lukumi, n’agusuula mu bunnya obutakoma n’aggalawo n’ateekako akabonero, gulemenga okulimba amawanga nate okutuusa emyaka lukumi lwe giriggwaako.” (Okubikkulirwa 20:1-3) Oluvannyuma, Omulyolyomi ne balubaale be bajja kuzikirizibwa emirembe gyonna.​—Okubikkulirwa 20:10.

Abantu ababi ku nsi nabo bajja kuzikirizibwa.​—Zabbuli 37:9, 10; Lukka 13:5.

Abafu Bajja Kuba Balamu Nate!

Abafu bajja kudda mu bulamu ku nsi

Oluvannyuma lwa Setaani ne balubaale okuggibwawo, Yakuwa ajja kuleeta emikisa mingi eri abantu. Ojja kukijjukira nti abafu tebalina bulamu, tebaliiwo. Yesu yageraageranya okufa ku tulo​—otulo otw’amaanyi okutaliimu birooto. (Yokaana 11:11-14) Yakola bw’atyo olw’okuba yali amanyi nti ekiseera kyali kya kujja abo abeebase mu kufa bwe bandizuukusiddwa okudda mu bulamu. Yagamba nti: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana . . . ne bavaamu.”​—Yokaana 5:28, 29; geraageranya Ebikolwa 24:15.

Bajja kukomezebwawo mu bulamu wano ku nsi. Mu kifo ky’ebirango nti abantu bafudde, lipoota ez’essanyu zijja kutegeeza ku abo abakomezeddwawo mu bulamu! Nga kijja kuba kya ssanyu okwaniriza abaagalwa okuva emagombe!