Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI

Ow’Omu Maka bw’Alwala

Ow’Omu Maka bw’Alwala

1, 2. Setaani yakozesa atya ennaku n’obulwadde okugezaako okumenya obugolokofu bwa Yobu?

OMUSAJJA Yobu ddala ateekwa okubalirwa mu bantu abaalina obulamu bw’amaka obw’essanyu. Baibuli emuyita “mukulu okusinga abaana bonna ab’ebuvanjuba.” Yalina abaana ab’obulenzi musanvu n’ab’obuwala basatu, bonna awamu be baana kkumi. Era yali asobola bulungi okukola ku byetaago by’ab’omu maka ge. Ekisinga obukulu, yabakulemberanga mu by’omwoyo era ng’afaayo nnyo ku nnyimirira y’abaana be mu maaso ga Yakuwa. Bino byonna byaleetera amaka ge okuba obumu era ag’essanyu.​—Yobu 1:1-5.

2 Setaani, omulabe wa Yakuwa Katonda lukulwe, yeetegereza embeera ya Yobu. Setaani, ng’olubeerera aba anoonya makubo kumenya bugolokofu bw’abaweereza ba Katonda, yalumba Yobu n’asaanyawo amaka ge amasanyufu. Oluvannyuma, “n’alwaza Yobu amayute amazibu okuva ku bigere bye munda okutuuka ku bwezinge bwe.” Mu ngeri eno Setaani yayagala okukozesa ennaku n’obulwadde okumenya obugolokofu bwa Yobu.​—Yobu 2:6, 7.

3. Obulwadde bwa Yobu bwalina bubonero ki?

3 Baibuli tetubuulira linnya lya bulwadde bwa Yobu. Kyokka, etubuulira obubonero bw’obulwadde obwo. Omubiri gwe gwali gujjudde envunyu, era olususu lwe lwaliko ebikalapwa era nga lwonoonekedde ddala. Omukka ogwali gumuva mu kamwa gwali guwunya bubi, n’omubiri gwe gwali guvaako olusu olubi ennyo. Yali mu bulumi bwa maanyi nnyo. (Yobu 7:5; 19:17; 30:17, 30) Mu bulumi obungi ennyo, Yobu yatuula mu vvu ne yeeyaguzanga oluggyo. (Yobu 2:8) Ddala embeera ye yali ekwasa ennaku!

4. Kintu ki ekituuka ku buli maka ebiseera ebitali bimu?

4 Wandikoze otya ng’okwatiddwa obulwadde obw’amaanyi ng’obwo? Ennaku zino, Setaani taleetera baweereza ba Katonda bulwadde nga bwe yakola eri Yobu. Wadde kiri bwe kityo, olw’obutali butuukirivu bw’omuntu, ebinyigiriza mu bulamu, n’embeera ezitwetoolodde ezeeyongera okuba embi, kiba kirina okusuubirwa nti ab’omu maka bajja kulwala oluusi n’oluusi. Ka tube nga tufubye okwekuuma, ffenna tusobola okulwala, wadde nga batono abayinza okulwala ennyo okutuuka ku ssa lya Yobu. Obulwadde bwe buzinda amaka gaffe, kiyinza okubeera ekizibu eky’amaanyi ddala. N’olw’ensonga eyo, ka tulabe engeri Baibuli gy’etuyambamu okwaŋŋanga omulabe w’omuntu ono.​—Omubuulizi 9:11; 2 Timoseewo 3:16.

GGWE OKIROWOOZAAKO OTYA?

5. Ab’omu maka batera kukola batya nga waliwo alwadde?

5 Bwe wabaawo ekintu ekitabulatabula enkola eya bulijjo mu bulamu, ka kibe nga kisibuse ku ki, kireetawo obuzibu bulijjo, era bwe kityo bwe kiba ng’okutabulwatabulwa okwo kuleeteddwa obulwadde obumala ebbanga eggwanvu. N’obulwadde obutwala ekiseera ekitono bwetaagisa enkyukakyuka, okwerekereza, n’okwefiiriza. Ab’awaka abalala abalamu obulungi kiyinza okubeetaagisa okwogeranga empola kisobozese omulwadde okuwummula. Bayinza n’okwerekereza ebintu ebimu. Wadde kiri bwe kityo, mu maka agasinga obungi n’abaana abato basaasira muganda waabwe oba omuzadde omulwadde, wadde ng’ebiseera ebimu bayinza okwetaaga okujjukizibwa okwegendereza. (Abakkolosaayi 3:12) Bwe buba obulwadde obw’ekiseera ekitono, ab’omu maka batera okuba abeetegefu okukola ekyetaagibwa. Ate era, buli omu mu maka aba asuubira okufiibwako bw’atyo ng’alwadde.​—Matayo 7:12.

6. Nneeyisa ya ngeri ki oluusi n’oluusi ebaawo ng’omu ku b’omu maka akwatiddwa obulwadde obw’amaanyi, obw’olukonvuba?

6 Naye, kiba kitya, singa obulwadde buba bwa maanyi nnyo, nga n’okutaataaganyizibwa kunene ate nga kututte ebbanga ggwanvu? Ng’ekyokulabirako, kiba kitya singa omu ku b’omu maka asanyalala oluvannyuma lw’okuzirikako, oba alemazibwa olw’obulwadde bw’obusimu, oba anafuyira ddala nnyo olw’obulwadde obulala bwonna? Oba singa omu ku b’omu maka alumbibwa obulwadde bw’obwongo, gamba ng’obwo obuleetera omuntu obutamanya bimwetoolodde oba bimuliko? Owulira ng’omusaasira​—ng’owulira ennaku okulaba omwagalwa ng’abonaabona bw’atyo. Kyokka, tekikoma ku kumusaasira busaasizi. Ab’omu maka bwe beesanga nga bakwatiddwako mu ngeri ey’amaanyi era nga n’eddembe lyabwe likendedde olw’omulwadde omu, bayinza okutuuka okwenyiwa. Bayinza okutandika okwebuuza: “Lwaki kino kirina okuntuukako?”

7. Muka Yobu yeeyisa atya nga bba alwadde, era kiki kye yeerabira?

7 Kirabika nga muka Yobu yafuna ekirowoozo ekifaananako bwe kityo. Kijjukire nti yali amaze okufiirwa abaana be. Ebikangabwa bino bwe byamutuukako, awatali kubuusabuusa ebirowoozo byamuyitirirako. Mu nkomerero, bwe yalaba bba eyali omusajja ow’amaanyi era omukozi ennyo ng’alumbiddwa obulwadde obw’obulumi ennyo era obwesisiwaza, kirabika yeerabira ekintu ekikulu ennyo ekyali kisinga ebizibu byonna ebyabajjira​—enkolagana ye ne bba gye baalina ne Katonda. Baibuli egamba: “Awo mukazi [wa Yobu] n’amugamba nti Okyanyweza obutayonoona bwo? weegaane Katonda ofe.”​—Yobu 2:9.

8. Singa ow’omu amaka alwala nnyo, kyawandiikibwa ki ekinaayamba abalala ab’omu maka okuba n’endowooza entuufu?

8 Bangi bawulira nga balemeseddwa, oluusi bawulira obusungu, obulamu bwabwe bwe bukyusibwa ennyo olw’okulwala kw’omuntu omulala. Kyokka, Omukristaayo alowoolereza akitegeera nti kino kiba kimuwa akakisa okulaga okwagala kwe bwe kuli okw’amazima. Okwagala okw’amazima “kugumiikiriza, kulina ekisa; . . . [era] tekunoonya byakwo, . . . kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriza byonna.” (1 Abakkolinso 13:4-7) N’olwekyo, mu kifo ky’okuwa ebirowoozo ebibi omwagaanya, tusaanidde okufuba okubifuga.​—Engero 3:21.

9. Bigambo ki ebizzaamu amaanyi ebiyinza okuyamba amaka mu by’omwoyo ne mu nneewulira ng’omu ku b’omu maka mulwadde nnyo?

9 Kiki ekiyinza okukolebwa okusobola okukuumira amaka mu mbeera ennungi ey’eby’omwoyo n’enneewulira ez’omunda ng’omu ku bo mulwadde nnyo? Kya lwatu nga buli bulwadde bulina enzijanjaba n’endabirira yaabwo, era tekyandibadde kituufu okuwa amagezi ku by’enzijanjaba mu kitabo kino. Kyokka, mu ngeri ey’eby’omwoyo, Yakuwa “awanirira abatendewereddwa bonna.” (Zabbuli 145:14, NW) Kabaka Dawudi yawandiika: “Aweereddwa omukisa oyo ajjukira omwavu: Mukama alimulokola ku lunaku olw’akabi. Mukama anaamukuumanga, anaamuwonyanga . . . Mukama anaamujjanjabanga ng’ayongobera ku kitanda.” (Zabbuli 41:1-3) Yakuwa akuuma abaweereza be mu by’omwoyo, ne bwe baba bagezesebwa ekisukkiridde mu nneewulira yaabwe ey’omunda. (2 Abakkolinso 4:7) Bangi ku b’omu maka abalina omulwadde ennyo awaka boogedde ebigambo ebifaananako n’ebyo omuwandiisi wa Zabbuli bye yawandiika: “Mbonyaabonyezebwa nnyo; onzuukize, ai Mukama, ng’ekigambo kyo bwe kiri.”​—Zabbuli 119:107.

OMWOYO OGUWONYA

10, 11. (a) Kiki ekyetaagisa amaka bwe gaba ag’okugumira ekizibu ky’obulwadde? (b) Omukazi omu yasobola atya okwaŋŋanga ekizibu ky’okulwaza bba?

10 “Omwoyo gw’omuntu gunaawaniriranga obunafu bwe,” bwe lutyo bwe lugamba olugero lwa Baibuli, “naye omwoyo omumenyefu ani ayinza okugugumiikiriza?” (Engero 18:14) Obulumi buyinza okukosa ennyo omwoyo gw’amaka era “n’omwoyo gw’omuntu.” Kyokka, “omutima omuteefu bwe bulamu bw’omubiri.” (Engero 14:30, NW) Obanga amaka ganaasobola okugumira ekizibu ky’obulwadde obw’amaanyi oba ganaalemererwa kisinziira nnyo ku ndowooza oba omwoyo gw’abo abagalimu.​—Geraageranya Engero 17:22.

11 Omukazi omu Omukristaayo yalina okugumira ekizibu eky’okuba nti bba yasanyalala n’aba nga talina ky’asobola kukola oluvannyuma lw’emyaka mukaaga gyokka mu bufumbo bwabwe. “Baze yali takyasobola kwogera bulungi, ne kifuuka kizibu nnyo ddala okunyumya naye,” bw’atyo bwe yagamba. “Kyalinga kizibu nnyo ddala okutegeera bye yagezangako okwogera.” Lowooza ate ku bulumi n’okulemesebwa omwami oyo kwe yawuliranga. Abafumbo bano baakola ki? Wadde nga baabeeranga wala okuva ku kibiina Ekikristaayo, mwannyinaffe yakola kyonna ky’asobola okusigala nga munywevu mu by’omwoyo ng’asoma ebippya ebikwata ku ntegeka n’okufuna emmere ey’eby’omwoyo mu Omunaala gw’Omukuumi ne Awake! Kino kyamuwa amaanyi ag’eby’omwoyo n’asobola okulabirira omwami we omwagalwa okutuusa lwe yafa emyaka ena oluvannyuma.

12. Nga bwe kyali ku Yobu, oluusi omulwadde ayinza kukola ki eky’omugaso?

12 Ku bikwata ku Yobu, ye kennyini omulwadde, ye yasigala nga mugumu. “Tunaaweebwanga ebirungi mu mukono gwa Katonda ne tutaweebwa bibi?” bw’atyo bwe yabuuza mukyala we. (Yobu 2:10) Tekyewuunyisa nti omuyigirizwa Yakobo yayogera ku Yobu oluvannyuma ng’ekyokulabirako ekikulu eky’obugumiikiriza! Mu Yakobo 5:11 tusoma: “Mwawulira okugumiikiriza kwa Yobu, era mwalaba Mukama ku nkomerero bw’akola nga Mukama wa kisa kingi n’okusaasira.” Mu ngeri y’emu ne leero, emirundi mingi obugumu bw’omulwadde ow’omu maka buyambye abalala ab’omu maka ago okuba n’endowooza ennungi.

13. Kugeraageranya kwa ngeri ki okutateekwa kukolebwa ba mu maka agalimu omulwadde?

13 Abasinga obungi ababadde n’omulwadde mu maka bagamba nti mu kusooka ab’awaka bakisangamu obuzibu okwolekagana n’embeera ebaawo. Era bagamba nti endowooza omuntu gy’aba nayo ku mbeera eyo kintu kikulu nnyo. Kiyinza okuba ekizibu ku ntandikwa okukola enkyukakyuka mu ngeri ebintu gye bikolebwamu awaka. Naye singa omuntu afuba, ayinza okutuukana n’embeera empya. Mu kukola kino, kikulu nnyo obutageraageranya mbeera zaffe na z’abo abatalina mulwadde mu maka, nga tulowooza nti embeera y’obulamu bwabwe nnungiko era nti ‘ekyo si kya bwenkanya!’ Mu butuufu, tewali amanyidde ddala bizibu balala bye balina okugumira. Abakristaayo bonna bafuna okubudaabudibwa mu bigambo bya Yesu: “Mujje gye ndi, mmwe mwenna abakooye era abazitoowereddwa, nange nnaabawummuza.”​—Matayo 11:28.

OKUKULEMBEZA EBISINGA OBUKULU

14. Ebyo ebirina okukulembezebwa biyinza kumanyibwa bitya?

14 Nga boolekaganye n’obulwadde obw’amaanyi, kyandibadde kya muganyulo eri amaka okujjukira ebigambo ebyaluŋŋamizibwa: “Okuteesa . . . kunywerera mu lufulube lw’abo abateesa ebigambo.” (Engero 15:22) Ab’omu maka basobola okukuŋŋaana ne bateesa ku mbeera eriwo olw’obulwadde? Ddala, kyandibadde kituufu okukola bwe batyo oluvannyuma lw’okusaba era n’okunoonya obulagirizi mu Kigambo kya Katonda. (Zabbuli 25:4) Biki ebisaanidde okulowoozebwako mu kuteesa ng’okwo? Baba balina okusalawo ebikwata ku nzijanjaba, eby’ensimbi, ne ku maka. Ani agenda okuba omujjanjabi omukulu? Ab’omu maka banaakolera batya awamu okumuwagira? Enteekateeka ezikoleddwa zinaayisa zitya ab’omu maka? Obwetaavu obw’eby’omwoyo n’obulala obw’omujjanjabi omukulu bunaakolebwako butya?

15. Buwagizi ki Yakuwa bw’awa amaka agalimu omuntu omulwadde ennyo?

15 Emirundi mingi, okusaba obulagirizi bwa Yakuwa, okufumiitiriza ku Kigambo kye, n’okugoberera ekkubo Baibuli ly’etwoleka bivaamu emikisa mingi n’okusinga bwe tuba tusuubira. Obulwadde obuluma ow’omu maka buyinza obutakendeerako. Naye okwesigama ku Yakuwa bulijjo kivaamu ebirungi mu buli mbeera eba eriwo. (Zabbuli 55:22) Omuwandiisi wa Zabbuli yawandiika: “Ekisa kyo eky’obwagazi, ai Yakuwa, kyampanirira. Ebirowoozo ebyeraliikiriza bwe byayinga obungi mu nze, okubudaabuda kwo ne kutandika okuddaabiriza emmeeme yange.”​—Zabbuli 94:18, 19, NW; era laba Zabbuli 63:6-8.

OKUYAMBA ABAANA

Amaka bwe gakolera awamu, ebizibu biyinza okukolebwako

16, 17. Biki ebirina okuteekebwako essira nga twogera n’abaana abato ku bulwadde bwa muganda waabwe?

16 Obulwadde obw’amaanyi buyinza okuleetera abaana mu maka ebizibu. Kikulu abazadde okuyamba abaana okutegeera obwetaavu obuzzeewo era n’ekyo kye bayinza okukola okusobola okuyamba. Singa oyo alwadde aba mwana, baganda be bateekwa okuyambibwa okutegeera nti okufiibwako okw’enjawulo n’obujjanjabi omulwadde bw’afuna tebutegeeza nti abaana abalala tebaagalibwa nga ye. Mu kifo ky’okuleka obukyayi n’okuvuganya okujjawo, abazadde bayinza okuyamba abaana abalala okuba n’enkolagana ey’oku lusegere bokka na bokka n’okwagalana okwa nnamaddala nga boolekaganye n’embeera obulwadde gye buleesewo.

17 Abaana abato bakitegeera mangu singa abazadde babakubiriza okulaga obusaasizi okusinga okubategeeza ebintu ebingi era ebizibu okutegeera ebikwata ku by’enzijanjaba. N’olwekyo bayinza okutegeezebwa obulumi omulwadde bw’awulira. Singa abaana abatali balwadde balaba engeri obulwadde gye buziyizaamu omulwadde okukola ebintu bingi bo bye basobola okukola awatali buzibu bwonna, bayinza okwongera okulaga ‘okwagala kw’ab’oluganda’ okusingawo era n’okuba ‘abasaasizi.’​—1 Peetero 3:8.

18. Abaana abakulu bayinza batya okuyambibwa okutegeera ebizibu ebizzeewo olw’obulwadde, era kino kiyinza kubagasa kitya?

18 Abaana abakuluko basaanidde okuyambibwa okukimanya nti waliwo embeera enzibu eyeetaagisa buli omu mu maka okubaako kye yeerekereza. Olw’okuba abazadde balina okusasula ensimbi z’omusawo n’eddagala, kiyinza obutasoboka kukolera baana balala bye bandyagadde okubakolera. Kino kinaanyiiza abaana era ne bawulira nti bafiirizibwa? Oba banaateegera embeera era ne baba beetegefu okubaako kye beerekereza? Kino kijja kusinziira ku ngeri ensonga eno gy’eneeteesebwako era n’omwoyo oguli mu maka. Mazima ddala, mu maka mangi okulwala kw’omuntu omu mu maka kuyambye okuyigiriza abaana okugoberera okubuulirira kwa Pawulo: “Temukolanga kintu kyonna olw’okuyomba newakubadde olw’ekitiibwa ekitaliimu, wabula mu buwombeefu buli muntu agulumizenga munne okusinga bwe yeegulumiza yekka; temutunuuliranga buli muntu ebibye yekka, era naye buli muntu n’eby’abalala.”​—Abafiripi 2:3, 4.

ENGERI Y’OKUTUNUULIRAMU OBUJJANJABI

19, 20. (a) Buvunaanyizibwa ki emitwe gy’amaka bwe baba nabwo nga ow’omu maka alwadde? (b) Wadde nga si kitabo kya bya kisawo, Baibuli ewa etya obulagirizi mu kukola ku bulwadde?

19 Abakristaayo abatagudde lubege tebagaana bujjanjabi kasita buba nga tebumenya tteeka lya Katonda. Omu ku b’omu maka gaabwe bw’alwala, banguwa okunoonya obuyambi omulwadde asobole okuwona. Wadde kiri bwe kityo, wayinza okubaawo endowooza z’abasawo ezikontana eziteekwa okwekenneenyezebwa. Okwongereza ku ebyo, mu myaka egyakayita, endwadde empya zeeyongedde, era nnyingi ku zo, tezirina ngeri ya bujjanjabi ekkirizibwa wonna. Oluusi n’okumanya obulwadde bwennyini obuluma omuntu kiba kizibu. Kati olwo, Omukristaayo asaanidde kukola atya?

20 Newakubadde omu ku bawandiisi ba Baibuli yali musawo era wadde nga n’omutume Pawulo yawa mukwano gwe Timoseewo amagezi ag’eby’ekisawo, Ebyawandiikibwa birimu bulagirizi obukwata ku by’empisa n’eby’omwoyo, si kitabo kya bya kisawo. (Abakkolosaayi 4:14; 1 Timoseewo 5:23) N’olw’ensonga eyo, ku bikwata ku bujjanjabi bw’ekisawo, Abakristaayo abakulira amaka balina okwesalirawo mu ngeri ey’amagezi. Oboolyawo bayinza okuwulira nga kibeetaagisa okufuna endowooza y’abasawo abawerako. (Geraageranya Engero 18:17.) Awatali kubuusabuusa bajja kwagala okufunira omulwadde ow’omu maka gaabwe obuyambi obusingayo obulungi, era abasinga obungi babunoonyeza mu basawo aba bulijjo. Abalala baagala okweyambisa enzijanjaba endala ezitali za mu malwaliro. Kino nakyo kiri gye bali okusalawo. Wadde kiri bwe kityo, bwe baba bakola ku bizibu by’obulwadde, Abakristaayo tebalekayo kukozesa ‘Kigambo kya Katonda ng’ettabaaza eri ebigere byabwe n’omusana eri ekkubo lyabwe.’ (Zabbuli 119:105) Beeyongera okugoberera obulagirizi obuli mu Baibuli. (Isaaya 55:8, 9) Mu ngeri eno, beewala engeri z’okunoonyereza obulwadde ezeekuusa ku by’obusamize, era beewala enzijanjaba zonna ezimenya emisingi gya Baibuli.​—Zabbuli 36:9; Ebikolwa 15:28, 29; Okubikkulirwa 21:8.

21, 22. Omukazi omu ow’omu Asia yeeyambisa atya omusingi gwa Baibuli, era kye yasalawo kyeyoleka kitya nti kyali kituufu mu mbeera ye?

21 Lowooza ku byatuuka ku mukazi omu omuto mu Asia. Ebbanga ttono oluvannyuma lw’okutandika okuyiga Baibuli n’omu ku Bajulirwa ba Yakuwa, yazaala omwana ow’obuwala nga tannatuuka, eyalina obuzito bwa laatiri ssatu zokka n’akatundu akayitamu katono. Omukazi ono yawulira bubi nnyo omusawo bwe yamugamba nti omwana we ajja kubaako ekikyamu era nti yali tajja kusobola kutambula. Yawa omukazi ono amagezi omwana amuweeyo mu kitongole ekirabirira abantu abaliko ekikyamu. Bba w’omukazi ono yali tamanyi kya kukola. Omukazi ono yandyebuuzizza ku ani?

22 Agamba: “Nnajjukira kye nnayiga okuva mu Baibuli nti ‘abaana bwe busika bwa Mukama: n’ebibala eby’olubuto ye mpeera ye.’” (Zabbuli 127:3) Yasalawo okutwala ‘obusika’ buno eka n’okubulabirira. Mu kusooka kyali kikalubo, naye awamu n’obuyambi bwa mikwano gye Abakristaayo mu kibiina ky’ewaabwe eky’Abajulirwa ba Yakuwa, omukazi ono yasobola okulabirira omwana oyo mu ngeri ey’enjawulo eyali yeetaagibwa. Oluvannyuma lw’emyaka kkumi n’ebiri, omwana yali agenda mu nkuŋŋaana ku Kingdom Hall era ng’anyumirwa okuba awamu ne bato banne. Nnyina w’omwana agamba bw’ati: “Ndi musanyufu nnyo nti emisingi gya Baibuli gyansobozesa okukola ekintu ekituufu. Baibuli yannyamba okukuuma omuntu ow’omunda omuyonjo mu maaso ga Yakuwa Katonda ne siba na kwejjusa kwe nnandibadde nakwo obulamu bwange bwonna.”

23. Kubudaabuda ki Baibuli kw’ewa abalwadde n’abo ababajjanjaba?

23 Obulwadde tebujja kubeerawo mirembe gyonna. Nnabbi Isaaya yayogera ku kiseera eky’omu maaso lwe watalibaawo mutuuze ‘ayogera nti Ndi mulwadde.’ (Isaaya 33:24) Ekisuubizo ekyo kijja kutuukirizibwa mu nsi empya eneetera okutuuka. Kyokka, okutuusa ekyo we kinaabeererawo, tulina okwolekagana n’obulwadde n’okufa. Eky’essanyu, Ekigambo kya Katonda kituwa obulagirizi n’obuyambi. Amateeka agakwata ku mpisa Baibuli g’etuwa ga lubeerera, era gasingira wala endowooza z’abantu abatali batuukirivu ezigenda zikyuka. N’olwekyo, omuntu ow’amagezi akkiriziganya n’omuwandiisi wa Zabbuli eyawandiika: “Etteeka lya Mukama lyatuukirira, erikomyawo emmeeme: okutegeeza kwa Mukama kunywevu, okuwa abasirusiru amagezi. . . . Emisango gya Mukama gya mazima, gya butuukirivu ddala. . . . Mu kubyekuuma mulimu empeera ennene.”​—Zabbuli 19:7, 9, 11.