Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’ESATU

Obufumbo Bwe Buba Bugenda Kusasika

Obufumbo Bwe Buba Bugenda Kusasika

1, 2. Obufumbo bwe bubaamu ebizibu, kibuuzo ki ekyandibuuziddwa?

MU 1988 omukazi Omuyitale ayitibwa Lucia yali mwennyamivu nnyo. * Oluvannyuma lw’emyaka kkumi obufumbo bwe bwali bugenda kusattululwa. Emirundi mingi yali agezezzaako okuleetawo entegeeragana n’omwami we, naye tekyasoboka. Bwe kityo baayawukana olw’obutategeeragana era yali alina okukuza bawala be ababiri ku bubwe yekka. Bw’ajjukira ebiseera ebyo, Lucia agamba: “Nnali mukakafu nti tewaaliwo kyali kiyinza kuwonya bufumbo bwaffe.”

2 Bw’oba olina ebizibu mu bufumbo, oyinza okutegeera enneewulira ya Lucia. Obufumbo bwo buyinza okubaamu emitawaana era oyinza okuba weebuuza obanga bukyasobola okuwonyezebwa. Bwe kiba bwe kityo, ojja kukisanga nga kya muganyulo okulowooza ku kibuuzo kino: Ngoberedde amagezi gonna amalungi Katonda g’awadde mu Baibuli okuyamba obufumbo okuba obulungi?​—Zabbuli 119:105.

3. Wadde ng’okugattululwa mu bufumbo kucaase, mbeera ki eriwo mu abo abaagattululwa mu bufumbo era ne b’omu maka gaabwe?

3 Obutategeeragana bwe buba obw’amaanyi ennyo wakati w’omwami n’omukyala, okusattulula obufumbo kuyinza okulabika ng’ekkubo erisinga obwangu. Naye, wadde nga mu nsi nnyingi amaka agasasika geeyongedde obungi, okunoonyereza okukoleddwa ennaku ezo kulaga nti bangi ku basajja n’abakazi abaagattululwa mu bufumbo bejjusa. Bangi ku bo balwalalwala nnyo, mu mubiri ne mu birowoozo, okusinga abo abasigala nga bafumbo. Obutabufutabufu n’ennaku abaana bye baba nabyo nga bazadde baabwe bagattuluddwa bitera kumala myaka na myaka. Abazadde n’emikwano gy’ab’amaka agasasise nabo bakosebwa. Ate ye Katonda, Eyatandikawo obufumbo, atunuulira atya embeera eyo?

4. Ebizibu by’omu bufumbo byandikoleddwako bitya?

4 Nga bwe kiragibwa mu ssuula ezivuddeko emabega, Katonda yagenderera obufumbo bube bwa lubeerera. (Olubereberye 2:24) Olwo ate, lwaki obufumbo bungi busasika? Kiyinza obutabaawo mbagirawo. Watera okubaawo obubonero obulabula. Ebizibu ebitonotono mu bufumbo biyinza okuzimbulukuka okutuusa lwe biba nga tebikyasobola kuvvuunukibwa. Naye singa ebizibu bino bikolwako mangu awamu n’obuyambi bwa Baibuli, obufumbo bungi tebwandisasise.

TOSUUBIRA BITASOBOKA

5. Mbeera ki ebeererawo ddala abafumbo gye balina okwolekagana nayo?

5 Ekintu ekivaako ebizibu emirundi egimu kwe kuba nti omu oba bombi mu bufumbo basuubira ebitasoboka. Obutabo obwogera ku bantu abaagalana, magazini eŋŋanzi, programu z’oku ttivi, n’ebifaananyi eby’oku ntimbe bisobola okuleetera abantu okuteebereza n’okusuubira ebitali bya mu bulamu obwa bulijjo. Ebibadde bisuubirwa okubaawo bwe bitatuukirira, omuntu asobola okuwulira nga alimbiddwa, nga si musanyufu n’akatono, era nga munyiivu nnyo. Naye, abantu babiri abatali batuukirivu basobola batya okufuna essanyu mu bufumbo? Kyetaagisa kufuba okusobola okutuuka ku nkolagana ennungi.

6. (a) Ndowooza ki etegudde lubege Baibuli gy’ewa ku bufumbo? (b) Ezimu ku nsonga ezisibukako obutategeeragana mu bufumbo ze ziruwa?

6 Baibuli ya muganyulo. Eyogera ku ssanyu eriri mu bufumbo, naye era erabula nti abo abayingira mu bufumbo “banaabeeranga n’okubonaabona mu mubiri.” (1 Abakkolinso 7:28) Nga bwe twakirabye edda, abafumbo si batuukirivu era boonoona. Endowooza n’enneewulira era n’engeri buli omu gye yakuzibwamu bya njawulo. Abafumbo oluusi bafuna obutategeeragana ku bikwata ku nsimbi, abaana, n’abako. Obutaba na biseera kukolera wamu bintu era n’ebizibu ebikwata ku kwetaba nabyo bisobola okusibukako emitawaana. * Kyetaagisa ekiseera okukola ku nsonga ng’ezo, naye toggwaamu maanyi! Abafumbo abasinga obungi basobodde okwolekagana n’ebizibu ng’ebyo ne babigonjoola.

MWOGERE KU BUTATEGEERAGANA BWE MULINA

7, 8. Bwe wabaawo okulumizibwa mu birowoozo oba obutategeeragana wakati w’abafumbo, ngeri ki gye birina okukolebwako okusinziira ku Byawandiikibwa?

7 Bangi bakisanga nga kizibu okusigala nga bakkakkamu bwe baba boogera ku bibaluma, obutategeeragana, oba ensobi zaabwe. Mu kifo ky’okwogera obutereevu nti: “Mpulira nga tontegeera bulungi,” omu ku bafumbo ayinza okuva mu mbeera n’azimbulukusa ekizibu. Bangi bajja kugamba: “Weefaako wekka,” oba nti, “Tonjagala.” Olw’obutaagala kutandikawo luyombo, munne ayinza okugaana okumwanukula.

8 Ekkubo erisingako obulungi kwe kugoberera okubuulirira kwa Baibuli: “Musunguwalenga so temwonoonanga: enjuba eremenga okugwa ku busungu bwammwe.” (Abeefeso 4:26) Abafumbo ababiri abasanyufu, bwe baaweza emyaka 60 mu bufumbo bwabwe, baabuuzibwa ekibasobozesezza okukuuma obufumbo bwabwe nga bulungi. Omwami yagamba: “Tetwebakanga nga tetunnaba kugonjoola butategeeragana, ne bwe bwabanga butono butya.”

9. (a) Kiki ekyogerwako mu Byawandiikibwa okuba ekitundu ekikulu mu mpuliziganya? (b) Kiki abafumbo kye balina okukolanga, wadde nga kyetaagisa obuwombeefu n’obuvumu?

9 Omwami n’omukyala bwe bafuna obutategeeragana, buli omu ku bo ateekwa ‘kuba mwangu wa kuwulira, alwawo okwogera, alwawo okusunguwala.’ (Yakobo 1:19) Oluvannyuma lw’okuwuliriza n’obwegendereza, bombi bayinza okulabawo obwetaavu obw’okwetonda. (Yakobo 5:16) Okwogera mu bwesimbu nti, “Nsonyiwa olw’okukulumya,” kyetaagisa obuwombeefu n’obuvumu. Naye okukola ku butategeeragana mu ngeri eno kuyamba nnyo abafumbo si mu kugonjoola bizibu byabwe kyokka, naye era n’okukulaakulanya omukwano n’enkolagana ey’oku lusegere ebinaabaleetera essanyu erisingako mu bufumbo bwabwe.

OKUSASULA EKIGWANIRA MU BUFUMBO

10. Kya bukuumi ki Pawulo kye yasemba eri Abakristaayo b’e Kkolinso ekiyinza okukwata ku Mukristaayo leero?

10 Omutume Pawulo bwe yawandiikira Abakkolinso, yasemba obufumbo ‘olw’okuba waaliwo obwenzi bungi.’ (1 Abakkolinso 7:2, NW) Ensi mu biseera bino mbi nnyo, kabekasinge n’okusinga bwe kyali mu Kkolinso eky’edda. Ebintu eby’obugwenyufu abantu b’ensi bye boogerako mu lujjudde, engeri eteri nnungi gye bambalamu, engero ez’obugwagwa ezibeera mu magazini ne mu bitabo, ku ttivi, era ne mu bifaananyi eby’oku ntimbe, byonna awamu bisiikuula okwegomba okw’obugwenyufu. Abakkolinso abaali mu mbeera nga zino, omutume Pawulo yabagamba: “Kirungi okufumbiriganwanga okusinga okwakanga.”​—1 Abakkolinso 7:9.

11, 12. (a) Omwami n’omukyala babanjagana ki, era kirina kusasulwa mu mwoyo gwa ngeri ki? (b) Kiki ekyandikoleddwa singa ekigwanira mu bufumbo kigenda kuyimirizibwa okumala akaseera?

11 N’olw’ensonga eno, Baibuli eragira Abakristaayo abafumbo: “Omusajja asasulenga mukazi we ekyo ekimugwanira: era n’omukazi asasulenga bw’atyo omusajja.” (1 Abakkolinso 7:3) Weetegereze nti essira liri ku kuwa​—so si ku kubanja. Okwetaba kw’abafumbo kuleetawo essanyu lingi singa buli omu ku bafumbo aba afaayo ku bulungi bwa munne. Ng’ekyokulabirako, Baibuli eragira abaami okubeeranga ne bakazi baabwe “n’amagezi.” (1 Peetero 3:7) Kino bwe kiri naddala ku bikwata ku kuwa era n’okufuna ekyo ekigwanira mu bufumbo. Singa omukyala tayisibwa mu ngeri ya kwagala, ayinza okukisanga nga kizibu okunyumirwa ekitundu kino eky’obufumbo.

12 Wabaawo ebiseera abafumbo lwe batasasulagana ekyo ekigwanira mu bufumbo. Kino kiyinza okuba bwe kityo eri omukyala mu biseera ebimu eby’omwezi oba bw’aba awulira ng’akooye nnyo. (Geraageranya Eby’Abaleevi 18:19.) Kiyinza okuba bwe kityo eri omwami bw’aba alina ekizibu eky’amaanyi ky’ayolekaganye nakyo ku mulimu era ng’awulira nti ebirowoozo bye bikooye. Embeera ng’ezo ez’okumala akaseera nga tebasasulaganye ekigwanira mu bufumbo ziyinza okukolebwako singa abafumbo bombi boogera ku nsonga eno mu bwesimbu ne ‘bakkiriziganya.’ (1 Abakkolinso 7:5, NW) Kino kijja kuyamba omulala obutafuna ndowooza nkyamu ku munne. Naye, singa omukyala agenderera bugenderezi obutasasula mwami we oba singa omwami agaana okusasula ekyo ekigwanira mu bufumbo mu ngeri ey’okwagala, ayinza okuleetera munne okukemebwa. Mu mbeera ng’ezo, ebizibu biyinza okubalukawo mu bufumbo.

13. Abakristaayo bayinza batya okukuuma ebirowoozo byabwe nga biyonjo?

13 Okufaananako n’Abakristaayo abalala, abaweereza ba Katonda abafumbo bateekwa okwewala ebisomebwa eby’obugwenyufu, ebiyinza okusiikuula okwegomba okubi era okutali kwa mu butonde. (Abakkolosaayi 3:5) Era bateekwa okukuuma ebirowoozo byabwe n’ebikolwa byabwe bwe baba bakolagana n’abo be batafaananya nabo kikula eky’obusajja oba eky’obukazi. Yesu yalabula: “Buli muntu atunuulira omukazi okumwegomba, ng’amaze okumwendako mu mutima gwe.” (Matayo 5:28) Nga bagoberera okubuulirira kwa Baibuli ku bikwata ku by’okwetaba, abafumbo basobola okwewala okugwa mu kukemebwa n’okukola obwenzi. Basobola okweyongera okunyumirwa enkolagana ey’oku lusegere ennyo mu bufumbo okwetaba mwe kutwalibwa ng’ekirabo eky’omuwendo okuva eri oyo Eyatandikawo obufumbo, Yakuwa.​—Engero 5:15-19.

EKISINZIIRWAKO MU BAIBULI OKUGATTULULWA MU BUFUMBO

14. Mbeera ki ey’ennaku ebaawo ebiseera ebimu? Lwaki?

14 Eky’essanyu, mu bufumbo bw’Abakristaayo obusinga obungi, ebizibu byonna ebibalukawo bisobola okukolebwako. Kyokka, oluusi si bwe kiba. Olw’okuba abantu tebatuukiridde era nga bali mu nsi ennyonoonefu efugibwa Setaani, obufumbo obumu busasika. (1 Yokaana 5:19) Abakristaayo bandyolekaganye batya n’embeera eno enzibu?

15. (a) Okusinziira ku Byawandiikibwa kiki kyokka ekisinziirwako okugattululwa mu bufumbo n’oba ng’osobola okuyingira obufumbo obulala? (b) Lwaki abamu basazeewo obutagattululwa ne munnaabwe atali mwesigwa?

15 Nga bwe kyayogerwako mu Ssuula 2 ey’ekitabo kino, obwenzi kye kyokka ekisinziirwako mu Byawandiikibwa okugattululwa mu bufumbo n’oba ng’osobola okuyingira obufumbo obulala. * (Matayo 19:9) Bw’oba olina obukakafu nti munno mu bufumbo tabadde mwesigwa, olwo oba oyolekaganye n’okusalawo okuzibu. Onoosigala mu bufumbo oba onoogattululwa? Tewali kuwalirizibwa. Abakristaayo abamu basonyiye munnaabwe eyenenyereza ddala mu bwesimbu, n’obufumbo bwabwe ne butereera. Abalala basazeewo obutagattululwa olw’abaana.

16. (a) Bintu ki ebimu ebireetedde abamu okugattululwa ne munnaabwe ayonoonye? (b) Oyo atalina musango bw’asalawo okugattululwa oba obutagattululwa mu bufumbo lwaki tewali muntu n’omu yandivumiridde kusalawo kwe?

16 Ku luuyi olulala, ekikolwa ekibi kiyinza okuba nga kyavaamu okufuna olubuto oba endwadde esaasaanira mu kwetaba. Oba mpozzi abaana balina okukuumibwa okuva ku muzadde ayagala okubakolako ebikolobero. Kya lwatu nga waliwo bingi eby’okulowoozaako nga tonnasalawo. Kyokka, singa okimanya nti munno mu bufumbo yayenda, ate oluvannyuma n’oddamu okwetaba naye, mu ngeri eyo oba olaze nti omusonyiye era nti oyagala obufumbo busigalewo. Ekisinziirwako okugattululwa mu Byawandiikibwa n’oba ng’osobola okuyingira obufumbo obulala kiba tekikyaliwo. Tewali muntu yenna asaanidde kweyingiza mu nsonga zo n’okugezaako okukugamba ky’oba osalawo, era tewali n’omu asaanidde kuvumirira ky’oba osazeewo. Ggwe ojja okwolekagana n’ebinaava mu ky’onooba osazeewo. “Buli muntu alyetikka omutwalo gwe ye.”​—Abaggalatiya 6:5.

EBISINZIIRWAKO OKWAWUKANA

17. Bwe waba tewali ayenze, kukugira ki Ebyawandiikibwa kwe biteeka ku kwawukana oba okugattululwa?

17 Waliwo embeera eziyinza okukuwa ensonga entuufu ey’okwawukana oba mpozzi n’okugattululwa ne munno mu bufumbo wadde nga takoze bwenzi? Yee, naye mu mbeera ng’ezo, Omukristaayo taba wa ddembe kufumbiriganwa na muntu mulala. (Matayo 5:32) Wadde nga Baibuli ekkiriza okwawukana ng’okwo, ekiraga nti oyo aba ayawukanye ku munne “asigale nga si mufumbo oba si ekyo atabagane ne munne.” (1 Abakkolinso 7:11, NW) Mbeera ki embi ennyo ezifuula okwawukana okuba nga kusaanira?

18, 19. Ezimu ku mbeera embi ennyo eziyinza okuleetera omufumbo okulowooza ku kwawukana mu mateeka oba okugattululwa wadde nga tasobola kuddamu kuyingira bufumbo bulala ze ziruwa?

18 Amaka gayinza obutaba na byetaagibwa olw’obugayaavu obungi obw’omwami era n’enneeyisa embi z’alina. * Ensimbi amaka ge zifuna ayinza okuzikubisa zzaala oba okuzikozesa mu kwekamirira amalagala oba omwenge. Baibuli egamba nti: “Omuntu yenna bw’atajjanjaba . . . ab’omu nnyumba ye, nga yeegaanyi okukkiriza, era nga ye mubi okusinga atakkiriza.” (1 Timoseewo 5:8) Omusajja ng’oyo bw’agaana okukyusa amakubo ge, oboolyawo nga yeeyambisa ensimbi mukyala we z’akola okuwagira emize gye, omukyala ayinza okulondawo okutaasa embeera ye n’ey’abaana ng’ayawukana naye mu mateeka.

19 Ekikolwa ng’ekyo kiyinza okulowoozebwako singa omu ku bafumbo aba mukambwe nnyo eri munne, oboolyawo ng’atera okumukuba ne kiba nti obulamu bwe bwennyini buli mu kabi. Ate era, singa omu ku bafumbo agezaako okuwaliriza munne mu bufumbo okumenya ebiragiro bya Katonda mu ngeri yonna, oyo ali mu kabi ayinza okulowooza ku kwawukana, naddala singa embeera ye ey’eby’omwoyo eba mu kabi. Oyo ali mu kabi ayinza okusalawo nti engeri yokka ‘ey’okuwulira Katonda okusinga abantu’ kwe kwawukana naye mu mateeka.​—Ebikolwa 5:29.

20. (a) Amaka bwe gaba gagenda kusasika, kiki ab’emikwano n’abakadde kye bayinza okukola, era kiki kye batasaanidde kukola? (b) Abafumbo tebandikozesezza Baibuli by’eyogera ku kwawukana n’okugattululwa nga eky’okwekwasa okukola ki?

20 Mu mbeera zonna omu ku bafumbo w’abeerera ng’ayisibwa bubi nnyo, tewali n’omu asaanidde kupikiriza oyo ayisibwa obubi okwawukana oba okusigala ne munne. Wadde ng’ab’emikwano n’abakadde bayinza okuwa obuwagizi n’amagezi ageesigamiziddwa ku Baibuli, tebasobola kumanya byonna ebibaawo wakati w’omwami n’omukyala. Yakuwa yekka y’asobola okukiraba. Kya lwatu, omukyala Omukristaayo aba tawadde nteekateeka ya Katonda ey’obufumbo kitiibwa singa yeekwasa obusonga obutaliimu ave mu bufumbo. Naye singa wabaawo embeera ey’akabi ennyo, tewali n’omu yandimunenyezza singa asalawo okwawukana. Kye kimu ddala n’eri omusajja Omukristaayo anoonya okwawukana. “Fenna tuliyimirira mu maaso g’entebe ey’emisango eya Katonda.”​—Abaruumi 14:10.

ENGERI OBUFUMBO OBWALI BUSASISE GYE BWAWONYEZEBWAMU

21. Kyakulabirako ki ekiraga nti amagezi Baibuli g’ewa ku bufumbo gakola?

21 Emyezi esatu oluvannyuma lwa Lucia, gwe twayogeddeko okusooka, okwawukana n’omwami we, yasisinkana n’Abajulirwa ba Yakuwa era n’atandika okuyiga Baibuli nabo. “Ekyanneewuunyisa ennyo,” bw’atyo bw’annyonnyola, “Baibuli yampa amagezi ag’omugaso ennyo agaagonjoola ekizibu kyange. Oluvannyuma lw’okusomera wiiki emu yokka, mangu ago nnayagala tutegeeragane n’omwami wange. Leero nsobola okugamba nti Yakuwa amanyi okuwonya obufumbo obuli mu katyabaga olw’okuba by’ayigiriza biyamba abafumbo buli omu okutwala munne nga wa muwendo. Si kya mazima, ng’abamu bwe boogera, nti Abajulirwa ba Yakuwa baabuluzaamu amaka. Nze, bannyamba okuddamu okugatta awamu amaka gange.” Lucia yayiga okugoberera emisingi gya Baibuli mu bulamu bwe.

22. Abafumbo bonna obwesige bwabwe basaanidde kubussa mu ki?

22 Lucia si kye kyokulabirako kyokka. Obufumbo bulina kuba bwa ssanyu, so si mugugu. Olw’ensonga eno, Yakuwa ataddewo ensibuko y’okubuulirira okukwata ku bulamu bw’obufumbo okusingirayo ddala obulungi okuli mu buwandiike​—Ekigambo kye eky’omuwendo ennyo. Baibuli esobola okuwa “abasirusiru amagezi.” (Zabbuli 19:7-11) Ewonyezza obufumbo bungi obwali bugenda okusasika era erongoosezza obulala bungi obwalimu ebizibu eby’amaanyi. Ka abafumbo bonna babeere n’obwesige obujjuvu mu kubuulirira okukwata ku bufumbo Yakuwa Katonda kw’awa. Kukolera ddala bulungi nnyo!

^ lup. 1 Erinnya likyusiddwa.

^ lup. 6 Ebimu ku bino byayogerwako mu ssuula ezaayita.

^ lup. 15 Ekigambo kya Baibuli ekivvuunulwa “obwenzi” kitwaliramu obulyi bw’ebisiyaga, okusula n’ensolo, n’ebikolwa ebirala byonna eby’obukaba omubeera okukozesa ebitundu by’omubiri eby’ekyama.

^ lup. 18 Kino tekitwaliramu mbeera omwami w’abeerera ng’ayagala nnyo naye nga tasobola kulabirira maka ge olw’ensonga z’atasobola kwebeera, gamba ng’obulwadde oba ebbula ly’emirimu.