Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’ENNYA

Okukaddiyira Awamu

Okukaddiyira Awamu

1, 2. (a) Nkyukakyuka ki ezibaawo ng’ogenda okaddiwa? (b) Abasajja abatya Katonda mu biseera bya Baibuli baafuna batya obumativu mu biseera byabwe eby’obukadde?

WAJJAWO enkyukakyuka nnyingi bwe tugenda tukaddiwa. Omubiri gugenda gunafuwa. Bwe tweraba mu ndabirwamu tulaba enkanyanya endala era n’envi nga zeeyongedde mu mutwe​—oba ekiwalaata nga kitandise. Tuyinza n’okuba nga twerabiralabira nnyo. Tufunayo ab’eŋŋanda abalala abaana bwe bayingira obufumbo, era n’abazzukulu bwe bazaalibwa. Abamu, okuwummula ku mulimu kubaviiramu embeera y’obulamu ey’enjawulo.

2 Mu butuufu, okukaddiwa kusobola okuleetawo obuzibu bungi. (Omubuulizi 12:1-8) Kyokka, lowooza ku baweereza ba Katonda mu biseera bya Baibuli. Newakubadde oluvannyuma baafa, baafuna amagezi n’okutegeera, ebyabaleetera okuba abamativu mu biseera eby’obukadde. (Olubereberye 25:8; 35:29; Yobu 12:12; 42:17) Baasobola batya okusigala nga basanyufu nga bakaddiye? Mazima ddala kyasoboka olw’okugoberera emisingi gye tusanga mu Baibuli.​—Zabbuli 119:105; 2 Timoseewo 3:16, 17.

3. Pawulo yabuulirira atya abasajja n’abakazi abakaddiye?

3 Mu bbaluwa gye yawandiikira Tito, omutume Pawulo yawa obulagirizi obulungi eri abo abakaddiye. Yawandiika: “Abasajja abakadde babenga n’empisa ezisaanira, abafaayo, abalina endowooza ennuŋŋamu, okukkiriza okulamu, okwagala, n’okugumiikiriza. N’abakazi abakadde nabo babe n’empisa ezooleka okutya Katonda, nga tebawaayiriza, era nga tebanywa mwenge mungi, abayigiriza ebirungi.” (Tito 2:2, 3, NW) Okugoberera ebigambo bino kusobola okukuyamba okwolekagana n’ebizibu ebibaawo mu kukaddiwa.

TUUKAGANA N’EMBEERA EY’OKUBA NTI ABAANA BO BEETONGODDE

4, 5. Abazadde bangi beeyisa batya ng’abaana baabwe bavudde awaka, era abamu batuukagana batya n’embeera eyo empya?

4 Obuvunaanyizibwa bwe bukyuka weetaaga okutuukagana n’embeera eba ezzeewo. Ddala kino bwe kibeera abaana abakuze bwe bava awaka ne bayingira obufumbo! Eri abazadde bangi kino kye kisooka okubajjukiza nti bagenda bakaddiwa. Wadde baba basanyufu nti abaana baabwe bakuze, emirundi mingi abazadde basigala beebuuza obanga baakola kyonna ekyali kisoboka okuteekateeka abaana baabwe basobole okweyimirizaawo. Ate era bayinza okuwuubaala nga babavuddeko.

5 N’olwekyo, tekyewuunyisa abazadde bwe beeyongera okulumirirwa abaana baabwe, wadde ng’abaana bamaze okuva awaka. “Singa nsobola okubawulizanga emirundi mingi, okukakasa nti bali bulungi​—ekyo kyandinsanyusizza,” bw’atyo maama omu bwe yagamba. Taata omu agamba: “Muwala waffe bwe yava awaka, twasanga obuzibu bungi. Yalekawo eddibu ddene mu maka gaffe kubanga twakoleranga wamu ebintu.” Abazadde bano basobodde batya okwolekagana n’embeera eyo ng’abaana baabwe babavuddeko? Emirundi mingi, nga bafaayo okuyamba abantu abalala.

6. Kiki ekiyamba okukuuma enkolagana ennungi n’amaka g’abaana?

6 Abaana bwe bayingira obufumbo, emirimu gy’abazadde gikyuka. Olubereberye 2:24 lugamba: “Omusajja ky’anaavanga aleka kitaawe ne nnyina, ne yeetaba ne mukazi we, nabo banaabanga omubiri gumu.” (Italiki zaffe.) Okutegeera emisingi Katonda gye yateekawo egikwata ku bukulembeze n’enteekateeka ennungi kijja kuyamba abazadde okutunuulira ebintu mu ngeri entuufu.​—1 Abakkolinso 11:3; 14:33, 40.

7. Ndowooza ki ennungi taata omu gye yakulaakulanya bawala be nga bavudde awaka ne bafumbirwa?

7 Bawala baabwe ababiri bwe baafumbirwa ne babalekawo, bazadde baabwe baawulira ekiwuubaalo kinene mu bulamu bwabwe. Okusooka, omwami yali tayagala bakoddomi be. Naye bwe yagenda afumiitiriza ku musingi gw’obukulembeze, yakitegeera nti abaami ba bawala be kati be baali bavunaanyizibwa ku maka gaabwe. N’olw’ensonga eyo, bawala be bwe baamusabanga okubawa amagezi, yababuuzanga endowooza y’abaami baabwe bw’eri, olwo n’alyoka akakasa nti abawa obuwagizi nga bwe kisoboka. Kati bakoddomi be bamutwala nga mukwano gwabwe era basiima amagezi g’abawa.

8, 9. Abazadde abamu batuukaganye batya n’embeera ng’abaana baabwe beetongodde?

8 Naye kiba kitya singa abaana abaakafumbiriganwa, wadde nga tebakoze kikontana na byawandiikibwa, tebakola ekyo bazadde baabwe kye balowooza nti kye kisinga obulungi? “Buli kiseera tubayamba okulaba endowooza ya Yakuwa,” bwe batyo omwami n’omukyala abalina abaana abafumbo bwe bagamba, “naye bwe tuba tetukkiriziganya na kye basazeewo, ffe tukkiriza ekyabwe ne tubawagira era ne tubazzaamu amaanyi.”

9 Mu nsi ezimu ez’omu Asia, bamaama abamu kibazibuwalira okukkiriza nti batabani baabwe kati beetongodde. Kyokka, bwe bassa ekitiibwa mu nteekateeka y’Ekikristaayo n’obukulembeze, bakisanga nga obukuubagano ne baka batabani baabwe bukendeera. Omukazi omu Omukristaayo akisanze nti batabani be okuva awaka kimuwadde “essanyu lingi nnyo ddala.” Musanyufu okulaba obusobozi bwabwe mu kuddukanya amaka gaabwe. Kino era kiwewuddeko ku buzito ye n’omwami we bwe balina okwetikka nga bagenda bakaddiwa.

OKUNYWEZA OBUFUMBO BWAMMWE

10, 11. Kubuulirira ki okw’omu Byawandiikibwa okunaayamba abantu okwewala emitego egibaawo nga batuuludde?

10 Abantu beeyisa mu ngeri za njawulo bwe baba basemberera obukadde. Abasajja abamu bambala mu ngeri ya njawulo balabike ng’abakyali abato. Abakazi abamu beeraliikirira enkyukakyuka ezinaabaawo nga balekedde awo okugenda mu nsonga z’ekikyala. Eky’ennaku, abantu abamu abatuuludde baleetera bannaabwe mu bufumbo obuggya n’obusungu bwe bazannyirirazannyirira n’abo bwe batafaananya kikula eky’obusajja oba eky’obukazi. Kyokka, abasajja abakadde abatya Katonda, baba ne “endowooza ennuŋŋamu,” ne baziyiza okwegomba okubi. (1 Peetero 4:7, NW) Abakazi abakulu nabo bafuba okukuuma obufumbo bwabwe, olw’okuba baagala abaami baabwe, era olw’okwagala okusanyusa Yakuwa.

11 Ng’aluŋŋamizibwa, Kabaka Lemweri yawandiika ng’atenda “omukazi omwegendereza” akolera omwami we “[o]bulungi so si bubi, ennaku zonna ez’obulamu bwe.” (Italiki zaffe.) Omwami Omukristaayo tajja kulemererwa kusiima ngeri mukyala we gy’afuba okugumira ebizibu by’ayolekagana nabyo ng’atuuludde. Okwagala kw’alina kujja kumuleetera ‘okutendereza mukyala we.’​—Engero 31:10, 12, 28.

12. Abafumbo bayinza batya okwongera okunyweza obufumbo bwabwe emyaka bwe gigenda gyekulungula?

12 Mu myaka giri nga mufuba okukuza abaana, mwembi muyinza okuba nga mwerekerezanga bye mwagala musobole okukola ku byetaago by’abaana bammwe. Nga bamaze okwetongola, kye kiba ekiseera okuzza ebirowoozo byammwe ku bufumbo bwammwe. “Bawala baffe bwe baava awaka,” bw’atyo omwami omu bwe yagamba, “nnatandika buto okwogereza mukyala wange.” Omwami omulala yagamba: “Buli omu afaayo ku bulamu bwa munne era buli omu ajjukiza munne ku bwetaavu bw’okulabirira omubiri gwe.” Okusobola okwewala ekiwuubaalo, ye ne mukyala we bakyaza ab’oluganda abalala mu kibiina. Yee, okufaayo ku balala kireeta emikisa. Ate era, kisanyusa Yakuwa.​—Abafiripi 2:4; Abebbulaniya 13:2, 16.

13. Obwesimbu n’okuba ow’amazima biyamba bitya ng’abafumbo beeyongera okukaddiwa?

13 Toganya mpuliziganya kwonooneka wakati wo ne munno mu bufumbo. Munyumyenga mu bwesimbu. (Engero 17:27) “Twongera okunyweza omukwano gwaffe nga buli omu afaayo ku munne era ng’amulumirirwa,” omwami omu bw’agamba. Mukyala we akkiriziganya naye, n’agamba: “Gye tweyongera okukaddiwa, gye tweyongera okunyumirwa okunywera awamu kacaayi, okunyumya, era n’okukolera awamu.” Okubeera omwesimbu era ow’amazima biyinza okunyweza obufumbo bwammwe ne busobola okugumira obulumbaganyi bwa Setaani, ayonoona obufumbo.

SANYUKIRA BAZZUKULU BO

14. Jjajja wa Timoseewo yakola ki okumuyamba okukula ng’Omukristaayo?

14 Abazzukulu “ngule” ya bakadde. (Engero 17:6) Mazima ddala okuba n’abazzukulu kiyinza okuleeta essanyu lingi​—kibuguumiriza era kizzaamu amaanyi. Baibuli eyogera bulungi ku Looyi, eyakolera awamu ne muwala we Ewuniike, okuyigiriza muzzukulu we omuto Timoseewo enzikiriza yaabwe. Omuvubuka ono yakula ng’akimanyi nti maama we ne jjajjaawe amazima ga Baibuli bagatwala nga ga muwendo.​—2 Timoseewo 1:5; 3:14, 15.

15. Ku bikwata ku bazzukulu, kya muwendo ki bajjaja kye bayinza okukola, naye balina kwewala ki?

15 Kino nno, kye kifo eky’enjawulo bajjajja mwe bayinza okubaako eky’omuwendo ennyo kye bakola. Bajjajja, mwamala dda okuyigiriza abaana bammwe bye mumanyi ku bigendererwa bya Yakuwa. Kaakano muyinza okukola kye kimu eri omulembe omulala! Abaana abato bangi basanyuka nnyo okuwulira bajjajjaabwe nga babanyumiza engero z’omu Baibuli. Kya lwatu, kitaabwe oba tomuggyeko buvunaanyizibwa obw’okuyigiriza abaana be amazima ga Baibuli. (Ekyamateeka 6:7) Wabula, oba omuyambako. Okusaba kwo kube nga okw’omuwandiisi wa Zabbuli: “Weewaawo, bwe ndiba nkaddiye era nga mmeze envi, ai Katonda, tondekanga; okutuusa lwe ndibuulira amaanyi go emirembe egijja okubaawo, n’obuyinza bwo buli muntu agenda okujja.”​—Zabbuli 71:18; 78:5, 6.

16. Bajjajja basobola batya okwewala okuleetawo obukuubagano mu maka g’abaana baabwe?

16 Eky’ennaku, abamu ku bajjajja batiitiibya abato bano ne kireetawo obukuubagano wakati wa bajjajja n’abaana baabwe abakulu. Kyokka, oboolyawo, olw’ekisa kyammwe eky’obwesimbu bazzukulu bammwe bayinza okwanguyirwa okubabuulira ekibali ku mutima bwe baba bawulira nga tebaagala kukibuulira bazadde baabwe. Ebiseera ebimu abato baba basuubira nti bajjajjaabwe bajja kubawagira mu nsonga ezo ze batakkiriziganyaako ne bazadde baabwe. Kati olwo kiki ekirina okukolebwa? Mukozese amagezi era mukubirize bazzukulu bammwe okubuulira bazadde baabwe ekibali ku mutima. Muyinza okubannyonnyola nti kino kisanyusa Yakuwa. (Abeefeso 6:1-3) Bwe kiba kyetaagisa, muyinza okwogerako n’abazadde baabwe ku kizibu kyabwe. Mutegeeze bazzukulu bammwe ku ebyo bye muyize emyaka nga bwe gizze giyitawo. Obwesigwa n’obwesimbu bye mulaga bisobola okubaganyula.

TUUKAGANA N’EMBEERA NGA BW’OGENDA OKADDIWA

17. Bumalirivu ki omuwandiisi wa Zabbuli bwe yalaga Abakristaayo abagenda bakaddiwa bwe bandikoppye?

17 Emyaka bwe gigenda gyekulungula, ojja kukisanga nga tokyasobola kukola byonna bye wakolanga oba bye wandyagadde okukola. Omuntu ayolekagana atya n’obukadde? Muli oyinza okwewulira ng’alina emyaka 30 egy’obukulu, naye bw’otunulako mu ndabirwamu ekulaga kirala nnyo. Toterebuka. Omuwandiisi wa Zabbuli yeegayirira Yakuwa: “Tonsuula mu biro eby’obukadde; tondekanga amaanyi gange bwe galimbula.” Fuba okukoppa obumalirivu bw’omuwandiisi wa Zabbuli. Yagamba: “Naasuubiranga ennaku zonna, era naayongeranga okukutenderezanga bulijjo.”​—Zabbuli 71:9, 14.

18. Omukristaayo omukulu ayinza atya okukozesa okuwummula kwe ku mulimu mu ngeri ey’omuganyulo?

18 Bangi bateeseteese okutendereza Yakuwa mu ngeri esingawo oluvannyuma lw’okuwummula ku mulimu. “Nnateekateeka kye ndikola nga muwala waffe avudde mu ssomero,” bw’atyo taata omu eyawummula ku mulimu bw’annyonnyola. “Nnamalirira okutandika mu buweereza bw’okubuulira ekiseera kyonna, era nnatunda bizineesi yange nsobole okuba n’ebiseera okuweereza Yakuwa ekisingawo. Nnasaba okufuna obulagirizi bwa Katonda.” Bw’oba osemberedde emyaka egy’okuwummula ku mulimu, funa amaanyi mu bigambo by’Omutonzi waffe ow’Ekitalo: “N’okutuusa ku bukadde nze nzuuyo: n’okutuusa ku nvi naabasitulanga.”​—Isaaya 46:4.

19. Abakaddiye baweebwa kubuulirirwa ki?

19 Okutuukana n’embeera ebaawo ng’owumudde ku mulimu kiyinza obutaba kyangu. Omutume Pawulo yawa abasajja abakaddiye amagezi okuba ne “empisa ezisaanira.” Kino kyetaagisa okwefuga, obuteekubiira lubege ku bulamu obw’okwegayaaza. Kiyinza okukwetaagisa okuba n’entegeka gy’ogoberera era n’okwekubiriza wekka n’okusinga bwe kyali nga tonnawummula ku mulimu. N’olwekyo, mube banyiikivu, “nga mulina eby’okukola bingi bulijjo mu mulimu gwa Mukama waffe, nga mumanyi nti okufuba kwammwe si kwa bwereere mu Mukama waffe.” (1 Abakkolinso 15:58, NW) Mwongere ku bye mukola musobole okuyamba abalala. (2 Abakkolinso 6:13) Abakristaayo bangi bakola bwe batyo nga banyiikirira okubuulira amawulire amalungi ng’obusobozi bwabwe bwe bubakkirizisa. Nga mweyongera okukaddiwa, mube ne “okukkiriza okulamu, okwagala, n’okugumiikiriza.”​—Tito 2:2, NW.

OKWOLEKAGANA N’OKUFIIRWA MUNNO MU BUFUMBO

20, 21. (a) Mu mbeera zino ez’ebintu, kiki ekyawukanya abafumbo? (b) Ana yateekawo atya ekyokulabirako ekirungi eri abo ababa bafiiriddwa bannaabwe mu bufumbo?

20 Kya nnaku naye ate nga kya mazima nti mu mbeera zino ez’ebintu, ekiseera kituuka okufa ne kwawukanyamu abafumbo. Abakristaayo abafiiriddwa bannaabwe mu bufumbo bakimanyi nti abaagalwa baabwe beebase, era balina obwesige nti baliddamu okubalaba. (Yokaana 11:11, 25) Naye era okufiirwa kuleeta ennaku nnyingi. Oyo asigaddewo asobola atya okugigumira? *

21 Bwe tujjukira ekyo omuntu omu mu Baibuli kye yakola kijja kutuyamba. Ana yafuuka nnamwandu nga yaakabeera mu bufumbo emyaka musanvu gyokka, ate we tumusomerako yali wa myaka 84 egy’obukulu. Tusobola okuba abakakafu nti yanakuwala nnyo bwe yafiirwa omwami we. Yasobola atya okuguma? Yenyigiranga mu kuweereza okutukuvu eri Yakuwa Katonda mu yeekaalu ekiro n’emisana. (Lukka 2:36-38) Awatali kubuusabuusa, obulamu bwa Ana obw’okuweereza obwalimu okusaba bwasobola okumumalako ennaku n’ekiwuubaalo kye yalina nga nnamwandu.

22. Bannamwandu ne bassemwandu abamu basobodde batya okugumira ekiwuubaalo?

22 “Ekizibu ekinene kye njolekaganye nakyo kwe kubulwa omuntu gwe njogera naye,” bw’atyo omukazi ow’emyaka 72 egy’obukulu eyafiirwa omwami we emyaka kkumi egiyise bw’annyonnyola. “Omwami wange yawulirizanga bulungi. Twayogeranga ku kibiina ne ku buweereza bwaffe obw’Ekikristaayo.” Nnamwandu omulala agamba: “Wadde ng’ebiseera bwe biyitawo obulumi buggwaawo, nze nkizudde nti ekisingako okuba ekituufu kwe kwogera nti ebyo omuntu by’akola mu biseera by’alina bye bimumalako obulumi. Oba mu mbeera esingako obulungi okuyamba abalala.” Ssemwandu ow’emyaka 67 egy’obukulu akkiriza, ng’agamba: “Engeri ennungi esobola okukuyamba okuguma ng’ofiiriddwa kwe kwewaayo okubudaabuda abalala.”

KATONDA AKUTWALA NG’OLI WA MUWENDO NG’OKADDIYE

23, 24. Kubudaabudibwa ki Baibuli kw’ewa abo abakaddiye, naddala abo abafiiriddwako bannaabwe?

23 Wadde ng’okufa kukutwalako munno omwagalwa, Yakuwa asigala nga mwesigwa, era nga wa mazima. “Ekintu kimu kye nsabye Yakuwa,” bw’atyo Kabaka Dawudi ow’edda bwe yayimba, “kye nnaanoonyanga, nsobole okutuulanga mu nnyumba ya Yakuwa ennaku zonna ez’obulamu bwange, okutunuuliranga obulungi bwa Yakuwa n’okusiimanga yeekaalu ye.”​—Zabbuli 27:4, NW.

24 “Obawenga ekitiibwa bannamwandu ababa bannamwandu ddala,” bw’atyo omutume Pawulo bw’akubiriza. (1 Timoseewo 5:3) Okubuulirirwa okuweebwa oluvannyuma lw’ekiragiro kino kulaga nti bannamwandu abasaanira abatalina ba ŋŋanda zaabwe ba ku lusegere ekibiina kiyinza okubawa obuyambi bw’ebintu obwetaagibwa. Kyokka, amakulu g’ekiragiro ‘okuwa ekitiibwa’ gatwaliramu okubatwala nga ba muwendo. Nga bannamwandu ne bassemwandu abatya Katonda bafuna okubudaabudibwa kwa maanyi bwe bamanya nti Yakuwa abatwala nga ba muwendo era nti ajja kubawanirira!​—Yakobo 1:27.

25. Abakaddiye basigala balina kiruubirirwa ki?

25 “Ekitiibwa ky’abasajja abakadde ze nvi zaabwe,” Ekigambo kya Katonda ekyaluŋŋamizibwa bwe kigamba. Ziba ‘ngule ya kitiibwa bwe zirabikira mu kkubo ery’obutuukirivu.’ (Engero 16:31; 20:29, NW) Kale, weeyongere okukuumira obuweereza bwa Yakuwa mu kifo ekisooka mu bulamu bwo, k’obe ng’oli mufumbo oba ng’oli wekka nate. Mu ngeri eno ojja kwekolera erinnya eddungi eri Katonda kaakano era obe n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo mu nsi obulumi bw’okukaddiwa mwe butaliba nate.​—Zabbuli 37:3-5; Isaaya 65:20.

^ lup. 20 Okufuna ebisingawo ku nsonga eno, laba brocuwa When Someone You Love Dies, akaakubibwa aba Watchtower Bible and Tract Society of New York, Inc.