Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA EY’EKKUMI N’OMUKAAGA

Amaka Go Gateekereteekere Ebiseera eby’Omu Maaso eby’Olubeerera

Amaka Go Gateekereteekere Ebiseera eby’Omu Maaso eby’Olubeerera

1. Yakuwa yalina kigendererwa ki eri enteekateeka y’amaka?

YAKUWA bwe yagatta Adamu ne Kaawa mu bufumbo, Adamu yayoleka essanyu lye ng’ayogera ekitontome eky’Olwebbulaniya ekyasookera ddala okuwandiikibwa. (Olubereberye 2:22, 23) Kyokka, Omutonzi yalina ekigendererwa ekisingawo ku kusanyusa obusanyusa abaana be abantu. Yayagala abafumbo n’amaka gaabwe okukola by’ayagala. Yagamba abantu ababiri abaasooka: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye; mufugenga eby’omu nnyanja n’ebibuuka waggulu na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.” (Olubereberye 1:28) Nga gwali mulimu mulungi nnyo era oguganyula! Adamu ne Kaawa n’abaana be bandizadde nga bandibadde n’essanyu lingi nnyo singa baali bakoze Yakuwa by’ayagala mu bujjuvu!

2, 3. Amaka gayinza gatya okufuna essanyu erisingirayo ddala leero?

2 Era ne leero, amaka gaba masanyufu nnyo bwe gakolera awamu Katonda by’ayagala. Omutume Pawulo yawandiika: “Okutya Katonda kugasa mu byonna, kubanga kulina okusuubiza kw’obulamu obwa kaakano n’obw’obugenda okujja.” (1 Timoseewo 4:8) Amaka agatya Katonda era agagoberera obulagirizi bwa Yakuwa nga bwe buli mu Baibuli gajja kufuna essanyu mu ‘bulamu obwa kaakano.’ (Zabbuli 1:1-3; 119:105; 2 Timoseewo 3:16) Ne bwe kiba nti omu yekka ku b’omu maka y’agoberera emisingi gya Baibuli, embeera eba nnungiko okusinga lwe watabaawo n’omu.

3 Ekitabo kino kyogedde ku misingi gya Baibuli mingi egireeta essanyu mu maka. Oboolyawo okyetegerezza nti egimu ku gyo gyogeddwako enfunda nnyingi mu kitabo kino. Lwaki? Kubanga gyoleka amazima ag’ekitalo agaganyula bonna mu mbeera ez’enjawulo mu maka. Amaka aganyiikira okugoberera emisingi gya Baibuli gino gakizuula nti okutya Katonda ddala “kulina okusuubiza okw’obulamu obwa kaakano.” Ka tuddemu nate okwetegereza ena ku misingi egyo emikulu.

OBUKULU BW’OKWEFUGA

4. Lwaki okwefuga kukulu mu bufumbo?

4 Kabaka Sulemaani yagamba: “Ataziyiza mwoyo gwe ali ng’ekibuga ekimenyese so nga tekirina bbugwe.” (Engero 25:28; 29:11) ‘Omuntu okuziyiza omwoyo gwe,’ okwefuga, kikulu nnyo eri abo abaagala obufumbo obw’essanyu. Okwoleka enneewulira ez’omunda ezoonoona, gamba nga obusungu oba okwegomba eby’obugwenyufu kuleetawo obulumi obuyinza okutwala emyaka emingi okumalawo​—bwe kiba nga kiyinzika.

5. Omuntu atatuukiridde ayinza atya okukulaakulanya okwefuga, era miganyulo ki egivaamu?

5 Kya lwatu, tewali muzzukulu wa Adamu n’omu asobola kufugira ddala mubiri gwe ogutali mutuukirivu. (Abaruumi 7:21, 22) Wadde kiri bwe kityo, okwefuga kibala kya mwoyo. (Abaggalatiya 5:22, 23) N’olwekyo, omwoyo gwa Katonda gujja kutuyamba okwefuga singa tusaba okufuna engeri eno, singa tugoberera okubuulirira okusangibwa mu Byawandiikibwa, era singa tukolagana n’abalala abalina engeri eyo ne twewala abatagirina. (Zabbuli 119:100, 101, 130; Engero 13:20; 1 Peetero 4:7) Bwe tukola bwe tutyo, kijja kutuyamba ‘okwewala obwenzi,’ ne bwe tuba nga tukemeddwa. (1 Abakkolinso 6:18) Tujja kulekayo obukambwe era twewale oba tuwangule omuze ogw’okwekamirira omwenge. Era tujja kuba bakkakkamu nga batunyiizizza oba nga twolekaganye n’embeera enzibu. Ffenna awamu​—nga mw’otwalidde n’abaana​—ka tukulaakulanye ekibala ky’omwoyo kino ekikulu.​—Zabbuli 119:1, 2.

ENDOWOOZA ENTUUFU KU BUKULEMBEZE

6. (a) Ntegeka ki ey’obukulembeze Katonda gye yateekawo? (b) Omusajja alina kujjukira ki singa obukulembeze bwe bwa kuleeta essanyu mu maka ge?

6 Omusingi ogw’okubiri omukulu kwe kussa ekitiibwa mu bukulembeze. Pawulo yannyonnyola entegeka y’ebintu entuufu bwe yagamba: “Njagala mmwe okumanya ng’omutwe gwa buli musajja ye Kristo; n’omutwe gw’omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.” (1 Abakkolinso 11:3) Kino kitegeeza nti omusajja y’atwala obukulembeze mu maka, mukyala we n’amuwagira, n’abaana ne bagondera bazadde baabwe. (Abeefeso 5:22-25, 28-33; 6:1-4) Kyokka, weetegereze nti obukulembeze okusobola okuleeta essanyu bulina okukozesebwa mu ngeri entuufu. Abaami abatya Katonda bakimanyi nti okubeera omutwe tekitegeeza kubeera nnaakyemalira. Bakoppa Yesu, Omutwe gwabwe. Newakubadde Yesu yali wa kuba “mutwe ku byonna,” ‘teyajja kuweerezebwa, wabula okuweereza.’ (Abeefeso 1:22; Matayo 20:28) Mu ngeri y’emu, omusajja Omukristaayo akozesa obukulembeze bwe, si kwefaako yekka, naye okukola ku byetaago bya mukyala we n’abaana.​—1 Abakkolinso 13:4, 5.

7. Misingi ki egy’omu Byawandiikibwa eginaayamba omukyala okutuukiriza ekifo kye mu maka ekyamuweebwa Katonda?

7 Ng’atuukiriza ekifo kye, omukyala atya Katonda tagezaako kuvuganya oba kufuga mwami we. Asanyuka okumuwagira era n’okukolera awamu naye. Baibuli oluusi eyogera ku mukyala okuba ng’alina bba ‘amulinako obwannannyini,’ n’ekyoleka bulungi nti omwami gwe mutwe. (Olubereberye 20:3, NW) Bw’abeera mu bufumbo “afugibwa bba.” (Abaruumi 7:2) Mu kiseera kye kimu, Baibuli emuyita “mubeezi” era ‘omujjuuliriza.’ (Olubereberye 2:20, NW) Ajjuuliriza engeri n’obusobozi omwami we by’atalina, era amuwa obuwagizi obwetaagibwa. (Engero 31:10-31) Baibuli era egamba nti omukyala ‘munne’ wa mwami, bwe bakolera awamu. (Malaki 2:14) Emisingi gino egy’omu Byawandiikibwa giyamba omwami n’omukyala buli omu okutegeera ekifo kya munne era buli omu okuwa munne ekitiibwa.

‘BEERANGA MWANGU WA KUWULIRA’

8, 9. Nnyonnyola egimu ku misingi eginaayamba ab’omu maka bonna okulongoosa empuliziganya yaabwe.

8 Mu kitabo kino obukulu bw’empuliziganya bwogeddwako emirundi mingi. Lwaki? Kubanga ebintu bitambula bulungi abantu bwe boogeraganya era buli omu n’awuliriza munne. Kyaggumizibwa enfunda n’enfunda nti empuliziganya yenyigirwamu abakwatibwako bombi. Omuyigirizwa Yakobo yakyogerako bw’ati: “Buli muntu abeerenga mwangu wa kuwulira, alwengawo okwogera.”​—Yakobo 1:19.

9 Era kikulu okwegendereza engeri gye twogeramu. Ebigambo eby’ensumattu, eby’okuyomba, oba ebivumirira tebireetawo mpuliziganya nnungi. (Engero 15:1; 21:9; 29:11, 20) Ne bwe kiba nga kye twogera kituufu, bwe kyogerwa n’obukambwe, n’amalala oba awatali kufaayo ku nneewulira z’abalala, kijja kulumya bulumya. Okwogera kwaffe kusaanidde okubaamu akawoowo, nga ‘kunoze omunnyo.’ (Abakkolosaayi 4:6) Ebigambo byaffe bisaanidde okuba “ng’amapeera aga zaabu mu bisero ebya ffeeza.” (Engero 25:11) Amaka agalina empuliziganya ennungi gayambiddwa kinene nnyo okufuna essanyu.

OBUKULU BW’OKWAGALA

10. Kika ki eky’okwagala ekikulu ennyo mu bufumbo?

10 Ekigambo “okwagala” kirabika enfunda n’enfunda mu kitabo kino. Ojjukira ekika ky’okwagala ekyayogerwako ennyo? Kituufu nti okwagala wakati w’omusajja n’omukazi (Oluyonaani, eʹros) kulina kinene kye kukola mu bufumbo, era mu bufumbo obulungi, omukwano ogw’amaanyi (Oluyonaani, phi·liʹa) gweyongera okukula wakati w’omwami n’omukyala. Naye, ate ekisingawo n’obukulu kwe kwagala okukiikirirwa ekigambo ky’Oluyonaani a·gaʹpe. Kuno kwe kwagala kwe tukulaakulanya eri Yakuwa, eri Yesu era n’eri muliraanwa waffe. (Matayo 22:37-39) Kwe kwagala Yakuwa kw’ayoleka eri olulyo lw’omuntu. (Yokaana 3:16) Nga kirungi nnyo okuba nti tusobola okulaga okwagala kwe kumu okwo eri munnaffe mu bufumbo era n’eri abaana baffe!​—1 Yokaana 4:19.

11. Okwagala kuganyula kutya obufumbo?

11 Mu bufumbo okwagala kuno okw’omutindo ogwa waggulu, mazima ddala ‘kye kintu ekinywereza ddala.’ (Abakkolosaayi 3:14) Kugatta wamu abafumbo ne kubaagazisa buli omu okukolera munne n’abaana ekisingayo obulungi. Amaka bwe goolekagana n’embeera enzibu, okwagala kugayamba okukolera awamu. Abafumbo bwe bagenda bakaddiwa, okwagala kubayamba buli omu okuwagira munne n’okweyongera okusiimagana. “Okwagala . . . tekunoonya byakwo, . . . kugumiikiriza byonna, kukkiriza byonna, kusuubira byonna, kuzibiikiriz[a] byonna. Okwagala tekuggwaawo emirembe gyonna.”​—1 Abakkolinso 13:4-8.

12. Lwaki abafumbo bwe baba baagala Katonda kinyweza obufumbo bwabwe?

12 Obufumbo buba bunywevu nnyo singa buba tebunywezeddwa kwagalana wakati w’abafumbo kwokka, wabula okusingira ddala okwagala eri Yakuwa. (Omubuulizi 4:9-12) Lwaki? Omutume Yokaana yawandiika: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye.” (1 Yokaana 5:3) N’olwekyo, abafumbo basaanidde okutendeka abaana baabwe okutya Katonda, si lwa kuba nti baagala nnyo abaana baabwe kyokka, naye olw’okuba kino kiragiro kya Yakuwa. (Ekyamateeka 6:6, 7) Bandyewaze obwenzi si lwa kuba nti baagalana kyokka naye okusingira ddala olw’okuba baagala Yakuwa, oyo ‘alisalira abakaba n’abenzi omusango.’ (Abebbulaniya 13:4) Ka kibe nti omu ku bafumbo aleetawo ebizibu eby’amaanyi mu bufumbo, okwagala eri Yakuwa kujja kusobozesa omulala okweyongera okugoberera emisingi gya Baibuli. Mazima ddala, amaka nga gaba geesiimye nnyo okwagalana kwe balina bokka na bokka bwe kunywezebwa okwagala kwe balina eri Yakuwa!

AMAKA AGAKOLA KATONDA BY’AYAGALA

13. Okubeera abamalirivu okukola Katonda by’ayagala kinaayamba kitya abantu abakulembeza ebintu ebisinga obukulu?

13 Obulamu bw’Omukristaayo bwonna bwesigamye ku kukola Katonda by’ayagala. (Zabbuli 143:10) Gano ge makulu gennyini ag’okutya Katonda. Okukola Katonda by’ayagala kuyamba amaka okukulembeza ebintu ebisinga obukulu. (Abafiripi 1:9, 10) Ng’ekyokulabirako, Yesu yalabula: “Najja kwawukanya omwana ne kitaawe, omuwala ne nnyina, omugole ne nnyazaala we; abalabe b’omuntu banaabanga ba mu nnyumba ye.” (Matayo 10:35, 36) Nga kituukagana n’okulabula kwa Yesu, abagoberezi be bangi bayigganyizibwa ab’omu maka gaabwe. Nga mbeera ya nnaku, era ya bulumi! Wadde kiri bwe kityo, okwagala kwe tulina eri ab’omu maka tekuteekwa kusinga kwagala kwe tulina eri Yakuwa Katonda ne Yesu Kristo. (Matayo 10:37-39) Singa omuntu agumiikiriza ng’aziyizibwa ab’omu maka ge, abamuziyiza bayinza okukyusaako bwe balaba ebirungi ebiva mu kutya Katonda. (1 Abakkolinso 7:12-16; 1 Peetero 3:1, 2) Ka kibe ng’ekyo tekibaddewo, tewali kirungi kya lubeerera kiyinza kufunibwa singa olekayo okuweereza Katonda olw’okuziyizibwa.

14. Okwagala okukola Katonda by’ayagala kuyamba kutya abazadde okukola ebyo ebinaasinga okuganyula abaana baabwe?

14 Okukola Katonda by’ayagala kuyamba abazadde okukola okusalawo okutuufu. Ng’ekyokulabirako, mu bitundu ebimu abazadde batwala abaana baabwe ng’eky’okufunamu amagoba, era basuubira abaana baabwe okubalabirira nga bakaddiye. Wadde nga kituufu era nga kisaana abaana abakuze okulabirira bazadde baabwe abakaddiye, endowooza ng’eyo teyandireetedde bazadde kukubiriza baana baabwe kwemalira ku kunoonya bya bugagga. Abazadde baba tebayambye baana baabwe singa babateekamu omwoyo ogwagala ennyo ebintu okusinga eby’eby’omwoyo.​—1 Timoseewo 6:9.

15. Mu ngeri ki nnyina wa Timoseewo, Ewuniike, gye yali ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’omuzadde eyakola Katonda by’ayagala?

15 Ekyokulabirako ekirungi ku nsonga eno ye Ewuniike, nnyina wa mukwano gwa Pawulo omuto Timoseewo. (2 Timoseewo 1:5) Newakubadde yali afumbiddwa atali mukkiriza, Ewuniike, ne jjajja wa Timoseewo Looyi, baakuza Timoseewo n’aba nga atya Katonda. (2 Timoseewo 3:14, 15) Timoseewo bwe yakula ekimala, Ewuniike yamukkiriza okuva awaka atandike okukolera awamu ne Pawulo ng’omuminsani mu mulimu gw’okubuulira Obwakabaka. (Ebikolwa 16:1-5) Ng’ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo omwana we bwe yafuuka omuminsani omwatiikirivu! Okutya Katonda kwe yayoleka mu bukulu bwe kwalaga nti yatendekebwa bulungi ng’akyali muto. Mazima ddala, Ewuniike yafuna okumatira n’essanyu bwe yawuliranga ebifa ku buweereza bwa Timoseewo obw’obwesigwa, wadde nga oboolyawo yasaalirwa obutabeera naye.​—Abafiripi 2:19, 20.

AMAKA N’EBISEERA BYO EBY’OMU MAASO

16. Ng’omwana, kufaayo ki okusaanidde Yesu kwe yalaga, naye ekigendererwa kye ekikulu kyali ki?

16 Yesu yakulira mu maka agatya Katonda, era ng’akuze yalaga engeri omwana gy’alina okufaayo ku nnyina. (Lukka 2:51, 52; Yokaana 19:26) Kyokka, ekigendererwa kya Yesu ekikulu kyali kutuukiriza Katonda by’ayagala, era kino kyali kitwaliramu okuggulirawo abantu ekkubo ery’okufuna obulamu obutaggwaawo. Kino yakikola bwe yawaayo obulamu bwe obw’omuntu obutuukiridde ng’ekinunulo olw’abantu aboonoonyi.​—Makko 10:45; Yokaana 5:28, 29.

17. Ssuubi ki ery’ekitiibwa ekkubo lya Yesu ery’obwesigwa lye lyaggulirawo abo abakola Katonda by’ayagala?

17 Oluvannyuma lw’okufa kwa Yesu, Yakuwa yamuzuukiza mu bulamu obw’omu ggulu n’amuwa obuyinza bungi, n’oluvannyuma n’amufuula Kabaka mu Bwakabaka obw’omu ggulu. (Matayo 28:18; Abaruumi 14:9; Okubikkulirwa 11:15) Ssaddaaka ya Yesu yasobozesa abantu abamu okulondebwa okufuga naye mu Bwakabaka obwo. Era yaggulirawo abantu abalala ab’emitima emirungi ekkubo okusobola okunyumirwa obulamu obutuukiridde ku nsi eriba efuuliddwa olusuku lwa Katonda. (Okubikkulirwa 5:9, 10; 14:1, 4; 21:3-5; 22:1-4) Emu ku nkizo enkulu ennyo gye tulina leero kwe kubuulira baliraanwa baffe amawulire gano amalungi ag’ekitiibwa.​—Matayo 24:14.

18. Kujjukizibwa ki era kukubiriza ki okuweebwa amaka na buli muntu kinnoomu?

18 Ng’omutume Pawulo bwe yalaga, obulamu obw’okutya Katonda buwa essuubi nti abantu basobola okufuna emikisa egyo mu bulamu “obugenda okujja.” Mazima ddala, eno ye ngeri esingirayo ddala obulungi ey’okufuna essanyu! Kijjukire, “ensi eggwaawo, n’okwegomba kwayo; naye akola Katonda by’ayagala abeerera emirembe egitaggwaawo.” (1 Yokaana 2:17) N’olwekyo, k’obe ng’oli mwana oba muzadde, mwami oba mukyala, oba muntu mukulu atali mufumbo alina oba atalina baana, fuba okukola Katonda by’ayagala. Ka kibe nti onyigirizibwa oba ng’oyolekaganye n’obuzibu obw’amaanyi ennyo, teweerabiranga nti oli muweereza wa Katonda omulamu. Bwe kityo, ebikolwa byo ka bireetere Yakuwa essanyu. (Engero 27:11) Era empisa zo ka zikuviiremu essanyu mu biseera bino n’obulamu obutaggwaawo mu nsi empya egenda okujja!