Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Danyeri—Ekitabo Ekiwozesebwa

Danyeri—Ekitabo Ekiwozesebwa

Essuula ey’Okubiri

Danyeri—Ekitabo Ekiwozesebwa

1, 2. Ekitabo kya Danyeri kivunaanibwa kitya, era lwaki olowooza kikulu okwekenneenya obujulizi obukiwagira?

KUBA ekifaananyi ng’oli mu kkooti owulira omusango oguwozebwa. Omusajja avunaanibwa omusango ogw’okugingaginga ebintu. Munnamateeka ow’oludda oluwaabi alumiriza nti omusajja oyo yazza omusango ogwo. Kyokka, omuwawaabirwa amaze ebbanga ng’amanyiddwa ng’omuntu omwesigwa. Tewandyagadde kuwulira bujulizi bw’oludda oluwawaabirwa?

2 Oli mu mbeera efaananako bw’etyo bwe kituuka ku kitabo kya Danyeri eky’omu Baibuli. Omuwandiisi waakyo yali musajja amanyiddwa ng’omuntu omwesigwa. Ekitabo ekiyitibwa erinnya lye kibadde kissibwamu nnyo ekitiibwa okumala enkumi n’enkumi z’emyaka. Kyeyogerako ng’ekitabo ekirimu ebyafaayo eby’amazima ebyawandiikibwa Danyeri, nnabbi Omwebbulaniya eyaliwo mu kyasa eky’omusanvu n’eky’omukaaga B.C.E. Embalirira y’emyaka entuufu eyeesigamiziddwa ku Baibuli eraga nti ekitabo kye kikwata ku kiseera okuva mu mwaka 618 okutuuka mu 536 B.C.E., era nga kyamalirizibwa mu mwaka ogwo ogwa 536 B.C.E. Naye ekitabo kino kivunaanibwa. Ebitabo ebimu bigamba nti kigingeginge.

3. Ekitabo The New Encyclopædia Britannica kyogera ki ku butuufu bw’ekitabo kya Danyeri?

3 Ng’ekyokulabirako, ekitabo The New Encyclopædia Britannica kigamba nti ekitabo kya Danyeri “kyali kirowoozebwa okubeera eky’ebyafaayo eby’amazima, nga mulimu obunnabbi obw’amazima.” Kyokka, Britannica kigamba nti Danyeri “kyawandiikibwa luvannyuma nga waguddewo akatyabaga mu ggwanga—Abayudaaya bwe baali nga bayigganyizibwa nnyo [Kabaka wa Busuuli] Epifane Antiyokasi ow’Okuna.” Ekitabo kino kigamba nti ekitabo kya Danyeri kyawandiikibwa wakati wa mwaka 167 ne 164 B.C.E. Era ekitabo kye kimu kigamba nti omuwandiisi w’ekitabo kya Danyeri talagula bya mu maaso wabula ayogera ku “byaliwo emabega mu byafaayo ng’obunnabbi bw’ebintu eby’okubaawo mu maaso.”

4. Okuvumirira ekitabo kya Danyeri kwatandika ddi, era kiki ekyaleetawo okuvumirira ng’okwo mu byasa ebyakayita?

4 Endowooza ng’ezo zisibuka wa? Okuvumirira ekitabo kya Danyeri si kintu kippya. Kwatandika dda eyo mu kyasa eky’okusatu C.E., n’omufirosoofo ayitibwa Pofulayi. Okufaananako bangi mu Bwakabaka bw’Abaruumi, yali mweraliikirivu olw’okukulaakulana kw’Obukristaayo. Yawandiika ebitabo 15 okusekeeterera eddiini eyo “empya.” Ekitabo ekya 12 kyali kivumirira kitabo kya Danyeri. Pofulayi yagamba nti ekitabo kya Danyeri kyali kigingirire, mbu kyawandiikibwa Omuyudaaya ow’omu kyasa eky’okubiri B.C.E. Okuvumirira okulala okufaananako bwe kutyo kwaliwo mu kyasa ekya 18 ne 19. Okusinziira ku ndowooza y’abantu ababuusabuusa era n’abavumirira obutuufu bw’ebyawandiikibwa mu Baibuli, okulagula ebinaabaawo mu maaso kyali tekisoboka. Danyeri yasimbibwako olukongoolo. Mu ngeri eno, ye n’ekitabo kye ne biba ng’ebyali biwozesebwa mu kkooti. Abavumirira baagamba nti baalina obujulizi obumala obulaga nti ekitabo kino tekyawandiikibwa Danyeri mu kiseera Abayudaaya we baawaŋŋangusizibwa e Babulooni. Naye mbu kyawandiikibwa omuntu omulala ebyasa bingi mu maaso. * Okuvumirira okw’engeri eyo kwacaaka nnyo ne kiba nti omuwandiisi omu yawandiika ekitabo ekikiwolereza nga kiyitibwa Daniel in the Critics’ Den. (Danyeri mu Bunnya bw’Abavumirira)

5. Lwaki ensonga ekwata ku butuufu bw’ekitabo kya Danyeri nkulu nnyo?

5 Ebyo ebyogerwa abavumirira biriko obukakafu? Oba obujulizi buwagira ludda oluwawaabirwa? Waliwo ebintu ebikulu bingi ebikwatibwako. Si butuufu bwokka obw’ekitabo ekyo eky’edda naye n’ebiseera byaffe eby’omu maaso bizingirwamu. Bwe kiba nti ekitabo kya Danyeri kigingeginge, ebisuubizo ebikirimu ebikwata ku biseera by’omuntu eby’omu maaso bya busa. Naye bwe kiba nti kirimu obunnabbi obw’amazima, mazima ddala ojja kwagala okumanya kye butegeeza gye tuli leero. Nga tulina bino mu birowoozo, ka twekenneenye ebimu ku ebyo ebyogerwa ku kitabo kya Danyeri.

6. Kiki ekitera okwogerwa ku byafaayo ebiri mu Danyeri?

6 Ng’ekyokulabirako, lowooza ku byogerwa mu kitabo The Encyclopedia Americana: “Ebintu bingi ebikwata ku biseera eby’edda [gamba ng’eky’obuwaŋŋanguse mu Babulooni] binyooleddwanyooleddwa” mu Danyeri. Ddala kino bwe kiri? Ka twekenneenye ebintu bisatu ebitwalibwa ng’ensobi.

KABAKA ALOWOOZEBWA NTI TEYALIIWO

7. (a) Lwaki okumala ebbanga ddene abavumirira Baibuli baayagalanga nnyo obutundu obwo Danyeri w’ayogerera ku Berusazza? (b) Kiki ekyatuuka ku ndowooza egamba nti Berusazza muntu atabangawo?

7 Danyeri yawandiika nti Berusazza, “omwana” wa Nebukadduneeza, ye kabaka eyali afuga mu Babulooni we kyawambirwa. (Danyeri 5:1, 11, 18, 22, 30) Abavumirira bamaze ebbanga ddene ng’ekyo bakiwakanya, olw’okuba erinnya lya Berusazza teryali walala wonna okuggyako mu Baibuli. Mu kifo ky’ekyo, bannabyafaayo ab’edda baagambanga nti Nabonidasi, eyaddira Nebukadduneeza mu bigere, ye yali kabaka wa Babulooni eyasembayo. N’olw’ensonga eyo, mu 1850, Ferdinand Hitzig yagamba nti Berusazza muntu eyagunjibwawo omuwandiisi. Naye tolaba nti Hitzig yayanguyiriza okutuuka ku ndowooza eyo? Okuba nti kabaka ono tayogerwako, naddala mu kiseera kye tulinako obuwandiike obutono obw’ebyafaayo, ddala kikakasa nti tabangawo? Mu 1854 ebibya by’ebbumba byasimibwa mu kifo awaali ekibuga kya Babulooni eky’edda ekiyitibwa Uli, mu maserengeta g’eggwanga kati eriyitibwa Iraq. Ebiwandiiko bino ebya Kabaka Nabonidasi ebyali mu mpandiika ey’edda ennyo byalimu essaala egamba nti “Bel-sar-ussur, omwana wange asinga obukulu.” N’abavumirira baawalirizibwa okukikkiriza nti: Ono ye yali Berusazza ow’omu kitabo kya Danyeri.

8. Danyeri bye yayogera ku Berusazza nga kabaka eyali afuga bikakasiddwa bitya nti bituufu?

8 Kyokka era, ekyo tekyamatiza bavumirizi. Omu ku bo ayitibwa H. F. Talbot yawandiika: “Kino tekirina kye kikakasa.” Yagamba nti omwana ayogerwako mu kiwandiiko ekyo ayinza okuba yali mwana muto, ssonga ate Danyeri amwogerako nga kabaka afuga. Naye, nga waakayitawo omwaka gumu gwokka oluvannyuma lwa Talbot okwogera bw’atyo, ebiwandiiko ebirala eby’edda ennyo byasimibwa mu ttaka ebyayogera ku Berusazza nti yalina abawandiisi n’abakozi ab’omu nnyumba. Kya lwatu, teyali mwana bwana! Oluvannyuma, ebiwandiiko ebirala byasalawo eggoye, nga biraga nti ebiseera ebimu Nabonidasi teyabeeranga mu Babulooni okumala emyaka egiwera. Ebiwandiiko bino era byalaga nti mu biseera ng’ebyo, “obufuzi” bwa Babulooni yabulekeranga mutabani we omukulu (Berusazza). Mu biseera ng’ebyo, Berusazza, ddala yabeeranga kabaka afugira awamu ne kitaawe. *

9. (a) Lwaki Danyeri yayita Berusazza mutabani wa Nebukadduneeza? (b) Lwaki abavumirira baba bakyamu okugamba nti Danyeri tayogera ku kubeerawo kwa Nabonidasi?

9 Era nga tebamatidde, abavumirizi abamu bagamba nti Berusazza Baibuli emuyita mutabani wa Nebukadduneeza so si mutabani wa Nabonidasi. Abamu bakalambira nti Danyeri talina ky’ayogera kyonna ekiraga nti Nabonidasi yaliwo. Kyokka, okuwakana okwo bwe kwekenneenyezebwa kizuulibwa nti kwa bwereere. Kirabika nti Nabonidasi yawasa muwala wa Nebukadduneeza. Kino kifuula Berusazza okuba muzzukulu wa Nebukadduneeza. Olulimi Olwebbulaniya n’Olwalamayiki tebirina bigambo “jjajja” oba “muzzukulu”; ebigambo “omwana wa” biyinza okutegeeza “muzzukulu wa” oba “ow’omu lunyiriri lwa.” (Geraageranya Matayo 1:1.) Ate era, okusinziira ku Baibuli ky’eyogera kiba kisoboka okuyita Berusazza mutabani wa Nabonidasi. Ng’akwatiddwa entiisa olw’ebigambo ebitategeerekeka ebiwandiikiddwa ku kisenge, Berusazza, asuubiza okuwa ekifo eky’okusatu mu bwakabaka omuntu yenna asobola okutegeeza amakulu g’ebigambo ebyo. (Danyeri 5:7) Lwaki asuubiza kifo eky’okusatu so si kya kubiri? Ky’asuubiza kiraga nti ekifo ekisooka n’eky’okubiri mwalimu abantu. Mu butuufu, bano baali, Nabonidasi ne mutabani we, Berusazza.

10. Lwaki Danyeri awa kalonda mungi ku bwakabaka bwa Babulooni okusinga bannabyafaayo abalala ab’edda?

10 N’olwekyo, Danyeri okwogera ku Berusazza si bukakafu obulaga nti bino byafaayo “ebigingirire.” Okwawukana ku ekyo, wadde Danyeri yali tawandiika byafaayo bya Babulooni, atuwa kalonda mungi akwata ku bwakabaka bwa Babulooni n’okusinga bannabyafaayo ab’edda bangi, gamba nga Herodotasi, Kizenofoni, ne Berosasi. Lwaki Danyeri yasobola okuwandiika ebintu bye bataawandiikako? Olw’okuba yaliyo mu Babulooni. Yawandiika ekitabo kye ng’omuntu eyalabako n’amaaso ge, so si ng’omuntu omukuusa eyaliwo mu byasa eby’oluvannyuma.

DALIYO OMUMEEDI YE YALI ANI?

11. Okusinziira ku Danyeri, Daliyo Omumeedi ye yali ani, naye kiki ekimwogeddwako?

11 Danyeri alaga nti Babulooni bwe kyawambibwa, kabaka ayitibwa “Daliyo Omumeedi” yatandika okufuga. (Danyeri 5:31) Erinnya Daliyo Omumeedi terinnazuulibwa mu biwandiiko ebirala oba mu bintu ebizuuliddwa abakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda. Bwe kityo, ekitabo The New Encyclopædia Britannica kigamba nti Daliyo ono “tabangawo.”

12. (a) Lwaki abavumirira Baibuli bandibadde beegendereza okwogera nti Daliyo Omumeedi tabangawo? (b) Ani ayinza okuba nga ye yali Daliyo Omumeedi, era bujulizi ki obulaga ekyo?

12 Abeekenneenya abamu babadde beegendereza okusingawo. Anti, emabegako abavumirira era baagambanga nti Berusazza naye “tabangawo.” Awatali kubuusabuusa, n’ekikwata ku Daliyo bwe kijja okubeera. Ebiwandiiko eby’edda ennyo biraze nti Kuulo Omuperusi teyeeyita “Kabaka wa Babulooni” amangu ddala nga yaakawangula. Omunoonyereza omu yagamba: “Eyayitibwa ‘Kabaka wa Babulooni’ yali kabaka eyakoleranga ku biragiro bya Kuulo, so si Kuulo kennyini.” Kyandiba nga Daliyo kyali kitiibwa ky’omukungu Omumeedi gwe baasigira Babulooni? Abamu bagamba nti Daliyo ayinza okuba yali musajja ayitibwa Gubaru. Kuulo yalonda Gubaru okubeera gavana mu Babulooni, era ebiwandiiko ebirala ebitali bya Baibuli bikakasa nti yalina obuyinza bungi. Ekiwandiiko ekimu eky’edda ennyo kigamba nti yalonda ababeezi ba gavana okufuga mu Babulooni. Danyeri agamba nti Daliyo yalonda ab’amasaza 120 okufuga obwakabaka bwa Babulooni.—Danyeri 6:1.

13. Lwaki Daliyo Omumeedi ayogerwako mu kitabo kya Danyeri naye n’atayogerwako mu biwandiiko ebirala?

13 Gye bujja, obujulizi obusingawo obulagira ddala ani yali kabaka ono buyinza okufunibwa. Naye, okuba nti abakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda tebannabaako kye boogera ku nsonga eno tekiyinza kusinziirwako okugamba nti Daliyo “tabangawo,” oba nti ekitabo kyonna ekya Danyeri kya bulimba. Kiba kya magezi okutwala Danyeri bye yawandiika ng’obujulizi bw’omuntu eyalabako n’amaaso ge era obuwa kalonda omungi ennyo okusinga ebiwandiiko ebirala ebiriwo ebitali bya Baibuli.

OBUFUZI BWA YEKOYAKIMU

14. Lwaki tewaliiwo kukontana kwonna wakati wa Danyeri ne Yeremiya ku bikwata ku myaka egy’obufuzi bwa Kabaka Yekoyakimu?

14 Danyeri 1:1 lugamba: “Mu mwaka ogw’okusatu mu mirembe gya Yekoyakimu kabaka wa Yuda, Nebukadduneeza kabaka w’e Babulooni n’ajja e Yerusaalemi, n’akizingiza.” Abavumirira tebakkiriza biri mu kyawandiikibwa kino olw’okuba kirabika ng’ekitakkiriziganya na Yeremiya, agamba nti omwaka ogw’okuna ogwa Yekoyakimu gwe gwali omwaka ogusooka ogwa Nebukadduneeza. (Yeremiya 25:1; 46:2) Danyeri yali akontana ne Yeremiya? Bwe tumanya ebisingawo, ensonga etangaazibwa bulungi. Falaawo Neko bwe yali yaakamufuula kabaka mu 628 B.C.E., Yekoyakimu yali akolera ku biragiro by’omufuzi oyo owa Misiri. Kino kyaliwo emyaka ng’esatu nga Nebukadduneeza tannasikira kitaawe ku ntebe ya Babulooni, mu 624 B.C.E. Nga wayiseewo ebbanga ttono (mu 620 B.C.E.), Nebukadduneeza yalumba Yuda n’afuula Yekoyakimu kabaka akolera ku biragiro bya Babulooni. (2 Bassekabaka 23:34; 24:1) Eri Omuyudaaya mu Babulooni, omwaka gwa Yekoyakimu “ogw’okusatu” gwe gwandibadde omwaka ogw’okusatu nga kabaka oyo akolera ku biragiro bya Babulooni. Danyeri yawandiika ng’alina endaba bw’etyo. Kyokka, Yeremiya yawandiika ng’asinziira ku ndaba y’Abayudaaya abaali babeera munda mu Yerusaalemi. N’olwekyo, yatwala obwakabaka bwa Yekoyakimu okuba nga bwatandikira mu kiseera Falaawo Neko lwe yamufuula kabaka.

15. Lwaki tekiriimu nsa okuwakanya embalirira y’emyaka eri mu Danyeri 1:1?

15 Mazima ddala, kino kye batwala ng’ekitakwatagana kyongera kunyweza bunyweza obujulizi obulaga nti Danyeri yawandiika ekitabo kye ng’ali mu Babulooni awamu n’Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse. Naye era waliwo ekikyamu ekirala eky’olwatu mu ebyo ebyogerwa abavumirira ekitabo kya Danyeri. Jjukira nti omuwandiisi wa Danyeri yalina ekitabo kya Yeremiya era yakyogera nako. (Danyeri 9:2) Singa omuwandiisi wa Danyeri yali mukujjukujju mu kugingaginga, ng’abavumirira bwe bagamba, yandikoze ensobi ey’okukontana n’ekitabo kya Yeremiya ekyali kissibwamu ennyo ekitiibwa? Ate n’akikola mu lunyiriri olusooka olw’ekitabo kye? Kya lwatu nedda!

KALONDA ABIKKULA EBINTU

16, 17. Obujulizi obuzuuliddwa abakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda buwagira butya Danyeri kye yayogera ku (a) Nebukadduneeza okussaawo ekifaananyi eky’okusinzibwa abantu be bonna? (b) Kwewaanawaana kwa Nebukadduneeza ku bikwata ku bye yazimba mu Babulooni?

16 Kati ka tuve ku byogerwa abavumirira tudde ku bintu ebiraga obutuufu bw’ekitabo kya Danyeri. Lowooza ku birala ebiri mu kitabo ekyo ebiraga nti omuwandiisi yali amanyi bulungi ebikwata ku biseera bye yawandiikako.

17 Okuba nti Danyeri yali amanyi kalonda mungi akwata ku Babulooni eky’edda bujulizi bwa maanyi obulaga nti bye yawandiika bituufu. Ng’ekyokulabirako, Danyeri 3:1-6 ziraga nti Nebukadduneeza yateekawo ekifaananyi ekinene ennyo abantu bonna bakisinze. Abakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda bazudde obujulizi obulala obulaga nti kabaka ono yagezaako okuleetera abantu be okwenyigira ennyo mu bikolwa ebya mwoyo gwa ggwanga n’eby’eddiini. Mu ngeri y’emu, Danyeri yawandiika ku ngeri Nebukadduneeza gye yeewaanamu olw’ebintu ebingi bye yazimba. (Danyeri 4:30) Abakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda baakakizuula mu biseera byaffe nti Nebukadduneeza ye yawoma omutwe mu kuzimba okw’amaanyi okwaliwo mu Babulooni. Olw’okwagala ennyo okwegulumiza, Nebukadduneeza yatuuka n’okuwandiisa erinnya lye ku matofaali agaazimbisibwanga! Abavumirira Danyeri tebayinza kunnyonnyola engeri omuntu gwe bagamba nti yaliwo mu biseera bya Makabbiizi (167-63 B.C.E.) gye yandisobodde okumanya ebikwata ku kuzimba okwo okwaliwo ebyasa nga bina emabega, ng’abakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda tebannabimanya.

18. Ebyogerwa Danyeri ku bibonerezo ebitali bimu wansi w’obufuzi bw’Abababulooni n’obw’Abaperusi biraga bitya nti yali mutuufu?

18 Ekitabo kya Danyeri era kiraga ezimu ku njawulo enkulu ezaaliwo wakati w’amateeka ga Babulooni n’aga Bumeedi ne Buperusi. Ng’ekyokulabirako, wansi w’amateeka ga Babulooni banne ba Danyeri abasatu baasuulibwa mu kikoomi ky’omuliro olw’okugaana okugondera ekiragiro kya kabaka. Nga wayiseewo amakumi g’emyaka, Danyeri yasuulibwa mu bunnya bw’empologoma olw’okugaana okugondera etteeka lya Buperusi eryali likontana n’omuntu we ow’omunda. (Danyeri 3:6; 6:7-9) Abamu babadde bagamba nti ebikwata ku kikoomi ky’omuliro lufumo bufumo, naye abakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda bazudde ebbaluwa eyava mu Babulooni eky’edda eyogera ku kibonerezo eky’ekika kino. Kyokka, bo, Abameedi n’Abaperusi omuliro baagutwalanga nti mutukuvu. Beeyambisanga bibonerezo birala eby’obukambwe. N’olwekyo, okukozesa obunnya bw’empologoma tekyanditwewuunyisizza.

19. Njawulo ki wakati w’amateeka ga Babulooni n’aga Bumeedi ne Buperusi ekitabo kya Danyeri gye kiraga?

19 Enjawulo endala eragibwa. Danyeri alaga nti Nebukadduneeza yalinga asobola okuteekawo n’okukyusa amateeka nga bw’ayagala. Daliyo yali tayinza kukyusa ‘mateeka g’Abameedi n’Abaperusi,’ wadde ago ye kennyini ge yali ayisizza! (Danyeri 2:5, 6, 24, 46-49; 3:10, 11, 29; 6:12-16) Munnabyafaayo John C. Whitcomb yawandiika: “Ebyafaayo eby’edda bikakasa enjawulo eno wakati wa Babulooni, kabaka gye yabanga waggulu w’amateeka, ne Bumeedi ne Buperusi, kabaka gye yabanga wansi w’amateeka.”

20. Biki ebikwata ku mbaga ya Berusazza ebiraga nti Danyeri yali amanyi bulungi empisa z’Abababulooni?

20 Ekitundu ekyogera ku mbaga ya Berusazza, ekiri mu Danyeri essuula 5, kiraga ebintu bingi. Kirabika embaga yaliko eby’okulya era n’eby’okunywa bingi nnyo, kuba omwenge gwogerwako emirundi egiwera. (Danyeri 5:1, 2, 4) Mu butuufu, ebifaananyi ebibajje eby’embaga ng’ezo biraga nga mwenge gwokka gwe gunywebwa. Bwe kityo, obujulizi bulaga nti omwenge gwabanga mukulu nnyo ku mbaga ng’ezo. Danyeri era agamba nti abakazi baaliwo ku mbaga eno, bakazi ba kabaka. (Danyeri 5:3, 23) Abakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda bakakasa nti eno yali mpisa y’Abababulooni. Abakazi okubeera n’abasajja ku mbaga kyabanga kya kivve mu Bayudaaya n’Abayonaani ab’omu biseera bya Makabbiizi. Oboolyawo ye nsonga lwaki enkyusa ezaasooka eza Danyeri mu Septuagint ey’Oluyonaani tezoogera ku bakazi bano. * Kyokka, gwe batwala nti ye yagingaginga ekitabo kya Danyeri yandibaddewo mu mulembe ogwo ogw’Abayonaani, era oboolyawo mu kiseera kye kimu ekyafulumizibwamu Septuagint!

21. Lwaki Danyeri yali amanyi bulungi ebyaliwo mu buwaŋŋanguse bw’e Babulooni?

21 Bw’olowooza ku kalonda oyo yenna, kyewuunyisa nnyo okuba nti ekitabo Britannica kyandyogedde ku muwandiisi w’ekitabo kya Danyeri ng’omuntu eyalina okumanya ‘okutono era okutali kutuufu’ ku bulamu mu biseera eby’omu buwaŋŋanguse bw’Abayudaaya. Omuginziginzi yenna ow’omu byasa eby’oluvannyuma yandisobodde atya okumanya eby’omunda ennyo bwe bityo ebikwata ku mpisa z’Abababulooni n’Abaperusi ab’edda? Ate jjukira nti obwakabaka obwo bwombi bwali bwasasika dda nga n’ekyasa eky’okubiri B.C.E. tekinnatuuka. Kya lwatu mu biseera ebyo tewaaliwo bakugu beekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda; era n’Abayudaaya ab’omu kiseera ekyo tebaafangayo kumanya bikwata ku mpisa n’ebyafaayo by’amawanga amalala. Nnabbi Danyeri eyalabako n’amaaso ge ku biseera n’ebintu bye yayogerako, ye yekka eyandisobodde okuwandiika ekitabo ekyo ekya Baibuli ekiyitibwa erinnya lye.

OBUJULIZI OBULI EBWERU W’EKITABO KYA DANYERI BUKAKASA NTI KIGINGEGINGE?

22. Abavumirira boogera ki ku kifo ky’ekitabo kya Danyeri mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya?

22 Ekimu ku bitera okuwakanyizibwa ennyo ku kitabo kya Danyeri kye kifo kyakyo mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya. Balabbi ab’edda baasengekanga ebitabo ebiri mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya mu biti bisatu: Amateeka, Bannabbi, n’Ebiwandiiko. Danyeri baakiteeka mu Biwandiiko, so si mu Bannabbi. Abavumirira bagamba kino kitegeeza nti ekitabo kino kyali tekimanyiddwa mu kiseera ebitabo bya bannabbi abalala we byakuŋŋaanyizibwa. Kyateekebwa mu Biwandiiko mbu olw’okuba bino byakuŋŋaanyizibwa luvannyuma.

23. Abayudaaya ab’edda baatwala batya ekitabo kya Danyeri, era kino tukimanyira ku ki?

23 Wadde kiri kityo, abanoonyereza ku Baibuli bonna tebakkiriza nti balabbi ab’edda baayawulamu ebitabo bya Baibuli mu ngeri eyo, oba nti Danyeri tekyabalirwa mu Bannabbi. Naye bwe kiba nti balabbi baateeka Danyeri mu Biwandiiko, kino kyandikakasizza nti kyawandiikibwa luvannyuma? Nedda. Abeekenneenya abatutumufu bawadde ensonga eziwerako lwaki balabbi tebaateka Danyeri mu Bannabbi. Ng’ekyokulabirako, bayinza okuba baakikola olw’okuba ekitabo kino tekyabasanyusa oba olw’okuba baatwala Danyeri okuba ow’enjawulo ku bannabbi abalala olw’okuweerereza mu nsi engwira. Kyokka, ekisinga obukulu kye kino: Abayudaaya ab’edda bassaamu nnyo ekitiibwa ekitabo kya Danyeri era baakibaliranga mu byawandiikibwa ebitukuvu. Ate era, obujulizi bulaga nti ebitabo ebibalirwa mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya byali byamala dda okukuŋŋaanyizibwa ng’ekyasa eky’okubiri B.C.E. tekinnatuuka. Ebitabo ebyajja oluvannyuma tebyakkirizibwa, nga mw’otwalidde n’ebimu ebyawandiikibwa mu kyasa eky’okubiri B.C.E.

24. Ekitabo ekibuusibwabuusibwa ekiyitibwa Ekereziyasitikasi kikozeseddwa kitya okuvumirira ekitabo kya Danyeri, era kiki ekiraga nga kino kiba kikyamu?

24 Ekyewuunyisa, ekimu ku bitabo bino ebyajja oluvannyuma ebyagaanibwa kye kikozeseddwa okuvumirira ekitabo kya Danyeri. Ekitabo kino ekitakakasibwa ekiyitibwa Ekereziyasitikasi, ekyawandiikibwa Jesus Ben Sirach, kirabika kyawandiikibwa awo nga mu 180 B.C.E. Abavumirira batera okugamba nti Danyeri tali mu lukalala lw’abasajja abatuukirivu oluli mu kitabo kino. Bagamba nti Danyeri ateekwa okuba yali tamanyiddwa mu kiseera ekyo. Abeekenneenya bangi bakkiriza kino. Naye lowooza ku kino: Olukalala luno lwe lumu terwogera ku Ezera ne Moluddekaayi (bombi abaayatiikirira ennyo mu Bayudaaya oluvannyuma lw’obuwaŋŋanguse) oba ku Kabaka omulungi Yekosafaati. Ate mu balamuzi bonna, lwogera ku Samwiri yekka. * Olw’okuba abasajja abo tebali ku lukalala olwo oluli mu kitabo ekitabalirwa mu byawandiikibwa ebitukuvu era olutagamba nti lumenya bonna, olwo tugambe nti bonna tebaaliwo? Tekiba kya magezi okugamba tutyo.

OBUJULIZI OBULI EBWERU WA BAIBULI OBUWAGIRA DANYERI

25. (a) Josephus yakakasa atya obutuufu bw’ebiri mu Danyeri? (b) Josephus by’ayogera ku Alekizanda Omukulu awamu n’ebyo ebiri mu kitabo kya Danyeri bituukagana bitya n’ebyafaayo ebimanyiddwa? (Laba obugambo obutono obw’okubiri wansi.) (c) Ebikwata ku lulimi biwagira bitya ekitabo kya Danyeri? (Laba olupapula 26.)

25 Kati ka tuddeyo nate ku biraga obutuufu bwakyo. Kigambibwa nti teri kitabo kirala eky’omu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya ekikakasibwa ennyo ng’ekya Danyeri. Okuwa ekyokulabirako: Munnabyafaayo omwatiikirivu Omuyudaaya Josephus akakasa obutuufu bwakyo. Agamba nti Alekizanda Omukulu, bwe yatuuka mu Yerusaalemi ng’alwanyisa Buperusi mu kyasa eky’okuna B.C.E., bakabona baamulaga ekitabo kya Danyeri. Alekizanda kennyini yawunzika nti ebigambo bye baamulaga mu bunnabbi bwa Danyeri byali byogera ku lutalo lwe ng’atabaala Buperusi. * Ekyo kyaliwo ng’ekyabulayo ekyasa nga kimu n’ekitundu okutuuka ku kiseera abavumirira kye bagamba nti “okugingaginga” we kwakolerwa. Kya lwatu, abavumirira bawakanyizza nnyo Josephus ku bigambo bino. Era bamuwakanya olw’okugamba nti obunnabbi obumu obuli mu kitabo kya Danyeri bwatuukirizibwa. Kyokka, nga munnabyafaayo Joseph D. Wilson bwe yayogera, “[Josephus] yandiba nga yali amanyi bingi nnyo ku nsonga eno okusinga abavumirira bonna abali mu nsi.”

26. Emizingo egy’Omu Nnyanja Enfu giwagidde gitya obutuufu bw’ekitabo kya Danyeri?

26 Obutuufu bw’ekitabo kya Danyeri bweyongera okukakasibwa Emizingo egy’Omu Nnyanja Enfu bwe gyazuulibwa mu mpuku y’omu Qumran, mu Isiraeri. Ekyewuunyisa, mu ebyo ebyazuulibwa mu 1952 mwalimu emizingo n’ebitundutundu bingi eby’ekitabo kya Danyeri. Ekitundu ekisingayo obukadde kirowoozebwa okuba nga kyali kya mu mafundikira g’ekyasa eky’okubiri B.C.E. N’olwekyo, mu kiseera ekyo eky’emabega ennyo, ekitabo kya Danyeri kyali kimanyiddwa nnyo era nga kissibwamu ekitiibwa. Ekitabo The Zondervan Pictorial Encyclopedia of the Bible kigamba: “Kati tekikyatwalibwa nti Danyeri kyawandiikibwa mu biseera bya Makabbiizi, kuba tewandibaddewo bbanga limala oluvannyuma lw’okuwandiikibwa kwakyo okukolamu kopi ezaali mu tterekero ly’ekibiina ky’eddiini eky’omu biseera ebyo.”

27. Bujulizi ki obusingayo obukadde obulaga nti Danyeri yali muntu wa ddala eyali amanyiddwa mu biseera eby’obuwaŋŋanguse mu Babulooni?

27 Kyokka, waliwo obukakafu obusingawo obukadde era obwesigika ku kitabo kya Danyeri. Omu ku bantu abaaliwo mu kiseera kya Danyeri ye nnabbi Ezeekyeri. Naye yaweereza nga nnabbi mu biseera eby’obuwaŋŋanguse e Babulooni. Ekitabo kya Ezeekyeri kyogera ku linnya lya Danyeri emirundi egiwera. (Ezeekyeri 14:14, 20; 28:3) Ebyawandiikibwa ebyo biraga nti ne mu kiseera kye, mu kyasa eky’omukaaga B.C.E., Danyeri yali amanyiddwa ng’omusajja omutuukirivu era ow’amagezi, agwana okwogerwako nga Nuuwa ne Yobu abaatya Katonda.

OBUJULIRWA OBUSINGAYO OBUKULU

28, 29. (a) Bukakafu ki obusingira ddala okumatiza nti ekitabo kya Danyeri kituufu? (b) Lwaki tusaanidde okukkiriza obujulizi bwa Yesu?

28 Naye, mu nkomerero, ka tulabe omujulirwa asingirayo ddala obukulu alaga obutuufu bwa Danyeri, ng’ono si mulala yenna wabula Yesu Kristo. Ng’ayogera ku nnaku ez’oluvannyuma, Yesu yayogera ku “Danyeri nnabbi” era ne ku bumu ku bunnabbi bwa Danyeri.—Matayo 24:15; Danyeri 11:31; 12:11.

29 Bwe kiba ng’abavumirira kye boogera kituufu nti Danyeri kyawandiikibwa mu biseera bya Makabbiizi, ekimu ku bintu bino ebibiri kyandibadde kirina okuba ekituufu. Oba Yesu yaguumaazibwa okugingaginga okwo oba teyayogera bigambo ebyo ebiri mu Matayo. Bino byombi tebiyinza kuba bituufu. Bwe tuba tetuyinza kwesiga ebiri mu Njiri ya Matayo, tuyinza tutya okwesiga ebitundu ebirala ebya Baibuli? Bwe tuggyamu ebigambo ebyo, bigambo ki ebirala bye tunaggya mu Byawandiikibwa Ebitukuvu? Omutume Pawulo yawandiika: ‘Buli kyawandiikibwa kirina okuluŋŋamya kwa Katonda era kigasa olw’okuyigirizanga, olw’okutereezanga.’ (2 Timoseewo 3:16) Bwe kiba nti Danyeri yali mugingirizi, ekyo kitegeeza nti ne Pawulo bw’atyo bwe yali. Kyandiba nga Yesu yaguumaazibwa? N’akatono. Yali mu ggulu ng’ekitabo kya Danyeri kiwandiikibwa. Yesu yagamba n’okugamba: “Ibulayimu nga tannaba kuzaalibwa, nze nga wendi.” (Yokaana 8:58) Mu bantu bonna abaali babaddewo, Yesu gwe twandibadde tubuuza ebikwata ku butuufu bwa Danyeri. Naye tekitwetaagisa kumubuuza. Nga bwe tulabye, obujulirwa bwe yawa butegeerekeka bulungi nnyo.

30. Yesu yayongera atya okulaga obutuufu bw’ekitabo kya Danyeri?

30 Yesu yayongera okulaga obutuufu bw’ekitabo kya Danyeri mu kiseera we yabatirizibwa. Yafuuka Masiya, n’atuukiriza obunnabbi obuli mu Danyeri obukwata ku wiiki 69 ez’emyaka. (Danyeri 9:25, 26; laba Essuula 11 ey’ekitabo kino.) Ne bwe kyandibadde nti Danyeri kyawandiikibwa luvannyuma nga bwe bagamba, era omuwandiisi wa Danyeri yali amanyi ebyandibaddewo emyaka nga 200 mu maaso. Kya lwatu, Katonda teyandiruŋŋamizza muntu mukuusa okulagula ebinaabaawo mu maaso ng’akozesa erinnya eritali lirye. Obujulirwa bwa Yesu bukkirizibwa mu bujjuvu abantu abeesigwa eri Katonda. Singa abavumirizi bonna mu nsi baali ba kwegatta wamu okuwakanya Danyeri, obujulirwa bwa Yesu bwandiraze nti bakyamu, kuba ye ‘mujulirwa omwesigwa era ow’amazima.’—Okubikkulirwa 3:14.

31. Lwaki bangi abavumirira Baibuli si bamativu nti ekitabo kya Danyeri kituufu?

31 Abavumirira Baibuli bangi si bamativu wadde waliwo obujulirwa buno bwonna. Oluvannyuma lw’okwekenneenya ensonga eno, omuntu asigala yeebuuza obanga waliwo obujulirwa bwonna obuyinza okubamatiza. Profesa omu ow’omu Yunivaasite y’e Oxford yawandiika: “Okwanukula abawakanyi tekimala, kasita baba nga bakyalina endowooza egudde olubege nti, ‘tewayinza kubaawo bunnabbi.’” N’olwekyo, endowooza yaabwe egudde olubege ebaziba amaaso. Naye ekyo kiri gye bali, era kifiiriza bo.

32. Biki bye tujja okusoma mu Danyeri?

32 Ate ggwe? Bw’oba okiraba nti tewali nsonga ntuufu eyandikuleetedde okubuusabuusa ekitabo kya Danyeri, awo oli mwetegefu okuvumbula ebikirimu ebisanyusa. Ojja kunyumirwa okusoma ebyaliwo ebittottolwa mu Danyeri era n’obunnabbi obukirimu. N’ekisinga obukulu, ojja kulaba nti okukkiriza kwo kweyongera okunywera oluvannyuma lwa buli ssuula gy’osoma. Togenda kwejjusa olw’okussaayo omwoyo ku bunnabbi bwa Danyeri!

[Obugambo obuli wansi]

^ lup. 4 Abamu abakivumirira bagamba nti eyakiwandiika yakozesa bukozesa erinnya Danyeri, ng’abawandiisi abamu ab’edda ab’ebitabo ebitali bya mu Baibuli bwe bataakozesanga mannya gaabwe gennyini. Kyokka, omu ku abo ababuusabuusa ebiri mu Baibuli, Ferdinand Hitzig yagamba: “Ku bikwata ku kitabo kya Danyeri, bwe kiba nga kyawandiikibwa [muwandiisi] mulala, eyo eba nsonga ya njawulo. Olwo kiba kigingirire, era ng’ekiruubirirwa kyali kubuzaabuza basomi, weewaawo mu ngeri ebaganyula.”

^ lup. 8 Nabonidasi teyaliiwo Babulooni we kyawambirwa. Bwe kityo, Berusazza ayogerwako ng’eyali kabaka mu kiseera ekyo. Abavumirira bagamba nti ebiwandiiko ebirala ebitali bya mu Baibuli tebyogera ku Berusazza nga kabaka. Wadde kiri kityo, obujulizi obukwata ku biseera eby’edda bulaga nti ne gavana yandibadde asobola okwogerwako nga kabaka abantu b’omu biseera ebyo.

^ lup. 20 Omwekenneenya Omwebbulaniya C. F. Keil awandiika bw’ati ku Danyeri 5:3: “Wano, era ne mu lunyiriri 23, Septuagint teyogera ku bakazi, nga bwe yali empisa y’Abamakedoni, Abayonaani, n’Abaruumi.”

^ lup. 24 Okwawukana ku ekyo, kirabika ng’olukalala olwaluŋŋamizibwa olw’omutume Pawulo olulimu abasajja n’abakazi abeesigwa mu Abebbulaniya essuula 11, lwogera ku bintu ebyaliwo ebiri mu Danyeri. (Danyeri 6:16-24; Abebbulaniya 11:32, 33) Kyokka era, n’olukalala lw’omutume terumenya bonna. Waliwo abantu bangi, nga mw’otwalidde Isaaya, Yeremiya, ne Ezeekyeri, abatali ku lukalala olwo, naye nga kino tekitegeeza nti tebaaliwo.

^ lup. 25 Bannabyafaayo abamu bagamba nti eno yandiba nga ye nsonga lwaki Alekizanda yalaga ekisa kingi eri Abayudaaya, ng’ate baali mikwano gy’Abaperusi. Mu kiseera ekyo, Alekizanda yali ku kaweefube ow’okusaanyaawo mikwano gya Buperusi gyonna.

BIKI BY’OTEGEDDE?

• Ekitabo kya Danyeri kivunaanibwa ki?

• Lwaki ebyo abavumirira bye boogera ku kitabo kya Danyeri tebiriimu nsa?

• Bujulizi ki obulaga nti Danyeri bye yawandiika bituufu?

• Bukakafu ki obusingira ddala okulaga nti ekitabo kya Danyeri kituufu?

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko akali ku lupapula 26]

Ebikwata ku Lulimi

EKITABO kya Danyeri kyamalirizibwa awo nga mu 536 B.C.E. Kyawandiikibwa mu Lwebbulaniya n’Olulamayiki, nga mutabuddwamu ebigambo bitono eby’Oluyonaani n’Oluperusi. Okugattika ennimi bwe kutyo tekyali kya bulijjo naye kyakolebwa mu Byawandiikibwa. Ekitabo kya Baibuli ekya Ezera nakyo kyawandiikibwa mu Lwebbulaniya n’Olulamayiki. Naye, abamu abavumirira bagamba nti engeri eyawandiika ekitabo kya Danyeri gye yakozesaamu ennimi ezo ekakasa nti yakiwandiika oluvannyuma lw’omwaka 536 B.C.E. Omu ku abo abavumirira yagamba nti enkozesa y’ebigambo by’Oluyonaani mu Danyeri eraga nti kyawandiikibwa luvannyuma. Agamba nti Olwebbulaniya nalwo lwoleka ekyo era n’Olulamayiki lwetaagisa kiseera kya luvannyuma ng’ekyo, gamba nga mu kyasa eky’okubiri B.C.E.

Kyokka, tekiri nti abakugu bonna mu by’ennimi bakkiriziganya n’ekyo. Abakugu abamu bagamba nti Olwebbulaniya olw’omu Danyeri lufaananako olw’omu Ezeekyeri ne Ezera era nga terufaanana n’olwo olusangibwa mu biwandiiko ebirala eby’oluvannyuma ebitakakasibwa gamba nga Ekereziyasitikasi. Ku ngeri Danyeri gye yakozesaamu Olulamayiki, lowooza ku biwandiiko bibiri ebyali mu Mizingo egy’Omu Nnyanja Enfu. Nabyo biri mu Lulamayiki era byawandiikibwa mu kyasa ekisooka n’eky’okubiri B.C.E.​​—⁠si bbanga ddene oluvannyuma lw’ekiseera ekitwalibwa nti Danyeri we kyagingirwagingirwa. Naye abakugu balaba enjawulo ennene eriwo wakati w’Olulamayiki oluli mu biwandiiko bino n’olwo olusangibwa mu Danyeri. Bwe kityo, abamu bagamba nti ekitabo kya Danyeri kiteekwa okuba kibaddewo ebyasa bingi okusinga abakivumirira bwe balowooza.

Ate ebigambo by’Oluyonaani “ebireetawo obuzibu” ebiri mu Danyeri? Ebimu ku byo bizuuliddwa okuba eby’Oluperusi, so si Luyonaani! Ebigambo byokka ebikyatwalibwa nti bya Luyonaani ge mannya g’ebivuga bisatu. Okuba nti kirimu ebigambo bino ebisatu kikakasa nti ekitabo kya Danyeri kyawandiikibwa luvannyuma? Nedda. Abakugu abeekenneenya ebikwata ku bantu ab’edda bakizudde nti empisa z’Ekiyonaani zaali zitandise okusensera mu bifo ebirala ebyasa bingi nga Buyonaani tennafuuka bufuzi kirimaanyi. Ate era, singa ekitabo kya Danyeri kyawandiikibwa mu kyasa kya kubiri B.C.E., ng’empisa z’Ekiyonaani n’olulimi lwayo bimaze okusensera buli wamu, kyandibaddemu ebigambo bisatu byokka eby’Oluyonaani? N’akatono. Kyandibaddemu bingi okusingawo. N’olwekyo, obujulizi obukwata ku lulimi mazima ddala bulaga nti ekitabo kya Danyeri kituufu.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 12]

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 20]

(Waggulu) Ekiwandiiko kino kiraga okwewaanawaana kwa Nebukadduneeza olw’ebyo bye yazimba

(Wansi) Ekiwandiiko ky’omu yeekaalu y’e Babulooni kyogera ku Kabaka Nabonidasi ne mutabani we Berusazza

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 21]

Okusinziira ku Kiwandiiko kya Nabonidasi, eggye lya Kuulo lyesogga Babulooni awatali kulwana

[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 22]

(Ku ddyo) “Ennyiriri Ezoogera ku Nabonidasi” zigamba nti Nabonidasi yakwasa omwana we omubereberye obufuzi

(Ku kkono) Ekiwandiiko kya Babulooni ekyogera ku Nebukadduneeza lwe yalumba Yuda