Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekiseera eky’Okujja kwa Masiya Kibikkulwa

Ekiseera eky’Okujja kwa Masiya Kibikkulwa

Essuula ey’Ekkumi n’emu

Ekiseera eky’Okujja kwa Masiya Kibikkulwa

1. Okuva Yakuwa bw’ali Omukuumi w’Ebiseera Omukulu, kiki kye tukakasa?

YAKUWA ye Mukuumi w’Ebiseera Omukulu. Ateekateeka ebiseera ebikwatagana n’omulimu gwe. (Ebikolwa 1:7) Byonna by’ategese okubaawo mu biseera ebyo biteekwa okutuukirira. Tebijja kugwa butaka.

2, 3. Bunnabbi ki Danyeri bwe yeekenneenya, era bwakabaka ki obwali bufuga Babulooni mu kiseera ekyo?

2 Ng’omuyizi omunyiikivu ow’Ebyawandiikibwa, nnabbi Danyeri yali akkiririza mu busobozi bwa Yakuwa obw’okuteekateeka ebintu n’abituukiriza. Danyeri yeetegereza nnyo obunnabbi obukwata ku kuzikirizibwa kwa Yerusaalemi. Yeremiya yali awandiise Katonda bye yabikkula ebikwata ku bbanga ekibuga ekitukuvu lye kyandimaze nga kiri matongo, era Danyeri yeekenneenya obunnabbi obwo. Yawandiika: “Mu mwaka ogw’olubereberye ogwa Daliyo omwana wa Akaswero, ow’ezzadde ery’Abameedi, eyalya obwakabaka obw’Abakaludaaya: mu mwaka ogw’olubereberye mu mirembe gye nze Danyeri ebitabo ne bintegeeza omuwendo gw’emyaka, Yeremiya nnabbi gye yajjirwako ekigambo kya Mukama, okutuukiriza Yerusaalemi okuzika, gye myaka ensanvu.”—Danyeri 9:1, 2; Yeremiya 25:11.

3 Mu kiseera ekyo Daliyo Omumeedi ye yali afuga “obwakabaka obw’Abakaludaaya.” Danyeri bye yalagula ng’annyonnyola amakulu g’ekiwandiiko ekyali ku kisenge byali bituukiriziddwa. Obwakabaka bwa Babulooni bwali tebukyaliwo. Bwali ‘buweereddwa Abameedi n’Abaperusi’ mu 539 B.C.E.—Danyeri 5:24-28, 30, 31.

DANYERI YEEGAYIRIRA YAKUWA N’OBUWOMBEEFU

4. (a) Kiki ekyali kyetaagibwa okusobola okununulwa Katonda? (b) Danyeri yatuukirira atya Yakuwa?

4 Danyeri yakitegeera nti emyaka 70 nga Yerusaalemi kiri matongo gyali ginaatera okuggwaako. Kiki kye yali agenda okukola? Ye kennyini atugamba: “Ne nteeka amaaso gange eri Mukama Katonda, okunoonya nga nsaba era nga nneegayirira, nga nsiiba enjala era nga nnyambala ebibukutu n’evvu. Ne nsaba Mukama Katonda wange, ne njatula [ebibi byaffe].” (Danyeri 9:3, 4) Okusobola okusaasirwa era n’okununulwa Katonda, embeera entuufu ey’omutima yali yeetaagisa. (Eby’Abaleevi 26:31-46; 1 Bassekabaka 8:46-53) Kyali kyetaagisa okukkiriza, omwoyo ogw’obwetoowaze, era n’okwenenya mu bujjuvu ebibi ebyali bibaviiriddeko okutwalibwa mu buwaŋŋanguse n’obuddu. N’olw’ensonga eyo, Danyeri yatuukirira Katonda ku lw’abantu be aboonoonyi. Mu ngeri ki? Ng’asiiba, ng’akungubaga, era ng’ayambala ebibukutu. Ebikolwa ebyo byali biraga okwenenya n’omutima omwesimbu.

5. Lwaki Danyeri yandisobodde okuba n’obwesige nti Abayudaaya bandizziddwayo ku butaka?

5 Obunnabbi bwa Yeremiya bwawa Danyeri essuubi, kubanga bwalaga nti Abayudaaya baali bali kumpi okuzzibwayo ku butaka e Yuda. (Yeremiya 25:12; 29:10) Awatali kubuusabuusa, Danyeri yalina obwesige nti Abayudaaya abaali mu buwambe baali bagenda kufuna eddembe, kubanga omusajja ayitibwa Kuulo kati ye yali afuga nga kabaka wa Buperusi. Isaaya yali alagudde nti Kuulo ye yandikozeseddwa okusumulula Abayudaaya baddemu okuzimba Yerusaalemi ne yeekaalu. (Isaaya 44:28–45:3) Naye Danyeri yali tamanyi ngeri yennyini gye kyandituukiriziddwamu. Bw’atyo yeeyongera okwegayirira Yakuwa.

6. Danyeri yayogera ki mu kusaba?

6 Danyeri yafumiitiriza ku busaasizi bwa Katonda n’ekisa kye. Mu buwombeefu, yakkiriza nti Abayudaaya baayoonoona bwe baajeema ne bava ku mateeka ga Yakuwa, era ne batawuliriza bannabbi be. Katonda yali ‘abasaasaanyizza olw’okwonoona kwabwe.’ Danyeri yasaba: “Ai Mukama, amaaso okukwatibwa ensonyi kwe kwaffe, bassekabaka baffe, abalangira baffe, ne bajjajjaffe, kubanga twayonoona ggwe. Mukama Katonda waffe ye alina okusaasira n’okusonyiwa: kubanga twamujeemera: so tetwawulira ddoboozi lya Mukama Katonda waffe, okutambulira mu mateeka ge, ge yassa mu maaso gaffe [ng’ayitira mu baddu] be bannabbi. Weewaawo, Isiraeri yenna asobezza amateeka go, nga beekooloobya, baleme okuwulira eddoboozi lyo: okukolimirwa kyekwava kutufukirwako, n’ekirayiro ekyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omuddu wa Katonda: kubanga twamwonoona.”—Danyeri 9:5-11; Okuva 19:5-8; 24:3, 7, 8.

7. Lwaki kisobola okugambibwa nti Yakuwa yali mutuufu okukkiriza Abayudaaya okutwalibwa mu buwambe?

7 Katonda yali alabudde Abaisiraeri ku ebyo ebyandivudde mu kumujeemera era n’obutakuuma ndagaano gye yakola nabo. (Eby’Abaleevi 26:31-33; Ekyamateeka 28:15; 31:17) Danyeri akkiriza nti Katonda bye yakola byali bigwanira ddala, ng’agamba: “Naye yanyweza ebigambo bye, bye yayogera ku ffe, era ne ku balamuzi baffe abaatulamulanga, bwe yatuleetera obubi obunene: kubanga wansi w’eggulu lyonna tekikolebwanga nga bwe kyakolebwa ku Yerusaalemi. Nga bwe kyawandiikibwa mu mateeka ga Musa, bwe tutyo obubi obwo bwonna bwatujjako: era naye tetunnasaba kisa kya Mukama Katonda waffe, tuleke ebikolwa byaffe ebitali bya butuukirivu, era tubeere n’amagezi mu mazima go. Mukama kyeyava atunuulira obubi, n’abutuleetako: kubanga Mukama Katonda waffe mutuukirivu mu bikolwa bye byonna by’akola, naffe tetwawulira ddoboozi lye.”—Danyeri 9:12-14.

8. Kiki ekireetera Danyeri okwegayirira Yakuwa?

8 Danyeri tagezaako kuwolereza bantu be. Okuwaŋŋangusizibwa kwabagwanira, nga bw’agamba nti: “Twayonoona, twakola bubi.” (Danyeri 9:15) Ate era ky’asinga okufaako si kwe kununulibwa mu kubonaabona. Nedda, yeegayirira ng’alowooza ku kitiibwa kya Yakuwa n’ettendo lye. Mu kusonyiwa Abayudaaya n’okubazzaayo ewa boobwe, Katonda yandituukirizza ekisuubizo kye yawa okuyitira mu Yeremiya era n’atukuza erinnya Lye ettukuvu. Danyeri yeegayirira: “Ai Mukama, ng’obutuukirivu bwo bwonna bwe buli, obusungu bwo n’obukambwe bwekooloobye buve ku kibuga kyo Yerusaalemi, olusozi lwo olutukuvu: kubanga olw’okwonoona kwaffe n’olw’obutali butuukirivu bwa bajjajjaffe, Yerusaalemi n’abantu bo bafuuse ekivume eri abo bonna abatwetooloola.”—Danyeri 9:16.

9. (a) Danyeri akomekkereza okusaba kwe na kwegayirira ki? (b) Kiki ekinakuwaza Danyeri, naye akiraga atya nti afaayo ku linnya lya Katonda?

9 Mu kusaba okw’amaanyi, Danyeri yeeyongera okugamba: “Kale kaakano, ai Katonda waffe, wulira okusaba kw’omuddu wo, n’okwegayirira kwe, era, ku bwa Mukama, oyazike amaaso go awatukuvu wo awazise. Ai Katonda wange, tega okutu kwo, owulire: ozibule amaaso go, otunuulire ebyaffe ebyazika, n’ekibuga ekituumi[dd]wa erinnya lyo: kubanga tetuleeta kwegayirira kwaffe mu maaso go olw’obutuukirivu bwaffe, wabula olw’okusaasira kwo okungi. Ai Mukama, wulira: ai Mukama, sonyiwa: ai Mukama, wulira okole: tolwawo: ku bubwo wekka, ai Katonda wange, kubanga ekibuga kyo n’abantu bo batuumi[dd]wa erinnya lyo.” (Danyeri 9:17-19) Singa Katonda teyandisonyiye n’aleka abantu be mu buwaŋŋanguse era Yerusaalemi ekibuga kye ekitukuvu ne kisigala matongo olubeerera, amawanga gandimututte okuba Omufuzi w’Obutonde Bwonna? Tegandigambye nti bakatonda b’e Babulooni basinzizza Yakuwa amaanyi? Yee, erinnya lya Yakuwa lyandivumiddwa, era kino kinakuwaza Danyeri. Ku mirundi 19 erinnya lya Katonda, Yakuwa, gye lirabika mu kitabo kya Danyeri, 18 giri mu kusaba kuno!

GABULYERI AJJA MU BWANGU

10. (a) Ani yatumibwa eri Danyeri, era lwaki? (b) Lwaki Danyeri yayita Gabulyeri “omusajja”?

10 Nga Danyeri akyasaba, malayika Gabulyeri n’ajja. Agamba: “Ggwe Danyeri, kaakano nfulumye okukugeziwaza mu kutegeera. Bwe wasooka okwegayirira, ekiragiro ne kifuluma, nange nzize okukubuulira: kubanga oli mwagalwa nnyo: kale lowooza ekigambo ekyo, otegeere bye wayolesebwa.” Naye lwaki Danyeri amwogerako nga “omusajja Gabulyeri”? (Danyeri 9:20-23) Kubanga, emabegako Danyeri bwe yayagala okutegeera okwolesebwa okw’embuzi ensajja n’endiga ensajja, “[oyo eyali mu kifaananyi] ng’eky’omuntu” yalabika mu maaso ge. Yali malayika Gabulyeri, eyatumibwa okunnyonnyola Danyeri amakulu gaakwo. (Danyeri 8:15-17) Mu ngeri y’emu, oluvannyuma lw’okusaba kwa Danyeri, malayika ono yajja gy’ali mu kifaananyi ng’eky’omuntu era n’ayogera naye ng’omuntu bw’ayogera ne munne.

11, 12. (a) Wadde nga tewaaliwo yeekaalu oba kyoto kya Yakuwa mu Babulooni, Abayudaaya abanyiikivu baalaga batya nti bafaayo ku biweebwayo Amateeka bye geetaaza? (b) Lwaki Danyeri ayitibwa ‘omwagalwa ennyo’?

11 Gabulyeri atuukira “mu kiseera ekya ssaddaaka ey’akawungeezi.” Ekyoto kya Yakuwa kyali kyazikirizibwa dda awamu ne yeekaalu ey’omu Yerusaalemi, era Abayudaaya baali bawambiddwa Abababulooni abakaafiiri. N’olwekyo, Abayudaaya abaali mu Babulooni baali tebakyawaayo ssaddaaka eri Katonda. Kyokka, mu biseera ebyandibaddenga biweerwamu ssaddaaka wansi w’Amateeka ga Musa, kyali kisaanira Abayudaaya mu Babulooni okutendereza n’okwegayirira Yakuwa. Olw’okuba yali musajja eyali yeemalidde ku Katonda, Danyeri yayitibwa omuntu ‘omwagalwa ennyo.’ Yakuwa, “awulira okusaba,” yamusiima, era Gabulyeri yatumibwa mangu okuddamu okusaba kwa Danyeri okwayoleka okukkiriza.—Zabbuli 65:2.

12 Ne mu kiseera okusaba Yakuwa we kwanditeekedde obulamu bwe mu kabi, Danyeri yeeyongera okumusaba emirundi esatu olunaku. (Danyeri 6:10, 11) Tekyewuunyisa nti Yakuwa yamwagala nnyo! Ng’oggyeko okusaba, okufumiitiriza ku Kigambo kya Katonda kwasobozesa Danyeri okumanya Yakuwa by’ayagala. Danyeri yanyiikirira okusaba era yali amanyi engeri entuufu ey’okutuukiriramu Yakuwa okusaba kwe kusobole okuddibwamu. Yayogera ku butuukirivu bwa Katonda. (Danyeri 9:7, 14, 16) Era newakubadde abalabe be tebaasobola kumulabako nsobi, Danyeri yali akimanyi nti yali mwonoonyi mu maaso ga Katonda era n’ayatula okwonoona kwe.—Danyeri 6:4; Abaruumi 3:23.

“WIIKI NSANVU” EZ’OKUMALAWO EKIBI

13, 14. (a) Bintu ki ebikulu Gabulyeri bye yabuulira Danyeri? (b) ‘Wiiki ensanvu’ zenkana wa obuwanvu, era tukimanya tutya?

13 Nga Danyeri omunyiikivu mu kusaba addibwamu mu ngeri ey’enkukunala! Yakuwa takoma ku kumutegeeza butegeeza nti Abayudaaya bajja kukomezebwawo ku butaka naye era amutegeeza ekintu ekisingawo obukulu, okulabika kwa Masiya eyalagulibwa. (Olubereberye 22:17, 18; Isaaya 9:6, 7) Gabulyeri agamba Danyeri: “Waliwo wiiki nsanvu ezigerekeddwa ku bantu bo n’ekibuga kyo ekitukuvu, okukomya okwonoona, n’okumalawo ekibi, era n’okutangirira ensobi, n’okuyingiza obutuukirivu obw’emirembe gyonna, n’okussa akabonero ku kwolesebwa ne ku nnabbi, era n’okufuka amafuta ku Watukuvu w’Awatukuvu. Era osaaanidde okumanya n’okutegeerera ddala nti okuva ekigambo lwe kifuluma okuzzaawo n’okuzimba Yerusaalemi okutuusa ku Masiya Omukulembeze, walibaawo, wiiki musanvu: era ne wiiki endala nkaaga mu bbiri. Kirizimbibwa nate, ne kiba n’ekibangirizi eky’olukale era n’olusalosalo, naye mu biseera ebizibu.”—Danyeri 9:24, 25, NW.

14 Gano gaali mawulire malungi nnyo! Yerusaalemi kyali kya kuzimbibwa okusinza kuddewo mu yeekaalu empya ate era ne “Masiya Omukulembeze” yali wa kulabika mu kiseera ekikakafu. Kino kyandibaddewo mu “wiiki nsanvu.” Okuva Gabulyeri bw’atayogera ku nnaku, zino si wiiki ezirimu ennaku omusanvu buli emu, ezandiwezeemu ennaku 490, nga gwe mwaka gumu n’emyezi ena gyokka. Okuddamu okuzimba Yerusaalemi okwalagulwa awamu ne “ekibangirizi eky’olukale era n’olusalosalo” kyatwala ebbanga erisingirawo ddala obuwanvu. Wiiki ezoogerwako wiiki za myaka. Enkyusa za Baibuli nnyingi ez’omu biseera byaffe ziraga nti buli wiiki erimu emyaka musanvu. Ng’ekyokulabirako, “wiiki nsanvu ez’emyaka” ye nzivuunula eragibwa mu bugambo obutono wansi obwogera ku Danyeri 9:24 mu nkyusa eyitibwa Tanakh—The Holy Scriptures, eyafulumizibwa Ekibiina ky’Abayudaaya Ekikuba Ebitabo. Enkyusa An American Translation egamba: “Wiiki nsanvu ez’emyaka zigerekeddwa ku bantu bo n’ekibuga kyo ekitukuvu.” Ebigambo ebifaananako bikozesebwa mu nkyusa ya Moffatt ne Rotherham.

15. ‘Wiiki ensanvu’ zaawulwamu bitundu ki ebisatu, era zaali za kutandika ddi?

15 Okusinziira ku bigambo bya malayika, “wiiki nsanvu” zandyawuddwamu ebitundu bisatu: (1) “wiiki musanvu,” (2) “wiiki nkaaga mu bbiri,” ne (3) wiiki emu. Egyo gyandibadde emyaka 49, emyaka 434, n’emyaka 7, nga gyonna awamu gye myaka 490. Yo, The Revised English Bible esoma: “Emyaka musanvu emirundi nsanvu gigerekeddwa ku bantu bo n’ekibuga kyo ekitukuvu.” Nga bavudde mu buwaŋŋanguse n’okubonaabona okw’e Babulooni okwandimaze emyaka 70, Abayudaaya bandibadde baganzi mu maaso ga Katonda okumala emyaka 490, oba emyaka 70 emirundi 7. Gyanditandise “okuva ekigambo lwe kifuluma okuzzaawo n’okuzimba Yerusaalemi.” Kino kyandibaddewo ddi?

‘WIIKI ENSANVU’ ZITANDIKA

16. Nga bwe kiragibwa mu kiragiro kye, Kuulo yazzaayo Abayudaaya mu nsi yaabwe lwa kigendererwa ki?

16 Ebintu bisatu ebikulu bigwana okulowoozebwako ku bikwata ku matandika ga ‘wiiki ensanvu.’ Ekisooka kyaliwo mu 537 B.C.E., Kuulo bwe yawa ekiragiro ekikkiriza Abayudaaya okuddayo ku butaka. Kisoma: “Bw’atyo bw’ayogera Kuulo kabaka w’e Buperusi nti Obwakabaka bwonna obw’omu nsi Mukama Katonda w’eggulu abumpadde; era ankuutidde okumuzimbira ennyumba mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda. Buli ali mu mmwe ku bantu be bonna, Katonda we abeere naye, ayambuke mu Yerusaalemi ekiri mu Yuda, azimbe ennyumba ya Mukama Katonda wa Isiraeri, (ye Katonda,) ali mu Yerusaalemi. Era buli asigadde mu kifo kyonna mw’abeera nga mugenyi, abasajja ab’omu kifo kye bamubeere ne ffeeza ne zaabu n’ebintu n’ebisolo, obutassaako ekyo kye bawaayo ku bwabwe eky’ennyumba ya Katonda eri mu Yerusaalemi.” (Ezera 1:2-4) Mazima ddala, ekiragiro kino kyaweebwa okukakasa nti yeekaalu, “ennyumba ya Mukama,” ezimbibwa nate mu kifo we yali okusooka.

17. Ebbaluwa eyaweebwa Ezera yamenya nsonga ki eyamutwala e Yerusaalemi?

17 Ekintu ekikulu eky’okubiri kyaliwo mu mwaka ogw’omusanvu ogw’obufuzi bwa Kabaka Alutagizerugizi owa Buperusi (Alutagizerugizi Longimanusi, mutabani wa Zaakisisi I). Mu kiseera ekyo, omukoppolozi Ezera yatindigga olugendo okuva e Babulooni okujja e Yerusaalemi era kyamutwalira emyezi ena. Yalina ebbaluwa ey’enjawulo eyali emuweereddwa kabaka, naye nga temulagira kuddamu kuzimba Yerusaalemi. Wabula, omulimu gwa Ezera gwali gwa ‘kuyonja nnyumba ya Yakuwa.’ Ye nsonga lwaki ebbaluwa yayogera ku zaabu ne ffeeza, ebintu ebitukuvu, n’ebiweebwayo eby’eŋŋaano, wayini, amafuta, n’omunnyo okuwagira okusinza okw’omu yeekaalu, era n’obutasolooza musolo ku abo abaweerezaayo.—Ezera 7:6-27.

18. Mawulire ki agaanakuwaza Nekkemiya, era Kabaka Alutagizerugizi yakimanya atya?

18 Ekintu eky’okusatu kyaliwo emyaka 13 oluvannyuma, mu mwaka ogwa 20 ogwa Kabaka Alutagizerugizi owa Buperusi. Nekkemiya mu kiseera ekyo yali aweereza ng’omusenero mu “Susani olubiri.” Ensigalira abaddayo okuva e Babulooni baali batandiseeko ku mulimu gw’okuzimba Yerusaalemi. Naye embeera y’ekibuga ekyo yali tesanyusa. Nekkemiya yakitegeera nti ‘bbugwe wa Yerusaalemi yali mumenyefumenyefu n’emiryango gyakyo nga gyokeddwa omuliro.’ Kyamunakuwaza nnyo, era n’aba n’ennyiike ku mutima gwe. Bwe yabuuzibwa ekyali kimunakuwazza, Nekkemiya yaddamu: “Ka[baka] abe omulamu emirembe gyonna: kiki ekyandirobedde amaaso gange obutanakuwala, ekibuga, ekifo [e]ky’amalaalo ga bajjajjange, nga kizise n’emiryango gyakyo nga gyokeddwa omuliro?”—Nekkemiya 1:1-3; 2:1-3.

19. (a) Bwe yabuuzibwa Kabaka Alutagizerugizi, Nekkemiya yasooka kukola ki? (b) Nekkemiya yasaba ki, era yakakasa atya obuyinza bwa Katonda mu nsonga eno?

19 Nekkemiya yeeyongera okututegeeza: “Awo kabaka n’aŋŋamba nti Weegayirira ki? Awo ne nsaba Katonda w’eggulu. Ne ŋŋamba kabaka nti Kabaka bw’anaasiima, era oba ng’omuddu wo alabye ekisa mu maaso go, ontume e Yuda eri ekibuga eky’amalaalo ga bajjajjange nkizimbe.” Ekiteeso kino kyasanyusa Alutagizerugizi, era n’akkiriza n’ekintu ekirala Nekkemiya kye yasaba: “Kabaka bw’anaasiima, mpeebwe ebbaluwa eri abaamasaza abali emitala w’omugga [Fulaati], bampiseemu ntuuke mu Yuda: n’ebbaluwa eri Asafu omukuumi w’ekibira kya kabaka, ampe emiti okubajja embaawo ez’enzigi z’ekigo eky’ennyumba era eza bbugwe w’ekibuga n’ez’ennyumba gye ndiyingira. Kabaka n’ampa [ebbaluwa] olw’omukono omulungi ogwa Katonda wange ogwali ku nze.”—Nekkemiya 2:4-8.

20. (a) Ddi ekigambo ‘eky’okuzzaawo n’okuzimba Yerusaalemi’ lwe kyateekebwa mu nkola? (b) ‘Wiiki ensanvu’ zaatandika ddi, era zaakoma ddi? (c) Bujulizi ki obusonga ku nnaku z’omwezi ‘wiiki ensanvu’ we zaatandikira era ne lwe zaggwaako?

20 Wadde ng’olukusa lwaweebwa mu mwezi gwa Nisani, nga Alutagizerugizi yaakatandika omwaka ogwa 20 ogw’obufuzi bwe, waayitawo emyezi ‘ekigambo eky’okuzzaawo n’okuzimba Yerusaalemi’ ne kiteekebwa mu nkola. Kino kyaliwo nga Nekkemiya atuuse mu Yerusaalemi era n’atandika omulimu gwe ogw’okukizzaawo. Olugendo lwa Ezera lwatwala emyezi ena, naye Susani kyali mayiro ezisukka mu 200 ebuvanjuba bwa Babulooni, n’olwekyo kyali wala okusingawo okuva e Yerusaalemi. Bwe kityo, nno, kirabika nga Nekkemiya yatuuka mu Yerusaalemi ng’omwaka gwa Alutagizerugizi ogwa 20 gunaatera okuggwaako, oba mu 455 B.C.E. Mu kiseera ekyo ‘wiiki ensanvu’ ezaalagulwa, oba emyaka 490, lwe gyatandika. Gyali gya kuggwaako mu mafundikira ga 36 C.E.—Laba “Obufuzi bwa Alutagizerugizi Bwatandika Ddi?” ku lupapula 197.

“MASIYA OMUKULEMBEZE” ALABIKA

21. (a) Kiki ekyalina okutuukirizibwa mu ‘wiiki omusanvu’ ezaasooka, era mu mbeera za ngeri ki? (b) Masiya yali wa kulabika mu mwaka ki, era Enjiri ya Lukka egamba nti kiki ekyaliwo mu kiseera ekyo?

21 Waayitawo emyaka emeka okutuusa Yerusaalemi lwe kyazimbibwa? Okuddamu okuzimba ekibuga ekyo kwali kwa kukolebwa mu “biseera ebizibu” olw’ebizibu ebyaliwo mu Bayudaaya era n’olw’okuziyizibwa okwava eri Abasamaliya n’abalala. Kirabika ng’omulimu gwamalirizibwa awo nga mu 406 B.C.E., mu “wiiki musanvu,” oba emyaka 49. (Danyeri 9:25) Ekiseera ekya wiiki 62, oba emyaka 434, kyandiddiridde. Oluvannyuma lw’ekiseera ekyo, Masiya eyasuubizibwa yandirabise. Okubala emyaka 483 (49 gattako 434) okuva mu 455 B.C.E., kitutuusa ku mwaka 29 C.E. Kiki ekyaliwo mu kiseera ekyo? Omuwandiisi w’Enjiri Lukka atutegeeza nti: “Awo mu mwaka ogw’ekkumi n’etaano ku mirembe gya Tiberiyo Kayisaali, Pontiyo Piraato bwe yali nga ye w[‘]essaza ly’e Buyudaaya, ne Kerode bwe yali nga y’afuga e Ggaliraaya, . . . ekigambo kya Katonda ne kijjira Yokaana omwana wa Zaakaliya, mu ddungu. N’ajja mu nsi yonna eriraanye Yoludaani, ng’abuulira okubatizibwa okw’okwenenya olw’okuggibwako ebibi.” Mu kiseera ekyo “abantu baali nga basuubira” Masiya.—Lukka 3:1-3, 15.

22. Ddi era mu ngeri ki Yesu gye yafuukamu Masiya eyalagulwa?

22 Yokaana si ye yali Masiya eyasuubizibwa. Naye kennyini bwe yali ayogera ku bye yalaba ku kubatizibwa kwa Yesu ow’e Nazaleesi, mu ddumbi ow’omu 29 C.E., yagamba: “Nnalaba [o]mwoyo ng’ava mu ggulu ng’ejjiba; n’abeera ku ye. Nange saamumanya: naye eyantuma okubatiza n’amazzi, ye yaŋŋamba nti Ggwe oliraba [o]mwoyo ng’akka ng’abeera ku ye, oyo ye abatiza n’[o]mwoyo [o]mutukuvu. Nange ne ndaba, ne ntegeeza nti oyo ye Mwana wa Katonda.” (Yokaana 1:32-34) Yesu bwe yabatizibwa yafuuka Eyafukibwako Amafuta, Masiya, oba Kristo. Oluvannyuma lw’ekiseera kitono, Andereya, omuyigirizwa wa Yokaana yasisinkana Yesu ng’afukiddwako amafuta era n’agamba Simooni Peetero nti: “Tulabye Kristo.” (Yokaana 1:41) Bwe kityo, “Masiya Omukulembeze” yalabika mu kiseera kyennyini, ku nkomerero ya wiiki 69!

EBYALI MU WIIKI ESEMBAYO

23. Lwaki “Masiya Omukulembeze” yalina okufa, era kino kyali kya kubaawo ddi?

23 Biki ebyatuukirizibwa mu wiiki eya 70? Gabulyeri yagamba nti ekiseera ekya “wiiki nsanvu” kyali kigerekeddwa okusobola “okukomya okwonoona, n’okumalawo ekibi, era n’okutangirira ensobi, n’okuyingiza obutuukirivu obw’emirembe gyonna, n’okussa akabonero ku kwolesebwa ne ku nnabbi, era n’okufuka amafuta ku Watukuvu w’Awatukuvu.” Bino okusobola okutuukirizibwa, “Masiya Omukulembeze” yalina okufa. Ddi? Gabulyeri yagamba: “Oluvannyuma lwa wiiki nkaaga mu bbiri Masiya alisalibwako, nga talina kye yeesigalizza. . . . Era ateekwa okukuuma endagaano ng’ekyakola eri abangi okumala wiiki emu; era mu makkati ga wiiki alikomya ssaddaaka n’ekiweebwayo.” (Danyeri 9:26a, 27a, NW) Ekiseera ekya nsalesale kyali “mu makkati ga wiiki,” kwe kugamba, mu makkati ga wiiki eyasembayo ey’emyaka.

24, 25. (a) Nga bwe kyalagulwa, Kristo yafa ddi, era okufa kwe n’okuzuukira kwakomya ki? (b) Okufa kwa Yesu kwasobozesa ki?

24 Obuweereza bwa Yesu Kristo bwatandika mu nkomerero y’omwaka ogwa 29 C.E., era bwamala emyaka esatu n’ekitundu. Nga bwe kyalagulwa, mu matandika g’omwaka ogwa 33 C.E., Kristo ‘yasalibwako’ bwe yafiira ku muti, n’awaayo obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abantu. (Isaaya 53:8; Matayo 20:28) Obwetaavu bwa ssaddaaka ez’ebisolo era n’ebiweebwayo ebyagerekebwa mu Mateeka bwakoma Yesu azuukiziddwa bwe yawaayo omuwendo gwa ssaddaaka y’obulamu bwe eri Katonda mu ggulu. Wadde nga bakabona Abayudaaya beeyongera okuwaayo ebiweebwayo okutuusa yeekaalu ey’omu Yerusaalemi bwe yazikirizibwa mu 70 C.E., ssaddaaka ng’ezo zaali tezikyakkirizibwa Katonda. Mu kifo kyazo waali wazzeewo ssaddaaka esinga obulungi, etajja kuddamu kuweebwa mulundi mulala. Omutume Pawulo yawandiika: “[Kristo] bwe yamala okuwaayo ssaddaaka emu olw’ebibi okutuusa emirembe gyonna . . . Kubanga olw’okuwaayo ssaddaaka emu yatuukiriza okutuusa emirembe gyonna abatukuzibwa.”—Abebbulaniya 10:12, 14.

25 Wadde ng’abantu baali bakyalina ekibi era nga bafa, okusalibwako kwa Yesu mu kufa n’okuzuukizibwa mu bulamu obw’omu ggulu kwatuukiriza obunnabbi. ‘Kwakomya okwonoona, kwamalawo ekibi, era kwatangirira ensobi, era ne kuyingiza obutuukirivu.’ Katonda yaggyawo endagaano y’Amateeka, eyali eraze nti Abayudaaya baali boonoonyi. (Abaruumi 5:12, 19, 20; Abaggalatiya 3:13, 19; Abeefeso 2:15; Abakkolosaayi 2:13, 14) Kati ebibi by’aboonoonyi abeenenya byandisanguddwawo era n’ebibonerezo ne biggibwawo. Okuyitira mu ssaddaaka ya Masiya etangirira ekibi, abo abooleka okukkiriza baali basobola okutabaganyizibwa ne Katonda. Bandisuubidde okufuna ekirabo kya Katonda ‘eky’obulamu obutaggwaawo mu Kristo Yesu.’—Abaruumi 3:21-26; 6:22, 23; 1 Yokaana 2:1, 2.

26. (a) Wadde endagaano y’Amateeka yali eggiddwawo, ndagaano ki ‘eyasigala ng’ekyakola okumala wiiki emu’? (b) Kiki ekyaliwo ku nkomerero ya wiiki eya 70?

26 Yakuwa yaggyawo endagaano y’Amateeka okuyitira mu kufa kwa Kristo mu 33 C.E. Kati olwo lwaki kyagambibwa nti Masiya “ateekwa okukuuma endagaano ng’ekyakola eri abangi okumala wiiki emu”? Kubanga yalekawo endagaano ya Ibulayimu ng’ekyakola. Okutuusa wiiki eya 70 lwe yaggwaako, Katonda yawa ezzadde lya Ibulayimu ery’Abebbulaniya emikisa egyali mu ndagaano eyo. Naye ku nkomerero ya ‘wiiki ensanvu’ ez’emyaka, mu 36 C.E., omutume Peetero yabuulira omusajja Omuyitale omunyiikivu mu by’eddiini ayitibwa Koluneeriyo, ab’omu nnyumba ye, era ne Bannamawanga abalala. Era okuva ku olwo, amawulire amalungi gaatandika okubuulirwa mu b’amawanga.—Ebikolwa 3:25, 26; 10:1-48; Abaggalatiya 3:8, 9, 14.

27. “Awatukuvu w’Awatukuvu” awaafukibwako amafuta kye ki, era waafukibwako watya amafuta?

27 Obunnabbi obwo era bwayogera ku kufuka amafuta ku “Watukuvu w’Awatukuvu.” Kino tekitegeeza kufuka mafuta ku Wasinga Obutukuvu, oba ekisenge ekisembayo munda mu yeekaalu ey’omu Yerusaalemi. Ebigambo bino “Awatukuvu w’Awatukuvu” bitegeeza yeekaalu ya Katonda ey’omu ggulu. Eyo, Yesu gye yaweera Kitaawe omuwendo gwa ssaddaaka ye. Okubatizibwa kwa Yesu mu 29 C.E., kwali kufuse amafuta, oba kwawuddewo, ekifo ekyo eky’eby’omwoyo eky’omu ggulu, ekyali kikiikirirwa Awasinga Obutukuvu mu weema ey’okusisinkaniramu ey’oku nsi era ne mu yeekaalu eyazimbibwa oluvannyuma.—Abebbulaniya 9:11, 12.

OBUNNABBI BUKAKASIBWA KATONDA

28. ‘Okussa akabonero ku kwolesebwa ne nnabbi’ kyali kitegeeza ki?

28 Obunnabbi obukwata ku Masiya obwaleetebwa malayika Gabulyeri era bwayogera ku ‘kussa akabonero ku kwolesebwa ne ku nnabbi.’ Kino kyali kitegeeza nti ebintu byonna ebyalagulwa ku Masiya, kwe kugamba byonna bye yatuukiriza olwa ssaddaaka ye, okuzuukira kwe, n’okulabika mu ggulu, era n’ebintu ebirala byonna ebyandibaddewo mu wiiki eya 70 byandikkiriziddwa Katonda, byandituukiriziddwa, era byandisobodde okwesigibwa. Okwolesebwa kwandissiddwako akabonero, ne kuba nga kukwata ku Masiya yekka. Kwandituukiriziddwa ku ye era ne ku mulimu gwa Katonda ogwandikoleddwa okuyitira mu ye. Tusobola okufuna amakulu amatuufu ag’okwolesebwa kuno nga tukukwataganya ne Masiya eyasuubizibwa. Tewali kintu kirala kyonna kyandyolese makulu gaakwo.

29. Kiki ekyali eky’okutuuka ku Yerusaalemi ekizimbiddwa nate, era lwa nsonga ki?

29 Gabulyeri yali alagudde emabegako nti Yerusaalemi kyandizzeemu okuzimbibwa. Kati alagula okuzikirizibwa kw’ekibuga ekyo ekyandizimbiddwa era ne yeekaalu yaakyo, ng’agamba: “N’abantu ab’omulangira alijja balizikiriza ekibuga n’awatukuvu: n’enkomerero ye eriba n’amataba, n’okutuusa enkomerero walibaawo entalo: okuzisa kwalagirwa. . . . Ne ku kiwaawaatiro eky’eby’emizizo kulijjirako oyo alizisa: n’okutuusa byonna okutuukirizibwa, okwo kwe kwalagirwa, obusungu bulifukibwa ku oyo azisa.” (Danyeri 9:26b, 27b) Wadde ng’okuzisa kuno kwandibaddewo oluvannyuma lwa ‘wiiki ensanvu,’ kyandizze olw’ebyo ebyandibaddewo mu “wiiki” ey’enkomerero, ng’Abayudaaya beesambye Kristo era ne bamutta.—Matayo 23:37, 38.

30. Nga bwe kiragibwa mu byafaayo, ekiragiro ky’Omukuumi w’Ebiseera Omukulu kyatuukirizibwa kitya?

30 Ebyafaayo biraga nti mu 66 C.E., amagye g’Abaruumi nga gakulemberwa Sesitiyasi Galasi, Gavana wa Busuuli, gaazingiza Yerusaalemi. Wadde ng’Abayudaaya beerwanako, amagye g’Abaruumi nga gasitudde obubonero bwago obusinzibwa oba ebifaananyi, gaasensera ekibuga era ne gatandika okumenya bbugwe wa yeekaalu ow’ebukiika kkono. Okuyimirira kwago mu kifo ekyo kwagafuula “eky’omuzizo” ekyali kijja okuleeta okuzikiriza. (Matayo 24:15, 16) Mu 70 C.E., Abaruumi nga bakulemberwa Omugabe Tito bajja nga “amataba” ne bazikiriza ekibuga ekyo ne yeekaalu yaakyo. Tewali kyabakugira, kubanga kino kyali kigerekeddwa oba ‘kiragiddwa’ Katonda. Nate Yakuwa, Omukuumi w’Ebiseera Omukulu, yatuukiriza ekigambo kye!

BIKI BY’OTEGEDDE?

• Ng’emyaka 70 Yerusaalemi we kyabeerera matongo ginaatera okuggwaako, Danyeri yeegayirira atya Yakuwa?

• “Wiiki nsanvu” zaali zenkana wa obuwanvu; zaatandika ddi era zaakoma ddi?

• “Masiya Omukulembeze” yalabika ddi, era mu kiseera ki ekya nsalesale lwe “yasalibwako”?

• Ndagaano ki ‘eyasigala ng’ekyakola eri bangi okumala wiiki emu’?

• Kiki ekyaliwo oluvannyuma lwa “wiiki nsanvu”?

[Ebibuuzo]

[Akasanduuko/Ekifaananyi ekiri ku lupapula 197]

Obufuzi bwa Alutagizerugizi Bwatandika Ddi?

BANNABYAFAAYO tebakkiriziganya ku mwaka obufuzi bwa Kabaka Alutagizerugizi owa Buperusi we bwatandikira. Abamu bagamba nti yatuula ku nnamulondo mu mwaka 465 B.C.E., kubanga kitaawe, Zaakisisi, yatandika okufuga mu 486 B.C.E., era n’afa mu mwaka ogwa 21 ogw’obufuzi bwe. Naye waliwo obujulizi obulaga nti Alutagizerugizi yatuula ku nnamulondo mu 475 B.C.E., era n’atandika omwaka gwe ogwasooka mu bufuzi bwe mu 474 B.C.E.

Ebiwandiiko n’ebibumbe ebisimiddwa mu Perusepolisi, ekibuga ekikulu ekya Buperusi eky’edda, biraga nti Zaakisisi ne kitaawe, Daliyo I, baafugirako awamu. Bwe kiba nti baafugira wamu emyaka 10 era nga Zaakisisi yafuga yekka emyaka emirala 11 oluvannyuma lw’okufa kwa Daliyo mu 486 B.C.E., omwaka ogwasooka ogw’obufuzi bwa Alutagizerugizi gwandibadde 474 B.C.E.

Obujulizi obw’okubiri buzingiramu Omugabe Temisitokosi ow’omu Asene, eyawangula amagye ga Zaakisisi mu 480 B.C.E. Oluvannyuma Abayonaani baamukyawa era ne bamuvunaana omusango gw’okulya mu ggwanga olukwe. Temisitokosi yadduka era n’anoonya obubudamo mu lubiri lwa Buperusi, gye yasembezebwa obulungi. Okusinziira ku Tusayididisi, munnabyafaayo Omuyonaani, kino kyaliwo nga Alutagizerugizi “yaakatuula ku nnamulondo.” Diyodolusi Sikulasi, munnabyafaayo Omuyonaani, agamba nti Temisitokosi yafa mu 471 B.C.E. Okuva Temisitokosi bwe yasaba aweebweyo omwaka gumu okuyiga Oluperusi nga tannajja mu maaso ga Kabaka Alutagizerugizi, ateekwa okuba nga yatuuka mu Asiya Omutono ng’omwaka 473 B.C.E., tegunnaba. Omwaka ogwo gwe guweebwa mu kitabo kya Jerome ekiyitibwa Chronicle of Eusebius. Okuva Alutagizerugizi bwe yali “yaakatuula ku nnamulondo” Temisitokosi we yatuukira mu Asiya mu 473 B.C.E., omwekenneenya Omugirimaani, Ernst Hengstenberg, mu kitabo kye Christology of the Old Testament yagamba nti obufuzi bwa Alutagizerugizi bwatandika mu 474 B.C.E., ng’ebitabo ebirala bwe bigamba. Yagattako: “Omwaka ogw’abiri ogwa Alutagizerugizi gwe mwaka ogwa 455 nga Kristo tannajja.”

[Ekifaananyi]

Ekibumbe kya Temisitokosi

[Ekipande/Ebifaananyi ebiri ku lupapula 188, 189]

(Bw’oba oyagala okulaba bwe bifaananira ddala, genda mu katabo)

‘WIIKI ENSANVU’

455 B.C.E 406 B.C.E. 29 C.E. 33 C.E. 36 C.E.

“Ekigambo Yerusaalemi Masiya Masiya Enkomerero ya

okuzzaawo . . . kyazimbibwa Masiya alabika asalibwako ‘wiiki

Yerusaalemi” nate ensanvu’

wiiki 7 wiiki 62 wiiki 1

emyaka 49 emyaka 434 emyaka 7

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 180]

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 193]