Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ennyanjula

Ennyanjula

Omusomi Waffe Omwagalwa:

Owulira ng’olina enkolagana ennungi ne Katonda? Bangi balowooza nti ekyo tekisoboka. Abamu balowooza nti Katonda tatuukirikika; abalala balowooza nti tebasaanira mu maaso ge. Kyokka, Baibuli etukubiriza: “Funa enkolagana ennungi ne Katonda, naye anaabeera mukwano gwo.” (Yakobo 4:8, NW) Era akakasa bw’ati abasinza be: “Nze Mukama Katonda wo n[naaku]watanga ku mukono gwo ogwa ddyo nga nkugamba nti Totya; nze n[n]aakuyambanga.”​—Isaaya 41:13.

Tuyinza tutya okufuna enkolagana ennungi ne Katonda, nga bwe kiragibwa ku ddiba ly’ekitabo kino? Omukwano gwonna gwe tukola, gwesigama ku kumanya omuntu oyo, n’okusiima engeri ze ennungi. N’olwekyo, kitwetaagisa okuyiga engeri za Katonda n’amakubo ge ebiragibwa mu Baibuli. Okufumiitiriza ku ngeri Yakuwa gy’ayolekamu engeri ze, okwetegereza engeri Yesu Kristo gye yazikoppamu obulungi ennyo, era n’okumanya engeri naffe gye tuyinza okuzikoppamu kijja kutusobozesa okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda. Era tujja kukiraba nti Yakuwa ye Mufuzi w’obutonde bwonna era ye yekka agwanidde. Ate era, ye Kitaffe ffenna gwe twetaaga. Wa maanyi, mwenkanya, wa magezi, wa kwagala era nga tayinza kwabulira baana be abeesigwa.

Ekitabo kino ka kikuyambe okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda, okukola omukwano omunywevu naye osobole okumutendereza emirembe gyonna.

Abaakuba Ekitabo Kino