Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 1

‘Laba! Ono ye Katonda waffe’

‘Laba! Ono ye Katonda waffe’

1, 2. (a) Bibuuzo ki bye wandyagadde okubuuza Katonda? (b) Musa yabuuza ki Katonda?

KUBA ekifaananyi ng’onyumya ne Katonda! Okukirowoozaako obulowooza nti Omufuzi w’obutonde bwonna ayogera naawe kiyinza okukuleetera okutya! Osooka n’otamattama, naye ate oluvannyuma n’osobola okwogera obulungi. Akuwuliriza, n’akuddamu, era n’owulira muli ng’osobola okubuuza ekibuuzo kyonna awatali kutya. Kati olwo, wandimubuuzizza ki?

2 Edda ennyo, waaliwo omusajja eyali mu mbeera efaananira ddala bw’etyo. Omusajja oyo yali ayitibwa Musa. Kyokka, ekibuuzo kye yabuuza Katonda kiyinza okukwewuunyisa. Teyamubuuza bimukwatako ye kennyini nga Musa, ebiseera bye eby’omu maaso, oba ebizibu abantu bye balina. Wabula, yabuuza Katonda erinnya lye. Ekyo kiyinza okukwewuunyisa kubanga Musa yali amanyi erinnya lya Katonda. N’olwekyo, ekibuuzo kye kiteekwa okuba nga kyalina amakulu ag’omunda. Mu butuufu, kye kyali ekibuuzo ekisingayo obukulu Musa kye yali ayinza okubuuza. Kye yaddibwamu kitukwatako ffenna. Kiyinza okukuyamba okubaako ky’okolawo okusobola okufuna enkolagana ennungi ne Katonda. Mu ngeri ki? Ka twekkaanye emboozi eyo ey’enkukunala.

3, 4. Biki ebyaliwo ebyaviirako Musa okunyumya ne Katonda, era biki bye baayogera?

3 Musa yalina emyaka 80. Yali amaze emyaka 40 nga tabeera wamu na bantu be, Abaisiraeri, abaali abaddu mu Misiri. Lumu, bwe yali alunda ebisibo bya ssezaala we, yalaba ekintu ekyewuunyisa. Ekisaka kyali kikutte omuliro, naye nga tekiggya. Kyayaka nnyo, era nga kivaako ekitangaala kya maanyi. Musa yakisemberera okukyekebejja. Ng’ateekwa okuba nga yeekanga okuwulira eddoboozi nga lyogera okuva mu muliro! Okuyitira mu malayika, Katonda yayogera ne Musa okumala akaseera. Era mu kiseera ekyo Katonda yagamba Musa eyali atidde ennyo, okuleka obulamu obw’emirembe bwe yalimu addeyo mu Misiri anunule Abaisiraeri okuva mu buddu.​—Okuva 3:1-12.

4 Mu kiseera ekyo, Musa yandisobodde okubuuza Katonda ekibuuzo kyonna. Kyokka, weetegereze ekibuuzo kye yamubuuza: “Laba, bwe ndigenda nze eri abaana ba Isiraeri, ne mbagamba nti Katonda wa bajjajja bammwe y[’]antumye eri mmwe; nabo balyogera nti Erinnya lye ye ani? [N]dibagamba ntya?”​—Okuva 3:13.

5, 6. (a) Ekibuuzo Musa kye yabuuza kituyigiriza ki ekikulu? (b) Kintu ki ekikyamu ekikoleddwa ku bikwata ku linnya lya Katonda? (c) Lwaki kikulu okuba nti Katonda ategeezezza abantu erinnya lye?

5 Okusooka, ekibuuzo ekyo kituyigiriza nti Katonda alina erinnya. Ensonga eyo tetwandigitutte ng’ekintu ekitali kikulu. Kyokka, bangi bagitwala nga si nkulu. Erinnya lya Katonda liggiddwa mu nkyusa za Baibuli nnyingi era mu bifo we lyandibadde ne bakozesa ebitiibwa nga “Mukama” ne “Katonda.” Kino kye kimu ku bintu ebisingayo okuba ebikyamu era eby’ennaku ebikoleddwa mu linnya ly’eddiini. Abaffe, kiki ky’osooka okukola nga waakasisinkana omuntu? Tomubuuza linnya lye? Kye kimu bwe kituuka ku kumanya Katonda. Si muntu atalina linnya, atatuukirikika, gwe tutayinza kumanya oba okutegeera. Wadde talabika, wa ddala era alina erinnya​—Yakuwa.

6 Ate era, Katonda bw’ategeeza abantu erinnya lye, kitegeeza nti waliwo ekintu ekikulu era ekibuguumiriza ky’agenda okukola mu maaso awo. Ayagala tumumanye. Ayagala tusalewo ekintu ekisingayo obulungi mu bulamu bwaffe, kwe kugamba, okuba n’enkolagana ennungi naye. Kyokka, Yakuwa tatubuulidde linnya lye kyokka. Atubuulidde ebimukwatako nga ye, nnanyini linnya eryo.

Amakulu g’Erinnya lya Katonda

7. (a) Erinnya lya Katonda litegeeza ki? (b) Ddala kiki Musa kye yali ayagala okumanya bwe yabuuza Katonda erinnya lye?

7 Yakuwa kennyini ye yeerondera erinnya lye ery’amakulu. Erinnya “Yakuwa” litegeeza nti, “Asobozesa Ebintu Okubaawo.” Wa njawulo nnyo, mu bintu byonna ebiri mu butonde tewali ky’oyinza kumugeraageranyaako, kubanga ye yatonda ebintu byonna era asobozesa ebigendererwa bye byonna okutuukirira. Era ekyo ku ­bwakyo kiwuniikiriza. Naye erinnya lya Katonda lirina amakulu amalala? Kirabika nga Musa yali ayagala ­okumanya ebisingawo. Yali amanyi nti Yakuwa ye mutonzi, era yali amanyi erinnya lya Katonda. Ekituufu kiri nti erinnya lya Katonda teryali ppya gy’ali. Abantu baali bamaze ebikumi n’ebikumi by’emyaka nga balikozesa. N’olwekyo, Musa bwe yabuuza Katonda erinnya lye, yali abuuza ebikwata ku nnyini linnya eryo. Mu ngeri endala, yali agamba: ‘Kiki ekikukwatako kye nnyinza okubuulira abantu bo Abaisiraeri ekinaabaleetera okukukkiriza, n’okubamatiza nti ddala ojja kubanunula?’’

8, 9. (a) Yakuwa yaddamu atya ekibuuzo kya Musa, era bye yaddamu bivvuunulwa bitya mu ngeri enkyamu? (b) Ebigambo “Ndibeera ekyo kye ndibeera” bitegeeza ki?

8 Bye yamuddamu byoleka ekintu ekikulu ennyo ekikwata ku Yakuwa, era ekintu ekyo kikwatagana n’amakulu g’erinnya lye. Yagamba Musa: “Ndibeera ekyo kye ndibeera.” (Okuva 3:14, NW) Enkyusa za Baibuli nnyingi wano zisoma: “Nninga bwe Ndi.” Naye Bayibuli ezavvuunulwa n’obwegendereza ziraga nti Katonda yali takiraga bulazi nti gy’ali. Wabula, Yakuwa yali ayigiriza Musa, era naffe, nti ‘yali ajja kubeera,’ oba nti yali ajja kufuuka kyonna ekyetaagisa okusobola okutuukiriza ebisuubizo bye. Enkyusa ya J. B. Rotherham eyogera bw’eti ku lunyiriri luno: “Ndifuuka kyonna kye njagala.” Omukugu omu ku Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya annyonnyola bw’ati amakulu g’ebigambo bino: “K’ebeere mbeera ki oba bwetaavu ki . . . , Katonda ‘afuuka’ ekyo ekikola ku bwetaavu obuba buliwo.”

9 Ekyo kyategeeza ki eri Abaisiraeri? Ka babe nga baali boolekedde kizibu ki, era ka babe ng’embeera gye baalimu yali nzibu etya, Yakuwa yandifuuse ekyo kyonna ekyetaagisa okubanunula mu buddu n’okubatwala mu Nsi Ensuubize. Mazima ddala, erinnya eryo lyabaleetera okussa obwesige mu Katonda. Liyinza okutuyamba okukola kye kimu leero. (Zabbuli 9:10) Lwaki?

10, 11. Erinnya lya Yakuwa lituleetera litya okumulowoozaako ng’oyo atuukana na buli mbeera era Taata asingayo obulungi? Waayo ekyokulabirako.

10 Okuwaayo ekyokulabirako: Abazadde bakimanyi nti bateekwa okutuukana n’embeera ebaawo nga bakuza abaana baabwe. Mu lunaku lumu, omuzadde ayinza okubeera omusawo, omufumbi, omusomesa, omukangavvuzi, omulamuzi, n’ebirala. Bangi bazitoowererwa olw’emirimu ng’egyo egy’enjawulo gye basuubirwa okukola. Abazadde kibasukkirirako bwe balaba obwesige abaana baabwe bwe babateekamu nga bakakafu nti Maama oba Taata ayinza okuwewula ku bulumi bwabwe, okugonjoola ebizibu byonna, okuddaabiriza eky’okuzannyisa ekyonoonese, era n’okuddamu ekibuuzo kyonna ekiyinza okujja mu birowoozo by’abaana. Abazadde abamu bawulira nga tebasaanira kussibwamu bwesige ng’obwo era oluusi ne baggwaamu n’amaanyi olw’ebyo bye batayinza kukola. Bawulira nga tebalina busobozi bwa kutuukiriza buvunaanyizibwa obwo bwonna.

11 Ne Yakuwa naye Taata mwagazi. Kyokka, awatali kusuula muguluka mitindo gye emituukirivu, tewaliwo ky’atayinza kubeera okusobola okulabirira abaana be ab’oku nsi mu ngeri esingayo obulungi. N’olwekyo, erinnya lye Yakuwa, lituleetera okumulowoozaako nga Taata asingayo obulungi. (Yakobo 1:17) Musa n’Abaisiraeri abalala abeesigwa baakitegeera nti Yakuwa atuukana n’amakulu g’erinnya lye. Baawuniikirira nnyo bwe yeeraga okuba Omudduumizi w’amagye nnantawunyikamu, Omukulu w’obutonde bwonna, Omuteesi w’Amateeka atenkanika, Omulamuzi, Omukubi wa Pulaani, Omugabi w’emmere n’amazzi, ow’obuyinza asobola okukuuma engoye n’engatto ne bitayonooneka, era n’ebirala bingi.

12. Endowooza Falaawo gye yalina ku Yakuwa yayawukana etya ku ya Musa?

12 Mu ngeri eyo, Katonda amanyisizza erinnya lye, atubuulidde ebimukwatako bingi ye nga nannyini linnya eryo, era akoze n’ebiraga nti bye yeeyogerako bituufu. Awatali kubuusabuusa Katonda ayagala tumumanye. Twandikozeewo ki? Musa yali ayagala nnyo okumanya Katonda. Okwagala ennyo okumanya Katonda kirina kinene nnyo kye kyakola ku ngeri Musa gye yeeyisaamu, era kyamuleetera okufuna enkolagana ennungi ne Kitaawe oyo ow’omu ggulu. (Okubala 12:6-8; Abaebbulaniya 11:27) Eky’ennaku, batono nnyo abaaliwo mu kiseera kya Musa abaayagala okumanya Katonda. Musa bwe yayogera ku linnya lya Yakuwa mu maaso ga Falaawo, omufuzi oyo ow’amalala yaddamu: “Yakuwa ye ani?” (Okuva 5:2, NW) Falaawo teyayagala kuyiga bikwata ku Yakuwa. Wabula, yatwala Katonda wa Isiraeri ng’atali mukulu. Bangi leero balina endowooza ng’eyo. Eremesezza abantu okumanya agamu ku mazima agasingayo obukulu, nti Yakuwa ye Mukama Afuga Byonna.

Yakuwa Mukama Afuga Byonna

13, 14. (a) Lwaki Yakuwa aweebwa ebitiibwa bingi mu Baibuli, era ebimu ku byo bye biruwa? (Laba  akasanduuko ku lupapula 14.) (b) Lwaki Yakuwa ye yekka agwanidde okuyitibwa “Mukama Afuga Byonna”?

13 Yakuwa asobola okutuukana na buli mbeera ne kiba nti alina ebitiibwa bingi mu Byawandiikibwa. Ebitiibwa ebyo si bye bisinga erinnya lye obukulu; wabula, bituyigiriza ebisingawo ku ekyo erinnya lye kye likiikirira. Ng’ekyokulabirako, ayitibwa “Yakuwa Mukama Afuga Byonna.” (2 Samwiri 7:22, NW) Ekitiibwa ekyo, ekirabika emirundi emingi mu nnimi Baibuli mwe yasooka okuwandiikibwa, kitutegeeza ekifo kya Yakuwa. Ye yekka alina obwannannyini okuba Omufuzi w’obutonde bwonna. Weetegereze ensonga lwaki kiri bwe kityo.

14 Yakuwa ye Mutonzi yekka. Okubikkulirwa 4:11 lugamba: “Osaanidde ggwe, Mukama waffe, Katonda waffe, okuweebwanga ekitiibwa n’ettendo n’obuyinza: kubanga ggwe wabitonda byonna, era byabaawo lwa kusiima kwo, era byatondebwa.” Ebigambo bino tebiyinza kukozesebwa ku muntu mulala yenna. Ebintu byonna byatondebwa Yakuwa! Awatali kubuusabuusa, Yakuwa agwanidde ekitiibwa, amaanyi n’ettendo olw’okuba y’Afuga Byonna era Omutonzi wa byonna.

15. Lwaki Yakuwa ayitibwa “Kabaka ow’emirembe n’emirembe”?

15 Ekitiibwa ekirala ekikozesebwa ku Yakuwa yekka kiri “Kabaka ow’emirembe n’emirembe.” (1 Timoseewo 1:17; Okubikkulirwa 15:3) Kino kitegeeza ki? Kizibu ffe okukitegeera, naye Yakuwa abaddewo emirembe n’emirembe era ajja kubaawo emirembe gyonna. Zabbuli 90:2, lugamba: “Okuva mu mirembe gyonna okutuusa mu mirembe gyonna, ggwe Katonda.” N’olwekyo, Yakuwa talina ntandikwa; abaddewo ekiseera kyonna. N’olw’ensonga eyo, ayitibwa “Omukadde eyaakamala ennaku ennyingi,” amakulu nti yaliwo emirembe n’emirembe ng’ebintu byonna tebinnatondebwa. (Danyeri 7:9, 13, 22) N’olwekyo, ani ayinza okubuusabuusa obanga alina obwannannyini okuba Mukama Afuga Byonna?

16, 17. (a) Lwaki tetuyinza kulaba Yakuwa, era lwaki ekyo tekyanditwewuunyisizza? (b) Mu ngeri ki Yakuwa gy’ali owa ddala okusinga ekintu kyonna kye tuyinza okulaba oba okukwatako?

16 Kyokka, nga Falaawo bwe yakola, abamu babuusabuusa obanga Yakuwa alina obwannannyini ng’obwo. Ekimu ekivaako ekyo kiri nti abantu abatatuukiridde bakkiririza nnyo mu ebyo bye balaba n’amaaso gaabwe. Tetuyinza kulaba Mukama Afuga Byonna. Muntu wa mwoyo, abantu gwe batasobola kulaba. (Yokaana 4:24) Ng’oggyeko ekyo, singa omuntu ow’omubiri n’omusaayi ayimiririra mu maaso ga Yakuwa Katonda, omuntu oyo afa bufi. Yakuwa kennyini yagamba Musa: “Toyinza kundaba maaso: kubanga omuntu talindabako n’aba omulamu.”​—Okuva 33:20; Yokaana 1:18.

17 Ekyo tekyanditwewuunyisizza. Kirabika Musa yalaba ku kitiibwa kya Yakuwa okuyitira mu malayika. Kiki ekyabaawo? Obwenyi bwa Musa ‘bwamasamasa’ okumala ekiseera. Abaisiraeri baatya n’okutunula obutereevu ku bwenyi bwa Musa. (Okuva 33:21-23; 34:5-7, 29, 30) N’olwekyo nno, tewali muntu asobola kulaba Mukama Afuga Byonna mu kitiibwa kye kyonna! Ekyo kitegeeza nti si wa ddala ng’ebintu bye tuyinza okulaba n’okukwatako? Nedda si bwe kiri. Ng’ekyokulabirako, waliwo ebintu bingi bye tukkiriza nti weebiri wadde nga tetuyinza kubiraba, gamba ng’empewo, amaloboozi ga rediyo, n’ebirowoozo. Ate era, Yakuwa abaawo ebbanga lyonna; okuyitawo kw’ebiseera tekulina kye kumukolako! Mu ngeri eyo, wa ddala n’okusinga ekintu kyonna kye tuyinza okukwatako oba okulaba, kubanga byo, ebintu ebirabika bikaddiwa era byonooneka. (Matayo 6:19) Kati olwo, twandimututte okuba amaanyi obwanyi oba omuntu atategeerekeka eyasibukako byonna? Ka tulabe.

Katonda Alina Engeri

18. Ezeekyeri yafuna kwolesebwa ki, era obwenyi obuna ‘obw’ebiramu’ ebiri okumpi ne Yakuwa bukiikirira ki?

18 Wadde nga tetuyinza kulaba Katonda, waliwo ebiri mu Baibuli ebituwa ekifaananyi ku biri mu ggulu. Ekyokulabirako ekimu ye ssuula esooka eya Ezeekyeri. Ezeekyeri yayolesebwa entegeka ya Yakuwa ey’omu ggulu, gye yalaba ng’eggaali eddene. Ekiwuniikiriza ennyo, bye byogerwa ku bitonde eby’omwoyo ebyetoolodde Yakuwa. (Ezeekyeri 1:4-10) “Ebiramu” ebyo biri ku lusegere lwa Yakuwa, era endabika yaabyo etutegeeza ekintu ekikulu ku Katonda gwe biweereza. Buli kimu kirina obwenyi buna​—obw’ente ennume, obw’empologoma, obw’empungu, n’obw’omuntu. Kirabika obwenyi obwo butegeeza engeri za Yakuwa nnya enkulu.​—Okubikkulirwa 4:6-8, 10.

19. Ngeri ki ekiikirirwa (a) obwenyi bw’ente ennume? (b) obwenyi bw’empologoma? (c) obwenyi bw’empungu? (d) obwenyi bw’omuntu?

19 Mu Baibuli ente ennume etera okutegeeza amaanyi, era ekyo kituukirawo kubanga ensolo eyo ya maanyi nnyo. Ku luuyi olulala, empologoma ekiikirira obwenkanya, kubanga obwenkanya obwa nnamaddala bwetaagisa obuvumu, engeri empologoma gy’emanyiddwa okuba nayo. Empungu emanyiddwa olw’obusobozi bwayo obw’okulaba, ng’esobola n’okulaba ebintu ebiri ewala ennyo. N’olwekyo, obwenyi bw’empungu bukiikirira amagezi ga Katonda agayamba okutegeera eby’omu maaso. Ate obwenyi bw’omuntu? Olw’okuba omuntu yakolebwa mu kifaananyi kya Katonda, asobola okwoleka engeri ya Katonda esinga obukulu, nga kwe kwagala. (Olubereberye 1:26) Engeri za Yakuwa zino​—amaanyi, obwenkanya, amagezi, n’okwagala​—zoogerwako emirundi mingi mu Byawandiikibwa ne kiba nti zitwalibwa okuba engeri ze enkulu.

20. Twandyeraliikiridde nti engeri za Katonda ziyinza okuba nga zaakyuka, era lwaki oddamu bw’otyo?

20 Twandyeraliikiridde nti Katonda ayinza okuba nga yakyuka mu nkumi n’enkumi z’emyaka egiyiseewo kasokedde ayogerwako mu Baibuli? Nedda. Engeri za Katonda tezikyuka. Atugamba: “Nze Yakuwa sikyuka.” (Malaki 3:6, NW) Mu kifo ky’okumala gakyuka awatali nsonga, Yakuwa yeeraze okuba Kitaffe omulungi olw’okuba atuukana na buli mbeera. Ayoleka engeri ezisinga okutuukirawo mu mbeera ebaawo. Ku ngeri ennya, esinga obukulu kwe kwagala. Yeeyoleka mu buli ky’akola. Akozesa amaanyi ge, obwenkanya n’amagezi mu ngeri ey’okwagala. Mu butuufu, Baibuli erina ky’eyogera eky’enkukunala ekikwata ku Katonda n’engeri eno. Egamba: “Katonda [kwe] kwagala.” (1 Yokaana 4:8) Kyetegereze nti tegambye nti Katonda alina okwagala oba nti wa kwagala. Wabula, egamba nti Katonda kwe kwagala. Okwagala kwe kumukubiriza mu byonna by’akola.

‘Laba! Ono Ye Katonda Waffe’

21. Tunaawulira tutya bwe tuneeyongera okutegeera engeri za Yakuwa?

21 Wali olabye omwana omuto ng’asonga ku kitaawe era n’agamba mikwano gye n’essanyu nga yeenyumiriza nti, “Oyo ye taata wange”? Abasinza ba Yakuwa nabo balina ensonga ennywevu okwenyumiriza mu Yakuwa mu ngeri eyo. Baibuli eyogera ku kiseera abantu abeesigwa bwe baligamba: ‘Laba! Ono ye Katonda waffe.’ (Isaaya 25:8, 9) Gy’okoma okutegeera engeri za Yakuwa, gy’okoma okukimanya nti olina Kitaawo asingayo obulungi.

22, 23. Baibuli eyogera etya ku Kitaffe ow’omu ggulu, era tumanya tutya nti ayagala tubeere n’enkolagana ennungi naye?

22 Kitaffe si muntu atalaga mukwano, era atatuukirikika nga bannaddiini abamu n’abafirosoofo bwe bayigiriza. Tetwandisikiriziddwa n’akamu eri Katonda ng’oyo, era Baibuli tegamba nti Kitaffe ali bw’atyo. Okwawukana ku ekyo, emuyita ‘Katonda omusanyufu.’ (1 Timoseewo 1:11, NW) Alina enneewulira. ‘Anakuwala mu mutima’ ebitonde bye bwe bitagoberera bulagirizi bw’abiteerawo okubiganyula. (Olubereberye 6:6; Zabbuli 78:41) Naye bwe tweyisa n’amagezi ng’Ekigambo kye bwe kigamba, ‘tusanyusa omutima’ gwe.​—Engero 27:11.

23 Kitaffe ayagala tufune enkolagana ennungi naye. Ekigambo kye kitukubiriza ‘okumunoonyanga n’okumuwammanta okusobola okumulaba, newakubadde nga tali wala wa buli omu ku ffe.’ (Ebikolwa 17:27) Kyokka, kisoboka kitya abantu obuntu okufuna enkolagana ennungi ne Mukama Afuga obutonde bwonna?