Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 3

‘Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu Yakuwa’

‘Mutukuvu, Mutukuvu, Mutukuvu Yakuwa’

1, 2. Nnabbi Isaaya yafuna kwolesebwa ki, era kutuyigiriza ki ku Yakuwa?

ISAAYA yawuniikirira nnyo olw’ebyo bye yayolesebwa Katonda. Byalabika nga bya ddala! Oluvannyuma Isaaya yawandiika nti ‘yalaba Yakuwa’ ku ntebe ye ey’ekitiibwa ey’Obwakabaka. Ebyambalo bya Yakuwa ebiwanvu byabuna yeekaalu ennene ey’omu Yerusaalemi.​—Isaaya 6:1, 2.

2 Era Isaaya yawuniikirira olw’ebyo bye yawulira​—okuyimba okw’amaanyi ennyo okwayuugumya ne yeekaalu. Okuyimba okwo kwali kwa basseraafi, ebitonde eby’omwoyo ebiri ku ddaala erya waggulu. Baayimba bulungi mu ddoboozi ery’omwanguka ebigambo bino: “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama ow’eggye: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.” (Isaaya 6:3, 4) Ekigambo “mutukuvu” kyaggumizibwa bwe kyaddibwamu emirundi esatu. Ekyo kyali kituukirawo, kubanga Yakuwa mutukuvu ku kigero ekisingirayo ddala. (Okubikkulirwa 4:8) Obutukuvu bwa Yakuwa buggumizibwa mu Baibuli yonna. Mu Baibuli mulimu ebikumi n’ebikumi by’ennyiriri ezikwataganya erinnya lye ‘n’obutukuvu.’

3. Endowooza enkyamu ku butukuvu bwa Katonda zireetera zitya abamu okwesamba Katonda mu kifo ky’okufuna enkolagana ennungi naye?

3 N’olwekyo, ekimu ku bintu ebikulu ebikwata ku Yakuwa by’ayagala tutegeere kiri nti mutukuvu. Kyokka, bangi ekyo tekibasikiriza. Abamu mu bukyamu bakwataganya obutukuvu n’abeetwala okuba abatuukirivu oba abanyiikivu mu by’eddiini. Abantu abeerowoozaako nga abatasaanira, obutukuvu bwa Katonda buyinza okubamalamu amaanyi mu kifo ky’okubasikiriza. Bayinza okulowooza nti tebayinza n’akamu okufuna enkolagana ennungi ne Katonda ono omutukuvu. Bwe kityo, bangi beesamba Katonda olw’okuba mutukuvu. Ekyo kya nnaku, kubanga obutukuvu bwa Katonda mu butuufu nsonga nnungi eyandikubirizza omuntu okufuna enkolagana ennungi naye. Lwaki? Nga tetunaddamu kibuuzo ekyo, ka twekenneenye obutukuvu obwa nnamaddala kye butegeeza.

Obutukuvu Kye Ki?

4, 5. (a) Obutukuvu butegeeza ki, era kiki kye butategeeza? (b) Yakuwa ‘yeeyawudde’ mu ngeri ki ebbiri enkulu?

4 Katonda okubeera omutukuvu tekitegeeza nti wa malala, oba anyooma abalala. Mu butuufu, akyawa engeri ezo. (Engero 16:5; Yakobo 4:6) Kati olwo, ekigambo ‘omutukuvu’ kitegeeza ki? Mu Lwebbulaniya olwakozesebwa mu Baibuli, ekigambo ekyo kivvuunulwa okuva mu kigambo ekitegeeza “okwawulawo.” Mu kusinza, ekintu ‘ekitukuvu’ kiba kyawuliddwa ku bintu ebya bulijjo. Era ekigambo ‘obutukuvu’ kirimu amakulu g’obuyonjo n’obulongoofu. Ekigambo kino kikwataganyizibwa kitya ne Yakuwa? Kitegeeza nti ‘yeeyawudde’ ku bantu abatatuukiride, ng’atuli wala nnyo?

5 N’akatono. ‘Ng’Omutukuvu wa Isiraeri,’ Yakuwa yeeyogerako nti yali “wakati mu” bantu be, wadde nga baali boonoonyi. (Isaaya 12:6; Koseya 11:9) N’olwekyo, obutukuvu bwe tebumuleetera kutubeera wala. Kati olwo, ‘yeeyawudde’ atya? Mu ngeri bbiri enkulu. Esooka: Yeeyawudde ku bitonde byonna mu ngeri nti ye Ali Waggulu Ennyo. Obulongoofu n’obuyonjo bwe, bujjuvu era tebukoma. (Zabbuli 40:5; 83:18) Ey’okubiri: Yakuwa yeeyawudde ku butali butuukirivu bwonna, era ekyo kizzaamu nnyo amaanyi. Lwaki?

6. Lwaki tuyinza okuddamu amaanyi bwe tumanya nti Yakuwa yeeyawulidde ddala ku butali butuukirivu bwonna?

6 Obutukuvu obwa nnamaddala bwa kkekwa mu nsi gye tulimu. Buli kintu ekikwatagana n’abantu abeeyawudde ku Katonda, mu ngeri emu kyonoonefu era tekituukiridde. Ffenna tumeggana n’ekibi kye twasikira. Era ffenna tuyinza okutwalirizibwa ekibi singa tetwegendereza. (Abaruumi 7:15-25; 1 Abakkolinso 10:12) Yakuwa tali mu kabi ng’ako. Olw’okuba yeeyawulidde ddala ku butali butuukirivu bwonna, tayinza n’akamu kutwalirizibwa kibi. Kino kyongera okukakasa nti Yakuwa Kitaffe mulungi ddala, kubanga tuyinza okumwesiga mu bujjuvu. Okwawukana ku bataata bangi, Yakuwa tayinza kwonooneka mpisa oba okulumya abalala. Olw’okuba mutukuvu, ekyo tekiyinza kubaawo. Emirundi egimu Yakuwa alayidde ng’asinziira ku butukuvu bwe, era ekyo kifuula ebirayiro bye ebyesigika. (Amosi 4:2) Ekyo tekizzaamu nnyo amaanyi?

7. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Yakuwa mutukuvu mu buli mbeera?

7 Yakuwa mutukuvu mu buli mbeera. Ekyo kitegeeza ki? Okuwaayo ekyokulabirako: Lowooza ku bigambo ‘omuntu’ ne ‘obutali butuukirivu.’ Toyinza kwogera ku bantu nga tolowoozezza ku butali butuukirivu. Obutali butuukirivu bweyoleka mu buli kintu kyonna kye tukola. Kati lowooza ku bigambo bibiri ebyawufu ennyo​—“Yakuwa” ne ‘obutukuvu.’ Obutukuvu bweyoleka mu Yakuwa. Buli ekimukwatako kyonna kiyonjo era kirongoofu. Tetuyinza kumanyira ddala Yakuwa ky’ali okuggyako nga tutegedde bulungi ekigambo kino eky’amakulu​—‘obutukuvu.’

“Obutukuvu bwa Yakuwa”

8, 9. Kiki ekiraga nti Yakuwa ayamba abantu abatatuukiridde okufuuka abatukuvu wadde nga si ku kigero ng’ekikye?

8 Okuva obutukuvu bwe bweyolekera mu Yakuwa, kiyinza okugambibwa nti ye nsibuko y’obutukuvu. Teyeesigaliza yekka ngeri eno ey’omuwendo; agiwa abalala, era mu bungi. Katonda bwe yayogera ne Musa okuyitira mu malayika mu kisaka ekyali kyaka, n’ettaka eryali lyetooloddewo lyafuuka ttukuvu!​—Okuva 3:5.

9 Abantu abatatuukiridde bayinza okuyambibwa Yakuwa ne bafuuka abatukuvu? Yee, naye si ku kigero Yakuwa ky’aliko. Katonda yawa Isiraeri omukisa gw’okufuuka ‘eggwanga ettukuvu.’ (Okuva 19:6) Yateekerawo eggwanga eryo enteekateeka ey’okusinza eyali entukuvu, ennyonjo, era ennongoofu. Bwe kityo, obutukuvu bwogerwako enfunda n’enfunda mu Mateeka ga Musa. Mu butuufu, kabona omukulu yateekanga akapande aka zaabu ku kiremba kye, bonna we bandikalabidde nga kamasamasa mu kitangaala. Ku kapande ako kwaliko ebigambo: “Obutukuvu bwa Yakuwa.” (Okuva 28:36, NW) Mu ngeri eyo, omutindo ogwa waggulu ogw’obuyonjo n’obulongoofu gwandyawuddewo okusinza kwabwe, era n’engeri gye bandyeyisizzaamu mu bulamu bwabwe. Yakuwa yabagamba: “Munaabanga batukuvu: kubanga nze Mukama Katonda wammwe ndi mutukuvu.” (Eby’Abaleevi 19:2) Singa Abaisiraeri baakola kyonna ekisoboka okugoberera okubuulirira kwa Katonda, bandibadde batukuvu wadde nga si ku kigero Yakuwa ky’aliko.

10. Ku bikwata ku butukuvu, njawulo ki eyaliwo wakati wa Isiraeri ey’edda n’amawanga agaali gabeetoolodde?

10 Essira eryateekebwa ku butukuvu lyayoleka enjawulo ey’amaanyi eyaliwo wakati w’okusinza kwa Isiraeri n’okw’amawanga agaali gabeetoolodde. Amawanga ago amakaafiiri gaasinzanga bakatonda ab’obulimba, abaayogerwako ng’abatemu, ab’omululu era abakaba. Tebaali batukuvu n’akamu. Okusinza bakatonda ng’abo kyafuula ab’amawanga ago abataali batukuvu. Bwe kityo, Yakuwa yalabula abaweereza be okweyawula ku basinza abo abakaafiiri n’ebikolwa byabwe eby’eddiini ebibi.​—Eby’Abaleevi 18:24-28; 1 Bassekabaka 11:1, 2.

11. Obutukuvu bw’entegeka ya Yakuwa ey’omu ggulu bweyoleka butya mu (a) bamalayika? (b) basseraafi? (c) Yesu?

11 Ne bwe lyali mu mbeera ennungi ennyo, eggwanga lya Yakuwa eddonde erya Isiraeri lyali liyinza kwoleka kitono nnyo ku butukuvu bw’entegeka ya Katonda ey’omu ggulu. Obukadde n’obukadde bw’ebitonde eby’omwoyo ebiweereza Katonda n’obwesigwa byogerwako nga ‘obukumi bw’abatukuvu be.’ (Ekyamateeka 33:2; Yuda 14) Byoleka obutukuvu bwa Katonda mu ngeri etuukiridde. Era jjukira basseraafi Isaaya be yalaba mu kwolesebwa. Bye baayimba mu luyimba lwabwe biraga nti ebitonde bino eby’omwoyo birina ekifo kikulu mu kumanyisa obutukuvu bwa Yakuwa mu butonde bwonna. Kyokka, waliwo ekitonde kimu eky’omwoyo, ekisinga ebyo byonna​—ye Mwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka. Yesu y’asingayo okwoleka obulungi obutukuvu bwa Yakuwa. Nga kituukirawo bulungi, ayitibwa “Mutukuvu wa Katonda.”​—Yokaana 6:68, 69.

Erinnya Ettukuvu, Omwoyo Omutukuvu

12, 13. (a) Lwaki kituukirawo okugamba nti erinnya lya Katonda ttukuvu? (b) Lwaki erinnya lya Katonda lirina okutukuzibwa?

12 Ate kiri kitya ku linnya lya Katonda? Nga bwe twalaba mu Ssuula 1, erinnya eryo si kitiibwa butiibwa oba ekigambo obugambo. Wabula, likiikirira Yakuwa Katonda, nga lizingiramu engeri ze zonna. Bwe kityo, Baibuli etugamba nti ‘erinnya lye ttukuvu.’ (Isaaya 57:15) Amateeka ga Musa gaalagira okutta yenna eyavvoolanga erinnya lya Katonda. (Eby’Abaleevi 24:16) Era weetegereze Yesu kye yakulembeza mu kusaba: “Kitaffe ali mu ggulu, [e]rinnya lyo litukuzibwe.” (Matayo 6:9) Okutukuza ekintu kitegeeza okukyawulawo ng’ekirongoofu n’okukiwa ekitiibwa. Naye lwaki kyetaagisa okutukuza ekintu ekirongoofu ng’erinnya lya Katonda?

13 Erinnya lya Katonda ettukuvu lyogeddwako eby’obulimba era ne liweebuulwa. Mu Adeni, Setaani yayogera eby’obulimba ku Yakuwa era n’agezaako okulaga nti Yakuwa Mufuzi atali wa bwenkanya. (Olubereberye 3:1-5) Okuva ku olwo, Setaani​—omufuzi w’ensi eno etali ntukuvu​—afubye okusaasaanya obulimba ku Katonda. (Yokaana 8:44; 12:31; Okubikkulirwa 12:9) Amadiini gawadde ekifaananyi nti Katonda nnaakyemalira, tafaayo ku balala, era mukambwe. Gagamba nti agawagira mu ntalo zaago. Abamu bagambye nti ebitonde bya Katonda eby’ekitalo tebyatondebwa wabula byabaawo byokka. Mazima ddala erinnya lya Katonda lyogeddwako eby’obulimba bingi nnyo. Liteekwa okutukuzibwa; liteekwa okuweebwa ekitiibwa kyalyo ekituufu. Twesunga nnyo ekiseera erinnya lye lwe liritukuzibwa n’obutuufu bw’obufuzi bwe lwe buliragibwa, era tuba basanyufu okubaako kye tukola kyonna mu kutuukiriza ekigendererwa ekyo eky’ekitalo.

14. Lwaki omwoyo gwa Katonda guyitibwa omutukuvu, era lwaki okuvvoola omwoyo omutukuvu kibi kya maanyi?

14 Waliwo ekintu ekirala ekikwataganyizibwa ennyo ne Yakuwa era ekiyitibwa ekitukuvu​—omwoyo gwe, oba amaanyi ge agakola. (Olubereberye 1:2) Yakuwa akozesa amaanyi gano okutuukiriza ebigendererwa bye. Byonna Katonda by’akola, biba bitukuvu, birongoofu era biyonjo, n’olwekyo amaanyi ge agakola gayitibwa omwoyo omutukuvu oba omwoyo gw’obutukuvu. (Lukka 11:13; Abaruumi 1:4) Okuvvoola omwoyo omutukuvu, ekizingiramu okuziyiza ebigendererwa bya Yakuwa mu bugenderevu, kibi ekitasonyiyika.​—Makko 3:29.

Ensonga Lwaki Obutukuvu bwa Yakuwa Butusikiriza gy’Ali

15. Lwaki kituukirawo okutya Yakuwa olw’okuba mutukuvu, era okutya okwo kuzingiramu ki?

15 N’olwekyo, si kizibu kutegeera lwaki Baibuli ekwataganya obutukuvu bwa Katonda n’okumutya. Ng’ekyokulabirako, Zabbuli 99:3 lusoma: “Batendereze erinnya lyo ekkulu era ery’entiisa. [Ttukuvu].” Kyokka, okutya kuno, si kwekwo okuleetera omuntu encukwe. Wabula, kwe kumutya ng’omuwa ekitiibwa eky’amaanyi. Ekyo kituukirawo, okuva obutukuvu bwa Katonda bwe buli ku kigero ekya waggulu ennyo. Buyonjo ddala, bwa kitiibwa. Wadde kiri kityo, ekyo tekyanditumazeemu maanyi. Okwawukana ku ekyo, bwe tuba n’endowooza entuufu ku butukuvu bwa Katonda, kijja kutwagazisa okufuna enkolagana ennungi naye. Lwaki?

Ng’ekifo ekirabika obulungi bwe kitusikiriza, n’obutukuvu nabwo bwanditusikirizza

16. (a) Obutukuvu bukwataganyizibwa butya n’okulabika obulungi? Waayo ekyokulabirako. (b) Okwolesebwa okukwata ku Yakuwa kuggumiza kutya obuyonjo, obulongoofu, n’ekitangaala?

16 Era, Baibuli ekwataganya obutukuvu n’okulabika obulungi. Mu Isaaya 63:15 (NW), eggulu lyogerwako ‘ng’ennyumba ya Katonda ey’obutukuvu era erabika obulungi.’ Ekintu ekirabika obulungi kisikiriza. Ng’ekyokulabirako, tunuulira ekifaananyi ekiri ku lupapula 33. Tekikusikiriza nnyo? Kiki ekikireetera okusikiriza? Laba amazzi bwe gali amayonjo. N’empewo eteekwa okuba nga nnyonjo, kubanga eggulu lya bbululu era n’ekitangaala kirungi. Naye singa ekifaananyi ekyo kikyusibwa, amazzi ne gaba nga galimu kasasiro, emiti n’enjazi nga bikolobozeddwako, n’empewo ng’ejjudde omukka​—kyandibadde tekikyatusikiriza. Kya bulijjo okukwataganya okulabika obulungi n’obuyonjo, obulongoofu n’ekitangaala. Ebigambo ebyo bye bimu biyinza okukozesebwa okunnyonnyola obutukuvu bwa Yakuwa. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti okwolesebwa okukwata ku Yakuwa kutuwuniikiriza! Katonda waffe omutukuvu okuba nti alabika bulungi kigeraageranyizibwa ku kumasamasa ng’ekitangaala, amayinja ag’omuwendo, okwakaayakana ng’omuliro oba ebintu ebitemagana eby’omuwendo ennyo.​—Ezeekyeri 1:25-28; Okubikkulirwa 4:2, 3.

17, 18. (a) Mu kusooka, Isaaya yakwatibwako atya okwolesebwa? (b) Yakuwa yakozesa atya sseraafi okubudaabuda Isaaya, era ekyo sseraafi kye yakola kyalina makulu ki?

17 Naye, obutukuvu bwa Katonda bwandituleetedde okuwulira nga tuli ba wansi? Eky’okuddamu kiri nti, Yee. Ekituufu kiri nti tuli ba wansi nnyo ku Yakuwa. Okumanya ekyo kyandituleetedde obutaba mikwano gye? Lowooza ku ebyo Isaaya bye yayogera bwe yawulira nga basseraafi balangirira obutukuvu bwa Yakuwa. “Ne ndyoka njogera nti Zinsanze! Kubanga nfudde; kubanga ndi muntu wa mimwa egitali mirongoofu, era ntuula wakati mu bantu ab’emimwa egitali mirongoofu: kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama ow’eggye.” (Isaaya 6:5) Yee, obutukuvu bwa Yakuwa obw’ensusso bwajjukiza Isaaya nti yali mwonoonyi era muntu atatuukiridde. Mu kusooka omusajja oyo omwesigwa yaggwaamu amaanyi. Naye Yakuwa teyamuleka mu mbeera eyo.

18 Mangu ddala sseraafi yabudaabuda nnabbi oyo. Mu ngeri ki? Ekitonde ekyo eky’omwoyo kyabuuka ne kigenda ku kyoto, ne kiggyako eryanda, ne kirikoma ku mimwa gya Isaaya. Ekyo kiyinza okulabika ng’ekireeta obulumi mu kifo ky’okubudaabuda. Kyokka, jjukira nti kuno kwali kwolesebwa, okwalina amakulu amangi ag’akabonero. Isaaya, Omuyudaaya omwesigwa, yali akimanyi bulungi nti ssaddaaka zaawebwangayo buli lunaku ku kyoto kya yeekaalu okusobola okutangirira ebibi. Era sseraafi yajjukiza nnabbi ono nti wadde yali tatuukiridde, ‘ng’alina emimwa egitali mirongoofu,’ yali asobola okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda. * Yakuwa yali mwetegefu okutunuulira omuntu atatuukiridde, era omwonoonyi ng’omutukuvu​—wadde nga si ku kigero ng’ekikye.​—Isaaya 6:6, 7.

19. Kisoboka kitya ffe okubeera abatukuvu wadde nga tetutuukiridde?

19 Kye kimu ne leero. Ssaddaaka zonna ezaaweebwangayo ku kyoto mu Yerusaalemi zaali zisonga ku kintu ekisingawo obukulu​—ssaddaaka etuukiridde eya Yesu Kristo eyaweebwayo mu 33 C.E. (Abaebbulaniya 9:11-14) Bwe twenenya ebibi byaffe, ne tutereeza ekkubo lyaffe ekkyamu, era ne tukkiririza mu ssaddaaka eyo, tusonyiyibwa. (1 Yokaana 2:2) Naffe tuyinza okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda. Bwe kityo, omutume Peetero atujjukiza: “Kyawandiikibwa nti Munaabanga batukuvu; kubanga nze ndi mutukuvu.” (1 Peetero 1:16) Kyetegereze nti Yakuwa teyagamba nti tuteekwa okuba abatukuvu nga ye. Tatusuubira kukola kye tutasobola. (Zabbuli 103:13, 14) Wabula, Yakuwa atugamba okubeera abatukuvu kubanga ye mutukuvu. “Ng’abaana abaagalwa,” twagala okumukoppa nga bwe kisoboka eri abantu abatatuukiridde. (Abaefeso 5:1) N’olwekyo, kyetaagisa okukulaakulana buli kiseera okusobola okufuuka abatukuvu. Bwe tugenda tukula mu by’omwoyo, mpolampola tufuba ‘okutuukirira mu butukuvu.’​—2 Abakkolinso 7:1.

20. (a) Lwaki kikulu okutegeera nti tusobola okubeera abayonjo mu maaso ga Katonda waffe omutukuvu? (b) Isaaya yakwatibwako atya bwe yamanya nti ebibi bye byali bitangiriddwa?

20 Yakuwa ayagala ebintu ebirungi era ebirongoofu. Akyawa ekibi. (Kaabakuuku 1:13) Naye tatukyawa. Yakuwa atusonyiwa ebibi byaffe kasita tutwala ekibi nga bw’akitwala, kwe kugamba, ne tukyawa ekibi era ne twagala ekirungi​—era ne tugezaako okutambulira mu bigere bya Kristo Yesu. (Amosi 5:15; 1 Peetero 2:21) Bwe tukitegeera nti tuyinza okubeera abayonjo mu maaso ga Katonda waffe omutukuvu, kibaako kye kitukolako. Jjukira nti obutukuvu bwa Yakuwa bwasooka kujjukiza Isaaya nti teyali mulongoofu. Yagamba: “Zinsanze!” Naye bwe yamanya nti ebibi bye byali bitangiriddwa, endowooza ye yakyuka. Yakuwa bwe yabuuza ani gwe yanditumye okukola omulimu gwe, Isaaya yakkiririzaawo wadde nga yali tamanyi kyali kizingirwamu. Yagamba: “Nze nzuuno: ntuma nze.”​—Isaaya 6:5-8.

21. Kiki ekitukakasa nti tusobola okubeera abatukuvu?

21 Twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda omutukuvu, nga tusobola okwawula ekituufu n’ekikyamu era nga tuyinza okusiima ebintu eby’eby’omwoyo. (Olubereberye 1:26) Ffenna tusobola okubeera abatukuvu. Bwe tufuba okubeera abatukuvu, Yakuwa mwetegefu okutuyamba. Bwe tukola bwe tutyo, tujja kufuna enkolagana ennungi ne Katonda waffe omutukuvu. Ate era, nga twekenneenya engeri za Yakuwa mu ssuula eziddako, tujja kulaba nti waliwo ensonga nnyingi ennungi ezandituleetedde okufuna enkolagana ennungi naye!

^ lup. 18 Ebigambo ‘emimwa egitali mirongoofu’ bituukirawo, kubanga emimwa gikozesebwa mu Baibuli, okutegeeza, okwogera oba olulimi. Mu bantu bonna abatatuukiridde, ebibi ebisinga obungi bye tukola biva ku ebyo bye twogera.​—Engero 10:19; Yakobo 3:2, 6.