Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 1

‘Alina Amaanyi Mangi’

‘Alina Amaanyi Mangi’

Mu kitundu kino tujja kwekenneenya ebiri mu Baibuli ebyoleka amaanyi ga Yakuwa ag’okutonda, ag’okuzikiriza, ag’okukuuma n’ag’okuzza obuggya ebintu.Okutegeera engeri Yakuwa Katonda gy’akozesaamu ‘amaanyi ge amangi,’ kijja kutuwuniikiriza.​—Isaaya 40:26.

MU KITUNDU KINO

ESSUULA 4

‘Yakuwa Alina Amaanyi Mangi’

Amaanyi ga Katonda gandituletedde okumutya? Oyinza okugamba nti: yee oba nedda.

ESSUULA 5

Amaanyi ge Yakozesa Okutonda​—Oyo “Eyakola Eggulu n’Ensi”

Okuva ku njuba ennene ennyo okutuuka ku kanuunansubi akatono ennyo, ebitonde bya Katonda bisobola okutuyigiriza ekintu ekikulu ekimukwatako.

ESSUULA 6

Amaanyi Agazikiriza​—‘Yakuwa, Mulwanyi Muzira’

“Katonda ow’emirembe” ayinza atya okulwana entalo?

ESSUULA 7

Amaanyi ag’Obukuumi​—‘Katonda Kye Kiddukiro Kyaffe’

Katonda akuuma abawereeza be mu ngeri biri, naye emu ku zo y’esinga obukulu.

ESSUULA 8

Amaanyi ag’Okuzza Obuggya​—Yakuwa ‘Azza Obuggya Ebintu Byonna’

Yakuwa yazzaawo dda okusinza okulongoofu. Biki byajja okuzza obuggya mu biseera eby’omu maaso?

ESSUULA 9

“Kristo Amaanyi ga Katonda”

Ebyamagero Yesu bye yakola era ne bye yayigiriza bitulaga ki ku Yakuwa?

ESSUULA 10

‘Mukoppe Katonda’ mu Ngeri Gye Mukozesaamu Amaanyi

Oyinza otya okukozesa obulungi amaanyi golina?