Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 4

‘Yakuwa Alina Amaanyi Mangi’

‘Yakuwa Alina Amaanyi Mangi’

1, 2. Bintu ki ebyewuunyisa Eriya bye yali alabye mu bulamu bwe, naye ate bintu ki ebirala ebiwuniikiriza bye yalaba ng’ali ku mulyango gw’empuku ku Lusozi Korebu?

ERIYA yali alabye ku bintu ebyewuunyisa. Yalaba nnamuŋŋoona nga zimuleetera emmere emirundi ebiri buli lunaku mu kifo gye yali yeekwese. Mu kiseera eky’enjala, yalaba nti obutta obwali mu pippa n’amafuta agaali mu kasumbi tebyakendeerako. Ng’okusaba kwe kuddibwamu, yalaba omuliro nga guva mu ggulu. (1 Bassekabaka, essuula 17, 18) Kyokka, bino ebiddirira Eriya yali tabirabangako.

2 Bwe yali okumpi n’omulyango gw’empuku ku Lusozi Korebu, yalaba ebintu ebiwuniikiriza ebyali biddiriŋŋana. Okusooka waaliwo embuyaga. Eteekwa okuba nga yali ewuuma nnyo era nga ya maanyi nnyo, kubanga yayabuluzaamu ensozi era n’eyasa n’enjazi. Oluvannyuma, waddawo musisi, eyayoleka amaanyi amayitirivu agali munda mu ttaka. Ate olwo ne waddawo omuliro. Bwe gwali gusaasaana mu kitundu, kirabika Eriya yawulira ebbugumu eryali liguvaamu.​—1 Bassekabaka 19:8-12.

‘Laba! Yakuwa yali ayitawo’

3. Eriya bye yalaba byayoleka ngeri ki eya Katonda, era engeri y’emu eyo tugirabira mu ki?

3 Ebintu bino byonna Eriya bye yalaba byalina ekintu kimu kye bifaananya​—byayoleka amaanyi ga Yakuwa Katonda ag’ekitalo. Kya lwatu, tekitwetaagisa kusooka kulaba kyamagero okusobola okutegeera nti Katonda alina amaanyi. Amaanyi ge geeyoleka lwatu. Baibuli etugamba nti ebitonde byoleka ‘amaanyi ga Yakuwa agatakoma n’Obwakatonda bwe.’ (Abaruumi 1:20) Lowooza ku kumyansa kwa laddu, okubwatuka kw’eggulu, ekiyiriro eky’amaanyi, n’obwagaagavu bw’ebbanga erijjudde emmunyeenye! Tolaba maanyi ga Katonda mu bintu ng’ebyo? Kyokka, leero bantu batono nnyo abakkiririza ddala nti Katonda alina amaanyi. Batono nnyo n’okusingawo abagatunuulira mu ngeri entuufu. Naye, bwe tutegeera obulungi engeri ya Yakuwa eno, kituwa ensonga nnyingi ezitwagazisa okufuna enkolagana ennungi naye. Mu kitundu kino tujja kwekenneenya amaanyi ga Yakuwa agatenkanika.

Ngeri ya Yakuwa Enkulu

4, 5. (a) Kakwate ki akaliwo wakati w’erinnya lya Yakuwa n’obuyinza bwe oba amaanyi? (b) Lwaki kituukirawo Yakuwa okulonda ente ennume okukiikirira amaanyi ge?

4 Yakuwa teyenkanika bwe kituuka ku maanyi. Yeremiya 10:6 lugamba: “Tewali afaanana ggwe, ai Mukama; ggwe mukulu, n’erinnya lyo kkulu mu buyinza.” Kyetegereze nti obuyinza oba amaanyi bikwataganyizibwa n’erinnya lya Yakuwa. Jjukira nti erinnya lino litegeeza “Asobozesa Ebintu Okubaawo.” Kiki ekisobozesa Yakuwa okutonda ekintu kyonna ky’ayagala era n’okufuuka kyonna ky’ayagala? Ekimu ku byo ge maanyi. Yee, obusobozi Yakuwa bw’alina okubaako ne ky’akola, okutuukiriza by’ayagala, tebuliiko kkomo. Amaanyi ng’ago y’emu ku ngeri ze enkulu.

5 Olw’okuba tetuyinza kutegeerera ddala maanyi ge mu bujjuvu, Yakuwa akozesa ebyokulabirako okutuyamba. Nga bwe twalaba, akozesa ente ennume okutegeeza amaanyi ge. (Ezeekyeri 1:4-10) Ekyo kituukirawo, kubanga n’ente ennume gye balunda eba nnene era nga ya maanyi. Abantu abaaliwo mu Palesitayini mu biseera bya Baibuli tebaateranga kulaba, kabekasinge n’obutalabira ddala kintu kyali kigisinga maanyi. Kyokka, baali bamanyi ku kika ky’ente ekimu ekyali eky’entiisa n’okusingawo, naye nga kati kyasaanawo. (Yobu 39:9-12, NW) Juliyo Kayisaali, Omufuzi w’Obwakabaka bwa Rooma, yagamba nti ente ey’ekika ekyo kumpi yali yenkana enjovu. Yagamba nti yali ‘ya maanyi nnyo era nga ne sipiidi yaayo yali mpitirivu.’ Lowooza ku ngeri gye wandiwuliddemu ng’oyimiridde kumpi n’ekisolo ekyo!

6. Lwaki Yakuwa yekka y’ayitibwa “Omuyinza w’ebintu byonna”?

6 Mu ngeri y’emu, omuntu talina bw’ali era talina maanyi bw’omugeraageranya ne Katonda ow’amaanyi amangi, Yakuwa. Okusinziira ku Yakuwa, n’amawanga ag’amaanyi galinga effufugge eriri mu minzaani. (Isaaya 40:15) Okwawukana ku bitonde byonna, Yakuwa alina amaanyi agataliiko kkomo, kubanga ye yekka ayitibwa “Omuyinza w’ebintu byonna.” * (Okubikkulirwa 15:3) Yakuwa wa ‘buyinza’ era alina ‘amaanyi mangi.’ (Isaaya 40:26) Ye nsibuko y’amaanyi agatakoma. Talina kintu kyonna kye yeesigamako okusobola okufuna amaanyi, kubanga ‘Katonda ye nnannyini buyinza.’ (Zabbuli 62:11) Naye, Katonda akozesa atya amaanyi ge?

Engeri Yakuwa gy’Akozesaamu Amaanyi Ge

7. Omwoyo gwa Yakuwa omutukuvu kye ki, era byo ebigambo ebyakozesebwa mu nnimi ezaasooka bitegeeza ki?

7 Omwoyo omutukuvu guva eri Yakuwa mu bungi. Ge maanyi ga Katonda agakola. Mu butuufu, mu Olubereberye 1:2 (NW) Baibuli egwogerako ‘ng’amaanyi ga Katonda agakola.’ Ebigambo by’Olwebbulaniya n’Oluyonaani ebivvuunulwa ‘omwoyo’ oluusi biyinza okuvvuunulwa nga ‘empewo,’ oba ‘omukka ogussibwa.’ Okusinziira ku abo abawandiika enkuluze, ebigambo ebyakozesebwa mu nnimi ezaasooka bitegeeza amaanyi agatalabika agali mu nkola. Okufaananako empewo, omwoyo gwa Katonda tegulabika, naye byo bye gukola bya ddala era birabika.

8. Mu Baibuli, omwoyo omutukuvu guyitibwa ki, era lwaki ekyo kituukirawo?

8 Omwoyo gwa Katonda omutukuvu gukozesebwa mu ngeri ezitali zimu. Yakuwa ayinza okugukozesa kyonna ky’aba ayagadde. Nga kituukirawo, mu Baibuli omwoyo gwa Katonda omutukuvu guyitibwa ‘engalo ye,’ ‘omukono gwe ogw’amaanyi,’ oba ‘omukono gwe ogugoloddwa.’ (Lukka 11:20; Ekyamateeka 5:15; Zabbuli 8:3) Ng’omuntu bw’ayinza okweyambisa omukono gwe okukola emirimu egitali gimu egyetaagisa amaanyi n’obusobozi obw’enjawulo, ne Katonda akozesezza omwoyo gwe okukola kyonna ky’ayagala​—gamba ng’okukola obuntu obusirikitu, okwawulamu Ennyanja Emmyufu oba okusobozesa Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka okwogera mu nnimi engwira.

9. Obuyinza bwa Yakuwa bwenkana wa?

9 Era Yakuwa akozesa amaanyi ge ng’Omufuzi w’Obutonde Bwonna. Oyinza okukiteeberezaamu ng’olina obukadde n’obukadde bw’ebitonde ebitegeera ebikugondera? Yakuwa alina obuyinza ng’obwo. Alina abaweereza be ku nsi, abageraageranyizibwa ku ggye mu Byawandiikibwa. (Zabbuli 68:11; 110:3) Kyokka, omuntu kitonde kinafu bw’omugeraageranya ne malayika. Weewuunye, eggye lya Bwasuli bwe lyalumba abantu ba Katonda, malayika omu yatta abaserikale 185,000 mu kiro kimu! (2 Bassekabaka 19:35) Bamalayika ba Katonda ‘ba maanyi nnyo.’​—Zabbuli 103:19, 20.

10. (a) Lwaki Omuyinza w’ebintu byonna, ayitibwa Yakuwa ow’eggye? (b) Ani asinga amaanyi mu bitonde bya Yakuwa byonna?

10 Bamalayika bali bameka? Nnabbi Danyeri yayolesebwa ebiri mu ggulu n’alaba ebitonde eby’omwoyo ebisukka mu bukadde 100 nga biri mu maaso g’entebe ya Yakuwa, naye tewali kiraga nti yalaba bamalayika bonna abali mu ggulu. (Danyeri 7:10) N’olwekyo, omuwendo gwa bamalayika guyinza okuba nga guli mu bukadde nkumi na nkumi. Eyo ye nsonga lwaki Katonda ayitibwa Yakuwa ow’eggye. Ekitiibwa kino kiraga ekifo ky’alina ng’Omuduumizi w’eggye lya bamalayika eddene ennyo era etegeke obulungi. Ataddewo Omwana we omwagalwa, ‘omubereberye w’ebitonde byonna,’ okukulira ebitonde bino byonna eby’omwoyo. (Abakkolosaayi 1:15) Olw’okuba Yesu y’akulira bamalayika bonna, basseraafi, ne bakerubi, kye kitonde kya Yakuwa ekisingayo amaanyi.

11, 12. (a) Yakuwa akozesa atya amaanyi ge? (b) Yesu yayogera atya ku maanyi ga Yakuwa?

11 Yakuwa alina engeri endala gy’akozesaamu amaanyi ge. Abaebbulaniya 4:12 lugamba: ‘Ekigambo kya Katonda kiramu era kya maanyi.’ Olabye amaanyi g’Ekigambo kya Katonda, oba obubaka obwaluŋŋamizibwa obuli mu Baibuli? Buyinza okutuzzaamu amaanyi, okuzimba okukkiriza kwaffe, n’okutuyamba okukola enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwaffe. Omutume Pawulo yalabula bakkiriza banne ku bikolwa eby’obugwenyufu. Yagattako: “Era abamu ku mmwe mwali ng’abo.” (1 Abakkolinso 6:9-11) Yee, ‘ekigambo kya Katonda’ kyabayamba okukola enkyukakyuka.

12 Yakuwa alina amaanyi mangi nnyo era n’engeri gy’agakozesaamu ya kitalo ne kiba nti tewali kiyinza kumulemesa. Yesu yagamba: “Katonda ayinza byonna.” (Matayo 19:26) Yakuwa amaanyi ge ago agakozesa lwa kigendererwa ki?

Maanyi Agakozesebwa n’Ekigendererwa

13, 14. (a) Lwaki tuyinza okugamba nti Yakuwa talinga kyuma ekitategeera? (b) Yakuwa akozesa amaanyi ge mu ngeri ki?

13 Omwoyo gwa Yakuwa gusingira wala amaanyi gonna ag’omu butonde; era Yakuwa tali nga kyuma buuma ekikola amasannyalaze. Ye Katonda afaayo era alina obuyinza ku maanyi ge. Kyokka, kiki ekimuleetera okugakozesa?

14 Nga bwe tujja okulaba, Katonda akozesa amaanyi ge okutonda, okuzikiriza, okukuuma, n’okuzza obuggya​—mu bufunze, okukola kyonna ekituukana n’ebigendererwa bye. (Isaaya 46:10) Mu mbeera ezimu, Yakuwa akozesa amaanyi ge okumanyisa engeri ze enkulu n’emitindo gye. Okusinga byonna, akozesa amaanyi ge okutuukiriza ekigendererwa kye, kwe kugamba, okulaga obutuufu bw’obufuzi bwe n’okutukuza erinnya lye okuyitira mu Bwakabaka bwa Masiya. Tewali kiyinza kumulemesa kutuukiriza kigendererwa ekyo.

15. Lwaki Yakuwa akozesa amaanyi ge ku lw’abaweereza be, era kino kyeyoleka kitya ku bikwata ku Eriya?

15 Era Yakuwa akozesa amaanyi ge okutuyamba kinnoomu. Weetegereze 2 Ebyomumirembe 16:9 (NW) kye lugamba: “Amaaso ga Yakuwa gatambulatambula wano ne wali mu nsi yonna alage amaanyi ge ku lw’abo abalina omutima ogutuukiridde gy’ali.” Ekyatuuka ku Eriya, ekyayogeddwako ku ntandikwa, kye kimu ku byokulabirako ebiraga ekyo. Lwaki Yakuwa yamulaga amaanyi ge amangi? Kkwini, Yezeberi, yali amaliridde okutta Eriya. Nnabbi oyo yali adduse okuwonya obulamu bwe. Yalowooza nti ali yekka, n’atya nnyo era n’aggwaamu amaanyi​—nga gy’obeera nti bye yali akoze byonna byali bya bwereere. Kyokka, Yakuwa yabudaabuda Eriya ng’amulaga amaanyi ge. Embuyaga, musisi n’omuliro byalaga nti Oyo asingayo okuba ow’amaanyi mu butonde bwonna yali n’Eriya. Kati olwo, lwaki yanditidde Yezeberi nga Katonda omuyinza w’ebintu byonna ali ku ludda lwe?​—1 Bassekabaka 19:1-12. *

16. Lwaki tuyinza okubudaabudibwa bwe tufumiitiriza ku maanyi ga Yakuwa amangi?

16 Wadde nga ekiseera kye tulimu si kya kukola bya magero, Yakuwa takyukanga okuva mu biseera bya Eriya. (1 Abakkolinso 13:8) Ne mu kiseera kyaffe ayagala nnyo okukozesa amaanyi ge ku lw’abo abamwagala. Kituufu nti ali mu ttwale ery’omwoyo, naye tatuli wala. Amaanyi ge tegakoma, n’olwekyo okubeera mu twale ery’omwoyo, tekimukugira n’akamu. Wabula, “Mukama aba kumpi abo bonna abamukaabira.” (Zabbuli 145:18) Lumu nnabbi Danyeri bwe yakaabirira Yakuwa okumuyamba, malayika yajja gy’ali nga tannaba na kumaliriza kusaba! (Danyeri 9:20-23) Tewali kiyinza kulemesa Yakuwa kuyamba n’okuzzaamu amaanyi abo b’ayagala.​—Zabbuli 118:6.

Amaanyi ga Yakuwa Gamufuula Atatuukirikika?

17. Amaanyi ga Yakuwa gatuleetera kumutya mu ngeri ki, naye kutya ki kwe gatatuleetera?

17 Amaanyi ga Katonda gandituleetedde okumutya? Mu ngeri emu tuyinza okugamba nti yee, ate mu ngeri endala nti nedda. Twandimutidde, nga tumuwa ekitiibwa nga bwe kyayogerwako mu bufunze mu ssuula evuddeko. Baibuli etugamba nti okutya ng’okwo ‘amagezi mwe gasookera.’ (Zabbuli 111:10) Ku ludda olulala Yakuwa tetwandimutidde kubanga amaanyi ge tegatuleetera ntiisa wadde okutulemesa okumutuukirira.

18. (a) Lwaki abasinga obungi tebeesiga bantu abalina obuyinza? (b) Tumanya tutya nti Yakuwa tayinza kwonoonebwa maanyi ge?

18 “Obuyinza bwonoona, ate obuyinza obungi ennyo bwonoonera ddala,” bw’atyo Omungereza ayitibwa Lord Action bwe yayogera mu 1887. Ebigambo bye bijuliziddwako enfunda n’enfunda, oboolyawo kubanga abantu bangi balaba nga bituufu. Abantu abatatuukiridde batera okukozesa obubi obuyinza bwabwe, nga ebibaddewo mu byafaayo bwe bikiraze enfunda n’enfunda. (Omubuulizi 4:1; 8:9) Olw’ensonga eno, bangi tebeesiga bantu balina buyinza era babeewala. Yakuwa alina amaanyi mu bujjuvu. Gamwonoonye mu ngeri emu oba endala? N’akatono! Nga bwe twalabye, mutukuvu, era tayinza kwonooneka. Yakuwa talinga bantu abatatuukiridde abalina obuyinza mu nsi eno ennyonoonefu. Takozesangako bubi maanyi ge era talikikola.

19, 20. (a) Yakuwa bw’aba akozesa amaanyi ge, ngeri ki endala zaayoleka, era lwaki kino kizzaamu amaanyi? (b) Oyinza otya okunnyonnyola engeri Yakuwa gye yeefugamu, era lwaki ekyo kikusikiriza?

19 Kijjukire nti, amaanyi si ye ngeri yokka Yakuwa gy’alina. Tukyalina okwekkaanya obwenkanya bwe, amagezi ge, n’okwagala kwe. Tetusaanidde kulowooza nti Yakuwa akozesa engeri ze mu ngeri etakwatagana. Okwawukana ku ekyo, mu ssuula eziddako tujja kulaba nti bulijjo Yakuwa akozesa amaanyi ge mu ngeri ya bwenkanya, ya magezi, era ya kwagala. Lowooza ku ngeri endala Yakuwa gy’alina, etasangika mu bafuzi ab’ensi​—okwefuga.

20 Teeberezaamu ng’osisinkanye omusajja omuwagguufu ennyo era ow’amaanyi ennyo akutiisa. Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera okiraba nti wa ggonjebwa. Buli kiseera aba mwetegefu okukozesa amaanyi ge okuyamba n’okukuuma abantu, naddala abatalina bukuumi. Takozesa bubi maanyi ge. Bamwogerako eby’obulimba naye asigala nga mukkakkamu, era nga wa kisa. Weebuuza obanga naawe wandyefuze era n’osigala ng’oli mukkakkamu singa walina amaanyi ng’agage! Bwe weeyongera okumanya omusajja ng’oyo, tewandyagadde kufuna nkolagana nnungi naye? Tulina ensonga nnyingi n’okusingawo ezitwagazisa okufuna enkolagana ennungi ne Katonda ayinza byonna, Yakuwa. Lowooza ku lunyiriri olwesigamiziddwako omutwe gw’essuula eno: “Yakuwa alwawo okusunguwala era alina amaanyi mangi.” (Nakkumu 1:3, NW) Yakuwa tayanguyiriza kukozesa maanyi ge okubonereza abantu, wadde ababi. Muteefu era wa kisa. Yeeraze okuba nga “alwawo okusunguwala” wadde ng’asosonkerezeddwa.​—Zabbuli 78:37-41.

21. Lwaki Yakuwa takaka bantu kukola by’ayagala, era ekyo tukiyigako ki?

21 Lowooza ku ngeri endala Yakuwa gye yeefugamu. Singa walina amaanyi agataliiko kkomo, olowooza emirundi egimu tewandikase abantu okukola nga bw’oyagala? Wadde nga Yakuwa alina amaanyi mangi, takaka bantu kumuweereza. Wadde ng’okuweereza Yakuwa ye ngeri yokka mwe tuyitira okufuna obulamu obutaggwaawo, Yakuwa tatukaka kumuweereza. Wabula awa buli muntu eddembe okwesalirawo. Alabula ku kabi akava mu kusalawo mu ngeri etali ya magezi era n’alaga emiganyulo egiva mu kusalawo n’amagezi. Naye atuleka ffe ne twesalirawo. (Ekyamateeka 30:19, 20) Yakuwa tayagala kumuweereza olw’okukakibwa oba olw’okumutya olw’amaanyi amangi g’alina. Asanyukira abo abamuweereza olw’okwagala.​—2 Abakkolinso 9:7.

22, 23. (a) Kiki ekiraga nti Yakuwa ayagala okuwa abalala amaanyi? (b) Kiki kye tujja okwekenneenya mu ssuula eddako?

22 Ka tulabe ensonga esembayo eraga lwaki tetwanditidde Katonda Omuyinza w’ebintu byonna. Abantu ab’obuyinza tebaagala kugabana buyinza bwabwe na balala. Kyokka, Yakuwa asanyuka okuwa abasinza be abeesigwa amaanyi. Awa abalala obuyinza bungi, gamba ng’Omwana we. (Matayo 28:18) Era Yakuwa awa abaweereza be amaanyi mu ngeri endala. Baibuli ennyonnyola: “Obukulu bubwo n’amaanyi n’ekitiibwa n’okuwangula n’okugulumizibwa: kubanga byonna ebiri mu ggulu n’ebiri mu nsi bibyo; . . . mu mukono gwo mwe muli okukuza n’okuwa bonna amaanyi.”​—1 Ebyomumirembe 29:11, 12.

23 Yee, Yakuwa ayagala okukuwa amaanyi. Era awa abo abaagala okumuweereza ‘amaanyi agasinga ku ga bulijjo.’ (2 Abakkolinso 4:7) Owulira ng’osikirizibwa eri Katonda ono ow’amaanyi, akozesa amaanyi ge mu ngeri ey’ekisa era ng’agoberera emitindo egya waggulu? Mu ssuula eddako tujja kulaba engeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge okutonda.

^ lup. 6 Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “Omuyinza w’ebintu byonna” obutereevu kitegeeza “Afuga Byonna; Oyo Alina Amaanyi Gonna.”

^ lup. 15 Baibuli egamba nti ‘Yakuwa teyali mu mbuyaga, oba mu musisi wadde mu muliro.’ Okwawukana ku abo abasinza bakatonda ab’obulimba abakwataganyizibwa n’amaanyi ag’omu butonde, abaweereza ba Yakuwa tebamunoonyeza mu maanyi ag’obutonde. Mukulu nnyo era wa maanyi nnyo okusobola okubeera mu kintu kyonna kye yatonda.​—1 Bassekabaka 8:27.