Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 8

Amaanyi ag’Okuzza Obuggya​—Yakuwa ‘Azza Obuggya Ebintu Byonna’

Amaanyi ag’Okuzza Obuggya​—Yakuwa ‘Azza Obuggya Ebintu Byonna’

1, 2. Biki abantu bye bafiirwa leero, era okufiirwa okwo kutukolako ki?

OMWANA abuzizza oba amenye eky’okuzannyisa kye ky’ayagala ennyo era akaaba nnyo. Kikunakuwaza okumulaba ng’akaaba! Kyokka, wali olabye engeri omwana gy’asanyukamu muzadde we bw’azuula ky’aba abuzizza? Eri omuzadde, kiyinza okuba ekyangu ennyo okuzuula eky’okuzannyisa ekyo oba okukiddaabiriza. Naye omwana kimwewuunyisa nnyo era n’asanyuka nnyo. Ekyalabise ng’ekibulidde ddala oba ekyonoonekedde ddala kiba kizziddwaawo!

2 Yakuwa, Kitaffe ow’oku ntikko, alina amaanyi okuzzaawo ebyo abaana be ab’oku nsi bye balowooza nti baabifiirwa ddala. Kya lwatu, tetutegeeza bya kuzannyisa. Mu ‘biro bino eby’okulaba ennaku,’ tufiirwa ebintu ebikulu ennyo n’okusingawo. (2 Timoseewo 3:1-5) Ebintu bingi abantu bye batwala ng’eby’omuwendo biba mu kabi buli kiseera, gamba, amaka gaabwe, ebintu byabwe, emirimu gyabwe n’embeera y’obulamu bwabwe. Era tuyinza okunakuwala bwe tulowooza ku kwonoonebwa kw’obutonde okuviiriddeko ebika bingi eby’ebisolo n’ebimera okusaanawo. Kyokka, tewali kituluma kusinga kufiirwa mwagalwa. Okufiirwa okwo n’okuba nga tolina ky’oyinza kukolawo kiyinza okukuyitirirako.​—2 Samwiri 18:33.

3. Kiki ekizzaamu amaanyi ekyogerwako mu Ebikolwa by’Abatume 3:21, era Yakuwa anaakozesa ki okukituukiriza?

3 N’olwekyo, nga kizzaamu nnyo amaanyi okuyiga ku maanyi ga Yakuwa ag’okuzza obuggya ebintu! Nga bwe tujja okulaba, waliwo bingi ebyewuunyisa Katonda by’ayinza era by’ajja okuddiza abaana be ab’oku nsi. Mu butuufu, Baibuli eraga nti Yakuwa ajja ‘kuzza obuggya ebintu byonna.’ (Ebikolwa 3:21, NW) Okutuukiriza ekyo, Yakuwa ajja kukozesa Obwakabaka bwe, obufugibwa Omwana we, Yesu Kristo. Obujulizi bulaga nti Obwakabaka buno bwatandika okufuga mu ggulu mu 1914. * (Matayo 24:3-14) Biki ebirizzibwa obuggya? Ka twetegereze ebimu ku bikolwa bya Yakuwa eby’ekitalo eby’okuzza obuggya ebintu. Ekimu ku byo tukiraba era weekiri. Ebirala bijja kubaawo ku kigero ekinene mu kiseera eky’omu maaso.

Okuzzibwawo kw’Okusinza Okulongoofu

4, 5. Kiki ekyatuuka ku bantu ba Katonda mu 607 B.C.E., naye yabawa ssuubi ki?

4 Ekintu ekimu Yakuwa kye yamala edda okuzzaawo kwe kusinza okulongoofu. Okusobola okutegeera ekyo kye kitegeeza, mu bufunze ka twekenneenye ebyafaayo by’obwakabaka bwa Yuda. Ekyo kijja kutuyamba okutegeera engeri Yakuwa gy’abadde akozesaamu amaanyi ge ag’okuzza obuggya ebintu.​—Abaruumi 15:4.

5 Teeberezaamu engeri Abayudaaya abeesigwa gye baawuliramu Yerusaalemi bwe kyazikirizibwa mu 607 B.C.E. Ekibuga kyabwe kye baali baagala ennyo kyali kizikiriziddwa, nga ne bbugwe waakyo ali ku ttaka. Ekyali kisingawo n’okuba ekibi kyali nti yeekaalu Sulemaani gye yali azimbye, awaali okusinza okw’amazima mu nsi yonna, nayo yali ezikiriziddwa. (Zabbuli 79:1) Abaawonawo baatwalibwa mu buwaŋŋanguse e Babulooni, ensi yaabwe ne bagireka nga matongo, omwetaayiza ensolo enkambwe. (Yeremiya 9:11) Okusinziira ku ndaba y’omuntu, kyalabika nti baali bafiiriddwa byonna. (Zabbuli 137:1) Naye, Yakuwa eyali yalagula edda okuzikirizibwa okwo, era yabawa essuubi nti ekiseera eky’okuzza obuggya ebintu ebyo kyali kijja mu maaso.

6-8. (a) Nsonga ki eddiŋŋanwa mu biwandiiko bya bannabbi Abebbulaniya, era obunnabbi obwo bwatuukirizibwa butya? (b) Mu biseera byaffe, abantu ba Katonda balabye kutuukirizibwa ki okw’obunnabbi bw’okuzza ebintu obuggya?

6 Mu butuufu, ensonga y’okuzza obuggya ebintu yaddiŋŋanwa mu biwandiiko bya bannabbi Abebbulaniya. * Okuyitira mu bannabbi abo, Yakuwa yasuubiza okuzza obuggya ensi yaabwe, eddemu okubaamu abantu, ebe ngimu, era nga tewakyaliwo kabi konna okuva eri ensolo enkambwe n’abalabe. Ensi yaabwe eyali egenda okuzzibwawo, Katonda yagyogerako ng’olusuku lwe! (Isaaya 65:25; Ezeekyeri 34:25; 36:35) Ekisingawo n’obukulu, okusinza okulongoofu kwandizziddwaawo, era ne yeekaalu n’ezimbibwa nate. (Mikka 4:1-5) Obunnabbi buno bwawa Abayudaaya abaali mu buwaŋŋanguse essuubi, ne kibayamba okugumiikiriza obuddu bwe baalimu okumala emyaka 70 mu Babulooni.

7 Kulwaddaaki, ekiseera eky’okuzza ebintu obuggya kyatuuka. Oluvannyuma lw’okununulwa mu Babulooni, Abayudaaya baddayo mu Yerusaalemi ne baddamu okuzimba yeekaalu ya Yakuwa. (Ezera 1:1, 2) Bwe baanywerera ku kusinza okulongoofu, Yakuwa yabawa omukisa, n’afuula ettaka lyabwe eggimu era eryaza ebirime. Yabakuuma okuva ku balabe baabwe n’ensolo enkambwe ezaali zimaze amakumi g’emyaka nga zeetaaya mu nsi yaabwe. Nga bateekwa okuba nga baajaguza nnyo olw’amaanyi ga Yakuwa ag’okuzza obuggya ebintu! Kyokka, obunnabbi obwo obw’okuzza obuggya bwali butuukiriziddwa ku kigero kitono nnyo. Okutuukirizibwa okusingawo obunene kwali kwa kubaawo mu ‘nnaku ez’oluvannyuma,’ mu kiseera kyaffe, nga Muzzukulu wa Kabaka Dawudi eyasuubizibwa edda atuuziddwa ku ntebe y’obwakabaka.​—Isaaya 2:2-4; 9:6, 7.

8 Nga Yesu yaakatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka mu ggulu mu 1914, yakola ku byetaago eby’omwoyo eby’abantu ba Katonda abeesigwa ku nsi. Nga Kuulo Omuperusi bwe yasumulula ensigalira y’Abayudaaya okuva mu Babulooni mu 537 B.C.E., ne Yesu yasumulula ensigalira y’Abayudaaya ab’omwoyo​—abagoberezi be​—okuva mu buyinza bwa Babulooni eky’omu kiseera kyaffe, eddiini ez’obulimba. (Abaruumi 2:29; Okubikkulirwa 18:1-5) Okuva mu 1919, okusinza okulongoofu kuzziddwawo mu bulamu bw’Abakristaayo ab’amazima. (Malaki 3:1-5) Okuva mu kiseera ekyo, abantu ba Yakuwa bamusinziza mu yeekaalu ye ey’eby’omwoyo erongoosedwa, ng’eno y’enteekateeka ya Katonda ey’okusinza okulongoofu. Lwaki kino kikulu nnyo gye tuli leero?

Ensonga Lwaki Okuzzibwa Obuggya mu By’Omwoyo Kikulu

9. Oluvannyuma lw’ekiseera ky’abatume, amakanisa ga Kristendomu gaakola ki okusinza kwa Katonda, naye Yakuwa akoze ki mu kiseera kyaffe?

9 Lowooza ku bino ebyaliwo mu byafaayo. Abakristaayo mu kyasa ekyasooka baafuna emikisa mingi mu by’omwoyo. Naye Yesu n’abatume baalagula nti okusinza okw’amazima kwandyonooneddwa era ne kuggwaawo. (Matayo 13:24-30; Ebikolwa 20:29, 30) Oluvannyuma lw’ekiseera ky’abatume, Kristendomu yatutunukawo. Abakulembeze baayo baagoberera enjigiriza n’ebikolwa eby’ekikaafiiri. Era baakifuula kizibu nnyo okutegeera Katonda kubanga bamunnyonnyola okuba Tiriniti etategeerekeka, era ne bayigiriza abantu okwenenya eri abasosodooti n’okusaba Malyamu ‘n’abatuukirivu’ mu kifo kya Yakuwa. Kati oluvannyuma lw’ebyasa bingi nga waliwo okuyigiriza okw’obulimba, kiki Yakuwa ky’akoze? Mu nsi ey’akakyo kano​—ensi ejjudde obulimba bw’eby’eddiini n’ebikolwa ebibi​—Yakuwa ayingidde mu nsonga n’azzaawo okusinza okulongoofu! Awatali kusavuwaza, tuyinza okugamba nti okuzzibwawo kuno, kimu ku bintu ebisingirayo ddala obukulu ebibaddewo mu biseera byaffe.

10, 11. (a) Bintu ki ebibiri ebizingirwa mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo, era okwatibwako otya? (b) Bantu ba ngeri ki Yakuwa b’akuŋŋaanyizza mu lusuku lwe olw’eby’omwoyo, era baliba na nkizo ya kulaba ki?

10 N’olwekyo, Abakristaayo ab’amazima bali mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo. Olusuku luno luzingiramu ki? Ebintu bibiri ebikulu. Ekisooka kwe kusinza okulongoofu okwa Katonda ow’amazima, Yakuwa. Atuteereddewo okusinza okutaliimu bulimba wadde okubuzaabuzibwa, era atuwadde emmere ey’eby’omwoyo. Kino kitusobozesa okuyiga ku Kitaffe ow’omu ggulu, okumusanyusa n’okufuna enkolagana ennungi naye. (Yokaana 4:24) Eky’okubiri kikwata ku bantu. Nga Isaaya bwe yalagula, ‘mu nnaku ez’oluvannyuma,’ Yakuwa ayigirizza abasinza be ekkubo ery’emirembe. Aggyewo entalo mu ffe. Wadde nga tetutuukiridde, atuyamba okwambala ‘omuntu omuggya.’ Asiima bye tukola era n’atuwa omwoyo gwe omutukuvu, ogutusobozesa okwoleka ebibala ebirungi. (Abaefeso 4:22-24; Abaggalatiya 5:22, 23) Bw’oba okolera awamu n’omwoyo gwa Katonda omutukuvu, mazima ddala oli mu lusuku lwa Katonda olw’eby’omwoyo.

11 Yakuwa akuŋŋaanyizza mu lusuku lwe olw’eby’omwoyo abantu b’ayagala, kwe kugamba, abo abamwagala, abaagala emirembe, era ‘abamanyi obwetaavu bwabwe obw’eby’omwoyo.’ (Matayo 5:3, NW) Abalinga abo be baliba n’enkizo ey’okulaba okuzzibwa obuggya okw’abantu n’ensi yonna, okusingawo n’okuba okw’ekitalo.

“Laba, Byonna Mbizzizza Buggya”

12, 13. (a) Lwaki obunnabbi bw’okuzza obuggya ebintu buteekwa okutuukirizibwa mu ngeri esingawo? (b) Ekigendererwa kya Yakuwa ekikwata ku nsi ekyayogerwako mu Adeni kye kiruwa, era lwaki kino kituwa essuubi mu biseera eby’omu maaso?

12 Bungi ku bunnabbi obwogera ku kuzza ebintu obuggya tebukoma ku bya mwoyo byokka. Ng’ekyokulabirako, Isaaya, yayogera ku kiseera abalwadde, abalema, abazibe, ne bakiggala lwe baliwonyezebwa era n’okufa ne kuggibwawo ddala. (Isaaya 25:8; 35:1-7) Ebisuubizo ng’ebyo tebyatuukirizibwa ku Isiraeri eky’edda. Era wadde tulabye okutuukirizibwa kw’obunnabbi buno mu ngeri ey’eby’omwoyo mu kiseera kyaffe, tulina ensonga ennywevu okugamba nti mu biseera eby’omu maaso, bujja kutuukirira ku kigero ekinene nga abalwadde, abalema, n’abazibe bonna bawonyezebwa era nga n’okufa kuggibwawo. Ekyo tukikakasa tutya?

13 Mu Adeni, Yakuwa yamanyisa bulungi ekigendererwa kye ekikwata ku nsi: Yali ya kubeeramu abantu abasanyufu, abalamu obulungi, era abali obumu. Omusajja n’omukazi baali ba kulabirira ensi ne byonna ebigiriko, bagifuule olusuku lwa Katonda. (Olubereberye 1:28) Naye embeera si bw’etyo bw’eri kati. Kyokka, tube bakakafu nti ebigendererwa bya Yakuwa tebiyinza kulemesebwa. (Isaaya 55:10, 11) Yesu, nga Kabaka eyalondebwa Yakuwa, ajja kusobozesa Olusuku lwa Katonda ku nsi okubaawo.​—Lukka 23:43.

14, 15. (a) Yakuwa anazza atya ‘ebintu byonna obuggya’? (b) Obulamu bulibeera butya mu Lusuku lwa Katonda, era kiki ekisinga okukusikiriza?

14 Teeberezaamu ng’ensi yonna efuuliddwa Olusuku lwa Katonda! Yakuwa ayogera bw’ati ku kiseera ekyo: “Laba, byonna mbizzizza buggya.” (Okubikkulirwa 21:5) Fumiitiriza ekyo kye kiritegeeza. Nga Yakuwa amaze okuzikiriza enteekateeka y’ebintu eno embi, wajja kuddawo ‘eggulu eriggya n’ensi empya.’ Kino kitegeeza nti gavumenti empya ey’omu ggulu ejja kufuga abantu abaagala Yakuwa era abakola by’ayagala ku nsi. (2 Peetero 3:13) Setaani ne balubaale be bajja kusuulibwa mu bunnya obutakoma. (Okubikkulirwa 20:3) Ogwo gwe gujja okuba mulundi ogusookera ddala oluvannyuma lw’enkumi n’enkumi z’emyaka, abantu okuba nga tebeetooloddwa mbeera mbi era ezoonoona. Abantu bajja kufuna obuweerero bwa maanyi nnyo.

15 Kulwaddaaki, tujja kusobola okulabirira nsi eno efaanana obulungi mu ngeri gye yalina okulabirirwa mu kusooka. Ensi erina obusobozi bw’okwezza obuggya. Ennyanja n’emigga ebyonooneddwa biyinza okwezza obuggya singa ekibiviirako okwonoonebwa kiggibwawo; ettaka eryonooneddwa entalo liyinza okwezza obuggya singa entalo zikoma. Nga kiriba kya ssanyu okugoberera amateeka g’omu butonde, okusobola okufuula ensi yonna ekifo ekifaanana obulungi ennyo ng’olusuku Adeni bwe lwali, era ekirimu ebika ebingi ennyo eby’ebimera n’ebisolo! Mu kifo ky’okumala gazikiriza ebisolo n’ebimera, omuntu ajja kuba mu mirembe n’ebitonde byonna ku nsi. N’abaana bajja kuba tebakyatya nsolo nkambwe.​—Isaaya 9:6, 7; 11:1-9.

16. Mu Lusuku lwa Katonda, kuzza ki obuggya okulikwata ku buli muntu omwesigwa?

16 N’abantu kinnoomu bajja kuzzibwa obuggya. Oluvannyuma lwa Kalumagedoni, abaliwonawo bajja kulaba okuwonyezebwa okw’ekyamagero mu nsi yonna. Nga bwe yakola ng’ali ku nsi, Yesu ajja kukozesa amaanyi agamuweebwa Katonda okuwonya bamuzibe, bakiggala n’abalema. (Matayo 15:30) Bannamukadde bajja kuddamu okuba n’amaanyi ag’ekivubuka, era nga balamu bulungi. (Yobu 33:25) Tebaliba na nkanyanya wadde obukosefu bwonna. Abantu bonna abeesigwa bajja kukitegeera nti ekibi n’obutali butuukirivu bigenda biggwaawo mpolampola. Nga tujja kwebaza nnyo Yakuwa Katonda olw’amaanyi ge ag’ekitalo agazza ebintu obuggya! Kati ka twekkaanye ekintu ekirala ekizzaamu ennyo amaanyi ekinaabaawo mu kiseera ekyo eky’okuzza ebintu obuggya.

Okuzzaawo Obulamu bw’Abafu

17, 18. (a) Lwaki Yesu yanenya Abasaddukaayo? (b) Mbeera ki ezaaleetera Eriya okusaba Yakuwa okuzuukiza omwana?

17 Mu kyasa ekyasooka C.E., abakulembeze b’eddiini abamu abayitibwa Abasaddukaayo, baali tebakkiririza mu kuzuukira. Yesu yabanenya bw’ati: “Mukyama olw’obutamanya ebyawandiikibwa, newakubadde amaanyi ga Katonda.” (Matayo 22:29) Yee, Ebyawandiikibwa biraga nti Yakuwa alina amaanyi ng’ago ag’okuzza ebintu obuggya. Mu ngeri ki?

18 Teeberezaamu ekintu kino ekyaliwo mu kiseera kya Eriya. Nnamwandu yali asitudde omwana we eyali afudde. Nnabbi Eriya eyali omugenyi wa nnamwandu ateekwa okuba nga yanakuwala nnyo. Emabegako, yali awonyezza omwana oyo okufa enjala. Kirabika Eriya yali ayagala nnyo omwana oyo. Maama w’omwana yali munakuwavu nnyo. Omwana ono ye yekka gwe yalina era yamujjukizanga bbaawe eyafa. Ayinza okuba yali asuubira omwana we okumulabirira ng’akaddiye. Olw’ennaku ennyingi ennyo, nnamwandu yalowooza nti yali abonerezebwa olw’ensobi gye yakola emabega. Eriya yali tayagala nnaku ya nnamwandu kweyongera. Yaggya omulambo ku nnamwandu, n’agutwala mu kisenge kye n’asaba Yakuwa Katonda okuzzaawo obulamu bw’omwana oyo.​—1 Bassekabaka 17:8-21.

19, 20. (a) Ibulayimu yalaga atya nti yali akkiririza mu busobozi bwa Yakuwa obw’okuzzaawo omuntu, era okukkiriza okwo yali akwesigamya ku ki? (b) Yakuwa yasiima atya okukkiriza kwa Eriya?

19 Eriya si ye yasooka okukkiririza mu kuzuukira. Ebikumi by’emyaka emabega, Ibulayimu yalina okukkiriza nti Yakuwa alina obusobozi bw’okuzzaawo obulamu bw’omuntu era yalina ensonga ennungi okulowooza bw’atyo. Ibulayimu bwe yali aweza emyaka 100 egy’obukulu ne Saala ng’alina emyaka 90, Yakuwa yazza obuggya amaanyi gaabwe ag’okuzaala, mu ngeri ey’ekyamagero, n’asobozesa Saala okuzaala omwana. (Olubereberye 17:17; 21:2, 3) Ng’omwana oyo amaze okukula, Yakuwa yasaba Ibulayimu okuwaayo omwana we nga ssaddaaka. Ibulayimu yalaga okukkiriza, ng’amanyi nti Yakuwa asobola okuzzaawo obulamu bwa Isaaka. (Abaebbulaniya 11:17-19) Okukkiriza okw’amaanyi bwe kutyo Ibulayimu kwe yalina kutuyamba okutegeera ensonga lwaki bwe yali tannalinnya lusozi kuwaayo Isaaka, yakakasa abaweereza be nti ye ne Isaaka bandikomyewo.​—Olubereberye 22:5.

“Laba, omwana wo mulamu”!

20 Yakuwa yawonyawo obulamu bwa Isaaka, ne kiba nti kyali tekyetaagisa kumuzuukiza mu kiseera ekyo. Kyokka, ku bikwata ku Eriya, omwana wa nnamwandu yali amaze okufa, naye teyali wa kusigala mu mbeera eyo kumala bbanga ddene. Yakuwa yasiima okukkiriza kwa nnabbi ng’azuukiza omwana oyo! Oluvannyuma Eriya yawa nnamwandu omwana we, era n’amugamba: “Laba, omwana wo mulamu”!​—1 Bassekabaka 17:22-24.

21, 22. (a) Okuzuukizibwa okwogerwako mu Byawandiikibwa kwalina kigendererwa ki? (b) Mu Lusuku lwa Katonda, ani alizuukiza abantu, era alizuukiza benkana wa?

21 Bwe kityo nno, ogwo gwe gwali omulundi ogusookera ddala mu Baibuli, Yakuwa okukozesa amaanyi ge okuzuukiza omuntu. Oluvannyuma, Yakuwa yawa Erisa, Yesu, Pawulo ne Peetero amaanyi okuzuukiza abantu. Kya lwatu nti abo abaazuukizibwa baddamu ne bafa. Wadde kiri kityo, ebintu ng’ebyo ebyogerwako mu Baibuli bitulaga ebinaabaawo mu biseera eby’omu maaso.

22 Mu Lusuku lwa Katonda, Yesu ajja kutuukana n’ekifo kye ekya ‘okuzuukira n’obulamu.’ (Yokaana 11:25) Ajja kuzuukiza obukadde n’obukadde bw’abantu, abawe omukisa okubeera mu Lusuku lwa Katonda ku nsi emirembe gyonna. (Yokaana 5:28, 29) Teeberezaamu essanyu eriribaawo ng’ab’emikwano n’ab’eŋŋanda, abazuukiziddwa bagwaŋŋana mu bifuba mu ssanyu eppitirivu! Abantu bonna bajja kutendereza Yakuwa olw’obusobozi bwe obw’okuzzawo obulamu bw’abantu.

23. Yakuwa yalaga atya amaanyi ge mu ngeri ey’ekitalo, era ekyo kituwa bukakafu ki ku ssuubi lyaffe ery’omu biseera eby’omu maaso?

23 Yakuwa atuwadde obujulizi obwesigika obulaga nti essuubi eryo kkakafu. Ng’ayoleka amaanyi ge ago mu ngeri ey’ekitalo ennyo, Yakuwa yazuukiza Omwana we, Yesu, ng’ekitonde eky’amaanyi eky’omwoyo eky’omu ggulu, Yesu n’aba nga y’amuddirira mu buyinza. Oluvannyuma lw’okuzuukizibwa, Yesu yalabikira ebikumi n’ebikumi by’abantu. (1 Abakkolinso 15:5, 6) N’abo ababuusabuusa, obujulizi ng’obwo bwandibadde bubamala. Yakuwa alina amaanyi okuzzaawo obulamu.

24. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kuzuukiza abafu, era ssuubi ki ffenna lye tusaanidde okutwala nga lya muwendo?

24 Yakuwa talina bubeezi maanyi kuzzaawo bafudde naye era ayagala nnyo n’okukikola. Yobu, omusajja omwesigwa, yaluŋŋamizibwa okwogera nti Yakuwa ayagala nnyo okuzuukiza abafu. (Yobu 14:15, NW) Tosikirizibwa eri Katonda waffe, ayagala ennyo okukozesa amaanyi ge ag’okuzza obuggya mu ngeri ng’eyo ey’okwagala? Kyokka, jjukira nti okuzuukira ngeri emu bumu ey’omulimu omukulu Yakuwa gw’anaakola okuzza ebintu obuggya. Nga weeyongera okunyweza enkolagana naye, siimanga essuubi ery’ekitalo ly’olina ery’okulaba Yakuwa ‘ng’azza obuggya ebintu byonna.’​—Okubikkulirwa 21:5.

^ lup. 3 ‘Ekiseera eky’okuzza obuggya ebintu byonna’ kyatandika Obwakabaka bwa Masiya bwe bwateekebwawo nga muzzukulu wa Kabaka Dawudi y’atudde ku ntebe y’obwakabaka. Yakuwa yasuubiza nti muzzukulu wa Dawudi ajja kufuga emirembe gyonna. (Zabbuli 89:35-37) Naye oluvannyuma lwa Babulooni okuzikiriza Yerusaalemi mu 607 B.C.E., tewaaliwo muzzukulu wa Dawudi eyaddamu okutuula ku ntebe y’obwakabaka. Yesu, eyazaalibwa ku nsi mu lunyiriri lwa Dawudi, ye yafuuka Kabaka oyo eyasuubizibwa bwe yatuuzibwa ku ntebe mu ggulu.

^ lup. 6 Ng’ekyokulabirako, Musa, Isaaya, Yeremiya, Ezeekyeri, Koseya, Yoweeri, Amosi, Obadiya, Mikka, ne Zeffaniya bonna baayogera ku nsonga eyo.