Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 10

‘Mukoppe Katonda’ mu Ngeri Gye Mukozesaamu Amaanyi

‘Mukoppe Katonda’ mu Ngeri Gye Mukozesaamu Amaanyi

1. Mutego ki omwekusifu abantu abatatuukiridde gwe bayinza okugwamu?

“BULI abeera mu buyinza ayinza okugwa mu mutego omwekusifu.” Ebigambo ebyo eby’omuwandiisi w’ebitontome ow’omu kyasa 19 byoleka akabi akeekusifu: okukozesa obubi obuyinza. Eky’ennaku, kyangu nnyo abantu abatatuukiridde okugwa mu mutego ogwo. Mazima ddala, mu byafaayo by’abantu ‘omuntu akozesezza obuyinza bwe okulumya abalala.’ (Omubuulizi 8:9) Okukozesa obuyinza awatali kwagala, kiviiriddeko abantu okubonaabona ennyo.

2, 3. (a) Kiki ekyewuunyisa ku ngeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge? (b) Amaanyi ge tulina gayinza kuzingiramu ki, era twandigakozesezza tutya?

2 Tekyewuunyisa nti, wadde nga Yakuwa Katonda alina amaanyi agataliiko kkomo, tayinza n’akamu kugakozesa bubi? Nga bwe tulabye mu ssuula ezivuddeko, akozesa amaanyi ge bulijjo mu ngeri ekwatagana n’ebigendererwa bye, ka kibe okutonda, okuzikiriza, okukuuma, oba okuzza obuggya. Bwe tulowooza ku ngeri gy’akozesaamu amaanyi ge, tuba twagala okufuna enkolagana ennungi naye. Ate era, ekyo kiyinza okutukubiriza ‘okukoppa Katonda’ mu ngeri gye tukozesaamu amaanyi gaffe. (Abaefeso 5:1) Naye ffe abantu abataliiko bwe tuli, tulina maanyi ki?

3 Kijjukire nti omuntu yatondebwa mu ‘kifaananyi kya Katonda.’ (Olubereberye 1:26, 27) Bwe kityo, naffe tulina amaanyi​—naye nga ga kigero kitono. Amaanyi ge tulina gayinza okuzingiramu obusobozi bw’okutuukiriza ebintu, okukola emirimu; okuba n’obuyinza ku balala; obusobozi bw’okukubiriza abalala naddala abo abatwagala; amaanyi ag’omu mubiri; oba ebintu ebikalu. Omuwandiisi wa Zabbuli yayogera bw’ati ku Yakuwa: “W’oli we wali oluzzi olw’obulamu.” (Zabbuli 36:9) Bwe kityo, Katonda ye nsibuko y’amaanyi gonna ge tulina. N’olwekyo, twagala okugakozesa mu ngeri emusanyusa. Ekyo tuyinza kukikola tutya?

Okwagala Kukulu Nnyo

4, 5. (a) Kintu ki ekikulu ekinaatusobozesa okukozesa obulungi amaanyi, era ekyokulabirako kya Katonda kikyoleka kitya? (b) Okwagala kunaatuyamba kutya obutakozesa bubi maanyi gaffe?

4 Ekintu ekikulu ennyo ekinaatusobozesa okukozesa obulungi amaanyi kwe kwagala. Ekyokulabirako Katonda ky’ataddewo, tekiraga ekyo? Jjukira engeri ennya enkulu eza Katonda​—amaanyi, obwenkanya, amagezi, n’okwagala​—ezaayogerwako mu Ssuula 1. Ku ngeri ezo ennya, eriwa esinga obukulu? Okwagala. “Katonda kwagala,” bwe lutyo 1 Yokaana 4:8, bwe lugamba. Yee, engeri ya Yakuwa esinga obukulu kwe kwagala; kukubiriza buli kyonna ky’akola. N’olwekyo, buli kyonna ky’akola ekyoleka amaanyi ge kikubirizibwa kwagala era kiganyula abo abamwagala.

5 Era okwagala kujja kutuyamba obutakozesa bubi maanyi gaffe. Baibuli etugamba nti okwagala “kulina ekisa” era “tekunoonya byakwo.” (1 Abakkolinso 13:4, 5) Bwe kityo, bwe tuba n’okwagala, tetuyinza kuyisa bubi be tulinako obuyinza. Wabula, tujja kussa ekitiibwa mu balala era tukulembeze ebyetaago byabwe n’enneewulira yaabwe so si ebyaffe.​—Abafiripi 2:3, 4.

6, 7. (a) Okutya Katonda kye ki, era lwaki engeri eno ejja kutuyamba okwewala okukozesa obubi amaanyi? (b) Waayo ekyokulabirako ekiraga akakwate akaliwo wakati w’okutya okunyiiza Katonda n’okumwagala.

6 Okwagala kukwatagana n’engeri endala eyinza okutuyamba obutakozesa bubi maanyi gaffe: okutya Katonda. Engeri eno ya muwendo kwenkana wa? Engero 16:6 lugamba “okutya Mukama kwe kuggya abantu mu bubi.” Mazima ddala, okukozesa obubi amaanyi y’emu ku ngeri embi ze tusaanidde okwewala. Okutya Katonda kujja kutuyamba okwewala okuyisa obubi abo be tulinako obuyinza. Lwaki? Kubanga tukimanyi nti tuvunaanyizibwa eri Katonda olw’engeri gye tuyisaamu abalinga abo. (Nekkemiya 5:1-7, 15) Kyokka okutya Katonda kuzingiramu ekisingawo ku ekyo. Mu nnimi ezaasooka, ebigambo ebivvuunulwa ‘okutya’ emirundi mingi bitegeeza okuwa Katonda ekitiibwa eky’okusinza. Bwe kityo, Baibuli ekwataganya okutya n’okwagala Katonda. (Ekyamateeka 10:12, 13) Okuwa Katonda ekitiibwa eky’okusinza kizingiramu okutya okumunyiiza​—si lwa kuba nti tutya ebiyinza okututuukako naye lwa kuba tumwagalira ddala.

7 Okuwaayo ekyokulabirako: Lowooza ku nkolagana ennungi ebaawo wakati w’omulenzi omuto ne kitaawe. Omulenzi akiraba nti kitaawe amufaako era amwagala nnyo. Kyokka era, omulenzi oyo amanyi kitaawe by’amwetaaza, era ng’akimanyi nti kitaawe ajja kumukangavvula singa yeeyisa obubi. Omulenzi tatya kitaawe mu ngeri embi, wabula, aba amwagala nnyo. Omulenzi aba ayagala okukola ebyo kitaawe by’asiima. Bwe kityo bwe kiri ne mu kutya Katonda. Olw’okuba twagala Yakuwa, Kitaffe ow’omu ggulu, tutya okukola ekintu kyonna ekiyinza ‘okunakuwaza omutima gwe.’ (Olubereberye 6:6) Wabula, twagala nnyo okusanyusa omutima gwe. (Engero 27:11) Eyo ye nsonga lwaki twagala okukozesa obulungi amaanyi gaffe. Ka twekenneenye engeri gye tuyinza okukikolamu.

Mu Maka

8. (a) Buyinza ki abaami bwe balina mu maka, era bandibukozesezza batya? (b) Omwami ayinza atya okulaga nti assa ekitiibwa mu mukyala we?

8 Sooka olowooze ku maka. Abaefeso 5:23, lugamba nti: “Omusajja gwe mutwe gwa mukazi we.” Omusajja yandikozesezza atya obuyinza obwamuweebwa Katonda? Baibuli ekubiriza abaami okubeera ne bakyala baabwe ‘mu magezi, nga babawa ekitiibwa ng’ekibya ekisinga obunafu.’ (1 Peetero 3:7) Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘okuwa ekitiibwa’ kitegeeza ‘okutwala nga wa muwendo.’ Engeri ezimu ez’ekigambo kino zivvuunulwa nga “ebirabo” ne “omuwendo.” (Ebikolwa 28:10; 1 Peetero 2:7) Omwami awa mukyala we ekitiibwa tayinza n’akamu kumukuba; kumuswaza oba okumuvuma, ekireetera mukyala we okuwulira ng’atalina mugaso. Wabula, ategeera nti mukyala we wa muwendo era n’amussaamu ekitiibwa. Akiraga mu bigambo ne mu bikolwa​—nga bali bokka ne mu lujudde​—nti wa muwendo gy’ali. (Engero 31:28) Omwami ng’oyo takoma ku kwagalibwa oba okussibwamu ekitiibwa mukyala we, naye n’ekisingawo obukulu, asiimibwa Katonda.

Abaami n’abakyala bakozesa bulungi obuyinza bwabwe nga buli omu ayagala munne era nga bawaŋŋana ekitiibwa

9. (a) Abakyala balina buyinza ki mu maka? (b) Kiki ekiyinza okuyamba omukyala okukozesa obusobozi bwe okuwagira bbaawe, era kiki ekiyinza okuvaamu?

9 Abakyala nabo balina obuyinza obw’ekigero mu maka. Baibuli eyogera ku bakyala abatya Katonda, abaalina kye baakola okuzimba abaami baabwe oba okubayamba okwewala ensobi mu kusalawo ng’ate tebasambazze musingi gwa bukulembeze. (Olubereberye 21:9-12; 27:46–28:2) Omukyala ayinza okuba omugezi okusinga omwami we, oba ayinza okuba n’obusobozi obulala omwami we bw’atalina. Kyokka, aba alina ‘okussa ekitiibwa’ mu mwami we era ‘n’amuwulira nga bw’awulira Mukama waffe.’ (Abaefeso 5:22, 33) Okuba n’ekiruubirirwa eky’okusanyusa Katonda kiyinza okuyamba omukyala okukozesa obulungi obusobozi bwe okuwagira omwami we, mu kifo ky’okumuvumirira oba okugezaako okumufuga. ‘Omukyala ng’oyo ow’amagezi,’ akolera wamu ne bbaawe okuzimba amaka. Mu ngeri eyo aba n’emirembe ne Katonda.​—Engero 14:1.

10. (a) Buyinza ki Katonda bw’awadde abazadde? (b) Ekigambo “okukangavvula” kitegeeza ki, era abaana bandikangavvuddwa batya? (Laba obugambo obutono wansi.)

10 Abazadde nabo balina obuyinza obwabaweebwa Katonda. Baibuli ekubiriza: “Nammwe, bakitaabwe, temusunguwazanga baana bammwe: naye mubalerenga mu kukangavvulanga ne mu kubuuliriranga kwa Mukama waffe.” (Abaefeso 6:4) Mu Baibuli, ekigambo ‘okukangavvula’ kiyinza okutegeeza “okukuza, okutendeka, okuyigiriza.” Abaana beetaaga okukangavvulwa; era baba basanyufu bwe baweebwa obulagirizi obutegeerekeka obulungi. Baibuli ekwataganya okukangavvula oba okuyigiriza ng’okwo n’okwagala. (Engero 13:24) N’olwekyo, “omuggo ogukangavvula” tegusaanidde kukozesebwa bubi, ne kiviirako okulumya omwana mu birowoozo oba mu mubiri. * (Engero 22:15; 29:15) Okukangavvula n’obukambwe oba nga tosoose kwetegereza nsonga, kuba kukozesa bubi buyinza obw’ekizadde era kiyinza okunakuwaza omwana. (Abakkolosaayi 3:21) Ku luuyi olulala, okukangavvula mu ngeri ennungi, kiraga abaana nti bazadde baabwe babaagala era babafaako.

11. Abaana bayinza batya okukozesa obulungi amaanyi gaabwe?

11 Ate bo abaana? Bayinza batya okukozesa amaanyi gaabwe obulungi? Engero 20:29, lugamba: “Abalenzi ekitiibwa kyabwe [ge] maanyi gaabwe.” Engeri esingayo obulungi abavubuka gye bayinza okukozesaamu amaanyi gaabwe kwe kuweereza “Omutonzi” waabwe. (Omubuulizi 12:1) Abato balina okujjukira nti engeri gye beeyisaamu erina ky’ekola ku nneewulira y’abazadde baabwe. (Engero 23:24, 25) Abaana bwe bagondera bazadde baabwe abatya Katonda, era ne banywerera mu kkubo ettuufu, basanyusa emitima gy’abazadde baabwe. (Abaefeso 6:1) Enneeyisa ng’eyo ‘esiimibwa Mukama waffe.’​—Abakkolosaayi 3:20.

Mu Kibiina

12, 13. (a) Abakadde bandibadde na ndowooza ki ku buyinza bwe balina mu kibiina? (b) Waayo ekyokulabirako okulaga lwaki abakadde bandiyisizza ekisibo mu ngeri ey’ekisa.

12 Yakuwa ataddewo abalabirizi okutwala obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo. (Abaebbulaniya 13:17) Abasajja bano abalina ebisaanyizo basaanidde okukozesa obuyinza Katonda bw’abawadde okuwa obuyambi obwetaagisa n’okuzimba ekisibo mu by’omwoyo. Ekifo abakadde kye balina kibawa ebbeetu okukajjala ku bakkiriza bannaabwe? N’akatono! Abakadde basaanidde okuba abeetoowaze era n’okuba n’endowooza etagudde lubege ku kifo kye balina mu kibiina. (1 Peetero 5:2, 3) Baibuli egamba abalabirizi: ‘Mulundenga ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n’omusaayi gw’Omwana we.’ (Ebikolwa 20:28) Ebigambo ebyo biraga ensonga enkulu lwaki bonna mu kisibo basaanidde okuyisibwa mu ngeri ey’ekisa.

13 Tuyinza okukozesa ekyokulabirako kino ekiddirira. Mukwano gwo ow’oku lusegere akusabye okulabirira ekintu kye eky’omuwendo. Era okimanyi nti mukwano gwo ekintu ekyo yakigula ssente nnyingi. Tewandikikutte na bwegendereza? Mu ngeri y’emu, Katonda akwasizza abakadde obuvunaanyizibwa obw’okulabirira ekintu eky’omuwendo ennyo: ekibiina, nga n’abakirimu bageraageranyizibwa ku ndiga. (Yokaana 21:16, 17) Endiga za Yakuwa za muwendo gy’ali​—za muwendo nnyo kuba yazigula n’omusaayi ogw’omuwendo ogw’Omwana we eyazaalibwa omu yekka, Yesu Kristo. Yakuwa yasasula omuwendo ogusingayo obunene okununula endiga ze. Abakadde abeetoowaze bajjukira ensonga eyo era bwe kityo ne bayisa endiga za Yakuwa mu ngeri esaanira.

‘Obuyinza bw’Olulimi’

14. Olulimi lulina buyinza ki?

14 Baibuli egamba nti: “Okufa n’obulamu biba mu buyinza bw’olulimi.” (Engero 18:21) Mazima ddala olulimi luyinza okukola akabi ak’amaanyi. Ani ku ffe atawulirangako bubi ng’ayogeddwako ebigambo ebibi? Kyokka era, olulimi luyinza okutereeza ensonga. Engero 12:18, lugamba nti, ‘olulimi lw’ab’amagezi luwonya.’ Yee, ebigambo ebizzaamu amaanyi era ebizimba, biyinza okukkakkanya n’okuwonya omutima. Weetegereze ebyokulabirako ebimu.

15, 16. Tuyinza tutya okukozesa olulimi okuzzaamu abalala amaanyi?

15 “Mugumyenga abennyamivu,” bwe watyo 1 Abasessaloniika 5:14 (NW) bwe wagamba. Yee, n’abaweereza ba Yakuwa abeesigwa bayinza okwennyamira. Tuyinza tutya okuyamba abalinga abo? Basiime mu bwesimbu bakitegeere nti ba muwendo mu maaso ga Yakuwa. Balage ebyawandiikibwa ebiraga nti Yakuwa ddala afaayo era ayagala abo ‘abamenyese omutima’ era ‘ababoneredde mu mwoyo.’ (Zabbuli 34:18) Bwe tukozesa olulimi lwaffe okuzzaamu abalala amaanyi, tulaga nti tukoppa Katonda waffe ow’ekisa, “abudaabuda abennyamivu.”​—2 Abakkolinso 7:6, New American Standard Bible.

16 Era tuyinza okukozesa olulimi okuzzaamu abalala amaanyi. Mukkiriza munno afiiriddwa omwagalwa we? Ebigambo ebyoleka okufaayo biyinza okubudaabuda omutima gwe omunakuwavu. Muganda waffe oba mwannyinaffe nnamukadde awulira nga talina mugaso? Ebigambo ebizimba era ebizzaamu amaanyi biyinza okuyamba bannamukadde ng’abo okumanya nti ba muwendo era basiimibwa. Waliwo alina obulwadde obw’olukonvuba? Okwogera mu ngeri ey’ekisa, ka kibe ku ssimu oba obutereevu n’omulwadde, kiyinza okumuzzaamu amaanyi. Ng’Omutonzi waffe aba musanyufu nnyo bwe tukozesa olulimi okwogera ebintu ‘ebizimba’!​—Abaefeso 4:29.

Okubuulira amawulire amalungi​—ngeri nnungi nnyo ey’okukozesaamu amaanyi go

17. Ngeri ki enkulu mwe tuyinza okukozeseza olulimi okuganyula abalala, era lwaki twandikoze bwe tutyo?

17 Engeri esingayo obukulu ey’okukozesaamu olulimi, kwe kubuulira abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Engero 3:27 lugamba: “Tommanga birungi abo abagwanira, bwe [kiba] kiri mu buyinza bw’omukono gwo okubikola.” Tulina obuvunaanyizibwa obw’okubuulira abalala amawulire amalungi agawonya obulamu. Tekyandibadde kituufu okwesigaliza obubaka obukulu Yakuwa bwe yatuwa. (1 Abakkolinso 9:16, 22) Naye, Yakuwa ayagala twenyigire mu mulimu guno kwenkana wa?

Okuweereza Yakuwa ‘n’Amaanyi Gaffe Gonna’

18. Kiki Yakuwa ky’atusuubiramu?

18 Okwagala kwe tulina eri Yakuwa kutuleetera okwenyigira mu bujjuvu mu buweereza obw’Ekikristaayo. Kiki Yakuwa ky’atusuubiramu ku nsonga eno? Ekyo ffenna kye tuyinza okukola, ka tubeere mu mbeera ki mu bulamu: “Buli kyonna kye mukola, mukikole n’emmeeme yammwe yonna ku bwa Yakuwa so si ku bwa bantu.” (Abakkolosaayi 3:23, NW) Ng’ategeeza etteeka erisingayo obukulu, Yesu yagamba: “Yagalanga Mukama Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna [“n’emmeeme yo yonna,” NW], n’amagezi go gonna, n’amaanyi go gonna.” (Makko 12:30) Yee, Yakuwa asuubira buli omu ku ffe okumwagala n’okumuweereza n’emmeeme yaffe yonna.

19, 20. (a) Okuva emmeeme bw’ezingiramu omutima, amagezi n’amaanyi, lwaki engeri zino zoogerwako mu Makko 12:30? (b) Kitegeeza ki okuweereza Yakuwa n’emmeeme yaffe yonna?

19 Kitegeeza ki okuweereza Katonda n’emmeeme yonna? Emmeeme ye muntu yenna mu bulambalamba, nga mw’otwalidde n’obusobozi bwe obw’omubiri n’okulowooza. Okuva emmeeme bw’ezingiramu omutima, amagezi n’amaanyi, lwaki ate engeri zino zoogerwako mu Makko 12:30? Lowooza ku kyokulabirako kino. Mu biseera bya Baibuli, omuntu yali ayinza okwetunda (okutunda emmeeme ye) mu buddu. Kyokka, omuddu oyo yali ayinza obutaweereza mukama we n’omutima gwe gwonna; yali ayinza obutakozesa maanyi ge gonna oba amagezi ge gonna okukola ebyo mukama we by’ayagala. (Abakkolosaayi 3:22) Bwe kityo, Yesu yamenya engeri ezo okuggumiza nti twandyeweereddeyo ddala mu bujjuvu nga tuweereza Katonda. Okuweereza Katonda n’emmeeme yaffe yonna kitegeeza okukozesa amaanyi gaffe gonna mu buweereza bwe.

20 Okuweereza n’emmeeme yaffe yonna kitegeeza nti ffenna tulina kuwaayo ebiseera bye bimu oba okukozesa amaanyi ge gamu mu buweereza? Ekyo tekisoboka kubanga buli muntu alina embeera n’obusobozi bya njawulo. Ng’ekyokulabirako, omuvubuka omulamu obulungi era alina amaanyi ayinza okumala ebiseera bingi mu kubuulira okusinga oyo alina amaanyi amatono olw’obukadde. Omuntu ali obwannamunigina, atalina buvunaanyizibwa bwa maka ayinza okukola kinene mu buweereza okusinga oyo alina amaka g’alabirira. Nga twandibadde basanyufu nnyo bwe tuba nga tulina amaanyi era n’embeera zaffe nga zitusobozesa okukola ekisingawo mu buweereza! Kya lwatu, tetwagala kuvumirira balala, nga tugeraageranya bye tukola n’ebyo bye bakola. (Abaruumi 14:10-12) Wabula, twagala okukozesa amaanyi gaffe okuzzaamu abalala amaanyi.

21. Ngeri ki esingayo obulungi era n’obukulu ey’okukozesaamu amaanyi gaffe?

21 Yakuwa ataddewo ekyokulabirako ekirungi ennyo mu kukozesa obulungi amaanyi ge. Twagala okufuba ennyo nga bwe tusobola kumukoppa. Tuyinza okukozesa obulungi amaanyi gaffe nga tuwa ekitiibwa abo be tulinako obuyinza. Okugatta ku ekyo, twagala okwenyigira n’emmeeme yaffe yonna mu mulimu ogw’okubuulira oguwonya obulamu Yakuwa gwe yatukwasa. (Abaruumi 10:13, 14) Jjukira nti Yakuwa asanyuka bw’omuwa ekisingayo obulungi. Omutima gwo tegukukubiriza kukola kyonna ekisoboka okuweereza Katonda afaayo era alina okwagala ng’okwo? Tewaliiwo ngeri yonna gye wandikozesezzaamu maanyi go, esinga eyo obukulu.

^ lup. 10 Mu biseera bya Baibuli, ekigambo ky’Olwebbulaniya ekikyusiddwa “omuggo” kyali kitegeeza oluga, gamba ng’olwo omusumba lwe yakozesanga okulunda endiga ze. (Zabbuli 23:4) Mu ngeri y’emu, “omuggo” abazadde gwe bakozesa, gwoleka obulagirizi obw’okwagala, so si okubonereza mu ngeri ey’obukambwe.