Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 12

“Katonda Si Mwenkanya?”

“Katonda Si Mwenkanya?”

1. Ebikolwa eby’obutali bya bwenkanya bituyisa bitya?

SSENTE zonna nnamwandu akaddiye z’azze atereka bazikumpanya. Maama asuula omwana we omuwere. Omusajja asibibwa olw’omusango gw’atazza. Ebintu ng’ebyo obitwala otya? Kyandiba nga buli kimu kikuyisa bubi, era ekyo tekyewuunyisa. Ffe abantu twagala okulaba ng’ekituufu kikolebwa. Bwe wabaawo ekikolwa ekitali kya bwenkanya, tunyiiga. Tuba twagala azziddwako omusango aweebwe engassi, era n’azizza omusango abonerezebwe. Kino bwe kitabaawo, tuyinza okwebuuza: ‘Katonda alaba ekigenda mu maaso? Lwaki talina ky’akolawo?’

2. Kaabakuuku yakola ki bwe yalaba obutali bwenkanya, era lwaki Yakuwa teyamuvumirira?

2 Mu byafaayo byonna, abaweereza ba Yakuwa abeesigwa babuuzizza ebibuuzo ebifaananako n’ebyo. Ng’ekyokulabirako, nnabbi Kaabakuuku yasaba bw’ati Katonda: “Lwaki ondeka okulaba obutali bwenkanya ng’obwo? Lwaki okkiriza ebikolwa eby’obukambwe, obumenyi bw’amateeka, n’ettemu okubuna buli wamu?” (Kaabakuuku 1:3, Contemporary English Version) Yakuwa teyavumirira Kaabakuuku olw’okubuuza ebibuuzo ebyo, kubanga ye yateeka mu bantu endowooza ey’obwenkanya. Yee, Yakuwa yatuwa obusobozi bw’okwoleka obwenkanya bwe ku kigero ekitono.

Yakuwa Akyawa Obutali Bwenkanya

3. Lwaki kiyinza okugambibwa nti Yakuwa amanyi ebikwata ku butali bwenkanya okutusinga?

3 Yakuwa tabuusa maaso butali bwenkanya. Alaba ekigenda mu maaso. Baibuli eyogera bw’eti ku kiseera kya Nuuwa: “Mukama n’alaba obubi bw’omuntu nga bungi mu nsi, na buli kufumiitiriza kw’ebirowoozo eby’omu mutima gwe nga kubi kwereere bulijjo.” (Olubereberye 6:5) Lowooza ku makulu g’ebigambo ebyo. Emirundi mingi, engeri gye tutunuuliramu obutali bwenkanya eba yeesigamye ku bintu ebimu ebitonotono bye tuwulidde oba ebitutuuseeko. Okwawukana ku ekyo, Yakuwa amanyi obutali bwenkanya obuliwo mu nsi yonna. Bwonna abulaba! Ekisingawo ne ku ekyo, alaba ekiri mu mutima​—ebirowoozo ebibi ebiri emabega w’ebikolwa byonna ebitali bya bwenkanya.​—Yeremiya 17:10.

4, 5. (a) Baibuli eraga etya nti Yakuwa afaayo ku abo abayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya? (b) Yakuwa kennyini ayisiddwa atya mu ngeri etali ya bwenkanya?

4 Yakuwa takoma ku kulaba bulabi butali bwenkanya. Afaayo ku abo abayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Abantu be bwe baayisibwa obubi amawanga ag’obulabe, Yakuwa yanakuwala “olw’okusinda kwabwe olw’abo abaabajooganga ne babeeraliikiriza.” (Ekyabalamuzi 2:18) Oboolyawo okyetegerezza nti abantu abamu gye bakoma okulaba obutali bwenkanya, gye bakoma n’okubutwala ng’ekintu ekya bulijjo. Si bwe kiri eri Yakuwa! Alabye obutali bwenkanya okumala emyaka nga 6,000, kyokka nnagunogujwa abukyawa. Era Baibuli etukakasa nti ebintu nga “olulimi olulimba,” “engalo eziyiwa omusaayi ogutaliiko musango,” ne “omujulirwa ow’obulimba ayogera eby’obulimba” bya muzizo gy’ali.​—Engero 6:16-19.

5 Era lowooza ku ngeri Yakuwa gye yavumiriramu abakulembeze ba Isiraeri abataali benkanya. Yaluŋŋamya nnabbi we okubabuuza nti: “Si mulimu gwammwe okumanya obwenkanya?” Oluvannyuma lw’okunnyonnyola engeri gye baakozesaamu obubi obuyinza bwabwe, Yakuwa yalagula ebyandituuse ku basajja bano ababi: “Banaakaabiriranga Yakuwa okubayamba naye taabaddemu. Anaabakwekanga amaaso ge mu kiseera ekyo, olw’okwenyigira mu bikolwa ebibi.” (Mikka 3:1-4, NW) Nga Yakuwa akyawa nnyo obutali bwenkanya! Ate oba, naye kennyini ayisiddwa mu ngeri etali ya bwenkanya! Okumala enkumi n’enkumi z’emyaka, Setaani abadde amwogerako eby’obulimba. (Engero 27:11) Ate era, Yakuwa yayisibwa bubi nnyo olw’ekikolwa ekibi ekitaali kya bwenkanya, Omwana we, ‘ataakola kibi kyonna,’ bwe yattibwa ng’omumenyi w’amateeka. (1 Peetero 2:22; Isaaya 53:9) Kya lwatu, Yakuwa alumirirwa era afaayo nnyo ku abo abayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya.

6. Tuyinza kukola ki bwe tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, era lwaki?

6 Kyokka, bwe tulaba obutali bwenkanya oba naffe bwe tuyisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya, kya mu butonde okukiraga nti tetubusanyukira n’akamu. Twatondebwa mu kifaananyi kya Katonda era obutali bwenkanya bukontana n’ebiruubirirwa bya Yakuwa byonna. (Olubereberye 1:27) Kati olwo, lwaki Katonda akkiriza obutali bwenkanya okubaawo?

Okubuusabuusa Obufuzi bwa Katonda

7. Nnyonnyola engeri obufuzi bwa Yakuwa gye bwabuusibwabuusibwamu.

7 Eky’okuddamu mu kibuuzo ekyo kikwatagana n’okubuusabuusa obufuzi bwa Katonda. Nga bwe tulabye, Omutonzi alina obwannannyini okufuga ensi ne bonna abagiriko. (Zabbuli 24:1; Okubikkulirwa 4:11) Kyokka, ku ntandikwa y’ebyafaayo by’omuntu, obufuzi bwa Yakuwa bwabuusibwabuusibwa. Ekyo kyajjawo kitya? Yakuwa yalagira Adamu, omusajja eyasooka, obutalya ku muti ogumu ogwali mu Lusuku mwe yali abeera. Kiki ekyandibaddewo ng’ajeemye? Katonda yamugamba: “Tolirema kufa.” (Olubereberye 2:17) Etteeka lya Katonda teryali zzibu era Adamu ne mukyala we Kaawa, bandisobodde okulingondera. Wadde kyali kityo, Setaani yamatiza Kaawa nti etteeka lya Katonda lyali likugira nnyo. Kiki ekyandivuddemu ng’alidde ku muti? Setaani yagamba Kaawa: ‘Okufa temulifa. Kubanga Katonda amanyi nti olunaku lwe muligulyako mmwe, amaaso gammwe lwe galizibuka, nammwe muliba nga Katonda okumanyanga obulungi n’obubi.’​—Olubereberye 3:1-5.

8. (a) Ebigambo Setaani bye yagamba Kaawa byayoleka ki? (b) Kiki Setaani kye yabuusabuusa ku bikwata ku bufuzi bwa Katonda?

8 Mu bigambo ebyo, Setaani teyayoleka bwolesi nti Yakuwa yalina ekintu ekikulu kye yakweka Kaawa, naye era nti Yakuwa yalimba Kaawa. Setaani teyabuusabuusa obanga Katonda ye mufuzi ali ku ntikko. Wabula yabuusabuusa obanga obufuzi bwa Katonda bwali butuufu, busaanira era nga bwetaagisa. Mu ngeri endala, yagamba nti Yakuwa yali tafuga mu ngeri nnungi eganyula abantu be.

9. (a) Kiki ekyavaamu Adamu ne Kaawa bwe baajeema, era bibuuzo ki ebikulu ebyajjawo? (b) Lwaki Yakuwa teyazikiririzaawo bajeemu abo?

9 N’ekyavaamu, Adamu ne Kaawa baajeemera Yakuwa ne balya ku muti gwe yabagaana. Olw’obujeemu, baalina okufa nga Katonda bwe yali agambye. Eby’obulimba Setaani bye yayogera byaleetawo ebibuuzo ebikulu. Ddala Yakuwa y’asaanidde okufuga abantu oba omuntu ye yandyefuze? Yakuwa afuga mu ngeri esingayo obulungi? Yakuwa yandibadde ayinza okukozesa amaanyi ge n’azikiriza abajeemu abo amangu ago. Naye obufuzi bwa Katonda bwe bwali bubuusibwabuusibwa so si maanyi ge. N’olwekyo, okuzikiriza Adamu, Kaawa, ne Setaani tekyandikakasizza nti obufuzi bwa Katonda busaanira. Wabula, kyandireetedde obufuzi bwa Katonda okweyongera okubuusibwabuusibwa. Engeri yokka ey’okukakasaamu oba abantu bandisobodde okwefuga awatali bulagirizi bwa Katonda, kwali okuleka ebiseera okuyitawo.

10. Ebyafaayo biraze ki ku bikwata ku bufuzi bw’abantu?

10 Okuyitawo kw’ebiseera kukakasizza ki? Mu kiseera ekiwanvu ekiyiseewo, abantu bagezezzaako enkola za gavumenti nnyingi, nga mw’otwalidde eza nnaakyemalira, demokulase, komunizimu n’eza sosalizimu. Ebizivuddemu byonna, byogerwako bwe biti mu bigambo bya Baibuli: “Omuntu abadde n’obuyinza ku muntu munne olw’okumukola obubi.” (Omubuulizi 8:9, NW) Ng’alina ensonga ennungi, nnabbi Yeremiya yagamba: “Mmanyi ng’ekkubo ery’omuntu teriri mu ye yennyini: tekiri mu muntu atambula okuluŋŋamyanga ebigere bye.”​—Yeremiya 10:23.

11. Lwaki Yakuwa yaleka abantu okubonaabona?

11 Yakuwa yakimanya okuva ku lubereberye nti omuntu okwefuga yekka, kyandivuddemu okubonaabona kungi. Kati olwo, bwali butali bwenkanya, ye okuleka embeera eyo embi okubaawo? N’akatono! Okuwaayo ekyokulabirako: Ka tugambe olina omwana eyeetaaga okulongoosebwa okusobola okujjanjaba obulwadde bwe. Okimanyi nti okumulongoosa kijja kumuleetera obulumi bungi, era kino kikunakuwaza nnyo. Ate era okimanyi nti okulongoosa omwana wo kijja kumusobozesa okubeera omulamu obulungi mu biseera eby’omu maaso. Mu ngeri y’emu, Katonda yakimanya era n’akiragula nti, okulekawo obufuzi bw’abantu kyandireeseewo obulumi n’okubonaabona. (Olubereberye 3:16-19) Naye era yali akimanyi nti abantu bandisobodde okufuna obuweerero obw’olubeerera ng’abalese okulaba ebibi ebyandivudde mu bujeemu. Mu ngeri eno, ensonga ekwata ku kubuusabuusa obufuzi bwa Katonda yandigonjooleddwa ddala, emirembe gyonna.

Ensonga Ekwata ku Bugolokofu bw’Omuntu

12. Nga bwe kiragibwa ku bikwata ku Yobu, bya bulimba ki Setaani by’ayogedde ku bantu?

12 Waliwo ekintu ekirala ekikwata ku nsonga eno. Mu kubuusabuusa obutuufu bw’obufuzi bwa Katonda, Setaani teyakoma ku kwogera bya bulimba ku bufuzi bwa Yakuwa; naye era ayogedde eby’obulimba ku bugolokofu bw’abaweereza ba Katonda. Ng’ekyokulabirako, weetegereze ekyo Setaani kye yayogera ku Yobu, omusajja omutuukirivu: “Tomukomedde lukomera okumwetooloola ye n’ennyumba ye ne byonna by’alina, enjuyi zonna? Owadde omukisa omulimu gw’engalo ze, n’ebintu bye byaze mu nsi. Naye kaakano golola omukono gwo okome ku byonna by’alina, kale, alikwegaanira mu maaso go.”​—Yobu 1:10, 11.

13. Setaani bye yayogera ku Yobu byali byoleka ki, era ekyo kizingiramu kitya abantu bonna?

13 Setaani yagamba nti Yobu yali aweereza Yakuwa olw’okuba Yakuwa yalina by’amuwadde. Ekyo ne kiba nga kitegeeza nti obugolokofu bwa Yobu tebwali bwa bwesimbu, nti yasinzanga Katonda olw’okuba yali alina by’afuna. Setaani yagamba nti singa Yobu yandiggiddwako emikisa gya Katonda, naye yandikolimidde Omutonzi we. Setaani yali akimanyi nti Yobu yali “musajja eyatuukirira era ow’amazima atya Katonda ne yeewala obubi.” * Singa Setaani yamenya obugolokofu bwa Yobu, kyanditegeezezza nti yandisobodde n’okumenya obugolokofu bw’abantu abalala bonna. Bwe kityo, Setaani yali abuusabuusa obwesigwa bw’abo bonna abaagala okuweereza Katonda. Mu butuufu, ng’azingiramu n’abantu abalala, Setaani yagamba Yakuwa: “Byonna omuntu [si Yobu yekka] by’alina alibiwaayo olw’obulamu bwe.”​—Yobu 1:8; 2:4.

14. Ebyafaayo biraze ki ku ebyo Setaani bye yayogera ku bantu?

14 Ebyafaayo biraze nti bangi, okufaananako Yobu, basigadde beesigwa eri Yakuwa wadde nga bagezesebwa​—ekyawukanira ddala ku ebyo Setaani bye yayogera. Basanyusizza omutima gwa Yakuwa olw’okusigala nga beesigwa, era kino kisobozesezza Yakuwa okwanukula Setaani bye yayogera nti abantu bajja kulekera awo okuweereza Katonda nga bafunye ebizibu. (Abaebbulaniya 11:4-38) Yee, ab’emitima emyesigwa tebaabulidde Katonda. Wadde nga bali mu mbeera enzibu ennyo, beeyongedde okusaba Yakuwa okubawa amaanyi okusobola okugumiikiriza.​—2 Abakkolinso 4:7-10.

15. Kibuuzo ki ekiyinza okujjawo ku bikwata ku misango Katonda gye yasala era ne gy’alisala mu biseera eby’omu maaso?

15 Kyokka, obwenkanya bwa Yakuwa tebukoma ku nsonga ekwata ku bufuzi n’obugolokofu bw’omuntu. Baibuli etulaga engeri Yakuwa gye yasaliramu omusango abantu kinnoomu era n’amawanga. Era erimu obunnabbi obulaga emisango gy’alisala mu biseera eby’omu maaso. Lwaki tuyinza okuba abagumu nti Yakuwa abadde asala emisango mu butuukirivu, era nti ajja kukola bw’atyo ne mu biseera eby’omu maaso?

Ensonga Lwaki Obwenkanya bwa Katonda Bwe Businga

Yakuwa ‘talizikiriza batuukirivu wamu n’ababi’

16, 17. Byakulabirako ki ebiraga nti endaba y’abantu eriko ekkomo bwe kituuka ku bwenkanya?

16 Yakuwa ayinza okwogerwako bw’ati: “Amakubo ge gonna musango [“ga bwenkanya,” NW].” (Ekyamateeka 32:4) Tewali n’omu ku ffe ayinza okweyogerako bw’atyo, kubanga emirundi mingi endaba yaffe eriko ekkomo etulemesa okumanya ekituufu. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku Ibulayimu. Yeegayirira Yakuwa ku bikwata ku kuzikirizibwa kwa Sodomu​—wadde ng’obubi bwali bweyongedde nnyo mu kibuga ekyo. Yabuuza Yakuwa: “Olizikiriza abatuukirivu awamu n’ababi?” (Olubereberye 18:23-33) Kya lwatu, eky’okuddamu kyali nti nedda. Lutti omutuukirivu awamu ne bawala be bwe baamala okutuuka mu kibuga kya Zowaali, Yakuwa ‘n’alyoka atonnyesa omuliro n’ekibiriiti’ ku Sodomu. (Olubereberye 19:22-24) Ku luuyi olulala, Yona ‘yanyiikaala’ Katonda bwe yasaasira abantu b’e Nineeve. Okuva Yona bwe yali amaze okulangirira okuzikirizibwa kwabwe, yandibadde mumativu nga bazikiriziddwa​—ne bwe bandibadde beenenyezza.​—Yona 3:10–4:1.

17 Yakuwa yakakasa Ibulayimu nti engeri gy’alagamu obwenkanya tetwaliramu kuzikiriza babi kyokka naye era n’okuwonyawo abatuukirivu. Ku luuyi olulala, Yona yalina okuyiga nti Yakuwa musaasizi. Ababi bwe bakyusa amakubo gaabwe, aba ‘mwetegefu okubasonyiwa.’ (Zabbuli 86:5, NW) Okwawukana ku bantu abateekakasa, Yakuwa tabonereza okusobola okulaga nti alina amaanyi, era talema kusaasira bantu ng’atya nti bajja kumutwala ng’omunafu. Bulijjo aba mwetegefu okulaga obusaasizi buli lwe kiba kyetaagisa.​—Isaaya 55:7; Ezeekyeri 18:23.

18. Laga okuva mu Baibuli nti Yakuwa tamala gakola kintu kyonna.

18 Kyokka, Yakuwa tamala galaga busaasizi. Abantu be bwe beenyigira mu kusinza ebifaananyi, Yakuwa yagamba: “Ndikusalira omusango ng’amakubo go bwe gali; era ndikuleetako emizizo gyo gyonna. So n’eriiso lyange teririkusonyiwa so sirikwatibwa kisa: naye ndikuleetako amakubo go.” (Ezeekyeri 7:3, 4) Bwe kityo, abantu bwe baguggubira ku bikolwa byabwe ebibi, Yakuwa abasalira omusango ng’ebikolwa byabwe bwe biri. Kyokka, asala omusango ng’asinziira ku bujulizi obunywevu. Bwe kityo, bwe yawulira ‘okukaaba’ olw’ebyo ebyali bikolebwa mu Sodomu ne Ggomola, Yakuwa yagamba: “Nnakka kaakano ndabe nga bakolera ddala ng’okukaaba kwayo bwe kuli, okwatuuka eri nze.” (Olubereberye 18:20, 21) Nga tuli basanyufu nnyo nti Yakuwa talinga bantu abanguyiriza okusalawo nga tebannategeera kalonda yenna akwata ku nsonga! Mazima ddala, Yakuwa atuukana n’ekyo Baibuli ky’emwogerako, nti ye “Katonda ow’obwesigwa, ateeyisa mu ngeri etali ya bwenkanya.”​—Ekyamateeka 32:4, NW.

Ssa Obwesige mu Bwenkanya bwa Yakuwa

19. Kiki kye tuyinza okukola singa tuba n’ebintu bye tutategeera ku ngeri Yakuwa gy’alagamu obwenkanya?

19 Baibuli teddamu buli kibuuzo ekikwata ku bikolwa bya Yakuwa mu biseera ebyayita; era tewa kalonda yenna akwata ku ngeri Yakuwa gy’anaasaliramu omusango abantu kinnoomu oba ebibiina by’abantu mu biseera eby’omu maaso. Bwe tutategeera bulungi bunnabbi obumu oba ebintu ebirala ebiri mu Baibuli olw’okuba kalonda ng’oyo taliiwo, tuyinza okwoleka obwesigwa ng’obwa nnabbi Mikka, eyawandiika: “N[n]aalindiriranga Katonda ow’obulokozi bwange.”​—Mikka 7:7.

20, 21. Lwaki tuyinza okuba abakakafu nti buli kiseera Yakuwa ajja kukola ekituufu?

20 Tuyinza okubeera abakakafu nti buli kiseera, Yakuwa ajja kukolanga ekituufu. Wadde ng’abantu tebafaayo ku bikolwa ebitali bya bwenkanya, Yakuwa asuubiza: “Okuwalana kwange; nze ndisasula.” (Abaruumi 12:19) Bwe tuba n’omwoyo ogulindirira, tujja kuba tukkiriziganya n’ebigambo by’omutume Pawulo: “Katonda si mwenkanya? Nedda si bwe kiri!”​—Abaruumi 9:14, NW.

21 Mu kiseera kino, tuli ‘mu biro eby’okulaba ennaku.’ (2 Timoseewo 3:1) Obutali bwenkanya ‘n’ebikolwa eby’obukambwe’ biviiriddeko abantu bangi okuyisibwa obubi. (Omubuulizi 4:1, NW) Kyokka, Yakuwa takyukanga. Na buli kati, akyawa obutali bwenkanya, era afaayo nnyo ku abo abayisibwa mu ngeri etali ya bwenkanya. Singa tusigala nga tuli beesigwa eri Yakuwa n’obufuzi bwe, ajja kutuwa amaanyi okugumiikiriza okutuusa ku kiseera kye ekigereke lw’alimalawo obutali bwenkanya bwonna wansi w’obufuzi bw’Obwakabaka.​—1 Peetero 5:6, 7.

^ lup. 13 Yakuwa yayogera bw’ati ku Yobu: “Tewali amufaanana ku nsi.” (Yobu 1:8) Kirabika, Yobu yaliwo nga Yusufu amaze okufa era nga ne Musa tannafuulibwa mukulembeze wa Isiraeri. N’olwekyo, mu kiseera ekyo, kyali kiyinza okugambibwa nti tewaali n’omu yali mugolokofu nga Yobu.