Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 14

Yakuwa Akola Enteekateeka y’Ekinunulo ku lw’Abangi’

Yakuwa Akola Enteekateeka y’Ekinunulo ku lw’Abangi’

1, 2. Baibuli ennyonnyola etya embeera y’abantu, era bayinza batya okuva mu mbeera eyo?

“Ebitonde byonna bisinda era birumirwa wamu okutuusa kaakano.” (Abaruumi 8:22) Ng’akozesa ebigambo ebyo, omutume Pawulo ayogera ku mbeera embi ffenna gye tulimu. Okusinziira ku ndaba y’omuntu, kirabika nti tewali ngeri yonna okubonaabona, ekibi n’okufa gye biyinza kuggwaawo. Naye Yakuwa takitwala bw’atyo. (Okubala 23:19) Katonda ow’obwenkanya, atukoledde enteekateeka tusobole okuva mu mbeera embi gye tulimu. Enteekateeka eyo eyitibwa ekinunulo.

2 Ekinunulo kye kirabo ekisingirayo ddala obukulu Yakuwa ky’awadde abantu. Kitusobozesa okununulwa mu kibi n’okufa. (Abaefeso 1:7) Kye kisinziirwako okubeera n’essuubi ery’obulamu obutaggwaawo, ka kibe mu ggulu oba mu lusuku lwa Katonda ku nsi. (Lukka 23:43; Yokaana 3:16; 1 Peetero 1:4) Naye ekinunulo kye ki? Kituyigiriza ki ku bwenkanya bwa Yakuwa obw’ekitalo?

Engeri Obwetaavu bw’Ekinunulo Gye Bwajjawo

3. (a) Lwaki ekinunulo kyali kyetaagisa? (b) Lwaki Katonda teyawaanyisa buwanyisa kibonerezo kya kufa ekyali ku zzadde lya Adamu?

3 Ekinunulo kyali kyetaagisa olw’ekibi kya Adamu. Olw’okujeemera Katonda, Adamu yaleetera abaana be okulwala, ennaku, obulumi n’okufa. (Olubereberye 2:17; Abaruumi 8:20) Katonda teyasonyiwa busonyiyi bantu n’awaanyisa ekibonerezo ky’okufa n’ekibonerezo ekirala ekitali kikakali. Singa yakola bw’atyo, yandibadde asudde muguluka etteeka lye lino: “Empeera y’ekibi kwe kufa.” (Abaruumi 6:23) Era singa Yakuwa yasambajja emitindo gye egy’obwenkanya, akavuyo n’obumenyi bw’amateeka bye byandibaddewo mu butonde bwonna!

4, 5. (a) Bintu ki eby’obulimba Setaani bye yayogera ku Katonda, era lwaki Yakuwa yali ateekwa okulaga nti tebyali bituufu? (b) Biki Setaani bye yayogera ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa?

4 Nga bwe twalaba mu Ssuula 12, obujeemu obwaliwo mu Adeni bwaleetawo ensonga ezisingawo n’obukulu. Setaani yasiiga enziro erinnya lya Katonda eddungi. Kwe kugamba, yawaayiriza Yakuwa nti yali mulimba era nnaakyemalira eyaggya eddembe ku bitonde bye. (Olubereberye 3:1-5) Era ng’alabika ng’alemesezza ekigendererwa kya Katonda eky’okujjuza ensi abantu abatuukirivu, Setaani yagamba nti Katonda alemereddwa. (Olubereberye 1:28; Isaaya 55:10, 11) Singa Yakuwa talina kye yakolawo ku nsonga ezo Setaani ze yaleetawo, bingi ku bitonde bye ebitegeera tebyandibadde na bwesige bujjuvu mu bufuzi bwe.

5 Setaani era yayogera eby’obulimba ku baweereza ba Yakuwa abeesigwa, ng’agamba nti bamuweereza nga banoonya ebyabwe ku bwabwe era nti bwe bandifunye ebizibu, tewali n’omu yandisigadde nga mwesigwa eri Katonda. (Yobu 1:9-11) Ensonga ezo zaali nkulu nnyo n’okusinga embeera embi abantu gye baalimu. Yakuwa yawulira ng’ateekwa okulaga nti ebyo Setaani bye yayogera byali bya bulimba. Naye Katonda yali ayinza atya okugonjoola ensonga zino ate mu kiseera kye kimu n’anunula abantu?

Ekinunulo Ekirina Kye Kyenkanankana Nakyo

6. Bigambo ki ebimu ebikozesebwa mu Baibuli okwogera ku nteekateeka Katonda gy’akozesa okununula abantu?

6 Enteekateeka Yakuwa gye yakozesa okugonjoolamu ensonga yali ya busaasizi ate nga ya bwenkanya nnyo​—omuntu yenna gye yali tayinza na kulowoozaako. Kyokka yali nnyangu nnyo. Eyinza okuyitibwa okutabaganya, oba okutangirira. (Danyeri 9:24; Abakkolosaayi 1:20; Abaebbulaniya 2:17) Naye ekigambo ekisinga okunnyonnyola obulungi enteekateeka eno kyekyo Yesu kennyini kye yakozesa. Yagamba: “Omwana w’omuntu [tey]ajja kuweerezebwa, wabula okuweereza, n’okuwaayo obulamu bwe ekinunulo [Oluyonaani, lyʹtron] eky’abangi.”​—Matayo 20:28.

7, 8. (a) Ekigambo “ekinunulo” kitegeeza ki mu Byawandiikibwa? (b) Mu ngeri ki ekinunulo gye kikwataganyizibwa n’okwenkanankana?

7 Ekinunulo kye ki? Ekigambo ky’Oluyonaani ekikozeseddwa wano kiva mu kigambo ekitegeeza “okusumulula.” Ekigambo ekyo kyakozesebwanga ku ssente ezaasasulwanga okusobozesa abawambiddwa mu ntalo okusumululwa. N’olwekyo nno, ekinunulo kiyinza okunnyonnyolwa ng’ekyo ekisasulwa okuzzaawo ekintu. Mu Byawandiikibwa eby’Olwebbulaniya, ekigambo “ekinunulo” (koʹpher) kiva mu kigambo ekitegeeza “okubikka.” Ng’ekyokulabirako, Katonda yagamba Nuuwa nti ateekwa “okubikka” essanduuko n’envumbo. (Olubereberye 6:14, NW) Kino kituyamba okutegeera nti ekinunulo era kitegeeza okubikka ebibi.

8 Tekyewuunyisa nti enkuluze eyitibwa Theological Dictionary of the New Testament egamba nti ekigambo kino (koʹpher) “buli lwe kikozesebwa kitegeeza ekyenkanankana oba ekirina kye kyenkanankana nakyo.” N’olwekyo, ekibikka ku ssanduuko y’endagaano kyali kyenkanankana ne ssanduuko yennyini ne kiba nga kigibikkira ddala yonna. Mu ngeri y’emu, okusobola okununula, oba okubikka ekibi, ekisasulwa kirina okwenkanankanira ddala, oba okubikkira ddala, ekyonooneddwa olw’ekibi. Bwe kityo, Amateeka Katonda ge yawa Isiraeri gaagamba: “Obulamu bugattwenga obulamu, eriiso ligattwenga eriiso, erinnyo ligattwenga erinnyo, omukono gugattwenga omukono, ekigere kigattwega ekigere.”​—Ekyamateeka 19:21.

9. Lwaki abasajja ab’okukkiriza baawaayo ssaddaaka z’ebisolo, era Yakuwa yatunuulira atya ssaddaaka ezo?

9 Abasajja abeesigwa okuva ku Abbeeri n’okweyongerayo baawaayo ssaddaaka z’ebisolo eri Katonda. Mu kukola ekyo, baayoleka nti boonoonyi era nti beetaaga okununulibwa, era bakkiririza mu kisuubizo kya Katonda eky’okununulibwa okuyitira mu ‘zzadde lye yasuubiza.’ (Olubereberye 3:15; 4:1-4; Eby’Abaleevi 17:11; Abaebbulaniya 11:4) Yakuwa yasiima ssaddaaka ezo era n’ayamba abasinza be okufuna enkolagana ennungi naye. Wadde kyali kityo, ebisolo ebyaweebwangayo, kaali kabonero bubonero. Ebisolo byali tebiyinza kubikka bibi by’abantu, kubanga bya wansi ku bantu. (Zabbuli 8:4-8) Bwe kityo, Baibuli egamba: “Tekiyinzika omusaayi gw’ente ennume n’embuzi okuggyako ebibi.” (Abaebbulaniya 10:1-4) Ssaddaaka ng’ezo kyali kifaananyi bufaananyi, oba akabonero akooleka ssaddaaka y’ekinunulo eyali ey’okujja.

‘Ekinunulo Ekyenkanankana’

10. (a) Omununuzi yali alina kwenkanankana n’ani, era lwaki? (b) Lwaki ssaddaaka ya muntu omu yekka ye yali yeetaagisa?

10 Omutume Pawulo yagamba: ‘Bonna bafiira mu Adamu.’ (1 Abakkolinso 15:22) Bwe kityo, ekinunulo kyalina okuzingiramu okufa kw’oyo eyali yenkanankana Adamu​—omuntu atuukiridde. (Abaruumi 5:14) Tewali kirala kyonna ekyandisobozesezza obwenkanya okubaawo. Omuntu atuukiridde yekka, oyo atalina kibi kya Adamu, ye yandisobodde okuwaayo “ekinunulo ekyenkanankana”​—ekyenkanankanira ddala Adamu mu bujjuvu. (1 Timoseewo 2:6, NW) Kyandibadde tekyetaagisa obukadde n’obukadde bw’abantu kinnoomu okuweebwayo nga ssaddaaka basobole okwenkanankana na buli muzzukulu wa Adamu. Omutume Pawulo yannyonnyola: ‘Ku bw’omuntu omu Adamu ekibi bwe kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw’ekibi.’ (Abaruumi 5:12) Era okuva “okufa bwe kwabaawo ku bw’omuntu,” Katonda yakola enteekateeka okununula abantu ‘ku bw’omuntu omu.’ (1 Abakkolinso 15:21) Mu ngeri ki?

‘Ekinunulo ekyenkanankana ku lwa bonna’

11. (a) Omununuzi ‘yandireze atya ku kufa ku lwa buli muntu’? (b) Lwaki Adamu ne Kaawa tebandiganyuddwa mu kinunulo? (Laba obugambo obutono wansi.)

11 Yakuwa yakola enteekateeka omuntu atuukiridde aweeyo obulamu bwe kyeyagalire. Okusinziira ku Abaruumi 6:23, “empeera y’ekibi kwe kufa.” Mu kuwaayo obulamu bwe, omununuzi ‘yandireze ku kufa ku lwa buli muntu.’ Kwe kugamba, yandisasulidde ekibi kya Adamu. (Abaebbulaniya 2:9; 2 Abakkolinso 5:21; 1 Peetero 2:24) Kino kyandibadde kya muganyulo nnyo. Ekinunulo bwe kyandiggyewo ekibonerezo ky’okufa ekyasalirwa abaana ba Adamu abawulize, kyandiggiddewo ddala amaanyi g’ekibi agazikiriza. *​—Abaruumi 5:16.

12. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri okusasula ebbanja gye kuyinza okuganyula abantu bangi.

12 Okuwaayo ekyokulabirako: Kuba ekifaananyi ng’obeera mu kibuga ng’abakirimu abasinga obungi bakozesebwa mu kkolero eddene eriri mu kibuga ekyo. Ggwe ne baliraanwa bo musasulwa bulungi era obulamu bwammwe bweyagaza. Kiba bwe kityo okutuusa ekkolero bwe liggalwawo. Lwaki liggalwawo? Maneja w’ekkolero eryo akumpanyizza ssente era ekyo ne kiviirako ekkolero okugwa. Olw’okuba temukyalina mirimu, ggwe ne baliraanwa bo temukyasobola kusasula bisale ebibabanjibwa. Bannammwe mu bufumbo, abaana n’abababanja bakosebwa olw’obukumpanya bw’omuntu oyo omu. Waliwo ekinaabayamba? Yee! Nnagagga omu asalawo okuyingira mu nsonga. Amanyi omugaso gw’ekkolero eryo. Era alumirirwa abakozi baalyo abangi n’ab’omu maka gaabwe. N’olwekyo, akola enteekateeka okusasula ssente ze babanja ekkolero liddemu okuggulibwawo. Okusasulibwa kw’ebbanja eryo kuleeta obuweerero eri abakozi, ab’omu maka gaabwe n’abababanja. Mu ngeri y’emu, okusasulibwa kw’ebbanja lya Adamu kiganyula obukadde n’obukadde bw’abantu.

Ani Akola Enteekateeka y’Ekinunulo?

13, 14. (a) Yakuwa yakola atya enteekateeka ey’okuwaayo ekinunulo ku lw’abantu? (b) Ekinunulo kyasasulwa eri ani, era lwaki ekyo kyetaagisa?

13 Yakuwa yekka ye yali ayinza okutuwa ‘Omwana gw’endiga aggyawo ebibi by’ensi.’ (Yokaana 1:29) Naye Katonda teyamala galonda malayika yenna okununula abantu. Wabula yatuma Oyo eyandisobodde okulagira ddala nti Setaani bye yayogera ku baweereza ba Yakuwa byali bya bulimba. Yee, Yakuwa yawaayo ssaddaaka esingayo obukulu ng’atuma Omwana we eyazaalibwa omu yekka, ‘gw’asanyukira ennyo.’ (Engero 8:30) Kyeyagalire, Omwana wa Katonda ‘yeggyako’ ekitiibwa kye eky’omu ggulu. (Abafiripi 2:7) Mu ngeri ey’ekyamagero, Yakuwa yaggya obulamu bw’Omwana we omubereberye ow’omu ggulu, n’abuteeka mu lubuto lw’omuwala Omuyudaaya embeerera ayitibwa Malyamu. (Lukka 1:27, 35) Ng’omuntu, yayitibwa Yesu. Naye mu ngeri y’amateeka, yali ayinza okuyitibwa Adamu ow’okubiri, kubanga yali yenkanankanira ddala Adamu. (1 Abakkolinso 15:45, 47) Bwe kityo, Yesu yali asobola okwewaayo nga ssaddaaka okununula abantu aboonoonyi.

14 Ani yandisasuddwa ekinunulo? Zabbuli 49:7 lugamba nti ekinunulo kyandisasuddwa eri ‘Katonda.’ Naye, Yakuwa si ye yakola enteekateeka y’ekinunulo? Ye yagikola, naye ekyo tekifuula kinunulo ekintu ekiwaanyisibwa okutuusa obutuusa omukolo era ekitalina makulu​—gamba ng’okuggya ssente mu nsawo yo emu n’oziteeka mu ndala. Tulina okukitegeera nti ekinunulo nkola ey’omu mateeka. Mu kukola enteekateeka ey’okuwaayo ekinunulo ku muwendo omunene ennyo, Yakuwa yalaga nti anywerera ku bwenkanya bwe obutuukiridde.​—Olubereberye 22:7, 8, 11-13; Abaebbulaniya 11:17; Yakobo 1:17.

15. Lwaki kyali kyetaagisa Yesu okubonaabona n’okufa?

15 Mu 33 C.E., kyeyagalire Yesu Kristo yakkiriza okuyita mu mbeera enzibu ennyo eyaviirako okusasula ekinunulo. Yakkiriza okukwatibwa n’avunaanibwa emisango egy’obulimba, n’asingisibwa omusango, era n’akomererwa ku muti. Ddala kyali kyetaagisa Yesu okubonaabona ennyo bw’atyo? Kyali kyetaagisa, kubanga ensonga y’obugolokofu bw’omuntu yalina okugonjoolwa. N’olwekyo, tekyewuunyisa nti Katonda teyakkiriza Yesu okuttibwa Kerode ng’akyali muwere. (Matayo 2:13-18) Naye Yesu bwe yakula, yali asobola okwaŋŋanga obulumbaganyi bwa Setaani ng’ategeera bulungi ensonga ezizingirwamu. * Olw’okusigala nga ‘mutukuvu, ataliiko kabi, ataliiko bbala, ayawuliddwa okuva ku balina ebibi’ wadde nga yayisibwa bubi nnyo, Yesu yakakasiza ddala mu bujjuvu nti Yakuwa alina abaweereza abasigala nga beesigwa gy’ali wadde nga bagezesebwa. (Abaebbulaniya 7:26) N’olwekyo, tekyewuunyisa nti akaseera akasembayo nga tannafa, Yesu yagamba: “Kiwedde!”​—Yokaana 19:30.

Okumaliriza Omulimu Gwe ogw’Okununula

16, 17. (a) Yesu yayongera atya mu maaso omulimu gwe ogw’okununula? (b) Lwaki kyali kyetaagisa Yesu okulabika “mu maaso ga Katonda ku lwaffe”?

16 Naye Yesu yali tannamaliriza mulimu gwe ogw’okununula. Ku lunaku olw’okusatu oluvannyuma lw’okufa kwe, Yakuwa yamuzuukiza mu bafu. (Ebikolwa 3:15; 10:40) Olw’ekikolwa kino eky’ekitalo, Yakuwa teyasasula Mwana we olw’okuweereza n’obwesigwa kyokka, naye era yamuwa omukisa okumaliriza omulimu ogw’okununula ng’aweereza nga Kabona we Omukulu. (Abaruumi 1:4; 1 Abakkolinso 15:3-8) Omutume Pawulo annyonnyola: ‘Kristo bwe yajja nga kabona asinga obukulu teyayingira na musaayi gwa mbuzi n’ennyana, naye na musaayi gwe ye, omulundi gumu mu watukuvu n’atufunira okununulibwa okutaggwaawo. Kubanga Kristo teyayingira mu kifo ekitukuvu ekyakolebwa n’emikono, ekyafaanana ng’ekyo eky’amazima; naye mu ggulu mwennyini, okulabika kaakano mu maaso ga Katonda ku lwaffe.’​—Abaebbulaniya 9:11, 12, 24.

17 Kristo yali tayinza kugenda mu ggulu na musaayi ggwe. (1 Abakkolinso 15:50) Wabula, yatwala ekyo omusaayi kye gwali gukiikirira: omuwendo ogw’omu mateeka ogw’obulamu bwe obw’obuntu obwaweebwayo nga ssaddaaka. Olwo nno, mu maaso ga Katonda, yawaayo omuwendo gw’obulamu bwe ng’ekinunulo ku lw’abantu aboonoonyi. Yakuwa yakkiriza ssaddaaka eyo? Yee, era ekyo kyeyoleka ku Penteekoote 33 C.E., omwoyo omutukuvu bwe gwafukibwa ku bayigirizwa 120 mu Yerusaalemi. (Ebikolwa 2:1-4) Wadde ng’ekyo kyali kisanyusa nnyo, ekinunulo kyali kitandika butandisi okuleetawo emiganyulo egy’ekitalo.

Emiganyulo gy’Ekinunulo

18, 19. (a) Bibinja ki ebibiri ebiganyulwa mu kutabaganyizibwa olw’omusaayi gwa Kristo? (b) ‘Ab’ekibiina ekinene,’ baganyulwa batya mu kinunulo kati era bajja kuganyulwa batya mu biseera eby’omu maaso?

18 Mu bbaluwa gye yawandiikira Abakkolosaayi, Pawulo yannyonnyola nti okuyitira mu musaayi Kristo gwe yayiwa ku muti, Katonda yatabagana n’ebintu ebirala byonna. Era Pawulo yannyonnyola nti okutabagana okwo kuzingiramu ebibinja bibiri, “ebiri mu ggulu” ne “ebiri ku nsi.” (Abakkolosaayi 1:19, 20; Abaefeso 1:10) Ekibinja ekisooka, kirimu Abakristaayo 144,000 abalina essuubi ery’okuweereza nga bakabona mu ggulu era n’okufuga ne Kristo Yesu nga bakabaka ku nsi. (Okubikkulirwa 5:9, 10; 7:4; 14:1-3) Okuyitira mu bo, mpolampola emiganyulo gy’ekinunulo gijja kutuuka ku bantu abawulize mu bbanga ery’emyaka olukumi.​—1 Abakkolinso 15:24-26; Okubikkulirwa 20:6; 21:3, 4.

19 “Ebiri ku nsi” be bantu abasuubira okunyumirwa obulamu obutuukiridde mu Lusuku lwa Katonda ku nsi. Okubikkulirwa 7:9-17, luboogerako ‘ng’ekibiina ekinene’ ekiriwonawo mu ‘kibonyoobonyo ekinene’ ekijja. Naye tekibeetaagisa kulinda okusobola okufuna emiganyulo gy’ekinunulo. Baamala dda ‘okwoza ebyambalo byabwe ne babitukuza mu musaayi gw’Omwana gw’endiga.’ Olw’okuba bakkiririza mu kinunulo, ne mu kiseera kino bafuna emiganyulo egy’eby’omwoyo okuva mu nteekateeka eno ey’okwagala. Baweereddwa obutuukirivu nga mikwano gya Katonda! (Yakobo 2:23) Olwa ssaddaaka ya Yesu, ‘bayinza okutuukirira entebe ya Katonda ey’ekisa awatali kutya.’ (Abaebbulaniya 4:14-16) Bwe basobya, basonyiyibwa ddala. (Abaefeso 1:7) Wadde nga tebatuukiridde, balina omuntu ow’omunda omuyonjo. (Abaebbulaniya 9:9; 10:22; 1 Peetero 3:21) Bwe kityo, okutabagana ne Katonda si kintu ekisuubirwa obusuubirwa, naye kintu ekiriwo ddala leero! (2 Abakkolinso 5:19, 20) Mu myaka olukumi, mpolampola abantu ‘baliweebwa eddembe okuva mu kufugibwa okuvunda’ era mu nkomerero ‘bayingire mu ddembe ery’ekitiibwa ky’abaana ba Katonda.’​—Abaruumi 8:21.

20. Okufumiitiriza ku kinunulo kikukwatako kitya kinnoomu?

20 ‘Twebaza nnyo Katonda okuyitira mu Yesu Kristo’ olw’okutuwa ekinunulo! (Abaruumi 7:25) Ekinunulo kiri ku musingi omwangu, kyokka ate kya makulu nnyo ne kiba nti kituwuniikiriza. (Abaruumi 11:33) Bwe tukifumiitirizaako era ne tukisiima kikwata ku mitima gyaffe, ne kitwagazisa okuba n’enkolagana ennungi ne Katonda ow’obwenkanya. Okufaananako omuwandiisi wa Zabbuli, tulina ensonga ennywevu okutendereza Yakuwa “ayagala obutuukirivu [n’obwenkanya].”​—Zabbuli 33:5.

^ lup. 11 Adamu ne Kaawa baali tebayinza kuganyulwa mu kinunulo. Amateeka ga Musa gaawa omusingi guno ogukwata ku oyo asse omuntu mu bugenderevu: “Temukkirizanga bya kununula bulamu bwa mussi wa muntu, asaanidde okufa.” (Okubala 35:31) Kya lwatu, Adamu ne Kaawa baali basaanidde okufa kubanga mu bugenderevu baajeemera Katonda. Bwe kityo baafiirwa enkizo ey’okufuna obulamu obutaggwaawo.

^ lup. 15 Okusobola okusasulira ddala mu bujjuvu ekibi kya Adamu, Yesu yalina okufa ng’omusajja atuukiridde, so si ng’omwana omuwere atuukiridde. Jjukira nti Adamu yasobya mu bugenderevu, era ng’amanyi bulungi n’ekyandivuddemu. N’olwekyo, okusobola okubeera ‘Adamu ow’enkomerero’ n’okubikka ekibi ekyo, Yesu yalina okusalawo okubeera omugolokofu ng’amanyi bulungi byonna ebizingirwamu. (1 Abakkolinso 15:45, 47) Bwe kityo, obulamu bwa Yesu bwonna​—nga mw’otwalidde n’okufa kwe​—bwali ‘kikolwa eky’obutuukirivu.’​—Abaruumi 5:18, 19.