Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 17

‘Amagezi ga Katonda nga Tegakoma!’

‘Amagezi ga Katonda nga Tegakoma!’

1, 2. Ekigendererwa kya Yakuwa eky’olunaku olw’omusanvu kye kiruwa, era amagezi ga Katonda gaali gagenda kugezesebwa gatya ku ntandikwa y’olunaku olwo?

OMUNTU, ekitonde eky’ekitiibwa ekyasembayo okutondebwa ku lunaku olw’omukaaga, yafiirwa ekitiibwa kye yalina. Yagwa mu mitawaana! Yakuwa yali agambye nti ‘byonna bye yakola,’ nga mw’otwalidde n’abantu, byali ‘birungi nnyo.’ (Olubereberye 1:31) Naye ku ntandikwa y’olunaku olw’omusanvu, Adamu ne Kaawa baasalawo okwegatta ku Setaani mu kumujeemera. Baafuuka abantu aboonoonyi, abatatuukiridde, era ne batandika okufa.

2 Kiyinza okuba kyalabika ng’ekigendererwa kya Yakuwa eky’olunaku olw’omusanvu ekyali kigenda okugwa obutaka. Olunaku olwo, okufaananako na ziri omukaaga ezaasookawo, lwali lwa kumala emyaka nkumi na nkumi. Yakuwa yali alulangiridde okuba olutukuvu, era we lwandiggwereddeko ensi yonna yandibadde efuuse olusuku lwe olujjudde abantu abatuukiridde. (Olubereberye 1:28; 2:3) Naye oluvannyuma lw’obujeemu obwo, ebyo byandisobodde bitya okubaawo? Katonda yandikoze ki? Wano amagezi ga Yakuwa gaali gagenda kugezesebwa, oboolyawo mu ngeri esingirayo ddala.

3, 4. (a) Lwaki engeri Yakuwa gye yakwatamu ensonga y’obujeemu mu Adeni eyoleka amagezi ge ag’ekitalo? (b) Obwetoowaze bwandituleetedde kutegeera kintu ki ekikulu nga tuyiga ebikwata ku magezi ga Yakuwa?

3 Yakuwa alina kye yakolawo amangu ago. Abajeemu mu Adeni yabasalira omusango, era mu kiseera kye kimu, n’amanyisa ekintu eky’ekitalo: ekigendererwa kye eky’okumalawo ebizibu ebyali bizzeewo. (Olubereberye 3:15) Ekigendererwa kya Yakuwa kyali kya kuzingiramu enkumi n’enkumi z’emyaka egy’ebyafaayo by’abantu okuva mu Adeni okutuukira ddala mu biseera eby’omu maaso. Ekigendererwa ekyo kyangu okutegeera kyokka nga kigazi nnyo, ne kiba nti omusomi wa Baibuli ayinza okumala ekiseera ky’obulamu bwe kyonna ng’akyekenneenya. Ate era, ekigendererwa kya Yakuwa kikakafu okutuukirizibwa. Kijja kukomya obubi bwonna, ekibi n’okufa. Kijja kusobozesa abantu abeesigwa okubeera abatuukirivu. Bino byonna bijja kubaawo ng’olunaku olw’omusanvu terunnaba kuggwaako, kibeere nti, ekigendererwa kya Yakuwa eri ensi n’abantu kituukiriziddwa mu kiseera kyennyini ekituufu!

4 Amagezi ng’ago tegatuleetera okumussaamu ennyo ekitiibwa? Omutume Pawulo yawandiika: ‘Amagezi ga Katonda, nga tegakoma!’ (Abaruumi 11:33, NW) Nga twekenneenya ebintu ebitali bimu ebikwata ku magezi ga Katonda tujja kutegeera ekintu ekikulu ennyo​—nti tuyinza kutegeera kitono nnyo ku magezi ga Yakuwa agatakoma. (Yobu 26:14) Okusooka, ka tunnyonnyole engeri eno ewuniikiriza.

Amagezi ga Katonda Kye Ki?

5, 6. Kakwate ki akaliwo wakati w’okumanya n’amagezi, era okumanya kwa Yakuwa kwenkana wa?

5 Amagezi n’okumanya si kye kimu. Kompyuta ziyinza okweyambisibwa okumanya ebintu bingi naye tetuyinza kugamba nti zirina amagezi. Wadde kiri kityo, okumanya n’amagezi birina akakwate. (Engero 10:14) Ng’ekyokulabirako, singa obadde oyagala okuweebwa amagezi ku kujjanjaba endwadde ey’amaanyi, wandyebuuzizza ku muntu amanyi ekitono kabekasinge atamanyidde ddala bikwata ku bya kisawo? N’akatono! N’olwekyo, omuntu okusobola okubeera n’amagezi aga nnamaddala, kimwetaagisa okufuna okumanya okutuufu.

6 Yakuwa alina okumanya okutakoma. Nga “Kabaka ow’emirembe n’emirembe,” ye yekka abadde omulamu emirembe gyonna. (Okubikkulirwa 15:3) Mu kiseera ekyo kyonna ekitabalika, abadde amanyi byonna ebigenda mu maaso. Baibuli egamba: “[Tewali] kitonde ekitalabika mu maaso ge: naye ebintu byonna byeruliddwa era bibikkuliddwa mu maaso g’oyo gwe tuleetera ebigambo byaffe.” (Abaebbulaniya 4:13; Engero 15:3) Ng’Omutonzi, Yakuwa amanyi bulungi byonna bye yatonda, era alabye ebikolwa by’omuntu okuviira ddala ku ntandikwa. Akebera buli mutima gwa muntu, n’amanya buli kimu ekimukwatako. (1 Ebyomumirembe 28:9) Okuva Katonda bwe yatutonda nga tulina eddembe ly’okwesalirawo, asanyuka bwe tusalawo mu ngeri ey’amagezi mu bulamu bwaffe. ‘Ng’Oyo awulira okusaba,’ awuliriza okusaba kwa nnamungi w’abantu mu kiseera kye kimu! (Zabbuli 65:2) Era obusobozi bwa Yakuwa obw’okujjukira tebukoma.

7, 8. Yakuwa ayoleka atya okutegeera n’amagezi?

7 Yakuwa takoma ku kumanya bumanya bintu. Era amanyi n’engeri ebintu ebitali bimu gye bikwataganamu, bwe kityo n’afunira ddala ekifaananyi ekituufu ku nsonga. Yeekenneenya bulungi ensonga n’ayawula ekirungi okuva ku kibi, ekikulu okuva ku kitali kikulu. Ate era, talaba bya kungulu byokka, akebera n’omutima. (1 Samwiri 16:7) Bwe kityo, Yakuwa alina okutegeera, n’obusobozi bw’okwekenneenya obulungi ensonga, engeri ezisingira ewala okumanya. Kyokka era, amagezi gasingira wala engeri ezo.

8 Okuba n’amagezi kitegeeza okukozesa okumanya n’okutegeera, n’obaako ky’otuukiriza. Mu butuufu, ebimu ku bigambo bya Baibuli ebyasooka, ebivvuunulwa “amagezi” obutereevu bitegeeza “okukola okuvaamu ebibala” oba “amagezi ag’omuganyulo.” N’olwekyo, amagezi ga Yakuwa tegali mu bigambo bugambo. Ga muganyulo. Nga yeeyambisa okumanya kwe okungi, n’okutegeera kwe okw’ekitalo, Yakuwa asalawo mu ngeri esingayo obulungi, ng’akozesa enkola esingayo obulungi. Ago ge magezi aga nnamaddala! Yakuwa ayoleka amazima agali mu bigambo bya Yesu: “Amagezi gaweebwa obutuukirivu olw’ebikolwa.” (Matayo 11:19) Byonna Yakuwa bye yatonda byoleka amagezi ge amangi.

Obujulizi Obulaga Amagezi ga Katonda

9, 10. (a) Yakuwa alina magezi ga ngeri ki, era agoolesa atya? (b) Akatoffaali kooleka katya amagezi ga Yakuwa?

9 Wali weewuunyizza amagezi g’omuntu akola ebintu ebirabika obulungi ennyo? Ekyo kika kimu eky’amagezi ageewuunyisa. (Okuva 31:1-3) Yakuwa kennyini ye nsibuko y’amagezi ng’ago. Kabaka Dawudi yayogera bw’ati ku Yakuwa: “N[n]aakwebazanga; kubanga okukolebwa kwange kwa ntiisa, kwa kitalo: emirimu gyo gya kitalo; n’ekyo emmeeme yange ekimanyidde ddala.” (Zabbuli 139:14) Mazima ddala, gye tukoma okuyiga ku mubiri gw’omuntu, gye tukoma okuwuniikirira olw’amagezi ga Yakuwa.

10 Okuwaayo ekyokulabirako: Obulamu bwo bwatandika ng’akatoffaali kamu​—akaava mu kugattibwa awamu okw’eggi lya maama wo n’erya taata wo. Mangu ddala akatoffaali ako kaatandika okweyawulamu ne kavaamu obulala bungi. Ggwe, eyavaamu ku nkomerero, olina obutoffaali obusoba mu buwumbi emitwalo kkumi. Obutoffaali obwo butono nnyo. Obutoffaali nga 10,000 bugya ku mutwe gwa ppini. Kyokka, buli kamu kaakolebwa mu ngeri ya kitalo nnyo. Akatoffaali kaakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa okusinga ekyuma kyonna oba ekkolero lyonna eryakolebwa omuntu. Bannasayansi bagamba nti akatoffaali kalinga ekibuga ekirina bbugwe​—nga kalina awafulumirwa n’awayingirirwa, enteekateeka y’eby’entambula, eby’empuliziganya, ekkolero ly’amasannyalaze, n’amakolero amalala, aw’okusuula kazambi n’ebisasiro, eby’okwerinda, ne gavumenti eya wakati, mu masekkati waako. Okugatta ku ekyo, akatoffaali kayinza okwekolamu akatoffaali akalala akakafaananira ddala mu ssaawa ntono nnyo!

11, 12. (a) Kiki ekireetera obutoffaali bw’omwana eyaakatondebwa mu lubuto lwa nnyina okweyawulayawula, era kino kituukana kitya ne Zabbuli 139:16? (b) Obwongo bw’omuntu bulaga butya nti ‘twakolebwa mu ngeri ey’ekitalo’?

11 Kya lwatu nti obutoffaali bwonna tebufaanagana. Obutoffaali bwe bugenda bweyawulayawulamu ne buwera, bufuna emirimu egy’enjawulo. Obumu bufuuka butoffaali obw’obusimu; obulala bufuuka bwa magumba, binywa, musaayi oba bwa maaso. Okweyawulayawula okwo kwawandiikibwa mu biwandiiko eby’ensikirano ebiyitibwa DNA ebiri munda mu katoffaali. Dawudi yaluŋŋamizibwa okwogera bw’ati eri Yakuwa: “Amaaso go gaalaba omubiri gwange nga tegunnatuukirira, ne mu kitabo kyo ebitundu byange byonna ne biwandiikibwa.”​—Zabbuli 139:16.

12 Ebitundu ebimu eby’omubiri byakolebwa mu ngeri eyeewuunyisa ennyo. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bwongo. Abamu babwogeddeko ng’ekintu ekyakolebwa mu ngeri esingirayo ddala okwewuunyisa mu butonde bwonna. Bulimu obutoffaali obw’obusimu ng’obuwumbi 100, omuwendo kumpi ogwenkanankana n’emmunyeenye eziri mu kibinja ky’emmunyeenye mwe tuli. Buli kamu ku butoffaali obwo kavaako enkumi n’enkumi z’obulandira obweyunga ku butoffaali obulala. Bannasayansi bagamba nti obwongo bw’omuntu buyinza okutereka byonna ebiri mu bitabo ebiri mu materekero g’ensi yonna era nti obusobozi bw’obwongo obw’okutereka ebintu tebuyinza kupimibwa. Wadde nga bamaze amakumi g’emyaka nga bayiga ebikwata ku bwongo ‘obwakolebwa mu ngeri ey’ekitalo,’ bannasayansi bakikkiriza nti tebayinza kutegeerera ddala mu bujjuvu engeri gye bukolamu.

13, 14. (a) Enkolooto n’ebitonde ebirala biraga bitya nti ‘byakolebwa nga bigezi,’ era ekyo kituyigiriza ki ku Oyo eyabitonda? (b) Lwaki tuyinza okugamba nti ebintu ng’ennyumba ya nnabbubi byatondebwa mu ‘magezi’?

13 Kyokka, abantu kyakulabirako kimu kyokka ekyoleka amagezi ga Yakuwa. Zabbuli 104:24, lugamba: “Ai Mukama, emirimu gyo nga gya ngeri nnyingi! Wagikola gyonna mu magezi: ensi ejjudde obugagga bwo.” Amagezi ga Yakuwa geeyoleka mu byonna bye yatonda ebitwetoolodde. Ng’ekyokulabirako, enkolooto ‘erina amagezi agaagitonderwamu.’ (Engero 30:24) Mazima ddala, enkolooto zirina enteekateeka ennungi. Enkolooto ezimu zirabirira ebiwuka ebimu, era oluvannyuma ne zibirya nga gy’obeera ebiwuka ebyo bisolo ebirundibwa. Enkolooto endala nnimi, era zirina ebimera bye zirima. Waliwo ebitonde ebirala bingi ebyakolebwa nga bisobola okukola ebintu eby’ekyewuunyo. Ensowera esobola okwebonga mu bbanga mu ngeri ey’ekyewuunyo, ennyonyi yonna ekoleddwa omuntu gy’etayinza kwebongamu. Ebinyonyi ebisengukira mu bifo ebirala byeyambisa emmunyeenye, engeri ensi gye yeewunziseemu, oba mmaapu eyabitonderwamu okumanya gye bigenda. Bannasayansi bamala emyaka mingi nga bayiga ebikwata ku nneeyisa y’ebitonde ebyo. Oyo Eyabitonda ng’ateekwa okuba nga mugezi nnyo!

14 Bannasayansi bayize bingi okuva ku ebyo Yakuwa bye yatonda. Waliwo n’essomo lya sayansi erikwata ku kukoppa ebintu ebyatondebwa. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba weewuunya nnyo ennyumba ya nnabbubi. Kyokka, ye, munnasayansi alaba nti yakolebwa mu ngeri ya kitalo. Bwe biba bigeraageranyiziddwa mu ngeri entuufu, wuzi ezikola ennyumba eyo ezirabika ng’ennafu, ziba ngumu okusinga ekyuma, era za maanyi okusinga wuzi eziba mu kyambalo ekitayitamu masasi. Ngumu kwenkana wa? Teeberezaamu ng’ennyumba ya nnabbubi egaziyiziddwa okwenkana akatimba akakozesebwa okuvuba. Ennyumba eyo eba ngumu nnyo ne kiba nti eyinza okuziyiza ennyonyi y’abasaabaze ebuuka mu bbanga! Yee, Yakuwa akoze ebintu ebyo byonna ‘mu magezi.’

Ani yakola ebitonde by’omu nsi ne biba nga ‘bigezi’?

Amagezi mu Bifo Ebirala Ebitali ku Nsi

15, 16. (a) Emmunyeenye ziwa bujulizi ki ku magezi ga Yakuwa? (b) Ekifo kya Yakuwa ng’Omuduumizi ow’Oku Ntikko alina obuyinza ku bamalayika abangi ennyo kiwa bujulizi ki ku magezi ge?

15 Amagezi ga Yakuwa geeyolekera mu byonna bye yatonda. Emmunyeenye ze twayogerako mu Ssuula 5, zaategekebwa bulungi mu bwengula. Olw’amagezi ga Yakuwa ageeyolekera mu “mateeka ag’omu bwengula,” emmunyeenye zaategekebwa bulungi mu bibinja by’emmunyeenye, ate nabyo ne bitegekebwa mu gabinja aganene ennyo. (Yobu 38:33, The New Jerusalem Bible) Tekyewuunyisa nti Yakuwa ayogera ku bitonde eby’omu ggulu nga “eggye”! (Isaaya 40:26) Kyokka, waliwo eggye eddala eryoleka amagezi ga Yakuwa mu ngeri esingawo.

16 Nga bwe twalaba mu Ssuula 4, Katonda ayitibwa ‘Yakuwa ow’eggye’ olw’ekifo kye ng’Omuduumizi ow’Oku Ntikko, ow’eggye ly’obukumi n’obukumi bw’ebitonde eby’omwoyo. Buno bujulizi obulaga amaanyi ga Yakuwa. Naye, amagezi ge gazingirwamu gatya? Lowooza ku kino: Yakuwa ne Yesu baba bakola buli kiseera. (Yokaana 5:17) N’olwekyo, kya magezi okugamba nti ne bamalayika abaweereza Oyo Ali Waggulu Ennyo nabo bakola buli kiseera. Era kijjukire nti, ba waggulu, bagezi nnyo era ba maanyi nnyo okusinga abantu. (Abaebbulaniya 1:7; 2:7) Kyokka, Yakuwa awadde bamalayika abo bonna eby’okukola bingi, nga ‘batuukiriza ekigambo kye’ awamu ‘n’okukola by’ayagala’ n’essanyu, okumala obuwumbi n’obuwumbi bw’emyaka. (Zabbuli 103:20, 21) Amagezi g’Omufuzi oyo nga ga kitalo!

Yakuwa Ye ‘Wa Magezi Yekka’

17, 18. Lwaki Baibuli egamba nti Yakuwa ye ‘wa magezi yekka,’ era lwaki amagezi ge gatuwuniikiriza?

17 Olw’obujulizi ng’obwo, kyewuunyisa nti Baibuli etenda amagezi ga Yakuwa? Ng’ekyokulabirako, egamba nti Yakuwa ye ‘wa magezi yekka.’ (Abaruumi 16:27) Yakuwa yekka y’alina amagezi mu bujjuvu. Ye nsibuko y’amagezi ag’amazima. (Engero 2:6) Eyo ye nsonga lwaki, wadde nga Yesu ye yali asinga ebitonde bya Yakuwa byonna amagezi, teyeesigama ku magezi ge ye wabula yakolanga ekyo Kitaawe kye yamulagira.​—Yokaana 12:48-50.

18 Weetegereze engeri omutume Pawulo gye yayogera ku magezi ga Yakuwa ag’ekitalo: ‘Amagezi n’okumanya kwa Katonda nga tebikoma! Emisango gye nga tegikeberekeka, n’amakubo ge nga tegekkaanyizika!’ (Abaruumi 11:33, NW) Mu lulimi olwasooka, olunyiriri olwo lutandika n’ekigambo ekyoleka okwewuunya, bwe kityo ne kiraga nti Pawulo yawuniikirira nnyo olw’amagezi ga Katonda. Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusibwa nti ‘tegakoma’ kirina akakwate n’ekigambo ekivvuunulwa ‘obunnya.’ Bwe kityo, ebigambo bye bituyamba okukuba ekifaananyi. Bwe tufumiitiriza ku magezi ga Yakuwa, tuba nga abatunula mu kinnya ekiwanvu ennyo ekitakoma, kye tutayinza kutegeera buwanvu bwakyo, wadde okumanya kalonda yenna akikwatako. (Zabbuli 92:5) Ekyo tekitutoowaza?

19, 20. (a) Lwaki empungu kabonero akatuukirawo akalaga amagezi ga Katonda? (b) Yakuwa alaze atya obusobozi bwe obw’okulaba ebiri mu biseera eby’omu maaso?

19 Yakuwa ‘wa magezi yekka’ ne mu ngeri endala: Ye yekka amanyi ebiri mu biseera eby’omu maaso. Jjukira nti Yakuwa akozesa empungu eraba ewala okukiikirira amagezi ge. Empungu eyinza okuzitowa kilo 5 zokka, kyokka amaaso gaayo gasinga ag’omuntu omukulu obunene. Empungu esobola okulaba omuyiggo gwayo ng’eri wala nnyo mu bbanga! Yakuwa kennyini yayogera bw’ati ku mpungu: ‘Amaaso gaayo galaba wala nnyo.’ (Yobu 39:29) Mu ngeri y’emu, Yakuwa asobola okulaba ‘wala nnyo’ mu biseera eby’omu maaso!

20 Baibuli ejjuddemu obujulizi obukakasa ekyo. Erimu enkumi n’enkumi z’obunnabbi. Ebyava mu ntalo, okuyimuka n’okugwa kw’ensi zikirimaanyi, n’enteekateeka z’abaduumizi b’amagye abamu, byonna byalagulwa mu Baibuli​—ebiseera ebimu, ng’ebulayo ebikumi n’ebikumi by’emyaka bituukirire.​—Isaaya 44:25–45:4; Danyeri 8:2-8, 20-22.

21, 22. (a) Lwaki tetuyinza kugamba nti Yakuwa yamanya dda byonna by’onoosalawo mu bulamu? Waayo ekyokulabirako. (b) Tumanya tutya nti amagezi ga Yakuwa gooleka okwagala n’obusaasizi?

21 Naye, kino kitegeeza nti Katonda yamanya dda by’onoosalawo mu biseera eby’omu maaso? Abamu bagamba nti bwe kityo bwe kiri. Kyokka, endowooza ng’eyo esuula omuguluka amagezi ga Yakuwa, kubanga kiba kitegeeza nti tayinza kufuga busobozi bwe obw’okumanya ebiri mu maaso. Okuwaayo ekyokulabirako: Singa walina eddoboozi eddungi ennyo, wandibadde toyinza kukyebeera n’oba ng’oyimba buyimbi ekiseera kyonna? Si kya magezi n’akamu okulowooza bw’otyo! Mu ngeri y’emu, Yakuwa alina obusobozi bw’okumanya ebiri mu biseera eby’omu maaso, naye tabukozesa buli kiseera. Singa yali abukozesa buli kiseera, yandibadde ayingirira eddembe lyaffe ery’okwesalirawo, ekirabo eky’omuwendo Yakuwa ky’atayinza kutuggyako.​—Ekyamateeka 30:19, 20.

22 Ekisingawo n’obubi, endowooza eyo, egamba nti buli kimu yakitegeka dda nga tekinnabaawo, etegeeza nti amagezi ga Katonda tegooleka kwagala, kisa, wadde obusaasizi. Naye ekyo si kituufu n’akamu! Baibuli eyigiriza nti Yakuwa ‘mugezi mu mutima.’ (Yobu 9:4) Tekiri nti alina omutima ogwa ddala, naye Baibuli etera okukozesa omutima okutegeeza omuntu ky’ali munda, ekizingiramu enneewulira ez’omunda ennyo gamba ng’okwagala. N’olwekyo, amagezi ga Yakuwa, okufaananako n’engeri ze endala zonna, gafugibwa kwagala.​—1 Yokaana 4:8.

23. Amagezi ga Yakuwa agasinga gonna ganditukubirizza kukola ki?

23 Amagezi ga Yakuwa geesigika. Gasingira wala amagezi gaffe ne kiba nti Ekigambo kya Katonda kitugamba: “Weesigenga Mukama n’omutima gwo gwonna. So teweesigamanga ku kutegeera kwo ggwe: mwatulenga mu makubo go gonna, kale anaaluŋŋamyanga olugendo lwo.” (Engero 3:5, 6) Tweyongere okuyiga ebikwata ku magezi ga Yakuwa tusobole okufuna enkolagana ennungi ne Katonda asingayo okuba ow’amagezi.