Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 22

“Amagezi Agava Waggulu” Gakolera mu Bulamu Bwo?

“Amagezi Agava Waggulu” Gakolera mu Bulamu Bwo?

1-3. (a) Sulemaani yayoleka atya amagezi ag’ensusso mu ngeri gye yasalamu omusango gw’abakazi abaali bakaayanira omwana? (b) Yakuwa atusuubiza ki, era bibuuzo ki ebijjawo?

GWALI musango muzibu nnyo​—abakazi babiri baali nga bakaayanira omwana omuto. Baali babeera wamu, era nga kumpi baazaalira mu kiseera kye kimu. Omu ku baana be baazaala yali afudde, era kati buli mukazi yali agamba nti omwana omulamu ye wuwe. * Tewaaliwo balala baali bayinza kuwa bujulizi ku kyaliwo. Kiyinzika okuba nti omusango gwawulirwa mu kkooti ento naye n’eremererwa okugusala. Mu nkomerero, omusango ogwo gwatwalibwa ewa Sulemaani, kabaka wa Isiraeri. Yandisobodde okuzuula amazima?

2 Oluvannyuma lw’okuwuliriza enkaayana yaabwe, Sulemaani yatumya ekitala. Ng’alabika nga mumalirivu, yalagira omwana asalibwemu ebitundu bibiri, buli mukazi aweebweko ekitundu kimu. Amangu ago, nnyina w’omwana omutuufu yeegayirira kabaka awe omukazi omulala omwana. Naye omukazi oli omulala ye yayagala omwana asalibwemu ebitundu bibiri. Awo Sulemaani yategeera ekituufu. Yali amanyi engeri maama gy’ayagalamu omwana we, era yakozesa okumanya okwo okusala omusango ogwo. Teeberezaamu essanyu lya maama w’omwana, Sulemaani bwe yamuwa omwana we era n’agamba nti: “Oyo ye nnyina.”​—1 Bassekabaka 3:16-27.

3 Ago gaali magezi ga nsusso si bwe kiri? Abantu bwe baawulira engeri Sulemaani gye yasalamu omusango, baawuniikirira, “kubanga baalaba ng’amagezi ga Katonda gaali mu ye.” Yee, amagezi ga Sulemaani kyali kirabo okuva eri Katonda. Yakuwa yali amuwadde “omutima omugezigezi era omutegeevu.” (1 Bassekabaka 3:12, 28) Kiri kitya gye tuli? Naffe tuyinza okufuna amagezi agava eri Katonda? Ng’aluŋŋamizibwa Katonda, Sulemaani yawandiika: ‘Mukama agaba amagezi.’ (Engero 2:6) Yakuwa asuubiza okuwa amagezi, kwe kugamba, obusobozi bw’okukozesa obulungi okumanya n’okutegeera eri abo abaganoonya mu bwesimbu. Tuyinza tutya okufuna amagezi agava waggulu? Tuyinza tutya okugakozesa mu bulamu bwaffe?

Oyinza Otya ‘Okufuna Amagezi’?

4-7. Bintu ki ebina ebyetaagisa okusobola okufuna amagezi?

Kitwetaagisa okubeera abagezi oba abayivu ennyo okusobola okufuna amagezi ga Katonda? Nedda. Yakuwa mwetegefu okutuwa amagezi ge ka tube mu mbeera ki oba nga tulina buyigirize bwa ngeri ki. (1 Abakkolinso 1:26-29) Naye tulina okusooka okubaako kye tukolawo, kubanga Baibuli etukubiriza ‘okufuna amagezi.’ (Engero 4:7) Ekyo tuyinza kukikola tutya?

5 Okusooka, tulina okutya Katonda. Engero 9:10, lugamba: “Mu kutya Mukama amagezi mwe gasookera [“gwe mutendera ogusooka ogw’okufuna amagezi,” The New English Bible].” Okutya Katonda gwe musingi gwa magezi aga nnamaddala. Lwaki? Jjukira nti amagezi gazingiramu okukozesa obulungi okumanya. Okutya Katonda, tekitegeeza kukubwa ncukwe, wabula kitegeeza okumusinza, okumussaamu ekitiibwa n’okumwesiga. Okutya ng’okwo kuzimba era kukubiriza omuntu okubaako ky’akolawo. Kutukubiriza okutuukanya obulamu bwaffe n’ebyo Katonda by’ayagala. Tewali kkubo lya magezi lisinga eryo, kubanga emitindo gya Yakuwa bulijjo giganyula abo abagigoberera.

6 Eky’okubiri, tuteekwa okuba abeetoowaze. Tetuyinza kuba na magezi ga Katonda okuggyako nga tuli beetoowaze. (Engero 11:2) Lwaki kiri bwe kityo? Bwe tuba abeetoowaze, tuba beetegefu okukkiriza nti tetumanyi buli kimu, nti bye tusalawo tebiba bituufu buli kiseera, era nti twetaaga okufuna endowooza ya Yakuwa ku nsonga eba ekwatibwako. Yakuwa ‘aziyiza ab’amalala,’ naye mwetegefu okuwa abeetoowaze amagezi ge.​—Yakobo 4:6.

Okusobola okufuna amagezi agava eri Katonda, tuteekwa okufuba okuganoonya

7 Ekintu eky’okusatu ekikulu kwe kuyiga Ekigambo kya Katonda. Amagezi ga Yakuwa gabikkuddwa mu Kigambo kye. Okusobola okufuna amagezi ago, tuteekwa okufuba okuganoonya. (Engero 2:1-5) Eky’okuna, kwe kusaba. Bwe tusaba Katonda amagezi ge mu bwesimbu, ajja kugatuwa. (Yakobo 1:5) Bwe tunaamusaba okutuwa omwoyo gwe ajja kugutuwa. Era omwoyo gwe gujja kutuyamba okuzuula eby’omuwendo ebiri mu Kigambo kye, ebiyinza okutuyamba okugonjoola ebizibu, okwewala akabi, n’okusalawo mu ngeri ey’amagezi.​—Lukka 11:13.

8. Bwe tuba nga ddala tulina amagezi ga Katonda, ekyo kineeyoleka kitya?

8 Nga bwe twalaba mu Ssuula 17, amagezi ga Yakuwa ga muganyulo. Bwe kityo, bwe tuba ddala tufunye amagezi agava eri Katonda, kijja kweyoleka mu ngeri gye tweyisaamu. Omuyigirizwa Yakobo yayogera ku bibala by’amagezi ga Katonda bwe yawandiika: “Amagezi agava waggulu okusooka malongoofu, nate ga mirembe, mawombeefu [“si makakanyavu,” NW], mawulize, agajjude okusaasira n’ebibala ebirungi, agatalina kwawula, agatalina bunnanfuusi.” (Yakobo 3:17) Nga twekenneenya buli kimu ku bibala bino eby’amagezi ga Katonda, tuyinza okwebuuza, ‘Amagezi agava waggulu gakolera mu bulamu bwange?’

“Malongoofu, Nate ga Mirembe”

9. Kitegeeza ki ekintu okuba ekirongoofu, era lwaki kituukirawo nti obulongoofu kye kibala eky’amagezi ga Katonda ekisoose okumenyebwa?

9 “Okusooka malongoofu.” Ekintu okuba ekirongoofu kirina okuba nga tekyonooneddwa, kungulu ne munda. Baibuli ekwataganya amagezi n’omutima, kyokka amagezi ga Katonda tegayinza kubeera mu mutima ogulimu ebirowoozo ebibi, okwegomba okubi n’ebiruubirirwa ebibi. (Engero 2:10; Matayo 15:19, 20) Kyokka, omutima bwe guba nga mulongoofu, kwe kugamba, okusinziira ku busobozi bw’abantu abatatuukiridde, tujja ‘kuleka ekibi tukolenga ekirungi.’ (Zabbuli 37:27; Engero 3:7) Tekituukirawo nti obulongoofu kye kibala eky’amagezi ga Katonda ekisoose okumenyebwa? Mazima ddala, singa tetuba bayonjo mu mpisa ne mu by’omwoyo, tuyinza tutya okwoleka ebibala ebirala eby’amagezi agava waggulu?

10, 11. (a) Lwaki kikulu nnyo ffe okuba mu mirembe n’abalala? (b) Bw’omanya nti onyiizizza mukkiriza munno, oyinza otya okukiraga nti oyagala okutabagana naye? (Laba obugambo obutono wansi.)

10 “Ga mirembe.” Amagezi agava waggulu gatukubiriza okunoonya emirembe, ekibala ky’omwoyo gwa Katonda. (Abaggalatiya 5:22) Twewala okutabangula ‘emirembe’ egigatta awamu abantu ba Yakuwa. (Abaefeso 4:3) Era tukola kyonna ekisoboka okuzzaawo emirembe bwe giba gitabanguse. Lwaki ekyo kikulu? Baibuli egamba: “Mubeere n’emirembe: ne Katonda ow’okwagala n’emirembe anaabanga nammwe.” (2 Abakkolinso 13:11) Kasita tweyongera okubeera mu mirembe, Katonda ow’emirembe ajja kuba naffe. Engeri gye tuyisaamu basinza bannaffe erina ky’ekola ku nkolagana yaffe ne Yakuwa. Tuyinza tutya okubeera mu mirembe n’abalala? Lowooza ku kyokulabirako kino.

11 Kiki kye wandikoze singa okitegeera nti onyiizizza mukkiriza munno? Yesu yagamba: “Kale, bw’obanga oleese ssaddaaka yo ku kyoto, bw’oyima eyo n’omala ojjukira nga muganda wo akuliko ekigambo, leka awo ssaddaaka yo mu maaso g’ekyoto, oddeyo, osooke omale okutabagana ne muganda wo, olyoke okomewo oweeyo ssaddaaka yo.” (Matayo 5:23, 24) Oyinza okugoberera okubuulirira okwo n’ogenda eri muganda wo. Wandibadde na kiruubirirwa ki? “Okutabagana ne muganda wo.” * Okusobola okutuukiriza ekyo, kiba kikwetaagisa okukkiriza so si okugaana, ensobi yo. Bw’omutuukirira ng’olina ekiruubirirwa eky’okutabagana naye, obutategeeragana buyinza okuggwaawo, ali mu nsobi ne yeetonda era n’asonyiyibwa. Bw’ofuba okutabagana n’oyo bwe mutategeeragana, olaga nti okulemberwa amagezi ga Katonda.

‘Si Makakanyavu, Mawulize’

12, 13. (a) Ekigambo ekivvuunulwa ‘si makakanyavu’ mu Yakobo 3:17 kirina makulu ki? (b) Tuyinza tutya okulaga nti tetuli bakakanyavu?

12 ‘Si makakanyavu.’ Kitegeeza ki obutaba mukakanyavu? Okusinziira ku beekenneenya ba Baibuli, ekigambo ky’Oluyonaani ekyasooka ekikyusibwa ‘si makakanyavu’ mu Yakobo 3:17 (NW), kizibu okuvvuunula. Abavvuunuzi bakozesezza ebigambo nga “makkakkamu,” “magumiikiriza,” era ‘galumirirwa.’ Amakulu g’ekigambo ekyo mu Luyonaani gali, ‘obutakalambira ku kintu.’ Tuyinza tutya okulaga nti ekibala kino eky’amagezi agava waggulu kitukoleramu?

13 Abafiripi 4:5 (NW) lugamba: “Obutali bukakanyavu bwammwe bweyoleke eri abantu bonna.” Enkyusa endala egamba: “Manyibwa ng’omuntu atali mukakanyavu.” (The New Testament in Modern English, eya J. B. Phillips) Weetegereze nti kino okusingira ddala tekikwata ku ngeri ffe gye twerowoozaako; wabula engeri abalala gye batulowoozaako. Omuntu atali mukakanyavu takalambira ku buwandiike bw’amateeka oba ku ekyo ky’ayagala. Wabula, mwetegefu okuwuliriza abalala, era bwe kiba kisaanira, n’akkiriza bye baagala. Era aba mukkakkamu, so si mukambwe mu ngeri gy’akolaganamu n’abalala. Wadde nga kino kikulu eri Abakristaayo bonna, kikulu nnyo eri abo abaweereza ng’abakadde. Obukkakkamu busikiriza, ne bufuula abakadde abantu abatuukirikika. (1 Abasessaloniika 2:7, 8) Kiba kirungi okwebuuza, ‘Mmanyiddwa ng’omuntu afaayo ku balala, atali mukakanyavu era omukkakkamu?’

14. Tuyinza tutya okulaga nti tuli ‘bawulize’?

14 “Mawulize.” Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusibwa “mawulize” tekisangibwa walala mu Byawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani. Okusinziira ku mwekenneenya omu, ekigambo kino ‘kitera okukozesebwa mu kukangavvula okw’ekijaasi.’ Kirina amakulu ‘g’okukolera amangu ku kikugambiddwa’ era ‘n’okubeera omuwulize.’ Oyo akubirizibwa amagezi agava waggulu, agondera ebyo Ebyawandiikibwa kye bigamba. Si ye muntu akalambira ku ky’aba asazeewo bwe wabaawo ebiraga nti si kituufu. Wabula, aba mwetegefu okukyusaamu bw’alagibwa obujulizi okuva mu Byawandiikibwa obulaga nti akoze ensobi mu kusalawo kwe. Bwe batyo abalala bwe bakulaba?

“Agajjudde Okusaasira n’Ebibala Ebirungi”

15. Obusaasizi kye ki, era lwaki kituukirawo nti ‘obusaasizi’ ne “ebibala ebirungi” byogerwako wamu mu Yakobo 3:17?

15 “Agajjudde okusaasira n’ebibala ebirungi.” * Obusaasizi kitundu kikulu eky’amagezi agava waggulu, kubanga amagezi ng’ago googerwako nti ‘gajjudde okusaasira.’ Weetegereze nti ‘okusaasira’ ne “ebibala ebirungi” byogerwako wamu. Kino kituukirawo, kubanga mu Baibuli, okusaasira emirundi mingi kutegeeza okufaayo ku balala, ekiviirako okwoleka ebikolwa eby’ekisa. Ekitabo ekimu kinnyonnyola obusaasizi nga “okunakuwala ng’omuntu omulala ali mu mbeera mbi era n’ofuba okubaako ky’okolawo.” N’olwekyo, amagezi agava eri Katonda tegali mu bigambo bugambo. Wabula galeetera omuntu okulaga omukwano n’okulumirirwa omulala. Tuyinza tutya okulaga nti tuli basaasizi?

16, 17. (a) Ng’oggyeko okwagala Katonda, kiki ekitukubiriza okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira, era lwaki? (b) Tuyinza tutya okulaga nti tuli basaasizi?

16 Mazima ddala, engeri emu enkulu kwe kubuulira abalala amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Katonda. Kiki ekitukubiriza okukola omulimu guno? Okusingira ddala kwe kwagala Katonda. Naye era tugwenyigiramu olw’okusaasira abalala. (Matayo 22:37-39) Bangi leero “bakooye nnyo nga basaasaanye, ng’endiga ezitalina musumba.” (Matayo 9:36) Abasumba ab’obulimba tebabafaako era babazibye amaaso mu by’omwoyo. N’olwekyo, tebamanyi bulagirizi bwa magezi obuli mu Kigambo kya Katonda oba emikisa Obwakabaka gye bulireeta ku nsi. Bwe kityo, bwe tufumiitiriza ku byetaago eby’eby’omwoyo eby’abo abatwetoolodde, tubasaasira era ne tukola kyonna kye tusobola okubategeeza ku bigendererwa bya Yakuwa.

Bwe tusaasira abalala twoleka ‘amagezi agava waggulu’

17 Ngeri ki endala mwe tuyinza okulagira nti tuli basaasizi? Jjukira olugero lwa Yesu olw’Omusamaliya eyasanga ku luguudo omuntu eyali anyagiddwa era ng’akubiddwa. ‘Olw’okumusaasira,’ Omusamaliya yamusiba ebiwundu era n’amufaako mu ngeri endala. (Lukka 10:29-37) Ekyo tekiraga nti obusaasizi buzingiramu okuyamba abo abali mu bwetaavu? Baibuli etugamba “tubakolerenga obulungi bonna, naye okusinga abo abali mu nnyumba ey’okukkiriza.” (Abaggalatiya 6:10) Lowooza ku bintu bino by’oyinza okukolera abalala. Mukkiriza munnaffe akaddiye ayinza okuba yeetaaga okumutwalangako n’okumukomyangawo okuva mu nkuŋŋaana. Nnamwandu mu kibiina ayinza okuba yeetaaga okumuyamba okuddaabiriza ennyumba ye. (Yakobo 1:27) Omuntu aweddemu amaanyi ayinza okwetaaga ‘ebigambo ebirungi’ okumuzzaamu amaanyi. (Engero 12:25) Bwe tulaga obusaasizi mu ngeri ezo, tuwa obukakafu nti amagezi agava waggulu gakolera mu ffe.

“Agatalina Kwawula, Agatalina Bunnanfuusi”

18. Bwe tuba tukulemberwa amagezi agava waggulu, kiki kye tuteekwa okuggya mu mitima gyaffe, era lwaki?

18 “Agatalina kwawula.” Amagezi agava eri Katonda tegasosola mu langi oba mu ggwanga. Bwe tukulemberwa amagezi ng’ago, tufuba okuggya mu mitima gyaffe obusosoze. (Yakobo 2:9) Tetuyisa bamu bulungi olw’obuyigirize bwe balina, olw’embeera yaabwe ey’eby’enfuna oba olw’obuvunaanyizibwa bwe balina mu kibiina; era tetunyooma bakkiriza bannaffe ka babe nga si ba kitiibwa oba nga baavu. Bwe kiba nti Yakuwa abalaga okwagala, mazima ddala kyandibadde kigwanira naffe okubalaga okwagala.

19, 20. (a) Makulu ki agali mu kigambo ky’Oluyonaani ekikyusibwa “munnanfuusi”? (b) Tuyinza tutya ‘okulaga okwagala okutaliimu bunnanfuusi,’ era lwaki ekyo kikulu?

19 “Agatalina bunnanfuusi.” Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa “omunnanfuusi” kiyinza okutegeeza “munnakatemba.” Mu biseera eby’edda, Abayonaani n’Abaruumi baayambalanga obukookolo nga bazannya emizannyo. Bwe kityo, ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘munnanfuusi’ kyakozesebwanga ku muntu eyeefuula oba azannya ekyo ky’atali. Ekibala kino eky’amagezi agava eri Katonda kyandibaddeko kye kikola ku ngeri gye tuyisaamu basinza bannaffe oba gye tubalowoozaako.

20 Omutume Peetero yagamba nti ‘okugondera amazima’ kwandivuddemu ‘okwagalanga ab’oluganda awatali bunnanfuusi.’ (1 Peetero 1:22) Yee, okwagala kwaffe eri baganda baffe tekwandibadde kwa kungulu. Tetwambala bukookolo oba kwefuula kye tutali okulimba abalala. Okwagala kwaffe kwandibadde kwa mazima, okuviira ddala mu mutima. Bwe kuba bwe kutyo, bakkiriza bannaffe bajja kutwesiga, kubanga bajja kumanya nti tetuli bannanfuusi. Okubeera omwesimbu mu ngeri eyo, kisobozesa enkolagana ennungi okubaawo mu Bakristaayo era kiyamba abantu mu kibiina okwesigaŋŋana.

‘Kuumanga Amagezi’

21, 22. (a) Sulemaani yalemerera atya okukuuma amagezi? (b) Tuyinza tutya okukuuma amagezi, era tunaaganyulwa tutya bwe tunaakola bwe tutyo?

21 Amagezi ga Katonda, kirabo okuva gy’ali, kye tulina okukuuma. Sulemaani yagamba: ‘Mwana wange kumaanga amagezi n’endowooza yo.’ (Engero 3:21) Eky’ennaku, ne Sulemaani yalemererwa okukuuma amagezi. Ekiseera bwe yabeeranga n’omutima omuwulize yabeeranga n’amagezi. Naye, mu nkomerero, bakazi be abangi abagwira baamuggya ku kusinza Yakuwa. (1 Bassekabaka 11:1-8) Ekyatuuka ku Sulemaani kiraga nti okumanya tekuba na mugaso singa tetukukozesa bulungi.

22 Tuyinza tutya okukuuma amagezi? Tetulina kusoma busomi Baibuli n’ebitabo ebigyesigamiziddwako ebitutegekerwa ‘omuddu omwesigwa era ow’amagezi’, naye era tuteekwa okussa mu nkola bye tuyiga. (Matayo 24:45) Tulina ensonga ennungi okussa mu nkola amagezi agava eri Katonda. Kijja kutuviiramu okufuna obulamu obulungi kati. Kijja kutusobozesa ‘okunywezanga obulamu obwa namaddala,’ kwe kugamba, obulamu mu nsi empya. (1 Timoseewo 6:19) N’ekisinga obukulu, okufuna amagezi agava waggulu kitusobozesa okufuna enkolagana ennungi ne Yakuwa Katonda, ensibuko y’amagezi.

^ lup. 1 Okusinziira ku 1 Bassekabaka 3:16, abakazi ababiri baali benzi. Ekitabo Insight on the Scriptures kigamba: “Abakazi abo bayinza okuba nga baali benzi, kyokka si abo abeetunda. Bayinza okuba baali Bayudaaya, oba abagwira.”​—Kyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ lup. 11 Ekigambo ky’Oluyonaani ekikyusibwa ‘okutabagana’ kiva mu kigambo ekitegeeza “‘okuleeta enkyukakyuka, okuwaanyisa’ era bwe kityo kitegeeza, ‘okuzzaawo emirembe.’” N’olwekyo, ekiruubirirwa kyo kyandibadde okuleetawo enkyukakyuka, okumalawo ekkonda ku mutima gw’oyo gw’onyiizizza bwe kiba kisoboka.​—Abaruumi 12:18.

^ lup. 15 Enkyusa endala evvuunula ebigambo bino, nti “gajjudde obusaasizi n’ebikolwa ebirungi.”​—A Translation in the Language of the People, eya Charles B. Williams.