Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EKITUNDU 4

“Katonda Kwagala”

“Katonda Kwagala”

Mu ngeri zonna Yakuwa z’alina, okwagala kwe kuzisinga obukulu. Era kwe kuzisinga okusikiriza. Nga twekenneenya ebintu ebimu ebikwata ku ngeri eno ey’omuwendo, tujja kutegeera lwaki Baibuli egamba nti “Katonda kwagala.”​—1 Yokaana 4:8.

MU KITUNDU KINO

ESSUULA 23

“Ye Yasooka Okutwagala”

Ebigambo “Katonda kwagala” bitegeeza ki?

ESSUULA 24

Tewali Kiyinza “Kutwawukanya na Kwagala kwa Katonda”

Lekerawo okulowooza nti tolina mugaso oba nti toyinza kwagalibwa Katonda.

ESSUULA 25

‘Obusaasizi bwa Katonda Waffe’

Enneewulira Katonda gy’alina gy’oli efaanana etya eyo maama gy’aba nayo eri omwana we?

ESSUULA 26

Katonda ‘Omwetegefu Okusonyiwa’

Bwe kiba nti Katonda asobola okujjukira buli kimu, asobola atya okusonyiwa era ne yeerabira?

ESSUULA 27

‘Obulungi Bwe nga Bungi!’

Obulungi bwa Katonda ddala kye ki?

ESSUULA 28

‘Ggwe Mwesigwa Wekka’

Kakwate ki akaliwo wakati w’okuba nti Katona mwesigwa n’okuba nti yeesigika?

ESSUULA 29

“Okutegeera Okwagala kwa Kristo”

Engeri esatu eziraka okwagala kwa Yesu zoleka okwagala kwa Yakuwa.

ESSUULA 30

“Mutambulirenga mu Kwagala”

Abakkolinso ekisooka kiraga engeri 14 ezituyamba okulagaŋŋana okwagala.