Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 23

“Ye Yasooka Okutwagala”

“Ye Yasooka Okutwagala”

1-3. Bintu ki ebifuula okufa kwa Yesu okuba okw’enjawulo ennyo ku kulala kwonna mu byafaayo?

MU KISEERA kya ttoggo, kumpi emyaka 2,000 egiyise, omusajja ataalina musango yawozesebwa, n’asingisibwa emisango gye yali tazzangako, era n’attibwa. Ogwo si gwe mulundi ogwali gusoose mu byafaayo okutta omuntu mu ngeri etali ya bwenkanya, era eky’ennaku, si gwe gwasembayo. Kyokka, okufa okwo kwali kwa njawulo nnyo ku kulala kwonna.

2 Ng’omusajja oyo ali mu kiseera ekisembayo eky’obulamu bwe, mu bulumi obw’amaanyi ennyo, engeri eggulu gye lyalabikamu nayo yalaga nti okufa kwe kwali kukulu nnyo. Wadde ng’obudde bwali bwa misana, ekizikiza kyabuutikira ensi. Munnabyafaayo omu yagamba, ‘enjuba yalemererwa okwaka.’ (Lukka 23:44, 45) Ng’omusajja oyo tannassa gwa nkomerero, yayogera ebigambo bino ebikulu: ‘Kituukiriziddwa!’ Mazima ddala, mu kuwaayo obulamu bwe, yatuukiriza ekintu eky’ekitalo. Okuweebwayo kwe nga ssaddaaka, kye kikolwa eky’okwagala ekikyasingidde ddala ekyali kikoleddwa omuntu.​—Yokaana 15:13; 19:30.

3 Omusajja oyo yali Yesu Kristo. Okubonaabona n’okufa kwe ku lunaku olwo olw’akazigizigi, nga Nisaani 14, 33 C.E., bimanyiddwa nnyo. Kyokka, waliwo ekintu ekikulu ekitera okubuusibwa amaaso. Wadde nga Yesu yalumizibwa nnyo, waliwo omuntu omulala eyalumwa ennyo n’okusingawo. Mu butuufu, omuntu oyo yeefiiriza nnyo n’okusingawo ku lunaku olwo, era nga kye yakola, kye kikolwa eky’okwagala ekikyasingidde ddala ekyali kikoleddwa omuntu yenna mu butonde bwonna. Kikolwa ki ekyo? Eky’okuddamu, kitutuusa ku nsonga esingayo obukulu: Okwagala kwa Yakuwa.

Ekikolwa eky’Okwagala Ekisingirayo Ddala

4. Omuserikale Omuruumi yakitegeera atya nti Yesu teyali muntu wa bulijjo, era yatuuka ku kusalawo ki?

4 Ow’amagye Omuruumi eyaliwo ku kuttibwa kwa Yesu yeewuunya nnyo ekizikiza ne musisi ow’amaanyi ebyaddirira okufa kwa Yesu. Yagamba: “Mazima ddala ono abadde Mwana wa Katonda.” (Matayo 27:54) Kya lwatu, Yesu teyali muntu wa bulijjo. Omuserikale oyo yenyigira mu kutta Omwana eyazaalibwa omu yekka, owa Katonda Ali Waggulu Ennyo! Omwana oyo yali wa muwendo eri Kitaawe kwenkana wa?

5. Ekiseera ekiwanvu ennyo Yakuwa n’Omwana we kye babadde awamu mu ggulu kiyinza kulagibwa kitya?

5 Baibuli eyita Yesu “omubereberye ow’ebitonde byonna.” (Abakkolosaayi 1:15) Lowooza ku kino​—Omwana wa Yakuwa yaliwo ng’ebintu byonna tebinnatondebwa. Kati olwo, Taata n’Omwana baali wamu kumala bbanga ki? Bannasayansi abamu bateebereza nti obwengula bumaze emyaka obuwumbi 13 nga weebuli. Oyinza okuteeberezaamu obuwanvu bw’ekiseera ekyo? Okuyamba abantu okutegeera obuwanvu bw’ekiseera bannasayansi kye bateebereza obwengula okuwangaala, bannasayansi bakozesa ekipande ekimu ekiraga ebiseera era nga kiriko olukoloboze oluweza ffuuti 360. Buli luta lw’ekigere abagenyi lwe bakuba nga batambulira okumpi n’ekipande ekyo, lukiikirira emyaka ng’obukadde 75 ku kiseera obwengula kye buwangadde. Ku nkomerero y’ekipande kino, kuliko akalambe kamu akenkanankana n’oluviiri lw’omuntu lumu, nga kano kakiikirira ebbanga lyonna omuntu lye yaakamala ku nsi! Ne bwe kiba nti embalirira eyo ntuufu, olukoloboze olwo lwonna si luwanvu ekimala okukiikirira ekiseera Omwana wa Yakuwa kye yaakabeerawo! Yali akola ki mu kiseera ekyo ekiwanvu ennyo?

6. (a) Omwana wa Yakuwa yali akola ki nga tannajja ku nsi? (b) Nkolagana ki eriwo wakati wa Yakuwa n’Omwana we?

6 Omwana yakola ne Kitaawe nga ‘omukozi omukulu.’ (Engero 8:30) Baibuli egamba nti: ‘Awataali Mwana tewaali kintu na kimu ekyakolebwa.’ (Yokaana 1:3) N’olwekyo, Yakuwa n’Omwana we baakolera wamu okutonda ebintu ebirala byonna. Nga bateekwa okuba nga baalina essanyu ppitirivu nga bali wamu! Bangi bakkiriza nti okwagala okubaawo wakati w’omuzadde n’omwana kuba kwa maanyi nnyo. Era okwagala ‘kunyweza nnyo.’ (Abakkolosaayi 3:14) Kati olwo, ani ku ffe ayinza okutegeera okwagala okwaliwo wakati waabwe mu kiseera ekyo ekiwanvu ennyo? Awatali kubuusabuusa, Yakuwa Katonda n’Omwana we bagattiddwa okwagala okw’amaanyi ennyo okutabangawo.

7. Yesu bwe yabatizibwa, Yakuwa yayoleka atya enneewulira gye yalina ku Mwana we oyo?

7 Wadde kyali kityo, Yakuwa yasindika Omwana we okuzaalibwa ku nsi. Ekyo kyali kitegeeza nti, okumala amakumi g’emyaka, Yakuwa yeefiiriza enkolagana ey’oku lusegere gye yalina n’Omwana we omwagalwa mu ggulu. Ng’ali mu ggulu, yalaba Yesu ng’akula era n’afuuka omusajja atuukiridde. Yesu bwe yaweza emyaka nga 30, yabatizibwa. Tekitwetaagisa na kuteebereza nneewulira Yakuwa gye yalina ku Yesu. Kitaawe kennyini yayogera okuva mu ggulu: “Oyo ye Mwana wange, gwe njagala, gwe nsanyukira.” (Matayo 3:17) Olw’okuba Yesu yatuukiriza byonna ebyamulagulwako, byonna bye yatumibwa okukola, Kitaawe ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo!​—Yokaana 5:36; 17:4.

8, 9. (a) Biki Yesu bye yakola nga Nisani 14, 33 C.E., era Kitaawe ow’omu ggulu yawulira atya? (b) Lwaki Yakuwa yaleka Omwana we okubonaabona n’okufa?

8 Kyokka, Yakuwa yawulira atya nga Nisani 14, 33 C.E.? Yawulira atya nga Yesu aliiriddwamu olukwe era n’akwatibwa ekibinja ky’abantu mu kiro ekyo? Yawulira atya nga mikwano gya Yesu gimwabulidde era ng’awozesebwa mu ngeri emenya amateeka? Yawulira atya nga Yesu bamusekerera, bamuwandulira amalusu, era nga bamukuba ebikonde? Yawulira atya nga Yesu bamukuba embooko era n’atuusiibwako ebisago? Yawulira atya nga Yesu bamukomerera ku muti era n’alekebwa okwo ng’alengejja abantu ne bamukudaalira? Yawulira atya ng’Omwana we omwagalwa akaaba olw’obulumi obungi? Yakuwa yawulira atya nga Yesu assa ogw’enkomerero, era ng’omulundi ogusookera ddala okuva ku ntandikwa y’okutonda, Omwana we omwagalwa nga talina bulamu?​—Matayo 26:14-16, 46, 47, 56, 59, 67; 27:38-44, 46; Yokaana 19:1.

‘Katonda yawaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka’

9 Tubulwa n’eby’okwogera. Okuva Yakuwa bw’alina enneewulira, obulumi bwe yalina olw’okufa kw’Omwana we tebuyinza na kunnyonnyolekeka. Ekiyinza okunnyonnyolwa y’ensonga lwaki yakkiriza ekikolwa ekyo okubaawo. Lwaki Yakuwa yeereetako obulumi ng’obwo obw’amaanyi? Yakuwa atuwa ensonga mu kyawandiikibwa ky’omu Baibuli ekikulu ennyo ekiri mu Yokaana 3:16 ekyogerwako ng’ekiwumbawumbako Enjiri. Ekyawandiikibwa ekyo, kigamba: “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.” N’olwekyo, ekyaleetera Yakuwa okukola ekyo, kwe kwagala. Ekirabo kya Yakuwa​—okusindika Omwana we okutufiirira​—kye kikolwa eky’okwagala ekikyasingiddeyo ddala.

Okwagala kwa Katonda Kunnyonnyolwa

10. Abantu beetaaga ki, era kiki ekituuse ku makulu g’ekigambo “okwagala”?

10 Ekigambo “okwagala” kitegeeza ki? Okwagala kwogeddwako ng’ekintu abantu kye basinga okwetaaga. Okuva lwe bazaalibwa okutuuka lwe bafa, abantu bafuba okufuna okwagala, okwagala kubazimba, era bayisibwa bubi n’okufa ne bafa bwe batalagibwa kwagala. Wadde kiri kityo, kizibu nnyo okunnyonnyola okwagala. Kyo kituufu, abantu boogera nnyo ku kwagala. Ebitabo, ennyimba n’ebikwate bingi byogera ku kwagala. Kyokka, tebinnyonnyodde bulungi makulu ga kwagala. Mu butuufu, ekigambo ekyo kikozeseddwa nnyo ekisukkiridde ne kiba nti amakulu gaakyo aga nnamaddala tegasobose kufunika.

11, 12. (a) Wa we tuyinza okuyiga ebisingawo ebikwata ku kwagala? (b) Bika ki eby’okwagala ebyogerwako mu lulimi Oluyonaani olw’edda, era kigambo ki ekikyusibwa “okwagala” ekikozesebwa ennyo mu Byawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani? (Laba obugambo obutono wansi.) (c) A·gaʹpe kye ki?

11 Kyokka, Baibuli ennyonnyola bulungi okwagala. Enkuluze eyitibwa Vine’s Expository Dictionary of New Testament Words egamba: “Okwagala kuyinza okumanyika okuva ku bikolwa bye kukubiriza [abantu okukola].” Baibuli by’eyogera ku bikolwa bya Yakuwa bituyigiriza bingi ku kwagala kw’alina eri ebitonde bye. Ng’ekyokulabirako, kiki ekitutegeeza ebisingawo ebikwata ku ngeri eno okusinga ekikolwa kya Yakuwa eky’okwagala ekyayogeddwako emabega? Mu ssuula eziddirira, tujja kulaba ebyokulabirako ebirala bingi ebiraga okwagala kwa Yakuwa. Okugatta ku ekyo, tujja kubaako ne bye tuyiga ebirala okuva ku bigambo by’omu Baibuli ebyasooka, ebyavvuunulwa “okwagala.” Oluyonaani olw’edda, lwalina ebigambo bina ebivvuunulwa “okwagala.” * Ku bino, ekisinga okukozesebwa mu Byawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani, kye kigambo a·gaʹpe. Enkuluze ya Baibuli emu, ekiyita “ekigambo ekisinga obukulu ekinnyonnyola okwagala.” Lwaki?

12 Ekigambo a·gaʹpe kitegeeza okwagala okwesigamiziddwa ku misingi. N’olwekyo, si kwe kwagala okukubiriza omuntu okubaako ne ky’akolawo olw’okukwatibwa obukwatibwa ekinyegenyege. Kugazi nnyo, kwa munda era kuba n’ekigendererwa. Okusinga byonna, okwagala kuno okwa a·gaʹpe tekwerowoozaako. Ng’ekyokulabirako, ddamu weetegereze Yokaana 3:16. “Ensi” Katonda gye yayagala ennyo n’atuuka n’okuwaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka y’eruwa? Be bantu abayinza okununulibwa. Mu abo, mulimu abantu bangi nnyo abatagoberera mitindo gya Katonda mu bulamu bwabwe. Yakuwa ayagala buli muntu kinnoomu, nga bwe yali ayagala Ibulayimu? (Yakobo 2:23) Nedda. Naye Yakuwa akolera buli omu ebirungi, n’atuuka n’okwefiiriza ennyo. Ayagala bonna beenenye, era bakyuse amakubo gaabwe. (2 Peetero 3:9) Bangi ekyo kye bakoze era bafuuse mikwano gye.

13, 14. Kiki ekiraga nti ekigambo a·gaʹpe emirundi mingi kizingiramu omukwano?

13 Kyokka, abamu balina endowooza enkyamu ku a·gaʹpe. Balowooza nti okwagala okwo, tekuliimu mukwano era tekuganyula. Ekituufu kiri nti a·gaʹpe emirundi mingi kuzingiramu omukwano. Ng’ekyokulabirako, Yokaana bwe yawandiika nti, “Kitaffe ayagala Omwana,” yakozesa ekigambo a·gaʹpe. (Yokaana 3:35) Okwagala okwo tekuliimu mukwano? Weetegereze nti mu Yokaana 5:20 Yesu yagamba, “Kitange ayagala Omwana,” ng’akozesa ekigambo phi·leʹo. Okwagala kwa Yakuwa emirundi mingi kubaamu omukwano. Naye, okwagala kwe tekwesigama ku nneewulira yokka. Kwesigama ne ku misingi gye egy’amagezi era egy’obwenkanya.

14 Nga bwe tulabye, engeri za Yakuwa zonna ziri ku mutindo gwa waggulu, zituukiridde, era zisikiriza. Naye okwagala kwe kusinga okusikiriza mu ngeri ze zonna. Tewali kitusikiriza eri Yakuwa okusinga okwagala. Eky’essanyu, okwagala era ye ngeri ye esinga obukulu. Ekyo tukimanya tutya?

“Katonda Kwagala”

15. Bigambo ki Baibuli by’eyogera ku kwagala kwa Yakuwa, era mu ngeri ki gye biri eby’enjawulo? (Laba obugambo obutono wansi.)

15 Baibuli erina ky’eyogera ku kwagala ng’ate tekyogera ku ngeri za Yakuwa endala enkulu. Ebyawandiikibwa tebigamba nti Katonda maanyi oba nti Katonda bwenkanya oba nti Katonda magezi. Kituufu, alina engeri ezo, ye Nsibuko yaazo, era tageraageranyizika ku bikwata ku ngeri ezo essatu. Kyokka, waliwo ekintu ekikulu ennyo ekyogerwa ku ngeri ey’okuna. Kiri nti: “Katonda kwagala.” * (1 Yokaana 4:8) Ekyo kitegeeza ki?

16-18. (a) Lwaki Baibuli egamba nti “Katonda kwagala”? (b) Ku bitonde byonna ku nsi, lwaki omuntu y’asaanira okukiikirira engeri ya Yakuwa ey’okwagala?

16 Okugamba nti “Katonda kwagala” si kye kimu n’okugamba nti “Katonda yenkana okwagala.” Era tetuyinza kukyusa bigambo ebyo ne tugamba nti “okwagala ye Katonda.” Yakuwa asingira wala nnyo engeri ng’eyo. Alina enneewulira n’engeri endala nnyingi ng’oggyeko okwagala. Kyokka, mu ngeri zonna z’alina, okwagala kwe kuzisinga. Bwe kityo, ekitabo ekimu kyogera bwe kiti ku lunyiriri luno: “Engeri ya Katonda enkulu kwe kwagala.” Okutwalira awamu, tuyinza okukirowoozaako bwe tuti: Amaanyi ga Yakuwa gamusobozesa okubaako ne ky’akolawo. Obwenkanya bwe n’amagezi bimuwa obulagirizi mu by’akola. Naye okwagala kwa Yakuwa kwe kumukubiriza okubaako ne ky’akolawo. Era bulijjo okwagala kwe kweyolekera mu ngeri gy’akozesaamu engeri ze endala.

17 Kitera okugambibwa nti Yakuwa ye nsibuko y’okwagala. N’olwekyo, bwe tuba twagala okuyiga ebikwata ku kwagala okwesigamiziddwa ku misingi (a·gaʹpe) tulina okuyiga ebikwata ku Yakuwa. Kya lwatu, engeri eno ennungi tuyinza n’okugiraba mu bantu. Naye, lwaki bagirina? Mu kiseera ky’okutonda, Yakuwa yayogera ebigambo bino, eri Omwana we: “Tukole omuntu mu ngeri yaffe, mu kifaananyi kyaffe.” (Olubereberye 1:26) Mu bitonde byonna ebiri ku nsi, abantu bokka be bayinza okulaga okwagala, ne bakoppa Kitaabwe ow’omu ggulu. Jjukira nti Yakuwa yakozesa ebitonde ebitali bimu okukiikirira engeri ze enkulu. Kyokka, Yakuwa yalonda ekitonde ekisinga obukulu ku nsi, omuntu, okukiikirira okwagala, engeri ye esinga obukulu.​—Ezeekyeri 1:10.

18 Bwe twoleka okwagala awatali kwefaako nga tusinziira ku misingi, tuba twoleka engeri ya Yakuwa enkulu. Kiringa omutume Yokaana bwe yawandiika: “Ffe twagala, kubanga ye yasooka okutwagala.” (1 Yokaana 4:19) Naye, mu ngeri ki Yakuwa gye yasooka okutwagala?

Yakuwa ye Yasooka Okubaako Ky’Akolawo

19. Lwaki tuyinza okugamba nti okwagala kwalina ekifo kikulu mu mulimu gwa Yakuwa ogw’okutonda?

19 Okwagala si kintu kippya. Kiki ekyaleetera Yakuwa okutandika okutonda? Tekyali nti yalina ekiwuubaalo nga yeetaaga omuntu ow’okubeera naye. Yakuwa alina buli kye yeetaaga era talina kimubulako, omuntu yenna ky’ayinza okumuwa. Naye, okwagala kwe, engeri ye esinga obukulu, kwe kwamukubiriza okuwa ebitonde ebirala ebitegeera obulamu. Omwana we eyazaalibwa omu yekka, ye yali ‘olubereberye w’ebintu Katonda bye yatonda.’ (Okubikkulirwa 3:14) Oluvannyuma, Yakuwa yakozesa omukozi ono omukulu okutonda ebintu ebirala byonna, ng’atandika ne bamalayika. (Yobu 38:4, 7; Abakkolosaayi 1:16) Nga birina eddembe, amagezi n’enneewulira, ebitonde bino eby’omwoyo byali biyinza okwagalana byokka na byokka, naye okusinga byonna, byandisobodde okulaga Yakuwa Katonda okwagala. (2 Abakkolinso 3:17) Bwe kityo, byalaga okwagala kubanga bye byasooka okulagibwa okwagala.

20, 21. Adamu ne Kaawa baalina bujulizi ki obwali bulaga nti Yakuwa abaagala, kyokka baakola ki?

20 Era bwe kyali eri abantu. Okuva ku ntandikwa, Adamu ne Kaawa baalagibwa okwagala okw’amaanyi ennyo. Wonna we baatunulanga mu Lusuku lwa Katonda mu Adeni, baalabanga obujulizi obwoleka okwagala kwa Kitaabwe. Weetegereze Baibuli ky’egamba: “Mukama Katonda n’asimba olusuku mu Adeni ku luuyi olw’ebuvanjuba; n’ateeka omwo omuntu gwe yabumba.” (Olubereberye 2:8) Wali obaddeko mu kifo ekifaanana obulungi ennyo? Kiki ekyasinga okukusanyusa? Ekitangaala ekyayita mu bikoola by’emiti ne kimulisa wansi? Ebimuli ebya langi ez’enjawulo? Amaloboozi g’enzizi ezikulukuta, ebinyonyi ebiyimba n’ebiwuka ebikaaba? Ate akaloosa k’emiti, ebibala, n’ebimuli? Ka kibe ng’ekifo ekyo kyakusanyusa kitya, teri kifo kyonna leero ekiyinza okugeraageranyizibwa ku lusuku Adeni. Lwaki?

21 Olusuku olwo, lwasimbibwa Yakuwa kennyini! Luteekwa okuba nga lwali lulungi nnyo. Buli muti ogulabika obulungi oba oguliko ebibala ebiwooma ennyo gwaliyo. Olusuku olwo lwalimu amazzi agamala, nga lugazi bulungi era nga lulimu ebisolo ebitali bimu. Adamu ne Kaawa baalina kyonna ekyali kiyinza okubasanyusa, nga mw’otwalidde n’omulimu ogumatiza era nga bombi bakolagana bulungi. Yakuwa ye yasooka okubaagala, era nabo baali balina okumulaga okwagala. Kyokka, baalemererwa okukola ekyo. Mu kifo ky’okugondera Kitaabwe ow’omu ggulu, baamujeemera.​—Olubereberye, essuula 2.

22. Engeri Yakuwa gye yakola ku bujeemu obwaliwo mu Adeni yalaga etya nti okwagala kwe kungi nnyo?

22 Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyaleetera Yakuwa obulumi bungi nnyo! Naye obujeemu bwabwe bwamuleetera okubakyawa mu mutima? Nedda! ‘Ekisa kye ekyesigamiziddwa ku kwagala kya mirembe na mirembe.’ (Zabbuli 136:1, NW) Bwe kityo, mangu ddala yakola enteekateeka okununula ezzadde lya Adamu ne Kaawa abandibadde n’emitima emirungi. Nga bwe twalabye, enteekateeka ezo zaazingiramu ssaddaaka y’Omwana we omwagalwa, eyaviirako Kitaawe okulumwa ennyo.​—1 Yokaana 4:10.

23. Emu ku nsonga lwaki Yakuwa ayitibwa ‘Katonda omusanyufu’ y’eruwa, era kibuuzo ki ekikulu ekijja okuddibwamu mu ssuula eddako?

23 Yee, okuviira ddala ku ntandikwa, Yakuwa y’asoose okubaako ne ky’akolawo okulaga abantu okwagala. Mu ngeri nnyingi, ‘ye yasooka okutwagala.’ Okwagala kutumbula obumu n’essanyu, n’olwekyo tekyewuunyisa nti Yakuwa ayitibwa ‘Katonda omusanyufu.’ (1 Timoseewo 1:11) Kyokka, wajjawo ekibuuzo ekikulu. Ddala Yakuwa atwagala ng’abantu kinnoomu? Essuula eddako ejja kwogera ku nsonga eyo.

^ lup. 11 Ekigambo phi·leʹo, ekitegeeza “okwagala, okuba n’omukwano oba, (enneewulira gy’oba nayo eri mukwano gwo ow’oku lusegere oba muganda wo),” kitera okukozesebwa mu Byawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani. Ekigambo stor·geʹ, oba okwagala eri ab’omu maka, kikozesebwa mu 2 Timoseewo 3:3, awalaga nti okwagala ng’okwo kwandibadde kutono nnyo mu nnaku ez’oluvannyuma. Eʹros, oba okwagala wakati w’abo abatafaananya butonde, tekikozesebwa mu Byawandiikibwa eby’Ekikristaayo mu Luyonaani, wadde ng’okwagala okwo kwogerwako mu Baibuli.​—Engero 5:15-20.

^ lup. 15 Ebyawandiikibwa ebirala bifaanaganamu n’ekyo. Ng’ekyokulabirako, ‘Katonda ye kitangaala’ ne “Katonda . . . gwe muliro ogwokya.” (1 Yokaana 1:5; Abaebbulaniya 12:29) Eno njogera ya kugereesa, kubanga egeraageranya Yakuwa ku bintu ebitalina bulamu. Yakuwa alinga ekitangaala, kubanga mutuukirivu era mugolokofu. Taliimu ‘kizikiza,’ wadde obutali buyonjo. Era ayinza okugeraageranyizibwa ku muliro olw’obusobozi bw’alina obw’okuzikiriza.