Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 29

“Okutegeera Okwagala kwa Kristo”

“Okutegeera Okwagala kwa Kristo”

1-3. (a) Kiki ekyakubiriza Yesu okwagala okubeera nga Kitaawe? (b) Ngeri ki eziraga okwagala kwa Yesu ze tujja okwekenneenya?

WALI olabye omwana omuto ng’agezaako okugeegeenya kitaawe? Omwana ayinza okugeegeenya engeri taata we gy’atambulamu, gy’ayogeramu oba gye yeeyisaamu. Ekiseera bwe kigenda kiyitawo, omwana ayinza okukoppa empisa za kitaawe n’ebintu eby’omwoyo Kitaawe by’atwala ng’eby’omuwendo. Yee, engeri omwana gy’ayagalamu kitaawe oba gy’amwesiimisaamu emuleetera okwagala okumukoppa.

2 Kiri kitya ku nkolagana wakati wa Yesu ne Kitaawe ow’omu ggulu? Lumu Yesu yagamba nti, “njagala Kitange.” (Yokaana 14:31) Tewali n’omu ayinza kwagala Yakuwa okusinga Omwana we, eyali ne Yakuwa ebbanga eggwanvu ennyo ng’ebitonde ebirala byonna tebinnabaawo. Okwagala okwo kwakubiriza Omwana okwagala okubeera nga Kitaawe.​—Yokaana 14:9.

3 Mu ssuula ezaasooka mu kitabo kino, twayogera ku ngeri Yesu gye yakoppamu engeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi, obwenkanya n’amagezi ge. Kyokka, Yesu yayoleka atya okwagala Kitaawe kwe yalaga? Ka twekenneenye engeri ssatu eziraga okwagala kwa Yesu​—omwoyo gwe ogw’okwerekereza, obusaasizi bwe n’okubeera omwetegefu okusonyiwa.

“Tewali Alina Kwagala Kunene Okusinga Kuno”

4. Yesu yassaawo atya ekyokulabirako ekisingayo obukulu eky’okwagala okw’okwerekereza?

4 Yesu yassaawo ekyokulabirako ekirungi ennyo eky’okwagala okw’okwerekereza. Okwerekereza kuzingiramu okukulembeza ebyetaago by’abalala so si ebyaffe. Yesu yayoleka atya okwagala ng’okwo? Ye kennyini annyonnyola: “Tewali alina kwagala kunene okusinga kuno omuntu okuwaayo obulamu bwe olwa mikwano gye.” (Yokaana 15:13) Kyeyagalire, Yesu yawaayo obulamu bwe obutuukiridde ku lwaffe. Kye kikolwa eky’okwagala ekisingayo obukulu omuntu yenna kye yali akoze. Kyokka, Yesu yayoleka okwagala okw’okwerekereza mu ngeri endala.

5. Lwaki Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka yayoleka okwagala okw’okwerekereza bwe yava mu ggulu?

5 Nga tannajja ku nsi, Omwana wa Katonda eyazaalibwa omu yekka yalina ekifo eky’ekitalo era eky’ekitiibwa mu ggulu. Yalina enkolagana ey’oku lusegere ne Yakuwa awamu n’ebitonde eby’omwoyo ebirala bingi nnyo. Wadde nga yalina enkizo ezo, Omwana ono omwagalwa “yeggyako ekitiibwa, bwe yatwala engeri y’omuddu, n’abeera mu kifaananyi ky’abantu.” (Abafiripi 2:7) Kyeyagalire, yajja okubeera mu bantu aboonoonyi mu nsi ‘eri mu buyinza bw’omubi.’ (1 Yokaana 5:19) Ddala okwo tekwali kwagala okw’okwerekereza Omwana wa Katonda kwe yayoleka?

6, 7. (a) Mu ngeri ki Yesu ze yalagamu okwagala okw’okwerekereza? (b) Kyakulabirako ki ekirungi ekyoleka okwagala okw’okwerekereza ekiri mu Yokaana 19:25-27?

6 Mu buweereza bwe bwonna ku nsi, Yesu yayoleka okwagala okw’okwerekereza mu ngeri nnyingi. Yali teyeerowoozaako n’akamu. Yeemalira ku buweereza bwe ne kiba nti yeerekereza obulamu obugonvu abantu bwe baali bamanyidde. Yagamba nti, “ebibe birina obunnya, n’ennyonyi ez’omu bbanga zirina ebisu; naye Omwana w’omuntu talina w’assa mutwe gwe.” (Matayo 8:20) Olw’okuba yali mubazzi mukugu, Yesu yandisobodde okuwaayo ebiseera okwezimbira ennyumba ennungi oba okukola ebibajje ebirungi eby’okutunda asobole okufuna ssente. Kyokka, teyakozesa bukugu bwe okwefunira ebintu.

7 Ekyokulabirako ekirungi ekyoleka okwagala kwa Yesu okw’okwerekereza kiri mu Yokaana 19:25-27. Lowooza ku bintu ebingi ebyandibadde ku mutima ne mu birowoozo bya Yesu akawungeezi ke yattirwamu. Wadde nga yali mu bulumi bungi ku muti, yafaayo nnyo ku bayigirizwa be, omulimu ogw’okubuulira, era okusingira ddala ku bugolokofu bwe era n’engeri gye bwandikutte ku linnya lya Kitaawe. Mu butuufu, ebiseera eby’omu maaso eby’abantu bonna byali byesigamye ku Yesu! Kyokka, ng’ebulayo akaseera katono afe, Yesu era yalaga nti afaayo ne ku nnyina, Malyamu, eyali nnamwandu mu kiseera ekyo. Yesu yasaba omutume Yokaana okulabirira Malyamu, nga gy’obeera nti Malyamu yali maama wa Yokaana. Era oluvannyuma lw’ekyo, omutume yatwala Malyamu ewuwe. Bwe kityo, Yesu yakola enteekateeka ez’okulabirira nnyina mu by’omubiri ne mu by’omwoyo. Nga ekyo kyali kikolwa kirungi nnyo ekyoleka okwagala okw’okwerekereza!

‘N’Abakwatirwa Ekisa’

8. Ekigambo ky’Oluyonaani Baibuli ky’ekozesa okwogera ku busaasizi bwa Yesu kirina makulu ki?

8 Okufaananako Kitaawe, Yesu yali musaasizi. Ebyawandiikibwa byogera ku Yesu ng’omuntu eyafubanga okuyamba abali mu nnaku kubanga yabakwatirwa ekisa. Okusobola okunnyonnyola obusaasizi bwa Yesu, Baibuli ekozesa ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘n’abakwatirwa ekisa.’ Omwekenneenya omu agamba: “[Ekigambo ekyo] kyogera . . . ku nneewulira etuukira ddala ku ntobo y’omutima gw’omuntu. Kye kigambo ky’Oluyonaani ekisingayo okunnyonnyola obusaasizi.” Lowooza ku mbeera zino ezimu Yesu bwe yasaasira abantu n’abaako ky’akolawo.

9, 10. (a) Kiki ekyaviirako Yesu n’abatume be okunoonya ekifo ekisirifu? (b) Abantu bwe baayingirira eddembe lye, Yesu yakolawo ki, era lwaki?

9 Yakola ku byetaago eby’omwoyo. Ebiri mu Makko 6:30-34, biraga ekyasinga okukubiriza Yesu okusaasira abalala. Kuba ekifaananyi ku ebyo ebyaliwo. Abatume baali babuguumiridde kubanga baali baakamala okubuulira mu bifo ebitali bimu. Baddayo eri Yesu ne bamutegeeza byonna bye baali balabye ne bye baali bawulidde. Naye, ekibiina ekinene kyakuŋŋaana, ne kiremesa Yesu n’abatume be okufuna akadde okulya. Kyokka, Yesu yalaba nti abatume be baali bakooye. Yabagamba nti “Mujje mmwe mwekka kyama mu kifo eteri bantu muwummuleko katono.” Baasaabalira mu lyato ku Nnyanja y’e Ggaliraaya okugenda mu kifo ekisirifu etaali bantu. Naye abantu abamu baabalaba era abalala ne bakiwulirako nti bagenda. Abo bonna baddukira ku lubalama lw’ennyanja ne basookayo eryato mu kifo ekyo!

‘Yagolola omukono gwe n’amukwatako’

10 Yesu yanyiiga nti baali bayingiridde eddembe lye? N’akatono! Yakwatibwako nnyo bwe yalaba ekibiina ky’abantu kino, ekyalimu enkumi n’enkumi z’abantu, nga bamulindiridde. Makko yawandiika: “N’alaba ebibiina bingi, n’abasaasira [“n’abakwatirwa ekisa,” NW], kubanga baali ng’endiga ezitalina musumba; n’atanula okubayigiriza ebigambo bingi.” Yesu yalaba nti abantu bano baalina ebyetaago eby’eby’omwoyo. Baalinga endiga ezibuze ezitalina musumba ow’okuziwa obulagirizi n’okuzikuuma. Yesu yali amanyi nti abakulembeze b’eddiini abaali basuubirwa okubeera abasumba abafaayo, baali tebafaayo n’akamu ku bantu aba bulijjo. (Yokaana 7:47-49) Yakwatirwa abantu abo ekisa, era n’atandika okubayigiriza ebintu bingi ebikwata ku ‘bwakabaka bwa Katonda.’ (Lukka 9:11) Kyetegereze nti Yesu yakwatirwa abantu abo ekisa nga tannaba na kumanya ngeri gye bandyanukuddemu bye yandibayigirizza. Mu ngeri endala, obusaasizi bwe tebwajjawo luvannyuma lwa kuyigiriza bantu wabula bwe bwamukubiriza okubayigiriza.

11, 12. (a) Abagenge baatwalibwanga batya mu kiseera Baibuli we yawandiikibwa, naye Yesu yakola ki bwe yatuukirirwa omusajja ‘eyalina ebigenge’? (b) Omugenge yawulira atya Yesu bwe yamukwatako, era ekyokulabirako ky’omusawo omu kikakasa kitya ekyo?

11 Yakendeeza ku kubonaabona kw’abalala. Abantu abaalina endwadde ezitali zimu baategeera nti Yesu yali musaasizi, n’olwekyo baasikirizibwa gy’ali. Kino kyeyoleka bulungi bwe yali n’abantu, n’atuukirirwa omusajja ‘ajjudde ebigenge.’ (Lukka 5:12) Mu biseera bya Baibuli, abagenge baayawulibwanga ku balala baleme okubasiiga obulwadde. (Okubala 5:1-4) Kyokka, ekiseera bwe kyayitawo, balabbi baatumbula endowooza ekwata ku bagenge etaali ya busaasizi era ne bassaawo amateeka agaabanyigiriza. * Naye, weetegereze Yesu kye yakolera omugenge: “Omugenge n’ajja gy’ali, ng’amwegayirira ng’amufukaamirira, ng’amugamba nti Bw’oyagala, oyinza okunnongoosa. N’amusaasira n’agolola omukono gwe n’amukwatako n’amugamba nti Njagala; longooka. Amangu ago ebigenge bye ne bimuwonako n’alongooka.” (Makko 1:40-42) Yesu yali akimanyi nti kyali kimenya amateeka omugenge okubeera awo mu bantu abalala. Kyokka, mu kifo ky’okumugobaganya, yamukwatirwa ekisa era n’akola ekintu ekitalowoozeka. Yamukwatako!

12 Oyinza okuteeberezamu engeri omugenge gye yawuliramu bwe yakwatibwako? Lowooza ku kyokulabirako kino. Dr. Paul Brand, omukugu ku bulwadde bw’ebigenge, ayogera bw’ati ku mugenge gwe yajjanjaba mu India. Mu kumukebera, yateeka omukono gwe ku bibegabega by’omugenge n’amunnyonnyola okuyitira mu mutaputa, obujjanjabi omusajja oyo bwe yalina okufuna. Omugenge yatandika okukaaba. Omusawo yabuuza nti “Nnina kye njogedde ekimunyiiziza?” Omutaputa yabuuza omusajja mu lulimi lwe era n’addamu nti: “Nedda, musawo. Agamba nti akaaba lwa kuba otadde omukono gwo ku bibegabega bye. Okutuusa lw’azze wano, tewali n’omu yali amukutteko okumala emyaka mingi.” Eri omugenge eyajja eri Yesu, okumukwatako kyalina n’amakulu agasingawo. Oluvannyuma lw’okumukwatako, endwadde eyali emuleetedde okuboolebwa yawona!

13, 14. (a) Yesu yasanga baani bwe yali anaatera okutuuka mu kibuga ky’e Nayini, era lwaki embeera eyo yali ya nnaku nnyo? (b) Olw’obusaasizi, Yesu yakolera ki nnamwandu w’e Nayini?

13 Yakendeeza ennaku y’abalala. Yesu yakwatibwako nnyo olw’ennaku y’abalala. Ng’ekyokulabirako, lowooza ku biri mu Lukka 7:11-15. Ebyo byaliwo bwe yali mu buweereza bwe ng’ayolekera ekibuga Nayini eky’omu Ggaliraaya. Yesu bwe yali anaatera okutuuka ku wankaaki w’ekibuga, yasanga abaali bagenda okuziika. Embeera yali ya nnaku nnyo. Omwana nnamwandu gwe yalina yekka yali afudde. Kyandiba ng’emabegako yali mu mbeera y’emu ng’agenda okuziika bbaawe. Ku luno yali agenda kuziika mutabani we, oboolyawo nga ye yali amuyimirizzaawo. Ebibiina by’abantu ebyali bimuwerekerako biyinza okuba nga byalimu abakungubazi abakuba ebiwoobe n’abayimba ennyimba ez’okukungubaga. (Yeremiya 9:17, 18; Matayo 9:23) Kyokka, Yesu yeekaliriza maama eyali mu nnaku ennyingi, era n’asemberera akatanda akaaliko omulambo gwa mutabani we.

14 Yesu ‘yasaasira’ maama eyali akungubaga. Mu ddoboozi erizzaamu amaanyi yamugamba: “Tokaaba.” Yabasemberera era n’akwata ku katanda. Abaali bakasitudde, oboolyawo n’ekibiina kyonna, baayimirira. N’eddoboozi ery’amaanyi, Yesu yagamba: “Omulenzi, nkugamba nti Golokoka.” Kiki ekyaddirira? “Eyali afudde n’agolokoka, n’atuula n’atanula okwogera” nga gy’obeera azuukusiddwa mu tulo! Ebigambo ebiddirira byali bizzaamu nnyo amaanyi: “N’amuwa nnyina.”

15. (a) Baibuli by’eyogera ku Yesu okusaasira abalala biraga kakwate ki akali wakati w‘obusaasizi n’ebikolwa? (b) Tuyinza tutya okukoppa Yesu mu nsonga eno?

15 Kiki kye tuyiga okuva ku bino ebyaliwo? Mu buli mbeera, weetegereze akakwate akaliwo wakati w’obusaasizi n’ebikolwa. Yesu yalaba ennaku y’abalala n’abasaasira, era bwe yabasaasira yabaako ky’akolawo. Tuyinza tutya okukoppa ekyokulabirako kye? Ng’Abakristaayo, tulina obuvunaanyizibwa okubuulira amawulire amalungi n’okufuula abayigirizwa. Okusingira ddala tukubirizibwa okwagala kwe tulina eri Katonda. Era tukijjukire nti omulimu guno gwa busaasizi. Bwe tulumirirwa abantu nga Yesu, omutima gwaffe gujja kutukubiriza okukola kyonna kye tusobola okubabuulira amawulire amalungi. (Matayo 22:37-39) Kiri kitya ku kusaasira bakkiriza bannaffe ababonaabona era abakungubaga? Tetuyinza kuggyawo kubonaabona oba okuzuukiza abafu. Kyokka, tuyinza okusaasira abalala nga tubaako ne kye tukola okubayamba.​—Abaefeso 4:32.

“Kitange, Basonyiwe”

16. Yesu yalaga atya nti yali mwetegefu okusonyiwa ne bwe yali ku muti gwe yakomererwako?

16 Yesu yayoleka bulungi okwagala kwa Kitaawe mu ngeri endala enkulu​—yali ‘mwetegefu okusonyiwa.’ (Zabbuli 86:5) Kino kyeyoleka bwe yali ku muti gwe yakomererwako. Bwe yali ku muti ogwo mu bulumi obw’amaanyi ennyo, yayogera ku ki? Yasaba Yakuwa okubonereza abaamukomerera? Teyakola bw’atyo, wabula yagamba: “Kitange, basonyiwe; kubanga tebamanyi kye bakola.”​—Lukka 23:34. *

17-19. Yesu yakiraga atya nti yali asonyiye omutume Peetero olw’okumwegaana emirundi esatu?

17 Oboolyawo ekyokulabirako ekirungi ennyo ekyoleka engeri Yesu gy’asonyiwamu kirabibwa mu ngeri gye yayisaamu omutume Peetero. Awatali kubuusabuusa Peetero yali ayagala nnyo Yesu. Nga Nisaani 14, ekiro ekyasembayo Yesu alyoke attibwe, Peetero yamugamba: “Mukama wange, nneeteeseteese okugenda naawe mu kkomera ne mu kufa.” Kyokka, oluvannyuma lw’ekiseera kitono, Peetero yali amaze okwegaana Yesu emirundi esatu! Baibuli etutegeeza ekyaliwo Peetero bwe yeegaana Yesu omulundi ogw’okusatu: “Mukama waffe n’akyuka n’atunuulira Peetero.” Olw’ekibi ekyo eky’amaanyi kye yakola, Peetero ‘yafuluma ebweru n’akaaba nnyo amaziga.’ Yesu bwe yamala okufa, omutume oyo ayinza okuba yeebuuza, ‘Mukama wange yansonyiwa?’​—Lukka 22:33, 61, 62.

18 Peetero teyalinda kiseera kiwanvu okufuna eky’okuddamu. Yesu yazuukizibwa nga Nisaani 16, era ku lunaku olwo, Yesu kennyini yakyalira Peetero. (Lukka 24:34; 1 Abakkolinso 15:4-8) Lwaki Yesu yafaayo nnyo ku mutume eyamwegaana ne ssekwegaana yenna? Yesu ayinza okuba nga yali ayagala okukakasa Peetero eyali yeenenyezza nti yali akyamwagala era ng’amutwala nga wa muwendo. Kyokka, Yesu yakola ekisingawo ku kukakasa obukakasa Peetero nti akyamwagala.

19 Oluvannyumako, Yesu yalabikira abayigirizwa ku Nnyanja y’e Ggaliraaya. Ku mulundi guno, emirundi esatu, Yesu yabuuza Peetero (eyali amwegaanye emirundi esatu) obanga ddala yali amwagala. Oluvannyuma lw’omulundi ogw’okusatu, Peetero yaddamu: “Mukama wange, ggwe omanyi byonna; ggwe otegeera nga nkwagala.” Kya lwatu nti Yesu eyali asobola okusoma emitima, yali amanyi bulungi nti Peetero amwagala. Kyokka, Yesu yawa Peetero omukisa okwoleka okwagala kwe. Okugatta ku ekyo, Yesu yawa Peetero omulimu ‘ogw’okuliisa’ era ‘n’okulundanga endiga’ ze. (Yokaana 21:15-17) Emabegako, Peetero yali aweereddwa omulimu gw’okubuulira. (Lukka 5:10) Naye kati, ng’alaga nti amulinamu obwesige, Yesu yamuwa obuvunaanyizibwa obulala obw’amaanyi​—okulabirira abo abandifuuse abagoberezi ba Kristo. Ekiseera kitono oluvannyuma lw’ekyo, Yesu yawa Peetero ekifo ekikulu mu mulimu gw’okufuula abayigirizwa. (Ebikolwa 2:1-41) Nga Peetero ateekwa okuba yafuna obuweerero bwe yamanya nti Yesu amusonyiye era ng’akyamulinamu n’obwesige!

‘Otegeera Okwagala kwa Kristo’?

20, 21. Tuyinza tutya ‘okutegeera okwagala kwa Kristo’ mu bujjuvu?

20 Mazima ddala, Ekigambo kya Yakuwa kinnyonnyola bulungi nnyo okwagala kwa Kristo. Kyokka, twandikwatiddwako tutya okwagala kwa Yesu? Baibuli etukubiriza ‘okutegeera okwagala kwa Kristo okusinga okumanya kwonna.’ (Abaefeso 3:19) Nga bwe twalabye, Enjiri bye zoogera ku bulamu bwa Yesu n’obuweereza bwe, bituyigiriza bingi ku kwagala kwa Kristo. Kyokka, ‘okutegeera okwagala kwa Kristo’ mu bujjuvu kisingawo ku kuyiga obuyizi Baibuli by’emwogerako.

21 Ekigambo ky’Oluyonaani ekivvuunulwa ‘okutegeera’ kitegeeza okumanya ‘okuyitira mu bikutuuseeko.’ Bwe twoleka okwagala nga Yesu, nga tuyamba abalala, nga tukola ku byetaago byabwe, era nga tubasonyiwa okuva ku mutima, olwo nno tuyinza okutegeera enneewulira ye. Mu ngeri eyo, okuva ku bitutuuseeko ‘tutegeera okwagala kwa Kristo okusinga okumanya kwonna.’ Era tuleme kwerabira nti gye tukoma okubeera nga Kristo, gye tukoma okubeera n’enkolagana ennungi n’oyo Yesu gwe yakoppa, Katonda waffe ow’okwagala, Yakuwa.

^ lup. 11 Amateeka ga balabbi gaali gaagamba nti ebbanga omuntu lye yandisemberedde omugenge teryandisse wansi wa ffuuti mukaaga. Naye singa empewo yali ekunta, ebbanga abantu lye bandisemberedde omugenge teryandisse wansi wa ffuuti 150. Ekitabo Midrash Rabbah kyogera ku labbi eyeekwekanga abagenge n’omulala eyabakasukiranga amayinja okubagoba. N’olwekyo, abagenge baali bamanyi bulungi nnyo obulumi bw’okuboolebwa, okunyoomebwa n’okukyayibwa.

^ lup. 16 Ekitundu ekisooka ekya Lukka 23:34 tekisangibwa mu biwandiiko ebimu eby’edda. Kyokka, olw’okuba ebigambo ebyo bisangibwa mu biwandiiko ebirala ebyesigika bingi, byateekebwa mu New World Translation n’enkyusa endala nnyingi. Kya lwatu, Yesu yali ategeeza abaserikale Abaruumi abaamukomerera. Baali tebamanyi kye bakola kubanga baali tebamanyi Yesu kye yali. Kya lwatu, abakulembeze b’eddiini abaakola olukwe olw’okumutta be baali basinga okuvunaanyizibwa, kubanga baakikola mu bugenderevu era na ttima. Bangi ku bo baali tebasobola kusonyiyibwa.​—Yokaana 11:45-53.