Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 31

“Funa Enkolagana Ennungi ne Katonda, Naye Anaabeera Mukwano Gwo”

“Funa Enkolagana Ennungi ne Katonda, Naye Anaabeera Mukwano Gwo”

1-3. (a) Kiki kye tuyinza okuyigira ku bantu bwe twekkaanya engeri abazadde gye bakolaganamu n’abaana baabwe? (b) Kiki ekibaawo singa omuntu atulaga okwagala, era kibuuzo ki ekikulu kye tuyinza okwebuuza?

ABAZADDE basanyuka okulaba omwana waabwe omuwere ng’amwenyamwenya. Batera okusembeza omutwe gwabwe okumpi n’ogw’omwana waabwe, ne boogera gy’ali mu ddoboozi eggonvu, ng’eno bwe bamwenya. Baba baagala okulaba omwana waabwe ky’anaakola. Mu kaseera katono, omwana waabwe atandika okumwenyamwenya. Akamwenyumwenyu ako kaba kalaga omukwano, entandikwa y’omwana okulaga bazadde be okwagala ng’ayanukula okwagala kwabwe.

2 Akamwenyumwenyu k’omwana katujjukiza ekintu ekikulu mu bantu. Bwe tulagibwa okwagala naffe tulaga okwagala. Eyo ye ngeri gye twakolebwamu. (Zabbuli 22:9) Bwe tugenda tukula, tweyongera okulaga okwagala abo abatulaga okwagala. Oboolyawo ojjukira mu buto bwo engeri bazadde bo, ab’eŋŋanda oba mikwano gyo gye baakulagamu okwagala. Wafuna okwagala mu mutima gwo, ne kukula era ne kukuleetera okubaako ne ky’okolawo. Naawe wabalaga okwagala. Bwe kityo bwe kiri ku nkolagana yo ne Yakuwa Katonda?

3 Baibuli egamba: “Ffe twagala, kubanga ye yasooka okutwagala.” (1 Yokaana 4:19) Mu Kitundu 1 okutuuka ku 3 mu kitabo kino, wajjukizibwa nti Yakuwa Katonda alaze amaanyi ge, obwenkanya bwe, n’amagezi ge mu ngeri ey’okwagala ne kikuviiramu okuganyulwa. Mu Kitundu 4, walaba nti alaze abantu okwagala, era naawe kinnoomu, mu ngeri ez’enjawulo. Kati wajjawo ekibuuzo. Mu ngeri emu, kye kibuuzo ekisingayo obukulu ky’oyinza okwebuuza: ‘Nnyinza ntya okusiima okwagala kwa Yakuwa?’

Kye Kitegeeza Okwagala Katonda

4. Abantu babuzaabuziddwa batya ku kye kitegeeza okwagala Katonda?

4 Yakuwa, Ensibuko y’okwagala amanyi bulungi nti okwagala kuyinza okuleetera abalala okwoleka engeri ennungi. N’olwekyo, wadde ng’abantu abatali beesigwa beeyongedde okujeema, mukakafu nti abantu abamu bajja kusiima okwagala kwe. Mu butuufu, obukadde n’obukadde bw’abantu bakoze bwe batyo. Kyokka, eky’ennaku, amadiini g’ensi eno ennyonoonefu gabuzaabuzizza abantu ku bikwata ku kwagala Katonda. Abantu bangi nnyo bagamba nti baagala Katonda, naye kirabika balowooza nti okwagala ng’okwo kulagibwa mu bigambo mwokka. Okwagala Katonda kuyinza okutandika bwe kutyo, ng’okwagala omwana kwalaga bazadde be bwe kuyinza okusooka okweyoleka ng’amwenyamwenya. Kyokka, eri abantu abakulu, okwagala kuzingiramu ebintu bingi.

5. Baibuli ennyonnyola etya okwagala Katonda, era lwaki ennyinnyonnyola eyo yanditusikirizza?

5 Yakuwa annyonnyola kye kitegeeza okumwagala. Ekigambo kye kigamba: “Kuno kwe kwagala kwa Katonda ffe okukwatanga ebiragiro bye.” N’olwekyo, okwagala Katonda kuteekwa okulagibwa mu bikolwa. Kyo kituufu nti, bangi obuwulize tebubasikiriza. Naye olunyiriri lwe lumu lugattako ebigambo bino: “Era ebiragiro [bya Katonda] tebizitowa.” (1 Yokaana 5:3) Amateeka ga Yakuwa n’emisingi gye byateekebwawo okutuganyula, so si okutunyigiriza. (Isaaya 48:17, 18) Ekigambo kya Katonda kirimu emisingi mingi egituyamba okubeera n’enkolagana ennungi naye. Mu ngeri ki? Ka twetegereze engeri ssatu ezikwata ku nkolagana gye tulina ne Katonda. Zizingiramu empuliziganya, okusinza, n’okumukoppa.

Empuliziganya ne Yakuwa

6-8. (a) Tuyinza tutya okuwuliriza Yakuwa? (b) Tuyinza tutya okufuula Ebyawandiikibwa okuba ebiramu nga tubisoma?

6 Essuula esooka yaggulawo ng’egamba, ‘Kuba ekifaananyi ng’onyumya ne Katonda!’ Twalaba nti ekyo tekiteeberezebwa buteeberezebwa. Mu butuufu, Musa yanyumya ne Katonda mu ngeri eyo. Naye ate ffe? Mu kiseera kyaffe Yakuwa tatuma bamalayika kwogera na bantu. Kyokka, leero Yakuwa alina engeri ennungi gy’ayitiramu okwogera naffe. Tuyinza tutya okuwuliriza Yakuwa?

7 Olw’okuba ‘buli kyawandiikibwa kyaluŋŋamizibwa Katonda,’ tuwuliriza Katonda nga tusoma Ekigambo kye, Baibuli. (2 Timoseewo 3:16) N’olw’ensonga eyo, omuwandiisi wa Zabbuli yakubiriza abaweereza ba Yakuwa okusomanga Ekigambo ekyo “emisana n’ekiro.” (Zabbuli 1:1, 2) Okukola ekyo kitwetaagisa okufuba ennyo. Kyokka, okufuba okw’ekika ng’ekyo kuganyula. Nga bwe twalaba mu Ssuula 18, Baibuli eringa ebbaluwa ey’omuwendo Kitaffe ow’omu ggulu gy’atuwandiikidde. N’olwekyo, okugisoma tegwandibadde mugugu. Tuteekwa okufuula Ebyawandiikibwa okuba ebiramu nga tubisoma. Ekyo tuyinza kukikola tutya?

8 Kuba ekifaananyi ku ebyo by’osoma. B’osomako mu Baibuli batwale ng’abantu aba ddala. Gezaako okutegeera embeera zaabwe n’ebiruubirirwa byabwe. Era lowooza nnyo ku by’osoma, nga weebuuza ebibuuzo nga: ‘Bino bye nsoma binjigiriza ki ku Yakuwa? Engeri ze ezeeyolese mu bye nsomye ze ziruwa? Misingi ki Yakuwa gy’ayagala njige, era nnyinza ntya okugikozesa mu bulamu bwange?’ Soma, fumiitiriza era ssa mu nkola by’osoma. Bw’onookola bw’otyo, Ekigambo kya Katonda kijja kufuuka kiramu gy’oli.​—Zabbuli 77:12; Yakobo 1:23-25.

9. ‘Omuddu omwesigwa era ow’amagezi’ y’ani, era lwaki kikulu okuwuliriza ‘omuddu’ oyo n’obwegendereza?

9 Yakuwa era ayogera naffe okuyitira mu ‘muddu omwesigwa era ow’amagezi.’ Nga Yesu bwe yalagula, abasajja abatonotono abaafukibwako amafuta baweereddwa obuvunaanyizibwa obw’okugaba ‘emmere ey’eby’omwoyo mu kiseera kyayo’ mu nnaku zino enzibu, ez’enkomerero. (Matayo 24:45-47) Bwe tusoma ebitabo ebituyamba okufuna okumanya okutuufu okuva mu Baibuli, era bwe tubaawo mu nkuŋŋaana z’ekibiina n’enkuŋŋaana ennene, tuba tuliisibwa omuddu oyo. Olw’okuba omuddu wa Kristo, kiba kya magezi okugoberera ebigambo bya Yesu bino: “Musseeyo omwoyo ku ngeri gye muwuliriza.” (Lukka 8:18, NW) Tuwuliriza n’obwegendereza kubanga tumanyi nti Yakuwa ayogera naffe okuyitira mu muddu omwesigwa.

10-12. (a) Lwaki okusaba kirabo kya kitalo okuva eri Yakuwa? (b) Tuyinza tutya okusaba mu ngeri esanyusa Yakuwa, era lwaki tuli bakakafu nti okusaba kwaffe akutwala nga kwa muwendo?

10 Naye kiri kitya ku kwogera ne Katonda? Tuyinza okwogera ne Yakuwa? Ekyo kirowoozo ekiwuniikiriza. Singa wali wa kugezaako okutuukirira omukulembeze w’eggwanga lyo omutegeeze ku bizibu byo, wandibadde na mukisa ki okwogera naye? Mu mbeera ezimu, n’okugezaako okumutuukirira kiyinza okuba eky’akabi! Mu kiseera kya Eseza ne Moluddekaayi, omuntu yali ayinza okuttibwa olw’okugezaako okutuukirira Kabaka wa Buperusi awatali lukusa. (Eseza 4:10, 11) Kati kiteeberezeemu okugenda mu maaso g’Omufuzi w’Obutonde Bwonna, nga n’abafuzi abasingayo okuba ab’amaanyi balinga “amayanzi” ng’obageraageranyizza naye. (Isaaya 40:22) Twanditidde okumutuukirira? N’akatono!

11 Yakuwa ataddewo enkola ennyangu ey’okumutuukiriramu​—okusaba. N’omwana omuto ayinza okusaba Yakuwa, okuyitira mu linnya lya Yesu. (Yokaana 14:6; Abaebbulaniya 11:6) Era, okusaba kutusobozesa okumumanyisa byonna ebituli ku mutima, wadde ebyo ebitulumya ennyo era ebituzibuwalira okwogera. (Abaruumi 8:26) Tekiganyula n’akamu okugezaako okuwuniikiriza Yakuwa nga twogera ebigambo ebingi, oba eby’amaanyi nga tusaba. (Matayo 6:7, 8) Ku luuyi olulala, Yakuwa tateeka kkomo ku kiseera kye tumala nga twogera naye oba emirundi gye twogera naye. Ekigambo kye kitukubiriza ‘okusabanga obutayosa.’​—1 Abasessaloniika 5:17.

12 Jjukira nti Yakuwa yekka y’ayitibwa ‘Awulira okusaba,’ era awuliriza ddala. (Zabbuli 65:2) Awuliriza buwuliriza essaala z’abaweereza be abeesigwa kyokka? Nedda, mu butuufu asanyukira essaala zaabwe. Ekigambo kye kigeraageranya essaala ng’ezo ku bubaane obuvaamu akaloosa akambuka waggulu nga bwokeddwa. (Zabbuli 141:2; Okubikkulirwa 5:8; 8:4) Tekizzaamu amaanyi okumanya nti essaala zaffe, mu ngeri y’emu, zambuka waggulu era zisanyusa Mukama Afuga Byonna? N’olwekyo, bw’oba oyagala okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, musabenga buli lunaku. Mweyabize; totya kumutegeeza byonna. (Zabbuli 62:8) Ebikweraliikiriza, ebikusanyusa, n’ebikwagazisa okumwebaza n’okumutendereza bitegeeze Kitaawo ow’omu ggulu. N’ekinaavaamu, enkolagana yo naye ejja kweyongera okunywera.

Okusinza Yakuwa

13, 14. Kitegeeza ki okusinza Yakuwa, era lwaki kisaanira okumusinza?

13 Bwe twogera ne Yakuwa Katonda, tuba tetuwuliriza buwuliriza oba okwogera naye nga bwe twandyogedde ne mukwano gwaffe oba ow’eŋŋanda. Tuba tusinza Yakuwa, nga tumuwa ekitiibwa ekimugwanidde. Okusinza okw’amazima kwe kufuga obulamu bwaffe bwonna. Okusinza okwo ye ngeri gye tulagamu nti twagala era twemalidde ku Yakuwa n’omutima gwaffe gwonna, era kugatta wamu ebitonde bya Yakuwa byonna ebyesigwa ka kibe ku nsi oba mu ggulu. Mu kwolesebwa, omutume Yokaana yawulira malayika ng’alangirira ekiragiro kino: “Mumusinze eyakola eggulu n’ensi n’ennyanja n’ensulo z’amazzi.”​—Okubikkulirwa 14:7.

14 Lwaki twandisinzizza Yakuwa? Lowooza ku ngeri ze twogeddeko mu kitabo kino, gamba nga obutukuvu, amaanyi, okwefuga, obwenkanya, obuvumu, obusaasizi, amagezi, obwetoowaze, okwagala, ekisa, obwesigwa n’obulungi. Tulabye nti Yakuwa ayoleka buli ngeri yonna ey’omuwendo ku kigero ekisingirayo ddala okuba ekya waggulu. Bwe tutegeera engeri ze zonna awamu, tumanya nti si muntu wa kitalo asiimibwa kyokka, wabula wa kitiibwa nnyo era atusingira wala nnyo. (Isaaya 55:9) Awatali kubuusabuusa, Yakuwa y’agwanidde okuba Omufuzi waffe, era mazima ddala kisaanira ffe okumusinza. Kyokka, twandisinzizza tutya Yakuwa?

15. Tuyinza tutya okusinza Yakuwa ‘mu mwoyo n’amazima,’ era enkuŋŋaana z’Ekikristaayo zituwa mukisa ki?

15 Yesu yagamba: “Katonda gwe Mwoyo: n’abo abamusinza kibagwanira okusinzizanga mu mwoyo n’amazima.” (Yokaana 4:24) Ekyo kitegeeza okusinza Yakuwa n’omutima ogujjudde okukkiriza n’okwagala, era ogukulemberwa omwoyo gwe. Era kitegeeza okumusinza mu mazima, nga tutuukana n’okumanya okutuufu okusangibwa mu Kigambo kya Katonda. Tulina enkizo ya maanyi nnyo okusinza Yakuwa ‘mu mwoyo n’amazima’ buli lwe tukuŋŋaana awamu ne basinza bannaffe. (Abaebbulaniya 10:24, 25) Bwe tuyimba nga tutendereza Yakuwa, ne tusaba nga tuli wamu, ne tuwuliriza era ne tukubaganya ebirowoozo ku Kigambo kye, tumulaga okwagala mu kusinza okulongoofu.

Enkuŋŋaana z’Ekikristaayo mikolo egy’essanyu omw’okusinziza Yakuwa

16. Ekimu ku biragiro ekisingayo obukulu ekyaweebwa Abakristaayo ab’amazima kye kiruwa, era lwaki tulina okukigondera?

16 Era, tuba tusinza Yakuwa bwe tumwogerako eri abalala, nga tumutendereza mu lujjudde. (Abaebbulaniya 13:15) Mazima ddala, okubuulira amawulire amalungi ag’Obwakabaka bwa Yakuwa lye limu ku tteeka erisingayo obukulu eryaweebwa Abakristaayo ab’amazima. (Matayo 24:14) Tugondera etteeka eryo kyeyagalire kubanga twagala Yakuwa. Bwe tulowooza ku ngeri ‘katonda ow’emirembe gino,’ Setaani Omulyolyomi, ‘gy’azibyemu amaaso g’abatakkiriza,’ ng’ayogera eby’obulimba ku Yakuwa, tuba tetwagala kubeera Bajulirwa ba Katonda, tulage nti Setaani byayogera bya bulimba? (2 Abakkolinso 4:4; Isaaya 43:10-12) Era bwe tulowooza ku ngeri za Yakuwa ez’ekitalo, muli munda tuba tetwagala kubuulira balala bimukwatako? Mazima ddala, tewali nkizo esinga okuyamba abalala okumanya n’okwagala Kitaffe ow’omu ggulu nga ffe bwe tumumanyi.

17. Okusinza Yakuwa kuzingiramu ki, era lwaki twandisinzizza Yakuwa mu bwesimbu?

17 Okusinza Yakuwa kuzingiramu n’ebisingawo. Kukwata ku bulamu bwaffe bwonna. (Abakkolosaayi 3:23) Bwe tuba nga ddala tukkiriza Yakuwa okuba Omufuzi waffe, tujja kufuba okukola by’ayagala mu maka gaffe, ku mirimu, mu ngeri gye tuyisaamu abalala ne mu biseera byaffe eby’eddembe. Tujja kufuba okuweereza Yakuwa ‘n’omutima ogutuukiridde,’ mu bwesimbu. (1 Ebyomumirembe 28:9) Bwe tumusinza mu ngeri eyo, tetujja kutambulira mu bulamu bwa mirundi ebiri, nga tulabika ng’abaweereza Yakuwa, kyokka nga ate tukola ebibi eby’amaanyi mu kyama. Bwe tubeera abeesimbu tetuyinza kubeera bannanfuusi; okwagala kutuleetera okwesamba obunnanfuusi. Okutya Katonda nakwo kujja kutuyamba. Baibuli eraga nti waliwo akakwate wakati w’okutya ng’okwo n’enkolagana ennungi ne Yakuwa.​—Zabbuli 25:14.

Okukoppa Yakuwa

18, 19. Lwaki tugamba nti abantu abatatuukiridde bayinza okukoppa Yakuwa Katonda?

18 Buli kitundu eky’omu kitabo kino kikomekkereza n’essuula ekwata ku ngeri ‘y’okukoppamu Katonda, ng’abaana abaagalwa.’ (Abaefeso 5:1) Kikulu okujjukira nti wadde tetutuukiridde, tuyinza okukoppa engeri Yakuwa gy’akozesaamu amaanyi ge, gy’alagamu obwenkanya, gy’ayolekamu amagezi era n’engeri gy’alagamu okwagala. Tuyinza tutya okumanya nti ddala kisoboka okukoppa Omuyinza w’Ebintu Byonna? Jjukira nti amakulu g’erinnya lya Yakuwa galaga nti abeera ekyo kyonna ky’ayagala okusobola okutuukiriza ebigendererwa bye. Tuwuniikirira olw’obusobozi bwe obwo, naye ekyo kitegeeza nti tetuyinza kumukoppa? Tusobola.

19 Twakolwebwa mu kifaananyi kya Katonda. (Olubereberye 1:26) Bwe kityo, abantu baawufu ku bitonde ebirala ebiri ku nsi. Bye tukola tebyesigama ku ngeri gye twatondebwamu, biwandiiko eby’ensikirano oba embeera ezitwetoolodde byokka. Yakuwa yatuwa ekirabo eky’omuwendo, eddembe ery’okwesalirawo. Wadde nga tuliko we tukoma era nga tetutuukiridde, tulina eddembe okusalawo kye tunaabeera. Oyagala okubeera omuntu ow’okwagala, ow’amagezi, era omutuukirivu akozesa obulungi obuyinza bwe? Ng’oyambibwako omwoyo omutukuvu, oyinza okubeera omuntu bw’atyo! Lowooza ku birungi by’oyinza okukola ng’oli muntu bw’atyo.

20. Birungi ki bye tunaakola nga tukoppye Yakuwa?

20 Ojja kusanyusa omutima gwa Kitaawo ow’omu ggulu. (Engero 27:11) Oyinza ‘n’okusanyusa Yakuwa mu bujjuvu,’ kubanga amanyi obunafu bwo. (Abakkolosaayi 1:9, 10) Bw’oneeyongera okukulaakulanya engeri ennungi ng’okoppa Kitaawo omwagalwa, ojja kufuna enkizo ey’ekitalo. Mu nsi ejjudde ekizikiza era eyeeyawudde ku Katonda, ojja kwoleka ekitangaala. (Matayo 5:1, 2, 14) Ojja kuyamba okwoleka mu nsi yonna engeri za Yakuwa ez’ekitiibwa. Nga nkizo ya kitalo!

“Funa Enkolagana Ennungi ne Katonda Naye Anaabeera Mukwano Gwo”

Ka weeyongere buli kiseera okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa

21, 22. Lugendo ki olutakoma oluli mu maaso g’abo bonna abaagala Yakuwa?

21 Okubuulirira okwo okuli mu Yakobo 4:8 si kiruubirirwa buluubirirwa kye tulina okutuukako. Lugendo lwe tulina okutambula. Kasita tusigala nga tuli beesigwa, olugendo olwo terugenda kukoma. Tetugenda kulekera awo kunyweza nkolagana yaffe ne Yakuwa. Mu butuufu, buli kiseera wajja kubaawo ebirala eby’okumuyigako. Tetusaanidde kulowooza nti ekitabo kino kituyigiriza byonna bye tulina okumanya ku Yakuwa. Mu butuufu, twakatandika butandisi okumanya ebyo Baibuli by’eyogera ku Katonda waffe! Ne Baibuli yennyini tetutegeeza byonna ebiyinza okumanyibwa ku Yakuwa. Omutume Yokaana yagamba nti singa byonna Yesu bye yakola ng’ali ku nsi byateekebwa mu buwandiike, “ensi zonna tezandigiddemu bitabo ebyandiwandiikiddwa.” (Yokaana 21:25) Bwe kiba nti ebigambo ebyo bisobola okwogerwa ku Mwana, kati ate ye Kitaffe!

22 N’obulamu obutaggwaawo tebujja kutusobozesa kumanya byonna ebikwata ku Yakuwa. (Omubuulizi 3:11) Kati lowooza ku ssuubi eriri mu maaso. Oluvannyuma lw’okubeerawo ebikumi n’ebikumi, enkumi n’enkumi, obukadde n’obukadde oba obuwumbi n’obuwumbi bw’emyaka, tujja kumanya bingi nnyo ebikwata ku Yakuwa Katonda okusinga kati. Naye era wajja kubaayo ebintu ebirala bingi nnyo eby’ekitalo eby’okuyiga. Tujja kwagala okuyiga ebisingawo, kubanga buli kakedde tujja kuba n’ensonga ezituleetera okuwulira ng’omuwandiisi wa Zabbuli, eyayimba: ‘Kirungi nze okubeera n’enkolagana ennungi ne Katonda.’ (Zabbuli 73:28) Obulamu obutaggwaawo bujja kuba bwa makulu era nga bulimu ebintu ebitali bimu. Era okubeeranga n’enkolagana ennungi ne Yakuwa kye kijja okusinga okutuganyula mu bulamu obutaggwaawo.

23. Okubirizibwa kukola ki?

23 Kkiriza okwagala kwa Yakuwa ng’omwagala n’omutima gwo gwonna, emmeeme yo yonna, ebirowoozo byo byonna era n’amaanyi go gonna. (Makko 12:29, 30) Okwagala kwo ka kubeere kunywevu. Ka engeri gy’osalawo bulijjo, mu bintu ebitono n’ebinene eyoleke nti bulijjo ojja kulondawo ekkubo erikuleetera okubeera n’enkolagana ennywevu ne Kitaawo ow’omu ggulu. Okusinga byonna, weeyongerenga okubeera n’enkolagana ennungi ne Yakuwa, era naye ka yeeyongere okubeera mukwano gwo emirembe gyonna!