Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 1

Ensonga Lwaki Yesu Yali Muyigiriza Mukulu

Ensonga Lwaki Yesu Yali Muyigiriza Mukulu

EMYAKA egisoba mu nkumi bbiri emabega, omwana eyali ow’enjawulo nnyo yazaalibwa, n’akula era n’afuuka omusajja omwatiikirivu ennyo okusinga bonna abaali babaddewo. Tewali n’omu mu kiseera ekyo yalina nnyonyi oba mmotoka. Tewaaliwo ttivi, kompyuta, oba intaneeti.

Omwana oyo baamutuuma erinnya Yesu. Yafuuka omuntu asingayo okuba omugezi ku nsi. Era Yesu yafuuka omuyigiriza asingayo okuba omulungi. Yannyonnyolanga ebintu ebizibu mu ngeri ennyangu okutegeera.

Yesu yayigiririzanga abantu wonna gye yabasisinkananga. Yabayigirizanga ng’ali ku mbalama z’ennyanja ne ku maato. Yabayigiririzanga mu maka gaabwe ne bwe yabanga ali ku lugendo. Yesu teyalina mmotoka, era teyatambuliranga mu bbaasi oba mu ggaali ya mukka. Yesu yatambuzanga bigere ng’agenda ayigiriza abantu.

Waliwo ebintu bingi bye tusobola okuyigira ku bantu abalala. Naye ebintu ebisingayo okuba ebikulu tubiyigira ku Yesu, Omuyigiriza Omukulu. Mu Baibuli, mwe muli ebigambo Yesu bye yayogera. Bwe tusoma oba bwe tuwulira ebigambo ebyo ebiri mu Bayibuli, Yesu aba ng’ayogera naffe.

Kiki ekyaleetera Yesu okuba Omuyigiriza Omukulu? Ensonga emu eri nti Yesu naye yayigirizibwa. Era yali amanyi nti kikulu nnyo okuwuliriza. Naye ani Yesu gwe yawulirizanga? Ani yamuyigiriza?— Kitaawe ye yamuyigiriza. Era Kitaawe wa Yesu ye Katonda.

Yesu bwe yali nga tannajja ku nsi ng’omuntu, yali abeera mu ggulu ne Katonda. Bwe kityo, Yesu yali wa njawulo nnyo ku bantu abalala kubanga tewali muntu mulala yenna yali abaddeko mu ggulu nga tannazaalibwa ku nsi. Bwe yali mu ggulu, Yesu yali Mwana mulungi era yawulirizanga Kitaawe. N’olwekyo, Yesu yali asobola bulungi okuyigiriza abantu ebyo Katonda bye yali amuyigirizza. Bw’owuliriza taata wo ne maama wo, oba okoppa Yesu.

Ensonga endala eyaleetera Yesu okuba Omuyigiriza Omukulu kwe kuba nti yali ayagala nnyo abantu. Yali ayagala okuyamba abantu okuyiga ebikwata ku Katonda. Yesu yayagalanga abantu abakulu, naye era yayagalanga n’abaana abato. N’abaana abato baayagalanga nnyo okubeera ne Yesu kubanga yayogeranga nabo era yabawulirizanga.

Lwaki abaana baali baagala okubeera awali Yesu?

Lumu, abazadde abamu baaleeta abaana baabwe eri Yesu. Naye mikwano gye baalowooza nti Omuyigiriza Omukulu yali talina biseera kwogera n’abaana bato. Bwe kityo, baabagoba. Naye Yesu yagamba ki?— Yesu yagamba nti: “Muleke abaana abato bajje gye ndi; temubagaana.” Yee, Yesu yali ayagala abaana abato bajje gy’ali. N’olwekyo, wadde nga yali musajja mugezi nnyo era nga wa kitiibwa, yawaayo ebiseera okuyigiriza abaana abato.​—Makko 10:13, 14.

Omanyi ensonga lwaki Yesu yayigirizanga abaana abato era n’abawuliriza? Ensonga emu eri nti yali ayagala babeere basanyufu ng’ababuulira ebikwata ku Katonda, Kitaawe ow’omu ggulu. Oyinza otya okuleetera abantu essanyu?— Ng’obabuulira ebyo by’oyize ku Katonda.

Lumu, Yesu yakozesa omwana omuto ng’ayigiriza mikwano gye ekintu ekikulu. Yaddira omwana n’amuyimiriza wakati mu bayigirizwa be. Awo Yesu n’agamba nti abasajja abo abakulu baali balina okukyusa endowooza yaabwe babeere ng’omwana oyo omuto.

Kiki abaana abakuzeemu n’abantu abakulu kye bayinza okuyigira ku mwana omuto?

Kiki Yesu kye yali ategeeza bwe yayogera ebigambo ebyo? Omanyi engeri omuntu omukulu, oba omwana akuzeemu, gy’ayinza okukyusa endowooza ye n’abeera ng’omwana omuto?— Omwana omuto aba tamanyi bingi ng’omuntu omukulu era aba ayagala okuyiga. N’olwekyo, Yesu yali ategeeza nti abayigirizwa be balina okuba abawombeefu ng’abaana abato. Yee, waliwo ebintu bingi ffenna bye tusobola okuyigira ku bantu abalala. Era ffenna tusaanidde okukitegeera nti ebyo Yesu bye yayigiriza bikulu nnyo gye tuli n’okusinga endowooza ezaffe ku bwaffe.​—Matayo 18:1-5.

Ensonga endala eyaleetera Yesu okuba Omuyigiriza Omukulu eri nti yali amanyi okuyigiriza mu ngeri esikiriza. Yannyonnyolanga ebintu mu ngeri ennyangu era etegeerekeka obulungi. Yakozesanga ebyokulabirako ebikwata ku binyonyi, ku bimuli ne ku bintu ebirala ebya bulijjo okusobola okuyamba abantu okutegeera ebikwata ku Katonda.

Lumu Yesu bwe yali ku lusozi, abantu bangi bajja gy’ali. Yesu yatuula n’ayogera gye bali, nga bw’olaba wano. Okwogera okwo kuyitibwa Okubuulira okw’oku Lusozi. Yagamba nti: ‘Mutunuulire ebinyonyi by’omu bbanga. Tebisiga nsigo, era tebitereka mmere mu materekero. Naye Katonda ali mu ggulu abiriisa. Mmwe temuli ba muwendo okubisinga?’

Yesu yatuyigiriza ki bwe yayogera ku binyonyi n’ebimuli?

Era Yesu yagamba nti: ‘Muyigire ku malanga g’oku ttale. Tegakola mulimu. Naye laba bwe galabika obulungi! Ne kabaka omugagga Sulemaani teyasobola kwambala bulungi ng’amalanga ago. Bwe kiba nti Katonda alabirira ebimuli, nammwe taabalabirire?’​—Matayo 6:25-33.

Ekyo Yesu kye yali ayigiriza okitegeera?— Yali tayagala tweraliikirire kye tunaalya oba kye tunaayambala. Katonda amanyi nti twetaaga ebintu ebyo byonna. Yesu teyagamba nti tetusaanidde kukola mirimu okusobola okufuna eby’okulya n’eby’okwambala. Naye yagamba nti tusaanidde okusooka okulowooza ku Katonda. Bwe tukola bwe tutyo, Katonda ajja kutusobozesa okufuna emmere n’engoye ez’okwambala. Ekyo okikkiriza?—

Yesu bwe yamala okwogera, abantu baalowooza batya?— Bayibuli egamba nti baawuniikirira olw’engeri gye yali ayigirizaamu. Baanyumirwa nnyo okumuwuliriza. Ebyo bye yayogera byayamba abantu okukola ekituufu.​—Matayo 7:28.

N’olwekyo, kikulu nnyo okuyigira ku Yesu. Omanyi engeri gye tuyinza okumuyigirako?— Ebyo bye yayogera byawandiikibwa mu kitabo. Ekitabo ekyo okimanyi?— Ye Bayibuli. Kino kitegeeza nti tusobola okuwuliriza Yesu nga tussaayo omwoyo ku ebyo bye tusoma mu Bayibuli. Mu butuufu, waliwo ekintu ekyaliwo Bayibuli ky’eyogerako era nga we kyabeererawo Katonda kennyini yatugamba okuwuliriza Yesu. Ka tulabe ekyaliwo.

Lumu, Yesu yatwala mikwano gye basatu ku lusozi. Amannya gaabwe gaali: Yakobo, Yokaana, ne Peetero. Oluvannyumako tujja kuyiga bingi ku basajja bano, okuva bwe kiri nti bonna abasatu baali mikwano gya Yesu egy’oku lusegere. Naye nga bali waggulu eyo ku lusozi, Yesu yayakaayakana mu maaso. Era n’ebyambalo bye byayakaayakana nnyo, nga bw’olaba wano.

“Ono ye Mwana wange . . . Mumuwulire”

Oluvannyuma, Yesu n’emikwano gye baawulira eddoboozi okuva mu ggulu. Lyali ligamba nti: “Ono ye Mwana wange omwagalwa gwe nsiima; mumuwulire.” (Matayo 17:1-5) Eddoboozi eryo lyali ly’ani?— Lyali ddoboozi lya Katonda! Katonda yennyini ye yagamba nti basaanidde okuwuliriza Omwana we.

Ate ffe leero? Tunaagondera Katonda era ne tuwuliriza Omwana we, Omuyigiriza Omukulu?— Ekyo ffenna kye tulina okukola. Ojjukira engeri gye tuyinza okukikolamu?—

Yee, tusobola okuwuliriza Omwana wa Katonda nga tusoma ebyo ebiri mu Bayibuli ebikwata ku bulamu bwe. Waliwo ebintu ebirungi bingi Omuyigiriza Omukulu by’ajja okutubuulira. Ojja kunyumirwa okuyiga ebintu ebyo ebyawandiikibwa mu Bayibuli. Era kijja kukuleetera essanyu bw’onoobuulirako mikwano gyo ebintu ebirungi by’oyiga.

Okusobola okumanya ebisingawo ebikwata ku birungi ebiva mu kuwuliriza Yesu, bikkula Bayibuli yo osome Yokaana 3:16; 8:28-30; ne Ebikolwa 4:12.