Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 3

Oyo Eyakola Ebintu Byonna

Oyo Eyakola Ebintu Byonna

Ani yatonda ebintu byonna ebiramu?

WALIWO ekintu ekyewuunyisa kye mmanyi. Wandyagadde okukimanya?— Tunuulira omukono gwo. Funya engalo zo. Kati ate baako ekintu ky’olonda. Omukono gwo gusobola okukola ebintu bingi, era gusobola okubikola bulungi. Omanyi oyo eyakola emikono gyaffe?—

Y’oyo eyakola akamwa, ennyindo, n’amaaso gaffe. Ye Katonda, Kitaawe w’Omuyigiriza Omukulu. Tetuli basanyufu nti Katonda yatuwa amaaso?— Gatusobozesa okulaba ebintu bingi. Tusobola okulaba ebimuli. Tusobola okulaba omuddo ogwa kiragala n’eggulu erya bbulu. Era tusobola n’okulaba obunyonyi obuto nga buno obuli mu kifaananyi nga bulya. Mazima ddala kirungi nnyo okuba nti tusobola okulaba ebintu nga bino, si bwe kiri?—

Naye ani eyakola ebintu bino? Bantu be baabikola? Nedda. Abantu basobola okuzimba ennyumba. Naye tewali muntu asobola kukola muddo. Abantu tebasobola kukola kanyonyi kato, kimuli, oba ekintu kyonna ekiramu. Ekyo obadde okimanyi?—

Katonda ye yakola ebintu bino byonna. Katonda yakola eggulu n’ensi. Era yatonda n’abantu. Yatonda omusajja n’omukazi abaasooka. Kino Yesu, Omuyigiriza Omukulu, yakiyirigiza.—Matayo 19:4-6.

Yesu yamanya atya nti Katonda ye yatonda omusajja n’omukazi? Yesu yalaba Katonda ng’abatonda?— Yee, yamulaba. Yesu yali ne Katonda nga Katonda atonda omusajja n’omukazi. Katonda yasooka kutonda Yesu. Yesu yali malayika, era yabeeranga mu ggulu ne Kitaawe.

Bayibuli etubuulira nti Katonda yagamba nti: “Tukole omuntu.” (Olubereberye 1:26) Omanyi oyo Katonda gwe yali ayogera naye?— Yali ayogera na Mwana we. Yali ayogera n’oyo eyajja ku nsi n’afuuka Yesu.

Tolaba nga yali nkizo ya maanyi nnyo? Kirowoozeeko! Bwe tuwuliriza Yesu, tuba tuyigirizibwa oyo eyali ne Katonda nga Katonda atonda ensi n’ebintu ebirala byonna. Yesu yayiga bingi bwe yali ng’akolera wamu ne Kitaawe mu ggulu. Tekyewuunyisa nti Yesu ye Muyigiriza Omukulu!

Olowooza Katonda teyali musanyufu bwe yali yekka nga tannatonda Mwana we?— Yali musanyufu. Bwe kiba nti yali musanyufu, lwaki yatonda ebintu ebirala n’abiwa obulamu?— Kino yakikola kubanga ye Katonda ow’okwagala. Yali ayagala n’abalala banyumirwe obulamu. Tusaanidde okwebaza Katonda olw’okutuwa obulamu.

Buli kimu Katonda kye yatonda kiraga nti alina okwagala. Yatonda enjuba. Enjuba etuwa ekitangaala n’ebbugumu. Buli kimu kyandibadde kinyogovu era obulamu tebwandibaddewo ku nsi singa enjuba teyaliiwo. Toli musanyufu olw’okuba Katonda yatonda enjuba?—

Era Katonda atonnyesa enkuba. Oluusi oyinza obutayagala nkuba kubanga bw’eba etonnya, tosobola kufuluma bweru kuzannya. Naye enkuba eyamba ebimuli okukula. N’olwekyo, bwe tulaba ebimuli ebirungi, ani gwe twebaza?— Katonda. Era ani gwe tusaanidde okwebaza nga tulidde ebibala n’enva endiirwa eziwooma?— Tusaanidde kwebaza Katonda kubanga enkuba n’enjuba bye yassaawo bye bikuza ebintu ebyo.

Singa omuntu akubuuza nti, ‘Katonda ye yatonda abantu n’ebisolo?’ Oyinza kumuddamu otya?— Kiba kituufu okumuddamu nti: “Yee, Katonda ye yatonda abantu n’ebisolo.” Naye watya singa omuntu takkiriza nti Katonda ye yatonda abantu? Watya singa akugamba nti abantu baava mu bisolo? Bayibuli si bw’eyigiriza. Egamba nti Katonda ye yatonda ebintu byonna ebirina obulamu.​—Olubereberye 1:26-31.

Bwe kiba nti waliwo eyakola ennyumba, ani yakola ebimuli, emiti n’ebisolo?

Naye omuntu ayinza okukugamba nti takkiririza mu Katonda. Onoomuddamu otya?— Songa ku nnyumba omubuuze nti: “Ani yazimba ennyumba eyo?” Buli omu akimanyi nti waliwo eyagizimba. Ennyumba eyo teyeezimba yokka!—Abebbulaniya 3:4.

Oluvannyuma omuntu oyo mulage ekimuli. Mubuuze: “Ani yakikola?” Tewali muntu n’omu ku nsi eyakikola. Era ng’ennyumba bw’etajjawo yokka n’ekimuli kino tekyajjawo kyokka. Waliwo eyakikola. Katonda ye yakikola.

Gamba omuntu oyo awulirize ekinyonyi nga kiyimba. Mubuuze: “Ani yakola ebinyonyi era n’abiyigiriza okuyimba?” Katonda. Katonda ye yatonda eggulu n’ensi n’ebintu byonna ebiramu! Y’awa obulamu.

Naye omuntu ayinza okugamba nti ye akkiririza mu ekyo ky’alabako. Ayinza n’okugamba nti: ‘Siyinza kukkiriza kye siraba.’ N’olwekyo, abantu abamu bagamba nti tebakkiririza mu Katonda kubanga tebamulaba.

Kyo kituufu nti tetuyinza kulaba Katonda. Bayibuli egamba nti: ‘Tewali muntu asobola kulaba Katonda.’ Tewali musajja, mukazi, oba mwana ayinza kulaba Katonda. N’olwekyo, tewali n’omu asaanidde kukola kifaananyi kya Katonda. Era Katonda atugamba nti tetulina kukola kifaananyi kye. N’olwekyo, tekisanyusa Katonda bwe tuba n’ebintu ng’ebyo mu nnyumba zaffe.—Okuva 20:4, 5; 33:20; Yokaana 1:18.

Naye bw’oba nga tosobola kulaba Katonda, omanya otya nti ddala gy’ali? Lowooza ku kino. Osobola okulaba empewo?— Nedda. Tewali n’omu ayinza kulaba mpewo. Naye osobola okulaba ebyo empewo by’ekola. Osobola okulaba ebikoola nga byenyeenya ng’empewo efuuwa amatabi g’omuti. Awo okkiriza nti waliyo empewo.

Omanyira ku ki nti empewo efuuwa?

Osobola okulaba ebintu Katonda bye yatonda. Bw’olaba ekimuli oba ekinyonyi, oba olabye ekintu Katonda kye yatonda. Awo n’okkiriza nti ddala Katonda gy’ali.

Omuntu ayinza okukubuuza nti, ‘Ani yatonda enjuba n’ensi?’ Bayibuli egamba nti “Katonda yatonda eggulu n’ensi.” (Olubereberye 1:1) Yee, Katonda ye yatonda ebintu bino byonna ebyewuunyisa! Ggwe olowooza otya?—

Si kirungi nnyo okuba omulamu? Tusobola okuwulira ebinyonyi ebiyimba obulungi. Tusobola okulaba ebimuli n’ebintu ebirala Katonda bye yakola. Era tusobola okulya eby’okulya Katonda bye yatuwa.

Tusaanidde okwebaza Katonda olw’ebintu ebyo byonna. Okusingira ddala, tusaanidde okumwebaza olw’okutuwa obulamu. Bwe kiba nga ddala tusiima Katonda olw’ebyo byonna, tujja kubaako kye tukolawo. Kiki kye tunaakola?— Tujja kuwuliriza Katonda era tujja kukola ebyo by’atugamba okuyitira mu Bayibuli. Mu ngeri eyo, tulaga nti twagala Oyo eyatonda ebintu byonna.

Tusaanidde okusiima Katonda olw’ebyo byonna by’akoze. Tutya? Soma Zabbuli 139:14; Yokaana 4:23, 24; 1 Yokaana 5:21; ne Okubikkulirwa 4:11.