Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 4

Katonda Alina Erinnya

Katonda Alina Erinnya

KIKI ky’otera okusooka okubuuza omuntu nga waakamusisinkana?— Yee, omubuuza erinnya lye. Ffenna tulina amannya. Omuntu eyasooka okubeera ku nsi Katonda yamuwa erinnya. Yamutuuma Adamu. Mukyala wa Adamu yatuumibwa Kaawa.

Kyokka, abantu si be bokka abalina amannya. Lowooza ne ku bintu ebirala ebirina amannya. Bw’obeera n’embwa oba ne kkapa ogituuma erinnya, si bwe kiri?— Yee, kikulu nnyo okuba n’erinnya.

Bw’otunula waggulu ekiro, olaba emmunyeenye nnyingi. Olowooza zirina amannya?— Buli mmunyeenye Katonda yagituuma erinnya. Bayibuli etugamba nti: ‘Abala emmunyeenye era zonna azituuma amannya.’​—Zabbuli 147:4.

Obadde okimanyi nti emmunyeenye zonna zirina amannya?

Olowooza ani asingayo okuba ow’ekitiibwa mu butonde bwonna?— Yee, ye Katonda. Olowooza alina erinnya?— Yesu yagamba nti alirina. Lumu, Yesu bwe yali asaba Katonda, yagamba nti: ‘Mmanyisizza erinnya lyo eri abagoberezi bange.’ (Yokaana 17:26) Omanyi erinnya lya Katonda?— Katonda kennyini alitubuulira. Agamba nti: “Nze Yakuwa.” N’olwekyo, erinnya lya Katonda ye YAKUWA.​—Okuva 6:8.

Owulira otya ng’abalala bajjukidde erinnya lyo?— Osanyuka, si bwe kiri?— Yakuwa naye ayagala abantu bamanye erinnya lye. N’olwekyo, tusaanidde okukozesa erinnya Yakuwa nga twogera ku Katonda. Omuyigiriza Omukulu yakozesanga erinnya lya Katonda, Yakuwa, ng’ayogera n’abantu. Lumu Yesu yagamba nti: “Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna.”​—Makko 12:30.

Yesu yali akimanyi nti “Yakuwa” linnya kkulu nnyo. Bwe kityo, yayigiriza abagoberezi be okukozesa erinnya lya Katonda. Era yabayigiriza n’okulikozesa nga basaba. Yesu yali akimanyi nti Katonda ayagala abantu bonna bamanye erinnya lye, Yakuwa.

Edda ennyo, Katonda yalaga Musa, eyali omu ku baana ba Isiraeri, obukulu bw’erinnya lye. Abaana ba Isiraeri, baali babeera mu nsi y’e Misiri. Abantu b’omu nsi eyo baali bayitibwa Bamisiri. Baafuula Abaisiraeri abaddu era baabayisanga bubi nnyo. Musa bwe yakula, yagezaako okuyamba omu ku bantu be. Kino kyanyiiza nnyo Falaawo, kabaka w’e Misiri. Yayagala okutta Musa! N’olwekyo Musa yadduka okuva e Misiri.

Musa yagenda mu nsi endala. Ensi eyo yali y’e Midiyaani. Ng’ali eyo, Musa yawasa omukyala ne bazaala n’abaana. Era yali mulunzi wa ndiga. Lumu, Musa bwe yali alunda endiga ze okumpi n’olusozi, yalaba ekintu ekyewuunyisa. Ekisaka kyali kyaka omuliro naye nga tekiggya! Musa yakisemberera okukyetegereza.

Omanyi ekyaliwo?— Musa yawulira eddoboozi nga limuyita okuva wakati mu kisaka ekyali kyaka. Eddoboozi lyamuyita nti, “Musa! Musa!” Ani yali amuyita?— Katonda ye yali amuyita! Waaliwo emirimu mingi Katonda gye yali agenda okuwa Musa. Katonda yamugamba nti: ‘Jjangu nkutume eri Falaawo, kabaka w’e Misiri, oggyeyo abantu bange, abaana ba Isiraeri mu Misiri.’ Katonda yasuubiza okuyamba Musa okukola ekyo.

Kintu ki ekikulu Musa kye yayiga ng’ali kumpi n’ekisaka ekyali kyaka omuliro?

Naye Musa yagamba Katonda nti: ‘Bwe nnaagenda eri abaana ba Isiraeri e Misiri ne mbagamba nti, Katonda antumye gye muli, era ne bambuuza nti, “Erinnya lye y’ani?” Nnaabagamba ntya?’ Katonda yagamba Musa agambe abaana ba Isiraeri nti; ‘Yakuwa y’antumye gye muli. Yakuwa lye linnya lyange emirembe n’emirembe.’ (Okuva 3:1-15) Kino kiraga nti Katonda yali ayagala ayitibwenga Yakuwa. Katonda yali tajja kukyusa linnya eryo. Yali ayagala amanyibwe nga Yakuwa, emirembe n’emirembe.

Katonda yamanyisa atya erinnya lye ku Nnyanja Emmyufu?

Musa bwe yaddayo e Misiri, Abamisiri baali balowooza nti Yakuwa yali katonda wa Abaisiraeri. Baali tebamanyi nti Yakuwa, Katonda wa nsi yonna. N’olwekyo, Yakuwa yagamba kabaka w’e Misiri nti: ‘Ŋŋenda kumanyisa erinnya lyange mu nsi yonna.’ (Okuva 9:16) Mazima ddala, Yakuwa yamanyisa erinnya lye. Omanyi engeri gye yakikolamu?—

Yakozesa Musa okuggya Abaisiraeri e Misiri. Bwe baatuuka ku Nnyanja Emmyufu, Yakuwa yakola ekkubo mu nnyanja. Abaisiraeri baatambulira ku ttaka kkalu. Naye Falaawo n’eggye lye bwe baayita mu kkubo eryo eryali mu nnyanja, amazzi agaali gakoze ekisenge ku njuyi zombi gaababuutikira bonna ne bafa.

Mangu ddala, abantu bonna mu nsi baawulira ekyo Yakuwa kye yali akoze ku Nnyanja Emmyufu. Tumanya tutya nti baakiwulira?— Nga wayiseewo emyaka nga 40, Abaisiraeri baatuuka e Kanani, ensi Yakuwa gye yali asuubizza okubawa. Nga bali eyo, Lakabu yagamba abasajja babiri Abaisiraeri nti: ‘Twawulira engeri Yakuwa gye yakaliza Ennyanja Emmyufu mu maaso gammwe, bwe mwali muva e Misiri.’—Yoswa 2:10.

Leero, abantu bangi balinga Abamisiri abo. Tebakkiriza nti Yakuwa ye Katonda ow’ensi yonna. N’olwekyo, Yakuwa ayagala abantu be babuulire abalala ebimukwatako. Kino Yesu kye yakola. Bwe yali ng’anaatera okuttibwa, yagamba bw’ati ng’asaba Yakuwa: “Mbamanyisizza erinnya lyo.”​—Yokaana 17:26.

Yesu yamanyisa erinnya lya Katonda. Osobola okulaga abalala erinnya lya Katonda mu Bayibuli?

Oyagala okubeera nga Yesu? Bwe kiba bwe kityo, buulira abalala nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa. Ojja kukizuula nti abantu bangi tebalimanyi. Oboolyawo osobola okubalaga Zabbuli 83:18. Ka tubikkule Bayibuli tusomere wamu ekyawandiikibwa ekyo. Kigamba nti: “Balyoke bategeerenga nga ggwe wekka, erinnya lyo Yakuwa, Oli waggulu nnyo ng’ofuga ensi yonna.”

Kiki kye tuyiga mu kyawandiikibwa kino?— Yee, tuyiga nti Yakuwa lye linnya erisingayo okuba ekkulu. Lye linnya lya Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna, eyatonda ebintu byonna, era nga ye Kitaawe wa Yesu. Era jjukira nti Yesu yatugamba okwagala Yakuwa Katonda n’omutima gwaffe gwonna. Ggwe oyagala Yakuwa?—

Tuyinza tutya okulaga nti twagala Yakuwa?— Engeri emu kwe kumufuula mukwano gwaffe. Engeri endala kwe kubuulira abalala erinnya lye. Tusobola okubalaga mu Bayibuli nti erinnya lye ye Yakuwa. Era tusobola okubabuulira ebintu ebyewuunyisa Yakuwa bye yatonda n’ebintu ebirungi by’akoze. Kino kisanyusa nnyo Yakuwa kubanga ayagala abantu bamanye ebimukwatako. Naffe tusobola okuyamba abalala okumanya ebimukwatako, si bwe kiri?—

Bonna tebajja kuwuliriza nga tubabuulira ebikwata ku Yakuwa. Ne Yesu, Omuyigiriza Omukulu, bwe yayogeranga ebikwata ku Katonda, abantu bangi tebaamuwulirizanga. Naye ekyo tekyaleetera Yesu kulekera awo kwogera ku Yakuwa.

N’olwekyo ka tukoppe Yesu. Ka tweyongere okwogera ku Yakuwa. Bwe tunaakola bwe tutyo, Yakuwa Katonda ajja kutusanyukira nnyo kubanga tujja kuba tulaga nti twagala erinnya lye.

Kati musomere wamu ebyawandiikibwa ebirala ebiraga obukulu bw’erinnya lya Katonda: Isaaya 12:4, 5; Matayo 6:9; Yokaana 17:6; ne Abaruumi 10:13.