Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 14

Ensonga Lwaki Tusaanidde Okusonyiwa

Ensonga Lwaki Tusaanidde Okusonyiwa

WALIWO omuntu yenna eyali akukoze ekintu ekibi?— Yakukuba oba yakuvuma?— Naawe osaanidde okumuyisa mu ngeri y’emu nga naye bwe yakuyisa?—

Abantu bangi bwe babakola ekintu ekibi, nabo baba baagala okwesasuza. Naye Yesu yayigiriza nti tusaanidde okusonyiwa abo abatukola obubi. (Matayo 6:12) Watya singa omuntu akukola ekibi emirundi mingi? Tusaanidde kumusonyiwa mirundi emeka?—

Ekyo Peetero kye yali ayagala okumanya. N’olwekyo, lumu yabuuza Yesu nti: ‘Nnaamusonyiwanga emirundi musanvu?’ Emirundi musanvu tegimala. Yesu yagamba nti: ‘Onoomusonyiwanga emirundi nsanvu mu musanvu’ bw’anaakukolanga ekibi emirundi egyo gyonna.

Kiki Peetero kye yali ayagala okumanya ekikwata ku kusonyiwa?

Egyo mirundi mingi nnyo! Tetusobola na kujjukira bibi ebyo byonna omuntu by’aba atukoze, tusobola? Bwe kityo, Yesu kye yali atugamba nti: Tetwandisobodde kujjukira bibi byonna abalala bye baba batukoze. Singa batusaba tubasonyiwe, tusaanidde okubasonyiwa.

Yesu yali ayagala okulaga abayigirizwa be nti kikulu nnyo okusonyiwa. N’olwekyo, bwe yamala okuddamu ekibuuzo kya Peetero, yabagerera olugero. Wandyagadde okuluwulira?—

Edda ennyo, waaliwo kabaka omulungi. Yali wa kisa nnyo. Yawolanga n’abaddu be ssente bwe baabanga mu bwetaavu. Naye ekiseera kyatuuka kabaka oyo n’ayagala abaddu abo be yali abanja bamusasule ssente ze. Awo ne bamuleetera omuddu gwe yali abanja ddinaali obukadde 60. Ezo zaali ssente nnyingi nnyo!

Kiki ekyaliwo omuddu bwe yasaba kabaka amuweeyo ekiseera asobole okumusasula?

Naye omuddu oyo yali akozesezza ssente zonna ne zimuggwako era nga tasobola kusasula kabaka. N’olwekyo kabaka yalagira batunde omuddu oyo, ne mukazi we, n’abaana be, n’ebintu bye byonna. Ssente ezandivuddemu, zandibadde zisasulwa kabaka. Olowooza omuddu oyo yawulira atya?—

Yafukamira mu maaso ga kabaka n’amwegayirira ng’agamba nti: ‘Mpaayo ekiseera, nja kusasula by’ommanja byonna.’ Singa ggwe wali kabaka, omuddu oyo wandimukoledde ki?— Kabaka yakwatirwa omuddu oyo ekisa n’amusonyiwa. Yagamba omuddu oyo nti kyali tekimwetaagisa kusasula wadde eddinaali emu, ku ddinaali ezo obukadde 60. Omuddu oyo ateekwa okuba nga yasanyuka nnyo!

Naye kiki omuddu oyo kye yakola oluvannyuma? Bwe yafuluma, yasanga omuddu gwe yali abanja eddinaali ekikumi. Yamukwata mu bulago n’ayagala okumutuga ng’eno bw’amugamba nti: ‘Nsasula ddinaali ekikumi ze nkubanja!’ Ggwe olaba nga kyali kituufu omuddu oyo okukola bw’atyo ng’ate kabaka yali yaakamala okumusonyiwa ssente nnyingi nnyo?—

Omuddu yayisa atya omuddu munne ataasobola kumusasula kye yali amubanja?

Omuddu eyali abanjibwa eddinaali ekikumi yali mwavu. Yali tasobola kuzisasula mangu ago. Bwe kityo, yagwa wansi ku bigere bya muddu munne n’amwegayirira nti: ‘Mpaayo ekiseera, nja kukusasula.’ Ddala omuddu oyo yandibadde awa munne ekiseera?— Kiki ggwe kye wandikoze?—

Omuddu oyo teyali wa kisa nga kabaka. Ssente ze yali azaagalirawo. Era olw’okuba muddu munne yali tasobola kuzimusasula, yamusibisa mu kkomera. Abaddu abalala kino baakiraba era tekyabasanyusa. Baasaasira nnyo omuddu oyo eyali asibiddwa mu kkomera. N’olw’ensonga eyo, baagenda ne babuulira kabaka ekyali kibaddewo.

Kabaka naye ekyo tekyamusanyusa. Yanyiigira nnyo omuddu oyo ataasonyiwa munne. N’olwekyo yamuyita n’amugamba nti: ‘Muddu ggwe omubi, ssaakusonyiwa ebbanja lyo lyonna. Naawe kibadde tekikugwanira okusonyiwa muddu munno?’

Kiki kabaka kye yakola omuddu ataasonyiwa muddu munne?

Omuddu oyo ataasonyiwa munne yandibadde ayigira ku kabaka omulungi. Naye si bwe kyali. N’olwekyo kabaka yalagira basibe omuddu oyo mu kkomera okutuusa ng’amaze okusasula eddinaali obukadde 60. Kyokka, yali tasobola kufuna ssente ezo ng’ali mu kkomera asasule kabaka. Bwe kityo, yandibadde mu kkomera okutuusa lwe yandifudde.

Yesu bwe yamala okubuulira abagoberezi be olugero olwo, yabagamba nti: “Mu ngeri y’emu, ne Kitange ow’omu ggulu bw’alibakola mmwe buli omu bw’atasonyiwa muganda we okuva ku mutima.”​—Matayo 18:21-35.

Ffenna tusaanidde okukitegeera nti Katonda atubanja kinene nnyo. Mu butuufu, obulamu bwe tulina buva eri Katonda! N’olwekyo kye tubanja abantu abalala, kitono nnyo ku ekyo Katonda ky’atubanja. Kye tubabanja kiringa eddinaali ekikumi omuddu ze yali abanja muddu munne. Naye ekyo Katonda ky’atubanja olw’ebibi bye tukola, kiringa eddinaali obukadde 60 kabaka ze yali abanja omuddu.

Katonda wa kisa nnyo. Atusonyiwa wadde nga tukoze ebintu ebibi. Ky’atubanja olw’ebibi byaffe, takitusasuza ng’atuggyako obulamu bwaffe emirembe gyonna. Kyokka eky’okuyiga kiri nti: Katonda atusonyiwa singa naffe tusonyiwa abantu abalala abatukola obubi. Ekyo tusaanidde okukirowoozaako, si bwe kiri?—

Kiki ky’onookola singa omuntu akusaba omusonyiwe?

N’olwekyo, omuntu bw’akukola ekintu ekibi naye n’akusaba omusonyiwe, onookola ki? Onoomusonyiwa?— Watya singa addamu n’akikola emirundi mingi? Era onoomusonyiwa?—

Singa tusaba omuntu okutusonyiwa, twandyagadde omuntu oyo atusonyiwe, si bwe kiri?— N’olwekyo, naffe tusaanidde okusonyiwa nga waliwo atusabye okumusonyiwa. Tetusaanidde kugamba bugambi nti tumusonyiye, wabula tusaanidde okumusonyiyira ddala okuva ku mutima. Bwe tukola tutyo, tuba tulaga nti twagala okubeera abagoberezi b’Omuyigiriza Omukulu.

Okusobola okutegeera obukulu bw’okusonyiwa, ka tusome Engero 19:11; Matayo 6:14, 15; ne Lukka 17:3, 4.