Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 25

Abo Abakola Ebintu Ebibi Basobola Okukyuka?

Abo Abakola Ebintu Ebibi Basobola Okukyuka?

TEKYANDIBADDE kirungi nnyo singa buli omu yali akola ebintu ebirungi?— Naye tewali muntu n’omu akola ebintu ebirungi buli kiseera. Omanyi lwaki ffenna emirundi egimu tukola ebintu ebibi, wadde nga twagala okukola ebirungi?— Kubanga ffenna twazaalibwa n’ekibi. Naye abantu abamu bakola ebintu bingi ebibi ennyo. Bakyawa abantu abalala era babalumya mu bugenderevu. Olowooza basobola okukyuka ne bafuuka abantu abalungi?—

Tunuulira omusajja oyo akuuma ebyambalo by’abo abakuba Suteefano amayinja. Erinnya lye ery’Olwebbulaniya ye Sawulo ate ery’Ekiruumi ye Pawulo. Musanyufu nnyo olw’okuba Suteefano, omuyigirizwa wa Yesu Omuyigiriza Omukulu, attibwa. Ka tulabe lwaki Sawulo akola ebintu ebibi ng’ebyo.

Sawulo yali mu kibiina ky’eddiini y’Ekiyudaaya ekyali kiyitibwa eky’Abafalisaayo. Abafalisaayo baalina Ekigambo kya Katonda, naye baali bassa nnyo essira ku njigiriza z’abamu ku bakulembeze b’eddiini yaabwe. Kino kyaleetera Sawulo okukola ebintu ebibi.

Ekiseera we baakwatira Suteefano e Yerusaalemi, ne Sawulo yaliwo. Suteefano yatwalibwa mu kkooti eyalimu abalamuzi ng’abamu Bafalisaayo. Newakubadde Suteefano baamwogerako ebintu ebibi, teyatya. Yafuna obuvumu n’awa abalamuzi abo obujulirwa obukwata ku Yakuwa Katonda ne Yesu.

Naye abalamuzi abo tebaasanyukira ebyo Suteefano bye yali abagamba. Baali bamanyi bingi ebikwata ku Yesu. Mu butuufu, waali waakayita akaseera katono bukya batta Yesu! Naye oluvannyuma, Yakuwa yazzaayo Yesu mu ggulu. N’olwekyo, abalamuzi abo baatandika okuyigganya abayigirizwa ba Yesu mu kifo ky’okukyusa amakubo gaabwe.

Abalamuzi baakwata Suteefano ne bamutwala ebweru w’ekibuga. Baamukuba nnyo n’agwa wansi era ne batandika okumukuba amayinja. Era nga bw’olaba mu kifaananyi kino, Sawulo yaliwo ng’alaba ekigenda mu maaso. Yali alowooza nti kirungi okutta Suteefano.

Lwaki Sawulo yali alowooza nti kirungi okutta Suteefano?

Omanyi lwaki Sawulo yalowooza bw’atyo?— Okuva mu buto bwe Sawulo yali Mufalisaayo era ng’akkiriza nti enjigiriza z’Abafalisaayo ntuufu. Yalowooza nti baali kyakulabirako kirungi, n’olwekyo yabakoppa.​—Ebikolwa 7:54-60.

Nga Suteefano amaze okuttibwa, kiki Sawulo kye yakola?— Yayagala okusaanyaawo abayigirizwa ba Yesu bonna. Yagendanga mu mayumba gaabwe n’asikambulamu abasajja n’abakazi n’abatwala mu makomera. Bangi ku bayigirizwa baawalirizibwa okuva mu Yerusaalemi, naye tebaalekera awo kubuulira ebikwata ku Yesu.​—Ebikolwa 8:1-4.

Kino kyaviirako Sawulo okweyongera okukyawa abayigirizwa ba Yesu. N’olwekyo yagenda eri Kayaafa, Kabona Omukulu n’afuna olukusa okukwata Abakristaayo abaali mu kibuga ky’e Ddamasiko. Sawulo yali ayagala okubakwata abaleete e Yerusaalemi babonerezebwe. Naye bwe yali agenda e Ddamasiko, waabaawo ekintu ekyewuunyisa.

Ani ayogera ne Sawulo, era kiki ky’atuma Sawulo okukola?

Ekitangaala kyayaka okuva mu ggulu era eddoboozi ne ligamba nti: “Sawulo, Sawulo, lwaki onjigganya?” Yesu ye yali ayogera ng’asinziira mu ggulu! Ekitangaala kyali kya maanyi nnyo ne kiviirako Sawulo okuziba amaaso era abantu abaali naye baamutwala e Ddamasiko.

Nga wayiseewo ennaku ssatu, Yesu yalabikira Ananiya mu kwolesebwa. Ananiya yali omu ku bayigirizwa be abaali mu Ddamasiko. Yesu yagamba Ananiya agende azibule amaaso ga Sawulo era ayogere naye. Ananiya bwe yayogera naye, Sawulo yakkiriza amazima agakwata ku Yesu. Amaaso ge gaazibuka. Obulamu bwe bwakyuka, era n’afuuka omuweereza wa Katonda omwesigwa.​—Ebikolwa 9:1-22.

Kati otegedde ekyaviirako Sawulo okukola ebintu ebibi?— Kwe kuba nti yali ayigiriziddwa ebintu ebikyamu. Yagoberera ekyokulabirako ky’abantu abataali beesigwa eri Katonda. Era yali mu kibiina ky’abantu abaali bakulembeza endowooza z’abantu mu kifo ky’okukulembeza Ekigambo kya Katonda. Naye lwaki Sawulo yakyuka n’afuuka omuntu omulungi wadde ng’Abafalisaayo beeyongera okulwanyisa Katonda?— Kiri kityo kubanga Sawulo yali takyaye mazima. N’olwekyo bwe yategeezebwa ekituufu, yali mwetegefu okukikola.

Omanyi Sawulo kye yafuuka oluvannyuma?— Yee, yafuuka Pawulo, omutume wa Yesu. Era kijjukire nti Pawulo yawandiika ebitabo bingi ebiri Bayibuli okusinga abawandiisi abalala.

Waliwo abantu bangi abalinga Sawulo abasobola okukyuka. Naye ekyo si kyangu kubanga waliwo omuntu akola obutaweera okuleetera abantu okukola ebintu ebibi ennyo. Omumanyi?— Yesu yamwogerako bwe yalabikira Sawulo ng’agenda e Ddamasiko. Era Yesu yagamba Sawulo nti: ‘Nkutuma okuzibula amaaso g’abantu okubaggya mu kizikiza badde mu kitangaala, era n’okubaggya mu buyinza bwa Sitaani badde eri Katonda.’​—Ebikolwa 26:17, 18.

Yee, Sitaani Omulyolyomi y’agezaako okuleetera abantu bonna okukola ebintu ebibi. Oluusi okisanga nga kizibu nnyo okukola ekituufu?— Ffenna tukisanga nga kizibu. Sitaani akifuula kizibu nnyo gye tuli okukola ebintu ebirungi. Naye waliwo ensonga endala lwaki tekitera kuba kyangu okukola ekituufu. Ensonga eyo ogimanyi?— Kwe kuba nti ffenna twazaalibwa n’ekibi.

Ekibi ekyo kye kituleetera okukola ebintu ebibi mu kifo ky’okukola ebintu ebirungi. Kati olwo, kiki kye tulina okukola?— Tulina okufuba okukola ekituufu. Bwe tukola bwe tutyo, tuba bakakafu nti Yesu ajja kutuyamba kubanga atwagala.

Yesu bwe yali ku nsi, yalaga okwagala eri abantu abaali bakoze ebibi kyokka ne bakyuka. Yamanya nti tekyali kyangu gye bali okukyuka. Ng’ekyokulabirako, waliwo abakazi abeegattanga n’abasajja abatali bamu. Kya lwatu, kino kyali kibi. Bayibuli abakazi abo ebayita bamalaaya.

Lwaki Yesu yasonyiwa omukyala ono eyali akoze ebintu ebibi?

Lumu, omu ku bakazi abo yawulira ebikwata ku Yesu, n’ajja mu nnyumba y’omufalisaayo Yesu gye yalimu. Yafuka amafuta ku bigere bya Yesu era n’akozesa enviiri ze okusiimuula amaziga ge agaali gatonnye ku bigere bya Yesu. Yawulira ennaku nnyingi olw’ebibi bye yali akoze, era Yesu yamusonyiwa. Naye Abafalisaayo baali tebalowooza nti asaanidde okusonyiyibwa.​—Lukka 7:36-50.

Omanyi Yesu kye yagamba abamu ku Bafalisaayo?— Yabagamba nti: “Bamalaaya babakulembedde okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda.” (Matayo 21:31) Ekyo Yesu yakyogera kubanga bamalaaya baamukkiriza era ne balekayo empisa zaabwe embi. Naye Abafalisaayo beeyongera okuyisa obubi abayigirizwa ba Yesu.

N’olwekyo, bwe tusoma mu Bayibuli ne tumanya nti kye tukola kikyamu, tusaanidde okuba abeetegefu okukireka. Era bwe tuyiga ekyo Yakuwa ky’ayagala tukole, tusaanidde okuba abeetegefu okukikola. Awo Yakuwa ajja kutusanyukira era atuwe obulamu obutaggwaawo.

Okusobola okumanya ekinaatuyamba okwewala okukola ebintu ebibi, ka tusomere wamu Zabbuli 119:9-11; Engero 3:5-7; ne 12:15.