Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 27

Katonda Wo y’Ani?

Katonda Wo y’Ani?

LWAKI ekibuuzo ekyo kikulu?— Kubanga abantu basinza bakatonda bangi. (1 Abakkolinso 8:5) Omutume Pawulo bwe yafuna amaanyi okuva eri Yakuwa n’awonya omusajja eyali tatambulangako, abantu baayogerera waggulu nti: “Bakatonda bafuuse ng’abantu era basse gye tuli!” Abantu baali baagala okusinza Pawulo ne mukwano gwe Balunabba. Pawulo baamuyita Kerume ate Balunabba ne bamuyita Zewu, agaali amanya ga bakatonda ab’obulimba.

Naye Pawulo ne Balunabba tebakkiriza bantu kubasinza. Badduka ne bagenda mu kibiina ky’abantu nga bagamba nti: “Mulekere awo okukola ebintu bino ebitaliimu mudde eri Katonda omulamu.” (Ebikolwa 14:8-15) “Katonda omulamu” eyatonda ebintu byonna, y’ani?— Yee, ye Yakuwa, ‘Ali Waggulu ennyo afuga ensi yonna.’ Yesu yayita Yakuwa “Katonda omu ow’amazima.” Kati olwo, ani yekka gwe tusaanidde okusinza?— Yakuwa!​—Zabbuli 83:18; Yokaana 17:3; Okubikkulirwa 4:11.

Lwaki Pawulo ne Balunabba bagaana abantu okubavunnamira?

Abantu abasinga obungi basinza bakatonda ab’obulimba mu kifo ky’okusinza “Katonda omu ow’amazima.” Batera okusinza ebintu bye bakoze mu miti, mu mayinja, oba mu byuma. (Okuva 32:4-7; Eby’Abaleevi 26:1; Isaaya 44:14-17) Oluusi, abasajja n’abakazi abatutumufu ennyo batwalibwa nga bakatonda. Ddala kirungi okubagulumiza mu ngeri eyo?—

Sawulo bwe yafuuka omutume Pawulo, yagamba nti, ‘katonda ow’enteekateeka y’ebintu eno azibye amaaso g’okutegeera kw’abo abatakkiriza.’ (2 Abakkolinso 4:4) Olowooza katonda oyo y’ani?— Yee, ye Sitaani Omulyolyomi! Sitaani aleetedde abantu okusinza ebintu era ne bantu bannaabwe.

Sitaani bwe yagamba Yesu okuvunnama amusinze, kiki Yesu kye yamugamba?— “Yakuwa Katonda wo gw’olina okusinza, era ye yekka gw’olina okuweereza.” (Matayo 4:10) N’olwekyo, Yesu yakiraga bulungi nti Yakuwa yekka y’agwanidde okusinzibwa. Ka tusome ku bavubuka abaali bamanyi nti Yakuwa yekka y’agwanidde okusinzibwa. Baali bayitibwa Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego.

Abavubuka abo Abebbulaniya baali bantu ba Katonda ab’eggwanga lya Isiraeri era baali batwaliddwa mu buwambe e Babulooni. Nga bali eyo, Kabaka Nebukadduneeza yakola ekifaananyi ekinene ekya zzaabu. Lumu, yawa ekiragiro nti bwe muwulira eddoboozi lye bivuga, buli omu avunname asinze ekifaananyi. Yagamba nti, ‘Oyo yenna anaagaana okuvunnama n’akisinza ajja kusuulibwa mu kyokero ekibumbujja omuliro.’ Kiki kye wandikoze?—

Lwaki abasajja bano baagana okuvunnamira ekifaananyi?

Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego baakolanga ebyo kabaka bye yabalagiranga. Naye baagana okuvunnamira ekifaananyi. Omanyi lwaki?— Kubanga etteeka lya Katonda lyali ligamba nti: ‘Tobanga na bakatonda balala okuggyako nze. Teweekoleranga ekifaananyi ekyole era tokivunnamiranga.’ (Okuva 20:3-5) N’olwekyo, Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego baagondera etteeka lya Yakuwa mu kifo ky’okugondera ekiragiro kya kabaka.

Kabaka yasunguwala nnyo, n’alagira baleete abavubuka Abebbulaniya mu maaso ge. Yababuuza nti: ‘Ddala kituufu mugaanye okusinza bakatonda bange? Nja kubawa omukisa omulala. Bwe munaawulira amaloboozi g’ebivuga, muvunname musinze ekifaananyi kye nkoze. Naye bwe mutaakikole, mujja kusuulibwa mu kyokero ekibumbujja omuliro. Era katonda ki oyo asobola okubawonya mu mikono gyange?’

Kati olwo kiki abavubuka abo kye bandikoze? Ggwe wandikoze ki?— Baagamba kabaka nti: ‘Katonda waffe gwe tuweereza asobola okutuwonya. Kyokka ne bw’anaaba tatuwonyezza, tetugenda kuweereza bakatonda bo. Tetujja kusinza kifaananyi kyo ekya zzaabu.’

Kabaka yasunguwala nnyo n’alagira: ‘Bakume omuliro mu kyokero gube nga gwaka nnyo okusinga ku gwa bulijjo emirundi musanvu!’ Era yalagira abasajja be ab’amaanyi ne basiba Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego ne babasuula mu kyokero ekibumbujja omuliro! Omuliro gwali mungi nnyo mu kyokero ne kiba nti ennimi zaagwo zatta abasajja ba kabaka! Ate Abebbulaniya abasatu?

Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego baasuulibwa wakati mu muliro. Naye baasituka ne bayimirira! Tebaatuukibwako kabi konna. Era baali basumuluddwa emiguwa. Kino kyasoboka kitya?— Kabaka yatunula mu kyokero era ekyo kye yalaba kyamutiisa. Yabuuza abaweereza be nti: ‘Tetwasudde abasajja basatu mu muliro?’ Ne bamuddamu nti: ‘Yee, Ai kabaka.’

Yakuwa yawonya atya abaweereza be abaali basuuliddwa mu kyokero ekibumbujja omuliro?

Awo kabaka n’agamba nti: ‘Laba! Ndaba abantu bana nga batambulira wakati mu muliro, naye ng’omuliro tegubookya.’ Omuntu ow’okuna oyo omumanyi?— Yali malayika wa Yakuwa. Yakuuma Abebbulaniya abasatu ne batatuukibwako kabi.

Kabaka bwe yalaba ekyo, yasembera ku mulyango gw’ekyokero n’agamba nti: “Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego, mmwe abaddu ba Katonda Ali Waggulu Ennyo, mufulume mujje wano!” Bwe baafuluma, buli omu yali asobola okukiraba nti omuliro tegubookezza. Baali tebawunya na lusu lwa muliro. Awo kabaka n’agamba nti: ‘Katonda wa Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego yeebazibwe, atumye malayika we, era awonyezza abaddu be kubanga tebakkiriza kusinza katonda mulala yenna okuggyako Katonda waabwe.’—Danyeri, essuula 3.

Bifaananyi ki abantu bye basinza leero?

Waliwo kye tusobola okuyigira ku ebyo ebyaliwo. Ne leero abantu bakola ebifaananyi eby’okusinza. Ekitabo ekiyitibwa The Encyclopedia Americana kigamba nti: “Okufaananako omusalaba, ne bendera nayo ntukuvu.” Ebifaananyi bisobola okukolebwa mu miti, mu mayinja, mu byuma, oba mu ngoye. Abayigirizwa ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka baali tebasobola n’akatono okusinza omufuzi wa Rooma. Munnabyafaayo ayitibwa Daniel P. Mannix yagamba nti ekyo kyali kiyinza okugeraageranyizibwa ku “kugaana okukubira bendera saluti oba okweyama okuba omwesigwa eri ensi yo.”

Olowooza kisanyusa Katonda singa omuntu akola ekifaananyi eky’okusinza mu lugoye, mu muti, mu mayinja, oba mu kyuma?— Olowooza kiba kirungi omuweereza wa Yakuwa okusinza ekifaananyi ng’ekyo?— Saddulaaki, Mesaki, ne Abeduneego baali tebasobola kukola ekyo, era Yakuwa yabasanyukira. Oyinza otya okukoppa ekyokulabirako kyabwe?—

Abo abaweereza Yakuwa tebasobola kusinza kintu kyonna oba muntu mulala yenna. Soma ebikwata ku nsonga eno mu Yoswa 24:14, 15, 19-22; Isaaya 42:8; 1 Yokaana 5:21; ne Okubikkulirwa 19:10.