Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 29

Embaga Zonna Zisanyusa Katonda?

Embaga Zonna Zisanyusa Katonda?

Lwaki Katonda yasanyukira embaga eno?

ONYUMIRWA okubeera ku mbaga?— Zisobola okubaamu ebisanyusa bingi. Olowooza Omuyigiriza Omukulu yandyagadde tugende ku mbaga?— Lumu, yagenda n’abamu ku bayigirizwa be ku mbaga ey’obugole. Yakuwa “Katonda omusanyufu,” asanyuka bwe tubeera ku mbaga ezitatuleetera kumenya misingi gye.​—1 Timoseewo 1:11; Yokaana 2:1-11.

Ku lupapula 29 mu kitabo kino, twayiga nti Yakuwa yayawulamu Ennyanja Emmyufu Abaisiraeri ne bayitamu. Ekyo okyakijjukira?— Oluvannyuma lw’ekyo, abantu baayimba ne bazina era ne beebaza Yakuwa. Yali ng’embaga. Abantu baasanyuka nnyo, era tuli bakakafu nti ne Yakuwa yasanyuka.​—Okuva 15:1, 20, 21.

Nga wayiseewo emyaka nga 40, Abaisiraeri baagenda ku mbaga endala ennene. Ku mulundi guno, abo abaabayita ku mbaga baali tebasinza Yakuwa. Mu butuufu, abantu abaabayita baali basinza bakatonda ab’obulimba era beegattanga n’abantu abataali bannaabwe mu bufumbo. Olowooza kyali kirungi okugenda ku mbaga ng’eyo?— Ekyo Yakuwa teyakisanyukira era yabonereza Abaisiraeri.​—Okubala 25:1-9; 1 Abakkolinso 10:8.

Era Bayibuli etubuulira ebikwata ku mbaga ebbiri ez’amazaalibwa. Olowooza emu ku zo yali y’amazaalibwa g’Omuyigiriza Omukulu?— Nedda. Embaga zino zombi zaali z’amazaalibwa g’abasajja abaali bataweereza Yakuwa. Emu yali y’amazaalibwa ga Kabaka Kerode Antipa. Ye yali omufuzi w’essaza ly’e Ggaliraaya mu kiseera Yesu we yabeerera mu kitundu ekyo.

Kabaka Kerode yakola ebintu ebibi bingi. Yatwala mukazi wa muganda we. Omukazi oyo yali ayitibwa Kerodiya. Yokaana Omubatiza, omuweereza wa Katonda, yagamba Kerode nti ekyo kye yali akoze kyali kikyamu. Naye ekyo Kerode teyakisanyukira. N’olwekyo, yasiba Yokaana mu kkomera.​—Lukka 3:19, 20.

Ekiseera eky’okukuza amazaalibwa ga Kerode kyatuuka nga Yokaana ali mu kkomera. Kerode yakola embaga ennene. Yayita abantu bangi b’ebitiibwa. Bonna baalya ne banywa ne basanyuka. Muwala wa Kerodiya yajja n’abazinira. Buli omu yasanyuka nnyo era Kabaka Kerode n’ayagala okumuwa ekirabo eky’enjawulo. Yamugamba nti: “Kyonna kyonna ky’ononsaba nja kukikuwa ne bwe kinaaba kitundu kimu kya kubiri eky’obwakabaka bwange.”

Kiki omuwala oyo kye yandisabye? Yandisabye ssente? engoye ennungi? olubiri olulwe ku bubwe? Omuwala oyo yali tamanyi kya kusaba. N’olwekyo yagenda eri maama we Kerodiya n’amubuuza nti: “Nsabe ki?”

Naye Kerodiya yali yakyawa nnyo Yokaana Omubatiza. N’olwekyo yagamba muwala we asabe omutwe gwa Yokaana. Omuwala yaddayo eri kabaka n’amugamba nti: “Njagala ompe kati omutwe gwa Yokaana Omubatiza ku lusaniya.”

Kabaka Kerode yali tayagala kutta Yokaana kubanga yali akimanyi nti Yokaana musajja mulungi. Naye Kerode yali akoze ekisuubizo, era ng’atya abalala abaali ku mbaga kye bandigambye ng’akyusizza ebirowoozo bye. N’olwekyo yatuma omusajja mu kkomera n’atemako omutwe gwa Yokaana. Amangu ago omusajja n’akomawo ng’alina omutwe gwa Yokaana ku lusaniya, n’aguwa omuwala. Oluvannyuma omuwala n’aguwa maama we.​—Makko 6:17-29.

Embaga endala ey’amazaalibwa Bayibuli gy’eyogerako nayo teyali nnungi. Yali ya kabaka w’e Misiri. Ne ku mbaga eno, kabaka yalagira ne batemako omuntu omutwe. Oluvannyuma lw’ekyo, baawanika waggulu omulambo gw’omusajja oyo gusobole okuliibwa ebinyonyi! (Olubereberye 40:19-22) Olowooza Katonda yasanyukira embaga ezo ebbiri?— Wandyagadde okuzibeerako?—

Kiki ekyaliwo ku mbaga ey’amazaalibwa ga Kerode?

Tukimanyi bulungi nti buli kimu ekiri mu Bayibuli kirina ekigendererwa. Bayibuli eyogera ku mbaga z’amazaalibwa bbiri zokka. Era ku mbaga ezo zombi, ebintu ebibi byakolebwa. Kati olwo, olowooza kiki Katonda ky’atutegeeza ku bikwata ku mbaga z’amazaalibwa? Katonda ayagala tukuze amazaalibwa?—

Kyo kituufu nti leero ku mbaga ng’ezo abantu tebatemako mitwe gy’abantu. Naye eky’okukuza amazaalibwa kyatandikibwawo abantu abaali batasinza Katonda ow’amazima. Ekitabo ekiyitibwa Catholic Encyclopedia kyogera bwe kiti ku mazaalibwa agoogerwako mu Bayibuli: “Abantu ababi bokka . . . be bajaguza ku lunaku lwe baazaalirwako.” Twagala okubeera ng’abantu abo?—

Naye ate Omuyigiriza Omukulu? Yakuzanga amazaalibwa ge?— Bayibuli teyogera n’akamu ku mbaga ey’okukuza amazaalibwa ga Yesu. Mu butuufu, abagoberezi ba Yesu ab’omu kyasa ekyasooka tebaakuzanga mazaalibwa ge. Omanyi lwaki abantu oluvannyuma baasalawo okukuza amazaalibwa ga Yesu nga Ddesemba 25?—

Ekitabo ekiyitibwa The World Book Encyclopedia kigamba nti olunaku olwo lwalondebwa kubanga “abantu b’omu Rooma baali balujagulizaako Embaga ya Saturn, ey’amazaalibwa g’enjuba.” N’olwekyo, abantu baasalawo okukuza amazaalibwa ga Yesu ku lunaku abantu abatasinza Yakuwa lwe baatwalanga okuba olukulu!

Omanyi ensonga lwaki tekiyinzika kuba nti Yesu yazaalibwa mu Ddesemba?— Kubanga Bayibuli egamba nti olunaku Yesu lwe yazaalibwa, abasumba baali bakyali ku ttale ekiro. (Lukka 2:8-12) Era tebandisobodde kubeera ku ttale mu mwezi gwa Ddesemba ogubaamu enkuba ennyingi n’obunnyogovu mu kitundu ekyo.

Lwaki tekiyinzika kuba nti Yesu yazaalibwa nga Ddesemba 25?

Abantu bangi bakimanyi nti Ssekukkulu si ge mazaalibwa ga Yesu. Era bakimanyi nti ku lunaku olwo abantu abaali batasinza Katonda ow’amazima kwe baakwatiranga embaga eyali tesanyusa Katonda. Naye wadde kiri kityo, bangi bakuza Ssekukkulu. Baagala nnyo okukola obubaga okusinga okumanya engeri Katonda gy’abutwalamu. Naye twagala okusanyusa Yakuwa, si bwe kiri?—

N’olwekyo bwe tukola obubaga, tusaanidde okukakasa nti busiimibwa Yakuwa. Tusobola okubukola ekiseera kyonna mu mwaka. Tetusaanidde kulinda kubukola ku lunaku olw’enjawulo. Tusobola okubaako emmere ey’enjawulo gye tulya era ne tuzannya n’emizannyo. Ekyo wandyagadde okukikola?— Oboolyawo oyinza okwogerako ne bazadde bo ne bakuyamba okuteekateeka akabaga. Ekyo kiyinza okuba ekirungi, si bwe kiri?— Naye nga tonnaba kuteekateeka kabaga ako, kakasa nti kajja kusanyusa Katonda.

Tuyinza tutya okukakasa nti obubaga bwaffe busanyusa Katonda?

Bino bye byawandiikibwa ebirala ebiraga nti kikulu nnyo okukola ebyo ebisanyusa Katonda: Engero 12:2; Yokaana 8:29; Abaruumi 12:2; ne 1 Yokaana 3:22.