Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 31

Ani Ayinza Okutubudaabuda

Ani Ayinza Okutubudaabuda

OTERA okuwulira ennaku oba ekiwuubaalo?— Otera okwebuuza obanga ddala waliwo omuntu yenna akwagala?— Kino abaana abamu kibatuukako. Naye Katonda asuubiza nti: “Siikwerabirenga ggwe.” (Isaaya 49:15) Ekyo si kirungi okukirowoozaako?— Yee, Yakuwa Katonda atwagala nnyo!

Olowooza akaliga kano akabuze kawulira katya?

Omuwandiisi omu owa Bayibuli yagamba nti: ‘Kitange ne mmange ne bwe bandeka, Yakuwa anandabiriranga.’ (Zabbuli 27:10) Ekyo bwe tukimanya, kisobola okutubudaabuda, si bwe kiri?— Yee, Yakuwa atugamba nti: ‘Totya, kubanga nze ndi wamu naawe. Nnaakuyambanga.’​Isaaya 41:10.

Naye oluusi Yakuwa aleka Sitaani n’atuleetera ebizibu. Era Yakuwa aleka Sitaani n’agezesa abaweereza be. Lumu Omulyolyomi yaleetera Yesu okubonaabona, Yesu n’atuuka n’okugamba Yakuwa nti: ‘Katonda wange, Katonda wange, lwaki ondesse?’ (Matayo 27:46) Newakubadde Yesu yali abonaabona, yali akimanyi nti Yakuwa amwagala. (Yokaana 10:17) Naye era Yesu yali akimanyi nti Katonda aleka Sitaani n’agezesa abaweereza be era n’abaleetera okubonaabona. Mu ssuula endala, tujja kulaba ensonga lwaki Katonda akkiriza Sitaani okukola kino.

Bwe tuba tukyali bato, tutera okutya. Ng’ekyokulabirako, wali obuzeeko?— Watya nnyo?— Abaana bangi batya. Lumu, Omuyigiriza Omukulu yagera olugero olukwata ku ndiga eyabula.

Mu ngeri ezimu ofaananako endiga. Lwaki tuyinza okugamba bwe tutyo? Endiga teziba za maanyi nnyo. Era zeetaaga omuntu okuzirabirira n’okuzikuuma. Omuntu alabirira endiga ayitibwa omusumba.

Mu lugero lwe, Yesu yayogera ku musumba eyalina endiga ekikumi. Naye emu ku zo n’ebula. Eyinza okuba nga yali eyagala okulaba ekyali ku ludda olulala olw’olusozi. Naye mu kaseera katono, endiga eyo yeesanga ng’eri wala nnyo okuva ku zinnaazo. Osobola okuteeberezaamu engeri endiga eyo gye yeewuliramu bwe yalaba ng’eri yokka?—

Kiki omusumba kye yandikoze ng’ategedde nti endiga ye ebuze? Yandigambye nti endiga eyo ye eri mu nsobi n’atafaayo kuginoonya? Oba, yandirese ziri 99 mu kifo ekirimu obukuumi, n’agenda okunoonya emu ebuze? Kyali kyetaagisa okufuba okunoonya endiga emu yokka eyali ebuze?— Singa gwe wali endiga eyo eyabula, wandyagadde omusumba akunoonye?—

Ani alinga omusumba ono azudde endiga ye?

Omusumba yali ayagala nnyo endiga ze zonna nga mw’otwalidde n’eyo eyali ebuze. N’olwekyo, yagenda n’aginoonya. Teebeerezaamu essanyu endiga eyo lye yalina bwe yalaba omusumba ng’ajja! Era Yesu yagamba nti omusumba yasanyuka nnyo ng’azudde endiga ye. Yagisanyukira nnyo okusinga endiga 99 ezaali zitabuze. Kati olwo, ani alinga omusumba oyo ayogerwako mu lugero lwa Yesu? Ani atufaako ennyo ng’omusumba oyo eyafaayo ku ndiga ye?— Yesu yagamba nti Kitaawe ow’omu ggulu y’atufaako. Era Kitaawe ye Yakuwa.

Yakuwa Katonda ye Musumba Omukulu ow’abantu be. Ayagala nnyo abo bonna abamuweereza nga mw’otwalidde n’abato nga gwe. Tayagala n’omu ku ffe atuukibweko kizibu oba azikirizibwe. Mazima ddala kituzzaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Katonda atufaako nnyo!​—Matayo 18:12-14.

Yakuwa wa ddala gy’oli nga taata wo oba ng’omuntu omulala?

Ddala okkiririza mu Yakuwa Katonda?— Omutwala nga muntu wa ddala?— Kyo kituufu nti tetusobola kulaba Yakuwa. Kino kiri kityo kubanga muntu wa mwoyo. Omubiri gwe tetusobola kugulaba n’amaaso gaffe. Naye muntu wa ddala era asobola okutulaba. Amanyi lwe tuba twetaaga obuyambi. Era tusobola okwogera naye mu kusaba, nga bwe twogera n’omuntu omulala yenna ku nsi. Yakuwa ayagala twogera naye okuyitira mu kusaba.

N’olwekyo, bw’obeera omunakuwavu era ng’oli mu kiwuubaalo, kiki kye wandikoze?— Yogera ne Yakuwa. Beera kumpi naye, ajja kukubudaabuda era akuyambe. Kijjukire nti Yakuwa akwagala nnyo, ne bw’oba owulira nti oli wekka. Ka tubikkule Bayibuli tusomere wamu Zabbuli eya 23, okuva ku lunyiriri 1. Wagamba nti: ‘Yakuwa ye musumba wange. Seetaagenga. Angalamiza mu ddundiro ery’omuddo omuto; antwala awali amazzi amateefu.’

Weetegereze ekyo omuwandiisi ky’agattako mu lunyiriri 4. Agamba nti: ‘Newakubadde nga ntambulira mu kiwonvu ekikutte ekizikiza, siritya kabi konna, kubanga ggwe oli nange; oluga lwo n’omuggo gwo bye bimbudaabuda.’ Abantu bwe batyo bwe bawulira Katonda waabwe bw’aba nga ye Yakuwa. Babudaabudibwa nga bafunye ebizibu. Naawe bw’otyo bw’owulira?—

Okufaananako omusumba ow’okwagala afaayo ku kisibo kye, ne Yakuwa alabirira bulungi abantu be. Abalaga ekkubo ettuufu ery’okutambuliramu, era babeera basanyufu okumugoberera. Ne bwe kiba nti waliwo ebizibu, tekibeetaagisa kutya. Omusumba akozesa omuggo gwe okukuuma endiga ne zirema okuliibwa ensolo. Bayibuli eyogera ku ngeri omusumba omuto Dawudi gye yakuumamu endiga ze ne zirema okuliibwa empologoma oba eddubu. (1 Samwiri 17:34-36) Era abantu ba Katonda bakimanyi nti nabo Yakuwa ajja kubakuuma. Bawulira obukuumi kubanga Katonda ali nabo.

Okufaananako omusumba akuuma endiga ze, ani ayinza okutuyamba nga tuli mu buzibu?

Yakuwa ayagala nnyo endiga ze, era azirabirira bulungi. Bayibuli egamba nti: ‘Alikulembera endiga ze ng’omusumba. Alikuŋŋaanya endiga ento ne mikono gye.’​—Isaaya 40:11.

Tekikusanyusa nnyo okukimanya nti bw’atyo Yakuwa bw’ali?— Oyagala okubeera emu ku ndiga ze?— Endiga ziwuliriza eddoboozi ly’omusumba waazo. Zibeera kumpi naye. Owuliriza Yakuwa?— Obeera kumpi naye?— Bwe kiba bwe kityo, tosaanidde kutya. Yakuwa ajja kuba naawe.

Yakuwa afaayo ku abo abamuweereza. Ka tusomere wamu ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nsonga eno, mu Zabbuli 37:25; 55:22; ne Lukka 12:29-31.