Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 35

Tusobola Okuzuukira!

Tusobola Okuzuukira!

BWE tunaaba tufudde, Katonda anaatuzuukiza ne tuddamu okuba abalamu?— Omusajja omulungi Yobu yali akikkiriza nti Katonda ayagala nnyo okuzuukiza abantu. N’olwekyo, Yobu bwe yalowooza nti anaatera okufa, yagamba Katonda nti: ‘Olimpita, nange ne nkuyitaba.’ Yobu yagamba nti Yakuwa yandyesunze, oba yandyagadde nnyo okumuzuukiza.​—Yobu 14:14, 15.

Yesu alinga Kitaawe, Yakuwa Katonda. Yesu ayagala okutuyamba. Omusajja omulwadde w’ebigenge bwe yamugamba nti, “bw’oba oyagala, osobola okunnongoosa,” Yesu yamuddamu nti: “Njagala.” Era Yesu yawonya omusajja oyo omugenge.​—Makko 1:40-42.

Yakuwa yakiraga atya nti ayagala abaana abato?

Yesu yayigira ku Kitaawe okwagala abaana abato. Edda ennyo, emirundi ebiri, Yakuwa yakozesa abaweereza be okuzuukiza abaana abato. Eriya yeegayirira Yakuwa okuzuukiza mutabani w’omukazi eyali amusembeza ewuwe. Era Yakuwa yamuzuukiza. Ate era Yakuwa yakozesa omuweereza we Erisa okuzuukiza omulenzi eyali afudde.​—1 Bassekabaka 17:17-24; 2 Bassekabaka 4:32-37.

Tekikusanyusa nnyo okukimanya nti Yakuwa atwagala nnyo?— Takoma kutulowoozaako nga tuli balamu. Naye era atulowoozaako ne bwe tuba nga tufudde. Yesu yagamba nti abo Kitaawe b’ayagala ne bwe baba nga bafudde Kitaawe abatwala ng’abalamu! (Lukka 20:38) Bayibuli egamba nti “ka kube kufa, oba bulamu, oba ebintu ebiriwo kati, oba ebigenda okujja, tebirisobola kutwawukanya ku kwagala kwa Katonda”​—Abaruumi 8:38, 39.

Yesu bwe yali ku nsi, yalaga nti Yakuwa afaayo nnyo ku baana abato. Yesu yawangayo ekiseera okwogera n’abaana abato ebikwata ku Katonda. Naye obadde okimanyi nti Katonda yawa Yesu obuyinza okuzuukiza abafu?— Ka twogere ku mulundi Yesu lwe yazuukiza muwala wa Yayiro ow’emyaka 12.

Yayiro ne mukyala we awamu n’omwana waabwe omu yekka, baali babeera kumpi n’Ennyanja y’e Ggaliraaya. Lumu, muwala waabwe omuto yalwala nnyo, era Yayiro n’alaba ng’agenda kufa. Yatandika okulowooza ku Yesu, omusajja omwatiikirivu gwe yali awuliddeko nti asobola okuwonya abantu. N’olwekyo Yayiro yagenda okumunoonya. Yasanga Yesu ng’ayigiriza abantu ku lubalama lw’Ennyanja y’e Ggaliraaya.

Yayiro yayita mu kibiina ky’abantu n’atuuka awaali Yesu n’avunnama ku bigere bya Yesu. Yagamba Yesu nti: ‘Muwala wange mulwadde nnyo. Nkwegayiridde, jjangu omuyambe.’ Amangu ago, Yesu yagenda ne Yayiro. Ekibiina ky’abantu abaali bazze okulaba Omuyigiriza Omukulu nakyo kyabagoberera. Naye bwe baali baakatambulako katono, abasajja abamu abaava mu maka ga Yayiro ne babamugamba nti: “Muwala wo afudde. Lwaki otawaanya omuyigiriza?”

Yesu yawulira ebigambo by’abasajja abo. Yamanya ennaku ey’amaanyi Yayiro gye yalina olw’okufiirwa omwana we omu yekka. N’olwekyo yamugamba nti: ‘Totya. Beera n’okukkiriza mu Katonda, muwala wo ajja kuba bulungi.’ Beeyongera okutambula okutuusa lwe baatuuka mu maka ga Yayiro. Baasanga abantu bakaaba. Baali banakuwavu nnyo olw’okufiirwa mukwano gwabwe omuto. Naye Yesu yabagamba nti: ‘Mulekere awo okukaaba, omwana tafudde naye yeebase.’

Yesu bwe yayogera ebigambo ebyo, abantu baatandika okumusekerera kubanga baali bamanyi nti omuwala afudde. Naye olowooza lwaki Yesu yagamba nti omuwala yali yeebase?— Olowooza kiki kye yali ayagala okuyigiriza abantu abo?— Yali ayagala bakimanye nti okufa kufaananako okwebaka otulo otw’amaanyi. Yali ayagala okubayigiriza nti ng’akozesa amaanyi ga katonda, asobola okuzuukiza omuntu afudde nga naffe bwe tuyinza okuzuukusa omuntu eyeebase.

Yesu okuzuukiza omuwala wa Yayiro, tukiyigirako ki?

Yesu yagamba abantu bonna bafulume mu nnyumba okuggyako omutume Peetero, Yakobo, ne Yokaana awamu n’abazadde b’omuwala. Oluvannyuma yagenda awaali omwana. Yamukwata ku mukono n’agamba nti: ‘Muwala, golokoka!’ Amangu ago, omuwala yasituka n’atandika okutambula! Taata we ne maama ne basanyuka nnyo.​—Makko 5:21-24, 35-43; Lukka 8:40-42, 49-56.

Kati lowooza ku kino. Bwe kiba nti Yesu yasobola okuzuukiza omuwala oyo omuto, olowooza asobola okuzuukiza n’abantu abalala?— Olowooza alikikola?— Yee, ajja kukikola. Yesu kennyini yagamba nti: “Ekiseera kijja bonna abali mu ntaana lwe baliwulira eddoboozi [lyange] ne bavaamu.”​—Yokaana 5:28, 29.

Olowooza Yesu ayagala okuzuukiza abantu?— Ekyokulabirako ekirala ekiri mu Bayibuli kituyamba okuddamu ekibuuzo ekyo. Lumu, ekyo ekyaliwo okumpi n’ekibuga ky’e Nayini kiraga engeri Yesu gy’awuliramu ng’abantu bakaaba olw’okufiirwa abantu baabwe.

Omukazi omu eyali afiiriddwa mutabani we yali atambula n’ekibinja ky’abantu abaali bava e Nayini nga bagenda okuziika mutabani we. Emabegako, omukazi oyo yafiirwa bba, era kati yali afiiriddwa n’omwana we omu yekka gwe yalina. Ng’ateekwa okuba nga yali munakuwavu nnyo! Bangi ku bantu b’omu Nayini baali wamu n’omukazi oyo nga batwala omulambo gw’omwana we ebweru w’ekibuga. Omukazi oyo yali akaaba nnyo era ng’abantu tebalina kye bayinza kukola kumubudaabuda.

Ku lunaku olwo, Yesu n’abayigirizwa be baali bagenda mu kibuga ky’e Nayini. Bwe baali banaatera okutuuka ku mulyango gw’ekibuga ekyo, baasisinkana ekibinja ky’abantu nga kigenda okuziika omwana w’omukazi oyo. Yesu bwe yalaba omukazi ng’akaaba, n’amusaasira. Yawulira bubi nnyo olw’ennaku ey’amaanyi omukazi oyo gye yalina. Yayagala okumuyamba.

Bwe kityo, yamugamba mu bukkakkamu nti: “Lekera awo okukaaba.” Abantu bonna ne bamutunuulira. Yesu bwe yasemberera omulambo, abantu bonna beebuuza kye yali agenda okukola. Awo Yesu n’agamba nti: “Muvubuka, nkugamba nti Situka!” Amangu ago, n’atuula, era n’atandika okwogera!​—Lukka 7:11-17.

Tebeerezaamu engeri omukazi oyo gye yawuliramu! Wandiwulidde otya ng’omuntu wo abadde afudde azuukidde?— Kino tekiraga nti ddala Yesu ayagala abantu era nti ayagala nnyo okubayamba?— Tebeereza essanyu eriribaawo mu nsi ya Katonda empya nga twaniriza abantu abazuukidde!​—2 Peetero 3:13; Okubikkulirwa 21:3, 4.

Okuzuukizibwa kw’omwana w’omukazi ono gwe yalina yekka kulaga ki?

Abamu ku abo abalizuukizibwa mu kiseera ekyo, baliba abantu be twali tumanyi, nga mw’otwalidde n’abaana abato. Tujja kusobola okubategeera nga Yayiro bwe yasobola okutegeera muwala we Yesu gwe yazuukiza. Abalala abalizuukizibwa, baliba abantu abaafa emyaka mingi nnyo emabega. Naye Katonda tajja kubeerabira wadde nga baaliwo dda nnyo.

Si kirungi nnyo okukimanya nti Yakuwa Katonda n’Omwana we, Yesu, batwagala nnyo?— Baagala tubeere balamu, si kumala myaka mitono, wabula mirembe gyonna!

Okusobola okumanya ebisingawo ku ssuubi ery’ekitalo ery’okuzuukira, soma Isaaya 25:8; Ebikolwa 24:15; ne 1 Abakkolinso 15:20-22.