Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 41

Abaana Abasanyusa Katonda

Abaana Abasanyusa Katonda

OLOWOOZA mwana ki ku nsi eyasinga okusanyusa Yakuwa?— Omwana we, Yesu. Ka twogere ku ebyo Yesu bye yakola okusobola okusanyusa Kitaawe ow’omu ggulu.

Okuva mu kifo abazadde ba Yesu gye baabeeranga okutuuka e Yerusaalemi, awaali yeekaalu ya Yakuwa eyali erabika obulungi, omuntu yatambulirangawo ennaku ssatu. Yesu yayita yeekaalu ‘ennyumba ya Kitaawe.’ Ye awamu n’abo be yabeeranga nabo awaka, buli mwaka baagendanga e Yerusaalemi okukwata Embaga ey’Okuyitako.

Yesu bwe yali ng’aweza emyaka 12 egy’obukulu, bazadde be baatindiga olugendo okuddayo ewaabwe oluvannyuma lw’okukwata Embaga ey’Okuyitako. Bwe baatuuka mu kifo gye baali bagenda okusula, baakizuula nti Yesu teyali nabo era nga tali na baŋŋanda zaabwe oba na mikwano gyabwe. Amangu ago, Yusufu ne Maliyamu baddayo e Yerusaalemi okunoonya Yesu. Olowooza yali ludda wa?—

Yesu baamusanga mu Yeekaalu. Yali awuliriza abayigiriza era ng’ababuuza ebibuuzo. Era yaddangamu buli kibuuzo kye baamubuuzanga. Beewuunya nnyo ebyo bye yaddangamu. Kati osobola okutegeera lwaki Katonda yasanyukira Omwana we?—

Kya lwatu, Maliyamu ne Yusufu baasanyuka nnyo bwe baazuula Yesu. Naye Yesu teyali mweraliikirivu. Yali akimanyi nti Yeekaalu kyali kifo kirungi eky’okubeeramu. N’olwekyo yababuuza nti: “Temumanyi nti nteekwa okubeera mu nnyumba ya Kitange?” Yali akimanyi nti yeekaalu yali nnyumba ya Katonda, era yali ayagala nnyo okugibeeramu.

Oluvannyuma, Maliyamu ne Yusufu baddayo e Nazaaleesi nga bali ne Yesu ow’emyaka 12. Olowooza Yesu yeeyisa atya ng’ali ne bazadde be?— Bayibuli egamba nti “yeeyongera okubagonderanga.” Olowooza ekyo kitegeeza ki?— Kitegeeza nti yakolanga ekyo bazadde be kye baamugambanga, ka kibe kugenda ku luzzi okukima amazzi.​—Lukka 2:41-52.

Yesu yasanyusa atya Katonda ng’akyali muto?

Lowooza ku kino: Wadde nga Yesu yali atuukiridde, yagonderanga bazadde be abaali batatuukiridde. Ekyo kyasanyusa Katonda?— Awatali kubuusabuusa kyamusanyusa, kubanga Ekigambo kya Katonda kigamba abaana nti: “Mugonderenga bazadde bammwe.” (Abeefeso 6:1) Naawe ojja kusanyusa Katonda bw’onoogonderanga bazadde bo, nga Yesu bwe yakolanga.

Era oyinza okusanyusa Katonda ng’obuulira abalala ebimukwatako. Kyokka, abantu abamu bayinza okugamba nti si kirungi abaana abato okukola ekyo. Naye abantu bwe baagezaako okugaana abaana okwogera ebikwata ku Katonda, Yesu yabagamba nti: ‘Temusomangako mu Byawandiikibwa nti: “Katonda alireetera akamwa k’abaana abawere n’abayonka okumutendereza”?’ (Matayo 21:16) N’olwekyo, ffenna tusobola okubuulira abalala ebikwata ku Yakuwa era ne tubategeeza nga bwali Katonda omulungi ennyo, bwe kiba nga ddala twagala okukikola. Era ekyo bwe tunaakikola, tujja kusanyusa Katonda.

Wa gye tuyinza okuyigira ebikwata ku Katonda ne tusobola okubibuulirako abalala?— Tubiyiga nga tusoma Bayibuli awaka. Naye ate tuyiga bingi n’okusingawo nga tuli mu kifo abantu ba Katonda gye bakuŋŋaanira okuyigirizibwa. Naye abantu ba Katonda tubamanya tutya?—

Biki abantu bye bakola nga bali mu masinzizo gaabwe? Ddala bayigiriza ebyo ebiri mu Bayibuli? Ddala bagisoma era ne bannyonnyola ebigirimu? Ebyo bye tulina okukola okusobola okuwuliriza Katonda, si bwe kiri?— Era bwe tuba mu nkuŋŋaana ez’Ekikristaayo tusuubira okuwulira ebyo Katonda by’agamba, si bwe kiri?— Naye watya singa abantu bakugamba nti tosaanidde kugoberera ebyo Bayibuli by’egamba? Wandigambye nti abo bantu ba Katonda?—

Lowooza ne ku kino. Bayibuli egamba nti abantu ba Katonda bandibadde ‘bayitibwa erinnya lye.’ (Ebikolwa 15:14) Okuva bwe kiri nti erinnya lya Katonda ye Yakuwa, tusobola okubuuza abantu obanga Yakuwa ye Katonda waabwe. Singa bagamba nti si ye Katonda waabwe, awo tumanya nti si bantu be. Era abantu ba Katonda basaanidde okubuulira abalala ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Era basaanidde okulaga nti baagala Katonda nga bakwata ebiragiro bye.​—1 Yokaana 5:3.

Bw’oba omanyi abantu abakola ebintu ebyo byonna, osaanidde okukuŋŋaana nabo okusinza Katonda. Osaanidde okuwuliriza obulungi ng’oli mu nkuŋŋaana ezo era obeeko ky’oddamu nga babuuzizza ebibuuzo. Yesu yakolanga bw’atyo ng’ali mu nnyumba ya Katonda. Era naawe bw’onookola bw’otyo, ojja kusanyusa Katonda, nga Yesu bwe yakola.

Waliwo abaana abalala b’omanyi aboogerwako mu Bayibuli abaasanyusa Katonda?— Timoseewo yali omu ku bo era yassaawo ekyokulabirako ekirungi. Taata we yali tasinza Yakuwa. Naye maama we, Ewuniike, ne jjajja we Looyi, baali basinza Yakuwa. Timoseewo yawulirizanga bye baamugambanga era yayiga ebikwata ku Yakuwa.

Wadde nga taata we teyali mukkiriza, kiki Timoseewo kye yali ayagala okukola?

Timoseewo bwe yali ng’akuze, omutume Pawulo yagenda mu kibuga Timoseewo gye yabeeranga. Yakiraba nti Timoseewo yali ayagala nnyo okuweereza Yakuwa. N’olwekyo, yasaba Timoseewo agende naye asobole okuweereza Katonda mu ngeri esingawo. Yonna gye baagendanga, baabuuliranga abantu ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda ne ku Yesu.​—Ebikolwa 16:1-5; 2 Timoseewo 1:5; 3:14, 15.

Naye Bayibuli eyogera ku baana balenzi bokka abaasanyusa Katonda?— Nedda. Lowooza ku muwala omuto Omuyisirayiri eyasanyusa Katonda. Mu kiseera we yabeererawo, eggwanga lya Busuuli lyali terikolagana na ggwanga lya Isirayiri. Lumu, Abasuuli baalwanagana n’Abayisirayiri era ne bawamba omuwala oyo omuto. Yatwalibwa mu nnyumba ya Naamani eyali omuduumizi w’eggye lya Busuuli. Ng’ali eyo, yafuuka omuweereza wa muka Naamani.

Naamani yalina obulwadde bw’ebigenge. Tewali musawo yenna eyasobola okumuwonya. Naye omuwala omuto eyaggibwa mu Isiraeri yali akkiriza nti omu ku baweereza ba Katonda eyali nnabbi, yali asobola okuwonya Naamani. Kya lwatu, Naamani ne mukyala we baali tebasinza Yakuwa. Ddala omuwala oyo yandibagambye ekyo kye yali amanyi? Kiki ggwe kye wandikoze?—

Omuwala ono Omuisiraeri yasanyusa atya Katonda?

Omuwala yagamba nti: ‘Singa Naamani agendako ewa nnabbi wa Yakuwa ali mu Isirayiri, kale, Naamani yandiwonye ebigenge bye.’ Naamani yawuliriza omuwala oyo, era n’agenda ewa nnabbi wa Yakuwa. Bwe yakola ekyo nnabbi kye yamugamba, yawona. Kino kyaleetera Naamani okutandika okusinza Katonda ow’amazima.—2 Bassekabaka 5:1-15.

Wandyagadde okuyamba omuntu okuyiga ebikwata ku Yakuwa ne ku ebyo by’asobola okukola, okufaananako omuwala oyo omuto?— Baani b’oyinza okuyamba?— Kya lwatu, mu kusooka abantu abo bayinza okulowooza nti tebeetaaga buyambi. Naye oyinza okubabuulira ku bintu ebirungi Yakuwa by’akola. Era bayinza okuwuliriza. Osobola okuba omukakafu nti ekyo kijja kusanyusa Katonda.

Ebirala ebisobola okuyamba abaana abato okufuna essanyu mu kuweereza Katonda, biri mu Zabbuli 122:1; 148:12, 13; Omubuulizi 12:1; 1 Timoseewo 4:12; ne Abebbulaniya 10:23-25.