Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 44

Mikwano Gyaffe Gisaanidde Okwagala Katonda

Mikwano Gyaffe Gisaanidde Okwagala Katonda

MIKWANO gyaffe be bantu be twagala okwogera nabo n’okubeera nabo. Naye kikulu nnyo okuba n’emikwano emirungi. Olowooza ani yandibadde mukwano gwaffe asingayo okuba omulungi?— Yee, Yakuwa Katonda.

Ddala tusobola okubeera mikwano gya Katonda?— Bayibuli egamba nti Ibulayimu, omusajja eyaliwo edda ennyo, yali “mukwano gwa Yakuwa.” (Yakobo 2:23) Omanyi lwaki yali mukwano gwe?— Bayibuli egamba nti Ibulayimu yagonderanga Katonda. Yamugonderanga wadde nga kye yalinga amugambye kyabanga kizibu okukola. N’olwekyo, okusobola okubeera mikwano gya Yakuwa, tulina okukola ebyo ebimusanyusa, nga Ibulayimu bwe yakola era ng’Omuyigiriza Omukulu bulijjo bw’akola.​—Olubereberye 22:1-14; Yokaana 8:28, 29; Abebbulaniya 11:8, 17-19.

Lwaki Ibulayimu yali “mukwano gwa Yakuwa”?

Yesu yagamba abatume be nti: “Bwe mukwata bye mbalagira, muba mikwano gyange.” (Yokaana 15:14) Okuva bwe kiri nti buli kimu Yesu kye yayigirizanga abantu kyavanga eri Yakuwa, Yesu yali ategeeza nti mikwano gye baali bantu abaakolanga ebyo Katonda bye yabagambanga okukola. Mu butuufu, mikwano gye gyonna baali baagala Katonda.

Egimu ku mikwano gy’Omuyigiriza Omukulu egy’oku lusegere baali batume be abali mu kifaananyi ekiri ku lupapula 75 mu kitabo kino. Baatambulanga naye era baamuyambanga okukola omulimu gw’okubuulira. Yesu yabeeranga nnyo n’abasajja bano. Baaliranga wamu. Baanyumyanga ebikwata ku Katonda. Era baakoleranga wamu ebintu ebirala. Naye Yesu yalina emikwano emirala mingi. N’abo yabeeranga nabo era yasanyukiranga wamu nabo.

Amaka agamu Yesu ge yakyaliranga ennyo gaali mu kabuga akayitibwa Bessaniya, akaali okumpi ne kibuga Yerusaalemi. Ojjukira abantu abaali mu maka ago?— Mwalimu Maliyamu, Maliza, ne mwannyinaabwe, Laazaalo. Yesu yayita Lazaalo mukwano gwe. (Yokaana 11:1, 5, 11) Ensonga emu lwaki Yesu yali ayagala ab’omu amaka gano era ng’ayagala nnyo okubeera nabo, kwe kuba nti baali baagala Yakuwa era nga baagala okumuweereza.

Lwaki Yesu yagendanga mu maka gano bwe yakyalanga e Yerusaalemi? Omanyi amannya gaabwe?

Kino tekitegeeza nti Yesu yali tayagala abo abaali bataweereza Katonda. Nabo yali abaagala. Era yagendanga ne mu maka gaabwe n’alya nabo. Kino kyaleetera abantu abamu okugamba nti Yesu yali “mukwano gw’abasolooza omusolo n’aboonoonyi.” (Matayo 11:19) Ekituufu kiri nti Yesu yagendanga mu maka g’abantu abo olw’okuba yali ayagala okubabuulira ebikwata ku Yakuwa, so si nti yali asanyukira ebyo bye baakolanga. Yagezaako okubayamba balekere awo okukola ebintu ebibi, baweereze Katonda.

Lwaki Zaakayo yalinnya omuti guno?

Kino kyaliwo lumu mu kibuga ky’e Yeriko. Yesu yali ayita buyisi mu kibuga ekyo ng’agenda e Yerusaalemi. Ekibuga ekyo kyalimu ekibiina ky’abantu, era mu bantu abo mwalimu omusajja eyali ayitibwa Zaakayo. Yali ayagala okulaba Yesu. Naye Zaakayo yali mumpi, era nga tasobola kulaba Yesu olw’abantu abangi abaali bamusiikiriza. N’olwekyo, yadduka n’abeesooka mu maaso, n’alinnya omuti asobole okulaba Yesu ng’ayitawo.

Yesu bwe yatuuka ku muti ogwo, yatunula waggulu n’amugamba nti: ‘Kka mangu wansi, kubanga leero nja kujja mu nnyumba yo.’ Naye Zaakayo yali musajja mugagga eyakolanga ebintu ebibi. Lwaki Yesu yali ayagala okugenda mu maka g’omusajja ng’oyo?—

Tekiri nti Yesu yali ayagala ebintu Zaakayo bye yakolanga. Wabula, yagendayo okusobola okumubuulira ebikwata ku Katonda. Yeetegereza engeri omusajja oyo gye yali afubyemu okumulaba. N’olwekyo, yali akimanyi nti oboolyawo Zaakayo yandimuwulirizza. Yesu yali afunye akakisa okumubuulira ebikwata ku ngeri Katonda gy’ayagala abantu beeyiseemu.

Lwaki Yesu yakyalira Zaakayo, era kiki Zaakayo kye yasuubiza okukola?

Kati olwo, kiki ekyaddirira?— Zaakayo yasiima ebyo Yesu bye yamuyigiriza. Yanakuwala nnyo olw’okukumpanya ssente z’abantu, era n’asuubiza okuzibaddiza. Zaakayo yafuuka mugoberezi wa Yesu. Era oluvannyuma lw’ekyo, Yesu ne Zaakayo bafuuka ba mukwano.​—Lukka 19:1-10.

Naffe tunaakoppa ekyokulabirako ky’Omuyigiriza Omukulu ne tukyalira abantu abatali mikwano gyaffe?— Yee. Naye tetujja kugenda mu maka gaabwe olw’okuba tusiima engeri gye beeyisaamu. Era tetujja kwenyigira mu bikolwa byabwe ebibi. Tujja kubakyalira olw’okuba twagala okubabuulira ebikwata ku Katonda.

Naye mikwano gyaffe egy’oku lusegere beebo be twagala okubeera ennyo nabo. Abantu be tutwala nga mikwano gyaffe balina okuba nga baagalibwa Katonda. Abamu bayinza n’okuba nga tebamanyi Yakuwa. Naye bwe baba nga baagala okuyiga ebimukwatako, tusobola okubayamba. Era ekiseera bwe kituuka ne baba nga baagala Yakuwa nga naffe bwe tumwagala, awo basobola okufuuka mikwano gyaffe egy’oku lusegere.

Waliwo ebirala ebiyinza okutuyamba okulonda emikwano emirungi. Weetegereze ebintu by’akola. Akola abantu abalala ebintu ebibi ate oluvannyuma n’aseka? Ekyo si kirungi, si bwe kiri?— Buli kiseera afuna ebizibu? Tetwandyagadde kufuna bizibu olw’okuba tukolagana naye, si bwe kiri?— Oba akola ebintu ebibi mu bugenderevu oluvannyuma ne yeewaana nti ye tebasobola kumukwata? Ne bwe kiba nti omuntu oyo tebamukutte, Katonda aba alabye ky’akoze, si bwe kiri?— Olowooza kyandibadde kirungi abantu abakola ebintu ng’ebyo okuba mikwano gyaffe?—

Nkusaba obikkule Bayibuli yo, tulabe ekyo mikwano gyaffe kye giyinza okutukolako. Ka tusome 1 Abakkolinso essuula 15, olunyiriri 33. Otuuseewo?— Kigamba nti: “Temulimbibwanga. Emikwano emibi gyonoona empisa ennungi.” Kino kitegeeza nti singa tubeera nnyo n’abantu ab’empisa embi, naffe tuyinza okufuuka ab’empisa embi. Naye ekituufu kiri nti emikwano emirungi gisobola okutuyamba okuba n’empisa ennungi.

Tetukyerabiranga nti Yakuwa gwe tusaanidde okutwala nga mukwano gwaffe asingayo okuba omulungi. Twagala okweyongera okubeera mikwano gya Yakuwa, si bwe kiri?— N’olwekyo, tulina okukakasa nti tukola emikwano n’abo bokka abaagala Katonda.

Ebyawandiikibwa bino wammanga biraga nti kikulu nnyo okuba n’emikwano emirungi: Zabbuli 119:115; Engero 13:20; 2 Timoseewo 2:22; ne 1 Yokaana 2:15.