Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSUULA 46

Amazzi Gaasanyaawo Ensi-Kiribaawo Nate?

Amazzi Gaasanyaawo Ensi-Kiribaawo Nate?

WALI owulidde omuntu yenna ng’ayogera ku nkomerero y’ensi?— Leero bangi bagyogerako. Abantu abamu balowooza nti ensi ejja kuzikirizibwa abantu bwe balirwana olutalo nga bakozesa eby’okulwanyisa eby’amaanyi ga nukiriya. Olowooza Katonda anaazikiriza abantu okusaanyaawo ensi yaffe erabika obulungi?—

Nga bwe twayiga, Bayibuli eyogera ku nkomerero y’ensi. Egamba nti, “Ensi eggwaawo.” (1 Yokaana 2:17) Olowooza ensi eno gye tuliko y’egenda okuzikirizibwa?— Nedda, Bayibuli egamba nti Katonda yatonda ensi esobole “okutuulwamu,” kwe kugamba, abantu basobole okugibeerako era baginyumirwe. (Isaaya 45:18) Zabbuli 37:29 lugamba nti: “Abatuukirivu balisikira ensi, banaagibeerangamu emirembe gyonna.” N’olw’ensonga eyo, Bayibuli egamba nti ensi ejja kubeerawo emirembe gyonna.​—Zabbuli 104:5; Omubuulizi 1:4.

Bwe kiba nti ensi eno gye tuliko si y’egenda okuzikirizibwa, kati olwo nsi ki egenda okuzikirizibwa?— Tusobola okufuna eky’okuddamu nga twekeneenya ekyo ekyaliwo mu kiseera kya Nuuwa. Bayibuli egamba nti “ensi eyo yazikirizibwa bwe yabuutikirwa amazzi [oba amataba].”​—2 Peetero 3:6.

Waliwo omuntu yenna eyawonawo ensi bwe yazikirizibwa Amataba mu kiseera kya Nuuwa?— Bayibuli egamba nti Katonda “yawonya Nuuwa omubuulizi w’obutuukirivu n’abalala musanvu, bwe yaleeta amataba ku nsi ey’abatatya Katonda.”​—2 Peetero 2:5.

Nsi ki eyazikirizibwa mu kiseera kya Nuuwa?

Kati olwo, nsi ki eyazikirizibwa? Yali nsi okwali abantu, oba baali bantu ababi?— Bayibuli egamba nti yali ‘nsi ey’abantu abatatya Katonda.’ Era weetegereze nti Nuuwa ayitibwa “omubuulizi.” Olowooza yali abuulirira ku ki?— Nuuwa yali alabula abantu ku bikwata ku ‘ensi ey’omu kiseera ekyo’ eyali egenda kuzikirizibwa.

Yesu bwe yali ayogera ku Mataba g’omu kiseera kya Nuuwa, yategeeza abayigirizwa be ebyo abantu bye baali bakola ng’amataba ganaatera okujja. Yabagamba nti: “Mu nnaku ezo ng’amataba tegannajja, abantu baali balya, nga banywa, nga bawasa, era nga bafumbirwa, okutuuka ku lunaku Nuuwa lwe yayingira mu lyato; ne batafaayo okutuusa amataba lwe gajja ne gabasaanyaawo bonna.” Oluvannyuma Yesu yagamba nti ne mu kiseera kino abantu bandibadde bakola ebintu bye bimu ng’enkomerero y’ensi eno tennajja.​—Matayo 24:37-39.

Ebigambo bya Yesu biraga nti waliwo kye tusobola okuyigira ku ebyo abantu bye baali bakola ng’Amataba tegannajja. Okusinziira ku ebyo bye twasoma mu Ssuula 10 ey’ekitabo kino, ojjukira abantu abo bye baakolanga?— Abasajja abamu baatulugunyanga abantu era baakolanga ebintu eby’obukambwe. Naye Yesu yagamba nti waliwo n’abalala bangi abataawuliriza Nuuwa nga Katonda amutumye okubabuulira.

N’olwekyo ekiseera kyatuuka Yakuwa n’agamba Nuuwa nti agenda kuzikiriza abantu ababi ng’akozesa amataba. Amazzi gandibuutikidde ensi yonna nga mw’otwalidde n’ensozi. Yakuwa yagamba Nuuwa okukola eryato eddene. Lyali liringa bokisi ennene ennyo empanvu, nga bw’olaba mu kifaananyi ekiri ku lupapula 238.

Katonda yagamba Nuuwa akole eryato eddene nga lisobola okugyamu ye n’ab’omu maka ge awamu n’ebisolo. Nuuwa n’ab’omu maka ge baakola nnyo. Baatema emiti eminene, ne bagisalamu embaawo, oluvannyuma ne bazikozesa okuzimba eryato. Omulimu guno gwabatwalira emyaka mingi okugumaliriza kubanga eryato lyali ddene nnyo.

Omanyi ekintu ekirala Nuuwa kye yali akola mu myaka egyo gyonna gye yamala ng’azimba eryato?— Yali abuulira, ng’alabula abantu ku Mataba agaali gagenda okujja. Waliwo omuntu yenna eyawuliriza? Tewali n’omu okuggyako ab’omu maka ge. Abalala baali beemalidde ku byabwe. Ojjukira Yesu kye yagamba kye baali bakola?— Baali balya, banywa, nga bawasa era nga bafumbirwa. Baali balowooza nti si bantu babi nnyo, era tebaafaayo kuwuliriza Nuuwa. Ka tulabe ekyabatuukako.

Nuuwa n’ab’omu maka ge bwe baayingira mu lyato, Yakuwa yaggalawo oluggi. Naye era abantu abataali mu lyato baasigala tebakikkiriza nti Amataba gagenda kujja. Naye amangu ago, enkuba yatandika okutonnya! Teyali nkuba ya bulijjo. Yali y’amaanyi nnyo! Mu kaseera katono, amazzi gaaweera ne gaba mangi nnyo nga gawuuma n’okuwuuma. Gaasuula emiti eminene ne gakulukusa n’agayinja aganene nga gy’obeera nti gaakulukusa buyinja butono. Ate bo abantu abataali mu lyato?— Yesu yagamba nti: ‘Amataba gajja ne gabasaanyaawo bonna.’ Abantu bonna abataayingira mu lyato baafa. Lwaki?— Yesu yagamba nti, ‘tebaafaayo.’ Tebaawuliriza!​—Matayo 24:39; Olubereberye 6:5-7.

Lwaki tetusaanidde kulowooza ku kuzannya buzannyi?

Jjukira, Yesu yagamba nti ebyo ebyatuuka ku bantu abo birina kye bituyigiriza leero. Bituyigiriza ki?— Abantu abo baazikirizibwa si lwa kuba nti baali babi kyokka, naye era n’olw’okuba nti bangi baali beemalidde ku byabwe ne batafuna biseera kuyiga bikwata ku Katonda ne ku ebyo bye yali agenda okukola. Tusaanidde okwegendereza tuleme okuba ng’abantu abo, si bwe kiri?—

Olowooza Katonda anaddamu okuzikiriza ensi ng’akozesa amataba?— Nedda, Katonda yasuubiza nti tajja kuddamu kukikola. Yagamba nti: “Nteeka musoke wange ku bire, era anaabanga akabonero.” Yakuwa yagamba nti musoke yandibadde kabonero akandiraze nti “amazzi tegaliddamu nate kufuuka mataba okuzikiriza ebirina omubiri byonna.”​—Olubereberye 9:11-17.

N’olwekyo tusobola okuba abakakafu nti Katonda taliddamu kuzikiriza nsi ng’akozesa amataba. Naye, nga bwe tulabye, Bayibuli eyogera ku nkomerero y’ensi. Katonda bw’anaaba azikiriza ensi eno, baani banaawonyaawo?— Anaawonyaawo abo abaali batayagala kuyiga bikwata ku Katonda? Anaawonyaawo abo abeemalira ku byabwe ne bataba na biseera kuyiga Bayibuli? Olowooza otya?—

Twagala okubeera abamu ku abo Katonda baanaawonyaawo, si bwe kiri?— Tekyandibadde kirungi nnyo singa amaka gaffe gabeera nga aga Nuuwa Katonda n’atuwonyaawo ffenna?— Bwe tuba ab’okuwonawo ku nkomerero, tusaanidde okutegeera engeri Katonda gy’agenda okuzikirizaamu ensi, aleetewo ensi empya ey’obutuukirivu. Ka tulabe engeri gy’agenda okukikolamu.

Mu Danyeri essuula 2, olunyiriri 44, Bayibuli etubuulira engeri Katonda gy’agenda okukikolamu. Ekyawandiikibwa kino kiba kyogera ku kiseera kyaffe bwe kigamba nti: “Mu mirembe gya bakabaka abo, Katonda ow’eggulu alissaawo obwakabaka [oba gavumenti], obutalizikirizibwa emirembe gyonna, so n’okufuga kwabwo tekulirekerwa ggwanga ddala: naye bulimenyaamenya era bulizikiriza obwakabaka obwo bwonna, era bunaabeereranga emirembe gyonna.”

Otegeera amakulu g’ekyawandiikibwa ekyo?— Bayibuli egamba nti gavumenti ya Katonda egenda kuzikiriza gavumenti z’ensi zonna. Lwaki?— Kubanga tezigondera Oyo Katonda gwe yalonda okuba Kabaka. Y’ani oyo?— Yesu Kristo!

Yesu Kristo, Katonda gwe yalonda okuba Kabaka, agenda kuzikiriza ensi eno ku Kalumagedoni

Yakuwa Katonda alina obuyinza okulonda gavumenti esaanidde okufuga, era alonze Omwana we, Yesu, okuba Kabaka. Mu kiseera ekitali kya wala, Yesu Kristo, Omufuzi Katonda gw’alonze, ajja kuwoma omutwe mu kuzikiriza gavumenti z’ensi zonna. Mu Okubikkulirwa essuula 19, okuva ku lunyiriri 11 okutuuka ku 16, Bayibuli eraga nga Yesu azikiriza gavumenti z’ensi zonna, nga bw’olaba mu kifaananyi kino. Mu Bayibuli, olutalo lwa Katonda olw’okuzikiriza gavumenti z’ensi zonna luyitibwa Kalumagedoni.

Katonda agamba nti Obwakabaka bwe bugenda kuzikiriza gavumenti z’abantu. Naye naffe atugamba okuzizikiriza?— Nedda, mu Bayibuli, Kalumagedoni luyitibwa ‘olutalo olw’oku lunaku olukulu olwa Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.’ (Okubikkulirwa 16:14, 16) Yee, Kalumagedoni lutalo lwa Katonda, era agenda kukozesa Yesu Kristo okuduumira eggye lya bamalayika nga balwana olutalo olwo. Naye ddala olutalo lwa Kalumagedoni luli kumpi? Ka tulabe mu ssuula eddako.

Ka tusomere wamu ebikwata ku kiseera Katonda ky’agenda okuzikiririzaamu abantu ababi ate awonyeewo abo abamuweereza: Engero 2:21, 22; Isaaya 26:20, 21; Yeremiya 25:31-33; ne Matayo 24:21, 22.